“Mubeere Bulindaala ku Bikwata ku Kusaba”
“Mubeere n’endowooza ennuŋŋamu, era mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.”—1 PEET. 4:7.
1, 2. (a) Lwaki kikulu nnyo ‘okubeera obulindaala ku bikwata ku kusaba’? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku kusaba bye tusaanidde okwebuuza?
OMUSAJJA omu eyali akola omulimu ogw’okukuuma ekiro yagamba nti: “Ekiseera ekisingayo okuba ekizibu okusigala ng’otunula ky’ekyo ng’obudde bunaatera okukya.” Tewali kubuusabuusa nti abo bonna abakola ekiro bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo leero kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okusigala nga batunula, okuva bwe kiri nti ensi ya Sitaani eno enaatera okuzikirizibwa. (Bar. 13:12) Nga kiba kya kabi nnyo okwebaka mu by’omwoyo mu kiseera kino! N’olwekyo, kikulu nnyo ‘okubeera n’endowooza ennuŋŋamu’ n’okufuba okusigala nga tuli “bulindaala ku bikwata ku kusaba.”—1 Peet. 4:7.
2 Okuva bwe kiri nti ensi ya Sitaani enaatera okuzikirizibwa, kikulu nnyo okwebuuza: ‘Ndi bulindaala ku bikwata ku kusaba? Nfuba okusaba essaala eza buli ngeri, era nsaba obutayosa? Bwe mba nsaba, nfuba okusabira n’abalala, oba nneerowoozaako nzekka? Kakwate ki akali wakati w’okusaba n’obulokozi bwange?’
SABA ESSAALA EZA BULI NGERI
3. Ssaala za ngeri ki ze tusaanidde okusaba?
3 Bwe yali awandiikira Abeefeso ebbaluwa, omutume Pawulo yayogera ku ‘kusaba okwa buli ngeri.’ (Bef. 6:18) Bwe tuba tusaba Yakuwa, tutera okumusaba atuyambe okufuna bye twetaaga n’okuvvuunuka ebizibu bye twolekagana nabyo. Bayibuli eraga nti bwe tusaba, Yakuwa “awulira okusaba” kwaffe. (Zab. 65:2) Kyokka bwe tuba tusaba, tetusaanidde kusabanga ebyo byokka bye twetaaga, naye tusaanidde n’okutendereza Yakuwa, okumwebaza, n’okumwegayirira.
4. Lwaki tusaanidde okutendereza Yakuwa buli kiseera nga tusaba?
4 Waliwo ensonga nnyingi lwaki tusaanidde okutendereza Yakuwa nga tusaba. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okutendereza Yakuwa ‘olw’ebikolwa bye eby’amaanyi n’olw’obukulu bwe.’ (Soma Zabbuli 150:1-6.) Ennyiriri omukaaga eza Zabbuli 150 zoogera ku kutendereza Yakuwa emirundi 13! Omuwandiisi wa zabbuli endala yakiraga nti yali ayagala nnyo Katonda, bwe yagamba nti: “Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; olw’emisango gyo egy’ensonga.” (Zab. 119:164) Mu butuufu, Yakuwa agwanidde okutenderezebwa. N’olwekyo, bwe tuba tusaba tusaanidde okumutendereza “emirundi musanvu buli lunaku,” kwe kugamba, emirundi mingi.
5. Lwaki kikulu okwebaza Katonda nga tusaba?
5 Bwe tuba tusaba, tusaanidde n’okwebaza Katonda. Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu Firipi nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” (Baf. 4:6) Kikulu nnyo okwebaza Yakuwa olw’ebirungi byonna by’atukolera, naddala mu nnaku zino ez’oluvannyuma ng’abantu abasinga obungi “tebeebaza.” (2 Tim. 3:1, 2) Bwe tutaba beegendereza, tuyinza okwesanga nga tutwaliriziddwa omwoyo ogwo ogw’obuteebaza. Naye bwe twebaza Katonda nga tusaba, kituyamba okuba abamativu n’okwewala ‘okutolotooma n’okwemulugunya olw’embeera gye tulimu.’ (Yud. 16) Ate era emitwe gy’amaka bwe beebaza Yakuwa nga basaba, kiyamba bakyala baabwe n’abaana baabwe okuyiga okwebaza.
6, 7. Okusaba nga twegayirira kitegeeza ki, era ddi lwe tuyinza okusaba Yakuwa nga tumwegayirira?
6 Okusaba nga twegayirira kitegeeza okwogera ne Yakuwa mu bwesimbu nga tumweyabiza. Ddi lwe tuyinza okusaba Yakuwa nga tumwegayirira? Ekyo tuyinza okukikola bwe tuba nga tuyigganyizibwa oba nga tulina obulwadde obw’amaanyi. Mu mbeera ng’ezo, kiba kikulu nnyo okwegayirira Katonda atuyambe. Naye ekyo kitegeeza nti Yakuwa tulina kumwegayirira mu kiseera ekyo kyokka nga tuyigganyizibwa oba nga tuli balwadde?
7 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulowooze ku ebyo Yesu bye yayogera mu ssaala ye ey’okulabirako ebikwata ku linnya lya Katonda, ku Bwakabaka bwe, ne ku ebyo Katonda by’ayagala. (Soma Matayo 6:9, 10.) Ensi eno ejjudde ebikolwa ebibi, era gavumenti z’abantu ziremeddwa okukola ku byetaago by’abantu. N’olwekyo, tusaanidde okusaba erinnya lya Kitaffe ow’omu ggulu litukuzibwe era n’Obwakabaka bwe buggyewo obufuzi bwa Sitaani. Era tusaanidde n’okwegayirira Yakuwa by’ayagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. N’olwekyo, ka tube bulindaala nga tusaba essaala eza buli ngeri.
“MUTUNULE, MUSABE”
8, 9. Lwaki tetusaanidde kunenya Peetero n’abatume abalala olw’okwebaka nga bali mu nnimiro y’e Gesusemane?
8 Wadde ng’omutume Peetero yakubiriza Abakristaayo ‘okuba obulindaala ku bikwata ku kusaba,’ ekyo naye lumu kyali kyamulema okukola. Yali omu ku bayigirizwa ba Yesu abeebaka Yesu bwe yali ng’asaba mu nnimiro y’e Gesusemane. Wadde nga Yesu yabagamba ‘okutunula basabe,’ ekyo baalemererwa okukikola.—Soma Matayo 26:40-45.
9 Mu kifo ky’okunenya Peetero awamu n’abatume abalala olw’okulemererwa okusigala nga batunula, tusaanidde okukijjukira nti baali bakooye nnyo olw’ebintu ebingi bye baali bakoze ku lunaku olwo. Baali bateeseteese embaga ey’Okuyitako era nga bamaze okugikwata. Yesu era yali atandiseewo omukolo ogw’eky’Ekiro kya Mukama waffe n’alaga engeri omukolo ogw’okujjukira okufa kwe gye gwandikwatiddwangamu. (1 Kol. 11:23-25) Yesu n’abayigirizwa be ‘bwe baamala okuyimba ennyimba ezitendereza, baagenda ku Lusozi olw’Emizeyituuni.’ Okusobola okutuukayo, baatambula olugendo oluwerako nga bayita mu nguudo za Yerusaalemi. (Mat. 26:30, 36) We baatuukirayo, essaawa ziyinza okuba nga zaali zisusse mu mukaaga ogw’ekiro. Singa naffe twali mu nnimiro y’e Gesusemane ekiro ekyo, oboolyawo naffe twandyebase. Mu kifo ky’okunenya abatume abo abaali bakooye, Yesu yagamba nti “omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”
10, 11. (a) Ebyo ebyaliwo mu nnimiro y’e Gesusemane byayigiriza ki Peetero? (b) Ebyo ebyatuuka ku Peetero bikuyigiriza ki?
10 Ebyo ebyaliwo mu nnimiro y’e Gesusemane birina kinene kye byayigiriza Peetero. Emabegako, Yesu yali agambye abatume be nti: “Mwenna mujja kwesittala olw’ekyo ekigenda okuntuukako ekiro kino.” Naye Peetero yamugamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala olw’ekyo ekigenda okukutuukako, nze sijja kwesittala.” Yesu yagamba nti Peetero yali wa kumwegaana emirundi esatu. Naye Peetero yagamba nti: “Ne bwe kinaaba nga kitegeeza kufiira wamu naawe, sijja kukwegaana.” (Mat. 26:31-35) Kyokka, nga Yesu bwe yali agambye, Peetero yeesittala. Oluvannyuma lw’okwegaana Yesu, Peetero yanakuwala nnyo era “n’akaaba nnyo.”—Luk. 22:60-62.
11 Ebyo ebyaliwo byayigiriza Peetero nti tekiba kya magezi kwekakasa kisukkiridde. Kya lwatu nti okusaba kwayamba nnyo Peetero mu nsonga eyo. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Peetero yakubiriza Abakristaayo ‘okubeera obulindaala ku bikwata ku kusaba.’ Tufuba okukolera ku kubuulirira okwo? Tufuba okusaba obutayosa, bwe kityo ne tukiraga nti twesiga Yakuwa? Ka bulijjo tujjukire ebigambo by’omutume Pawulo bino: “Alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.”—1 Kol. 10:12.
ESSAALA ZA NEKKEMIYA ZADDIBWAMU
12. Kyakulabirako ki ekirungi Nekkemiya kye yatuteerawo?
12 Lowooza ku Nekkemiya, eyali omusenero wa Kabaka Alutagizerugizi ow’e Buperusi. Nekkemiya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yasaba essaala eviira ddala ku mutima. Nekkemiya yamala ennaku eziwerako ‘ng’asiiba era ng’asaba mu maaso ga Katonda’ olw’embeera enzibu Abayudaaya abaali mu Yerusaalemi gye baalimu. (Nek. 1:4) Kabaka Alutagizerugizi bwe yamubuuza ensonga lwaki yali anakuwadde, amangu ago ‘Nekkemiya yasaba Katonda ow’eggulu.’ (Nek. 2:2-4) Biki ebyavaamu? Yakuwa yaddamu essaala ye era n’ayamba abantu be. (Nek. 2:5, 6) Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyanyweza nnyo okukkiriza kwa Nekkemiya!
13, 14. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu kituyambe okuziyiza Sitaani?
13 Bwe tusaba obutayosa nga Nekkemiya bwe yakola, kituyamba okuba n’okukkiriza okunywevu. Sitaani talina kisa. Atera okutulumba bw’alaba nga tunafuye. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba abalwadde oba bwe tuba abennyamivu ennyo, tuyinza okutandika okulowooza nti ebiseera bye tumala nga tubuulira bitono nnyo era nti Katonda tatusiima. Abamu ku ffe tuyinza okwennyamira olw’ebintu ebibi ebyatutuukako mu biseera eby’emabega. Sitaani ayagala tulowooze nti tetulina mugaso. Sitaani ky’ayagala kwe kunafuya okukkiriza kwaffe. Naye bwe ‘tubeera obulindaala ku bikwata ku kusaba,’ tujja kusobola okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu. Bayibuli egamba nti ‘engabo ennene ey’okukkiriza ejja kutusobozesa okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.’—Bef. 6:16.
14 Bwe ‘tubeera obulindaala ku bikwata ku kusaba,’ tujja kusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga tugezesebwa. Bwe tukemebwa oba bwe tufuna ebizibu, tusaanidde okukoppa Nekkemiya nga tusaba Katonda awatali kulwa. Yakuwa ye yekka asobola okutuyamba okuziyiza ebikemo n’okugumira ebizibu bye tufuna.
SABIRANGA ABALALA
15. Ku bikwata ku kusabira abalala, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
15 Yesu yasaba Katonda ayambe Peetero okukkiriza kwe kuleme kuggwaawo. (Luk. 22:32) Epafula, Omukristaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka, yakoppa Yesu ng’asabira bakkiriza banne abaali mu Kkolosaayi. Pawulo yawandiikira ab’oluganda mu Kkolosaayi nti: “Buli kiseera [Epafula] afuba nnyo okubasabira, musobole okunywera n’okwemalira ku ebyo Katonda by’ayagala.” (Bak. 4:12, The New English Bible) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Nfuba okusabira bakkiriza bannange abali mu nsi yonna? Ntera okusabira bakkiriza bannange abagwiriddwako obutyabaga? Ddi lwe nnasemba okusabira ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa? Nnasemba ddi okusabira ab’oluganda mu kibiina aboolekagana n’ebizibu?’
16. Lwaki kikulu nnyo okusabira abalala?
16 Kikulu nnyo okusaba Yakuwa Katonda okuyamba abalala. (Soma 2 Abakkolinso 1:11.) Wadde nga Yakuwa okusobola okuddamu essaala tasinziira ku muwendo gw’abaweereza be ababa basabye ku nsonga emu enfunda n’enfunda, kimusanyusa nnyo okulaba nti abaweereza be buli omu afaayo ku munne. N’olwekyo, tusaanidde okufuba okusabiranga abalala. Okufaananako Epafula, tusaanidde okukiraga nti twagala bakkiriza bannaffe era nti tubafaako nga tunyiikira okubasabira. Ekyo kijja kutuleetera essanyu kubanga “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Bik. 20:35.
“OBULOKOZI BWAFFE BULI KUMPI”
17, 18. ‘Okubeera obulindaala ku bikwata ku kusaba’ kinaatuganyula kitya?
17 Bwe yali tannagamba nti “ekiro kinaatera okuggwaako; obudde bunaatera okukya,” Pawulo yagamba nti: “Mumanyi ekiseera kye mulimu, nti essaawa etuuse mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga mu kiseera we twafuukira abakkiriza.” (Bar. 13:11, 12) Ensi ya Katonda empya enaatera okutuuka, era obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne bwe tulowooza. Tetusaanidde kwebaka mu by’omwoyo, era tetusaanidde kukkiriza bintu ebiri mu nsi kutulemesa kufuna biseera kusaba Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, ka ‘tubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.’ Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kusobola okuba ‘n’empisa entukuvu era tujja kusobola okukola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda’ nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa. (2 Peet. 3:11, 12) Engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe ejja kulaga nti tutunula mu by’omwoyo era nti tukkiriza nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eri kumpi. N’olwekyo, ka ‘tusabenga bulijjo.’ (1 Bas. 5:17) Era ka tukoppe Yesu nga tufunayo ekiseera okusaba Katonda nga tuli ffekka. Bwe tufuna ebiseera ebimala okusaba Katonda, enkolagana yaffe naye ejja kweyongera okunywera. (Yak. 4:7, 8) Ng’eyo nkizo ya maanyi!
18 Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Kristo bwe yali ku nsi yakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka era n’akulukusa amaziga nga yeegayirira era ng’asaba Oyo eyali ayinza okumulokola mu kufa, era yawulirwa olw’okuba yali atya Katonda.” (Beb. 5:7) Yesu yeegayiriranga Katonda era n’asigala nga mwesigwa gy’ali okutuukira ddala okufa. N’ekyavaamu, Yakuwa yamuzuukiza n’amuwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa. Naffe tusobola okubeera abeesigwa eri Kitaffe ow’omu ggulu wadde nga twolekagana n’ebikemo n’ebizibu ebya buli ngeri. Mu butuufu, bwe tusigala nga tuli “bulindaala ku bikwata ku kusaba,” tujja kufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.