Abakazi—Musse mu Babbammwe Ekitiibwa
“Abakazi, muwulirenga babbammwe.”—ABAEFESO 5:22.
1. Lwaki tekitera kuba kyangu abakazi okussa ekitiibwa mu babbaabwe?
MU NSI nnyingi abantu bwe baba bafumbiriganwa, omugole omukazi alayira okussa ekitiibwa mu bbaawe. Kyokka, abakazi okutuukiriza ekirayiro ekyo kisinziira nnyo ku ngeri abasajja gye babayisaamu. Entandikwa y’obufumbo yo yali nnungi. Katonda yaggya olubiriizi mu Adamu, omusajja eyasooka, n’alukolamu omukazi. Adamu yayogera nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange.”—Olubereberye 2:19-23.
2. Engeri abakazi gye beeyisaamu ne gye batwalamu obufumbo ekyuse etya gye buvuddeko awo?
2 Wadde ng’entandikwa y’obufumbo yali nnungi, mu myaka gya 1960 mu Amerika waatandikibwawo ekibiina ekirwanirira abakazi obutafugibwa basajja. Mu kiseera ekyo abasajja abaalekawo amaka gaabwe baali 300 ng’omukazi eyakikola yali omu. Emyaka gya 1960 we gyaggwerako omuwendo gwalinnya okutuuka ku bakazi 3 ku buli basajja 300. Leero, abakazi bakozesa olulimi olubi, banywa omwenge ne sigala, era benda mu ngeri y’emu ng’abasajja. Tuyinza okugamba nti kati basanyufu okusingawo? Nedda. Mu nsi ezimu, kumpi kimu kya kubiri eky’abantu abafumbiriganwa bagattululwa oluvannyuma lw’ekiseera. Abakazi okugezaako okulongoosa embeera yaabwe mu bufumbo kirina kye kibayambye oba embeera yeeyongedde kwonooneka?—2 Timoseewo 3:1-5.
3. Kiki ddala ekivaako obuzibu obuli mu bufumbo?
3 Kiki ddala ekivaako obuzibu? Okutwalira awamu ekizibu kino kibaddewo okuva Kaawa lwe yasendebwasendebwa malayika omujeemu nga guno gwe ‘musota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani.’ (Okubikkulirwa 12:9; 1 Timoseewo 2:13, 14) Setaani atyobodde Katonda by’ayigiriza. Ng’ekyokulabirako, Omulyolyomi aleetedde abantu okutunuulira obufumbo ng’ekintu ekibamalako emirembe. Endowooza z’akubiriza ng’ayitira mu mikutu gy’eby’empuliziganya mu nsi gy’afuga zireetera amateeka ga Katonda okulabika ng’aganyigiriza era agaava edda ku mulembe. (2 Abakkolinso 4:3, 4) Naye singa twetegereza Katonda ky’ayogera ku kifo omukyala kyalina mu bufumbo, tujja kulaba nti amagezi agali mu Kigambo kya Katonda malungi.
Okulabula eri Abo Abaagala Okufumbirwa
4, 5. (a) Lwaki omukazi alina okwegendereza bw’aba alowooza ku kufumbirwa? (b) Omukazi asaanidde kusooka kukola ki nga tannabaako gw’akkiriza kufumbirwa?
4 Baibuli erabula nti mu nsi eno efugibwa Omulyolyomi, n’abo abali mu bufumbo obulungi bajja ‘kubonaabona.’ N’olwekyo, wadde ng’obufumbo bwatandikibwawo Katonda, Baibuli erabula abo ababa baagala okubuyingira. Omuwandiisi wa Baibuli omu yayogera bw’ati ku mukazi aba afiiriddwa bbaawe bwe kityo nga wa ddembe okuddamu okufumbirwa: “Aba musanyufu okusigala nga bw’ali.” Ne Yesu yalaga nti kyandibadde kirungi omuntu okusigala ng’ali bwa nnamunigina bw’aba ‘ayinza okukikkiriza.’ Kyokka, omuntu bw’asalawo okuyingira obufumbo, alina kuwasa oba kufumbirwa “mu Mukama waffe,” kwe kugamba, omuweereza wa Katonda omubatize.—1 Abakkolinso 7:28, 36-40; Matayo 19:10-12.
5 Ensonga lwaki naddala omukazi alina okufaayo ennyo okwetegereza gw’agenda okufumbirwa kwe kuba nti Baibuli erabula: “Omukazi afugibwa bba.” Okuggyako nga bba afudde, oba nga ayenze ne bagattululwa, lw’asobola ‘okusumululwa mu mateeka ga bba.’ (Abaruumi 7:2, 3) Okuba nti omuntu akusikirizza ku mulundi gw’osoose okumulaba ku bwakyo tekitegeeza nti bwe muyingira obufumbo mujja kufuna essanyu. N’olwekyo, omukazi ayagala okufumbirwa yeetaaga okwebuuza nti, ‘Ndi mwetegefu okufugibwa omusajja ono?’ Omukazi asaanidde okulowooza ku kibuuzo kino nga tannafumbirwa so si ng’amaze okufumbirwa.
6. Abakazi abasinga obungi ba ddembe kwesalirawo ki, era lwaki kino kikulu nnyo?
6 Mu bitundu bingi leero, omukazi wa ddembe okukkiriza oba okugaana omuntu aba amusabye okumufumbirwa. Kyokka, bw’aba ayagala ennyo okufumbirwa kiyinza okumuzibuwalira okulonda omuntu omutuufu. Omuwandiisi omu yagamba nti: “Bwe tuba nga twagala nnyo ekintu, ka kibe kufumbirwa oba okulinnya olusozi oluwanvu ennyo, kiba kyangu okusalawo nga tetusoose kwetegereza bizingirwamu.” Singa omuntu alinnya olusozi oluwanvu ennyo ng’alina by’atasoose kwetegereza, kiyinza okumuviirako okufiirwa obulamu bwe. Mu ngeri y’emu, omuntu bw’atasooka kwetegereza oyo gw’ayagala okuwasa oba okufumbirwa, kiyinza okumuviiramu ebizibu eby’amaanyi.
7. Abo abanoonya ow’okufumbiriganwa naye baweereddwa magezi ki?
7 Omukazi asaanidde okufaayo okumanya ebizingirwa mu kuba wansi w’etteeka ly’omusajja aba amusabye okumufumbirwa. Omuwala omu Omuyindi yagamba nti: “Olw’okuba bazadde baffe batusinga obukulu n’amagezi, bo si kyangu kulimbibwa nga ffe. . . . Kyangu nze okusalawo obubi.” Abazadde n’abantu abalala basobola okuyamba abaana okusalawo obulungi. Omuwi w’amagezi omu yakubiriza abavubuka okugezaako okumanya bazadde b’omuntu gwe baba baagala okufumbiriganwa naye, era n’okulaba engeri gy’akolaganamu n’ab’ewaabwe.
Engeri Yesu gye Yalaga Obuwulize
8, 9. (a) Yesu yalaga atya obuwulize eri Katonda? (b) Miganyulo ki egiva mu kuba omuwulize?
8 Wadde nga kiyinza obutaba kyangu, okuba omuwulize abakazi bandikitutte nga kintu kya kitiibwa nga Yesu bwe yakola. Newakubadde ng’okugondera Katonda kyali kitwaliramu okubonaabona, nga mwe muli n’okufiira ku muti, yakikola n’essanyu. (Lukka 22:41-44; Abaebbulaniya 5:7, 8; 12:3) Abakazi basobola okukoppa Yesu kubanga Baibuli egamba nti: “Omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Kyokka, tekitegeeza nti abakazi bamala kufumbirwa ne balyoka batandika okugondera obukulembeze bw’abasajja.
9 Baibuli ennyonnyola nti abakazi, wadde nga si bafumbo, basaanidde okuba abawulize eri abasajja abatwala obukulembeze mu kibiina. (1 Timoseewo 2:12, 13; Abaebbulaniya 13:17) Bwe baba abawulirize, baba bateerawo bamalayika ekyokulabirako ekirungi eky’obuwulize. (1 Abakkolinso 11:8-10) Okugatta ku ekyo, abakazi abakulu abafumbo bwe bateekawo ekyokulabirako ekirungi era ne bawabula abakazi abato, baba babayigiriza “okugonderanga babbaabwe.”—Tito 2:3-5.
10. Yesu yateekawo atya ekyokulabirako eky’obuwulize?
10 Yesu yali amanyi emiganyulo egiri mu kuba omuwulize. Lumu, yawa omutume Peetero ssente agende mu b’obuyinza asasule omusolo gwabwe bombi. Oluvannyuma Peetero yawandiika nti: “Mugonderenga buli kiragiro ky’abantu ku bwa Mukama waffe.” (1 Peetero 2:13; Matayo 17:24-27) Ng’eyogera ku kyokulabirako ekyasingirayo ddala okulaga obuwulize bwa Yesu, Baibuli egamba nti: “Yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw’obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa.”—Abafiripi 2:5-8.
11. Lwaki Peetero yakubiriza abakazi okugondera babbaabwe ne bwe baba si bakkiriza?
11 Bwe yali akubiriza Abakristaayo okugondera ab’obuyinza mu nsi eno, ne bwe baba bakambwe, Peetero yagamba: “Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Oluvannyuma lw’okulaga engeri Yesu gye yabonaabonamu era n’agumiikiriza, Peetero yakubiriza abakazi abalina babbaabwe abatali bakkiriza nti: “Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya.”—1 Peetero 3:1, 2.
12. Birungi ki ebyava mu kuba nti Yesu yali muwulize?
12 Omuntu bw’asigala nga muwulize wadde nga asekererwa oba avumibwa, abalala bayinza okukitwala ng’eky’obunafu. Kyokka, Yesu bw’atyo si bwe yakitwala. Peetero yawandiika nti: “Bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga.” (1 Peetero 2:23) Abamu ku baaliwo nga Yesu abonyaabonyezebwa baatandika okumukkiririzaamu, nga mu bano mwe mwali omunyazi eyakomererwa naye, n’omuserikale eyaliwo nga bamukomerera. (Matayo 27:38-44, 54; Makko 15:39; Lukka 23:39-43) Mu ngeri y’emu, Peetero yakiraga nti abasajja abatali bakkiriza—wadde n’abo abayisa obubi bakazi baabwe—basobola okufuuka Abakristaayo oluvannyuma lw’okulaba empisa z’abakazi baabwe ennungi. Kino tukyerabiddeko ne mu biseera byaffe.
Engeri Abakazi gye Basobola Okuwangula Abasajja
13, 14. Obuwulize eri omusajja atali mukkiriza buvaamu birungi ki?
13 Abakazi abafuuse abakkiriza basobodde okuleetera babbaabwe okuyiga amazima olw’okweyisa nga Kristo. Ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwaliwo gye buvuddeko awo, omusajja omu nga ayogera ku mukazi we Omukristaayo yagamba nti: “Mukazi wange nnamuyisanga bubi, naye yanzisangamu nnyo ekitiibwa. Talina na lumu lwe yannyooma. Teyagezaako kunkakatikako nzikiriza ye. Yandabirira mu ngeri ey’okwagala. Bwe yabanga agenda mu nkuŋŋaana ennene, yamalanga kukola gya waka era ng’aleka emmere yange eyidde. Enneeyisa ye yansikiriza okuyiga Baibuli. Eno y’ensonga lwaki kati ndi Mujulirwa!” Yee ‘yafunibwa awatali kigambo’ olw’enneeyisa ya mukazi we.
14 Nga Peetero bwe yakiggumiza, engeri omukazi gye yeeyisaamu nkulu okusinga by’ayogera. Bwe kityo bwe kyali omukazi omu bwe yayiga amazima ga Baibuli era n’amalirira okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Lumu bbaawe yamuboggolera nti: “Agnes, ke kakutanda n’oyita mu luggi olwo n’ofuluma, todda wano!” Agnes yafuluma naye teyayitira “mu luggi olwo,” yayitira mu lulala. Ku lunaku olulala olw’enkuŋŋaana, omusajja yamutiisatiisa nti: “ W’onaddira tojja kunsangawo.” Mu butuufu teyadda waka okumala ennaku ssatu. Bwe yakomawo, n’obukkakkamu Agnes yamubuuza nti: “Nkutegekereyo eky’olya?” Agnes teyaddirira n’akatono mu buweereza bwe eri Yakuwa. Ekiseera bwe kyayitawo bbaawe yakkiriza okuyiga Baibuli n’abatizibwa era oluvannyuma yafuuka omukadde mu kibiina.
15. ‘Kweyonja’ kwa ngeri ki abakazi Abakristaayo kwe bakubirizibwa okussaako essira?
15 Omutume Peetero alina amagezi ge yawa, abakazi aboogeddwako waggulu ge baakolerako. Yabakubiriza obuteemalira ku ‘kweyonja okw’okulanga enviiri oba okwambala engoye.’ Yabagamba nti: “[Okweyonja kwammwe kube okw’]omuntu ow’omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.” Omuntu asobola okwoleka omwoyo guno singa ayogera n’eggonjebwa mu kifo ky’okukayuka oba okuwa ebiragiro. Omukazi Omukristaayo bw’akola bw’atyo aba alaga nti awa bbaawe ekitiibwa.—1 Peetero 3:3, 4.
Ebyokulabirako bye Basobola Okukoppa
16. Mu ngeri ki Saala gy’ali ekyokulabirako ekirungi eri abakazi Abakristaayo?
16 Peetero yawandiika: “Bwe batyo edda era n’abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini.” (1 Peetero 3:5) Abakazi ng’abo baakiraba nti okusanyusa Yakuwa nga bakolera ku ky’agamba kyandibasobozesezza okufuna essanyu era n’oluvannyuma obulamu obutaggwaawo. Peetero amenyayo Saala, muka Ibulayimu eyali alabika obulungi, n’agamba nti ‘yawuliranga Ibulayimu, ng’amuyita omwami.’ Katonda bwe yagamba bbaawe okuva mu nsi ye okugenda mu ndala, Saala yawagira bbaawe. Yeefiiriza embeera y’obulamu ennungi n’atuuka n’okussa obulamu bwe mu kabi. (Olubereberye 12:1, 10-13) Peetero yalaga nti Saala yali kyakulabirako kirungi, bwe yagamba: “Nammwe muli baana b’oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.”—1 Peetero 3:6.
17. Lwaki Peetero ayinza okuba nga yali ayogera ku Abbigayiri ng’ekyokulabirako eri abakazi Abakristaayo?
17 Abbigayiri naye yali mukazi eyali atya Katonda, era ayinza okuba yali omu ku bakazi abo ab’edda Peetero be yali ayogerako. ‘Yali mutegeevu,’ naye nga bbaawe Nabali “wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye.” Nabali bwe yagaana okuyamba Dawudi n’abasajja be, baasalawo okusaanyawo Nabali n’ab’omu maka ge bonna. Naye Abbigayiri alina kye yakolawo okusobola okuwonya ab’omu maka ge. Yassa eby’okulya ku ndogoyi n’agenda okusisinkana Dawudi n’abasajja be be yasanga mu kkubo nga bajja ewa Nabali. Bwe yalaba Dawudi, n’ava ku ndogoyi, n’afukamira mu maaso ge, era n’amwegayirira obutakola kintu kya bukambwe ng’ekyo. Dawudi yakwatibwako nnyo era n’agamba nti: “Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange: era gatenderezebwe n’amagezi go.”—1 Samwiri 25:2-33.
18. Singa abakazi abafumbo basendebwasendebwa, kyakulabirako ky’ani kye basobola okugoberera era lwaki?
18 Ekyokulabirako ekirala ekirungi eri abakazi kye ky’omuwala Omusulamu eyasigala nga mwesiga eri omusumba gwe yali asuubizza okufumbirwa. Okwagala kwe yalina gy’ali kwasigala nga kunywevu wadde kabaka omugagga yagezaako okumusendasenda. Olw’okwagala kwe yalina eri omulenzi omusumba yayogera bw’ati: “Nteeka ku mutima gwo ng’akabonero, ku mukono gwo ng’akabonero: kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi . . . Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, so n’ebitaba tebiyinza kukutta.” (Oluyimba 8:6, 7) Ka buli omu akkiriza okufumbirwa abe mumalirivu okusigala nga mwesigwa eri bbaawe era amusseemu nnyo ekitiibwa.
Okubuulirira Okulala Katonda kw’Awa Abakazi
19, 20. (a) Lwaki abakazi balina okuwulira babbaabwe? (b) Baani abateerawo abakazi ekyokulabirako ekirungi?
19 Nga tukomekkereza, ka twetegereze ensonga eyogerwako mu byawandiikibwa ebiriraanye ekyawandiikibwa kyaffe ekikulu mu kitundu kino: “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe.” (Abaefeso 5:22) Lwaki kyetaagisa abakazi okuba abawulize? Olunyiriri oluddako lugamba nti: “Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa, bw’ali omulokozi ow’omubiri yennyini.” N’olwekyo, abakazi bakubirizibwa nti: “Naye ng’ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.”—Abaefeso 5:23, 24, 33.
20 Okusobola okugondera ekiragiro kino, abakazi beetaaga okuyigira ku kyokulabirako ky’abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta. Soma 2 Abakkolinso 11:23-28 olabe engeri omutume Pawulo gye yagumiikirizaamu okusobola okusigala nga mwesigwa eri Yesu Kristo, Omukulembeze we. Okufaananako Pawulo, abakazi, n’abalala bonna mu kibiina beetaaga okusigala nga beesigwa eri Yesu. Abakazi kino bakiraga nga bagondera babbaabwe.
21. Kiki ekyandisikirizza abakazi okugondera babbaabwe?
21 Wadde nga abakazi bangi leero tebaagala kugondera babbaabwe, omukazi ow’amagezi afaayo okulaba obulungi obukirimu. Ng’ekyokulabirako, singa aba alina omusajja atali mukkiriza, bw’amugondera mu byonna ebitamenya mateeka oba emisingi gya Katonda kiyinza okumuyamba ‘okulokola bbaawe.’ (1 Abakkolinso 7:13, 16) Ate era, aba mukakafu nti Yakuwa Katonda asiima engeri gye yeeyisaamu era nti ajja kumuwa empeera olw’okukoppa ekyokulabirako ky’Omwana we omwagalwa.
Ojjukira?
• Lwaki kiyinza obutaba kyangu omukazi okugondera bbaawe?
• Lwaki omukazi asaanidde okwegendereza nga tannakkiriza oyo aba ayagala okumuwasa?
• Yesu yateerawo atya abakazi ekyokulabirako, era birungi ki ebiyinza okuva mu kukoppa ekyokulabirako kye?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Lwaki omukazi asaanidde okwegendereza nga tannakkiriza oyo aba ayagala okumuwasa?