‘Okuzuukira okw’Olubereberye’—Kwatandika!
“Abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira.”—1 ABASESSALONIIKA 4:16.
1, 2. (a) Waliwo essuubi nti abafu baliddamu okuba abalamu nate? (b) Lwaki okkiriza nti wajja kubaawo okuzuukira? (Laba obugambo obuli wansi.)
“ABALAMU bamanyi nga balifa.” Kino kibadde bwe kityo okuva Adamu lwe yayonoona. Mu byafaayo byonna, buli muntu azaalibwa amanyi nti ekiseera kijja kutuuka afe, era bangi beebuuza nti: ‘Kiki ekiddirira? Abafu bali mu mbeera ki?’ Baibuli eddamu nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.”—Omubuulizi 9:5.
2 Kati lwo waliwo essuubi lyonna nti abafu baliba balamu nate? Yee, kubanga bwe kitaba bwe kityo ekigendererwa kya Katonda ekyasooka eri olulyo lw’omuntu tekisobola kutuukirira. Okumala ebyasa bingi, abaweereza ba Katonda abeesigwa babadde bakkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa nti waliwo Ezzadde erijja okuzikiriza Setaani, liggyewo n’emitawaana gyonna gye yaleetawo. (Olubereberye 3:15) Abasinga obungi bafudde. Bwe baba nga banaalaba okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa ekyo era n’ebirala bingi, balina okuzuukizibwa. (Abaebbulaniya 11:13) Naye ddala kino kisoboka? Yee, kisoboka. Jjukira omutume Pawulo yagamba nti: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Lumu Pawulo yazuukiza omulenzi ayitibwa Yutuko, eyagwa okuva ku kalina ey’okusatu ne ‘bamuggyawo ng’afudde.’ Ono ye muntu asembayo ku abo omwenda abaazuukizibwa Baibuli b’etubuulirako.—Ebikolwa 20:7-12.a
3. Kubudaabuda ki ggwe kw’ofuna mu bigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:28, 29, era lwaki?
3 Okuzuukizibwa kw’abantu abo omwenda kutuwa essuubi nti ebigambo bya Pawulo bijja kutuukirira. Kunyweza obwesige bwaffe mu bigambo bya Yesu nti: ‘Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lya Yesu ne bavaamu.’ (Yokaana 5:28, 29) Ng’ebigambo ebyo bibuguumiriza nnyo! Nga bizzaamu nnyo amaanyi obukadde n’obukadde bw’abantu abaafiirwako abaagalwa baabwe!
4, 5. Kuzuukira kwa mirundi emeka Baibuli kw’eyogerako, era kuluwa kwe tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
4 Abasinga obungi abalizuukizibwa bajja kubeera wano ku nsi ng’emaze okulongoosebwa Obwakabaka bwa Katonda. (Zabbuli 37:10, 11, 29; Isaaya 11:6-9; 35:5, 6; 65:21-23) Naye waliwo okuzuukira okulala okwali kulina okusooka okubaawo. Okusookera ddala, Yesu Kristo yali alina okuzuukizibwa asobole okutuweerayo omuwendo gwa ssaddaaka ye eri Katonda. Yesu yafa era n’azuukizibwa mu 33 C.E.
5 Awo ate, abaafukibwako amafuta, “Isiraeri wa Katonda,” balina okwegatta ku Yesu Kristo mu kitiibwa kye mu ggulu, gye bajja ‘okubeera ne Mukama waffe ennaku zonna.’ (Abaggalatiya 6:16; 1 Abasessaloniika 4:17) Okwo kwe “kuzuukira okw’olubereberye.” (Okubikkulirwa 20:6) Kuno bwe kunaggwa, olwo ekiseera kijja kuba kituuse obukadde n’obukadde bw’abantu abalala nabo bazuukizibwe ku nsi okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda. N’olwekyo, essuubi lyaffe ka libe lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, tuganyulwa nnyo bwe tutegeera ebikwata ku “kuzuukira okw’olubereberye.” Kuno kwo kwa ngeri ki, era kulibaawo ddi?
“Mubiri Ki?”
6, 7. (a) Abakristaayo abaafukibwako amafuta okusobola okugenda mu ggulu, kiki ekirina okubaawo? (b) Bajja kuzuukizibwa na mubiri gwa ngeri ki?
6 Mu bbaluwa ye esooka eri Abakkolinso, Pawulo yabuuza nti: “Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo?” Ekibuuzo ekyo yakiddamu ng’agamba nti: “Gy’osiga teba nnamu wabula ng’efa . . . naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka . . . ekitiibwa eky’egy’omu ggulu kirala, n’eky’egy’omu nsi kirala.”—1 Abakkolinso 15:35-40.
7 Pawulo akiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta balina okufa balyoke bafune empeera yaabwe ey’omu ggulu. Bwe bafa, emibiri gyabwe gidda mu nfuufu. (Olubereberye 3:19) Mu kiseera kya Katonda ekigere, bazuukizibwa nga balina ekika ky’omubiri ekirala ekisobola okutuukana obulungi n’obulamu obw’omu ggulu. (1 Yokaana 3:2) Era Katonda abawa obulamu obutasobola kuzikirizibwa. Pawulo agamba nti omubiri “ogufa [kigugwanira] okwambala obutafa.” Obulamu obutasobola kuzikirizibwa kirabo ekiva ewa Katonda ekijja ‘okwambalwa’ abo abalina omugabo mu kuzuukira okw’olubereberye.—1 Abakkolinso 15:50, 53; Olubereberye 2:7; 2 Abakkolinso 5:1, 2, 8.
8. Tukimanya tutya nti abantu abo 144,000 Katonda tabalonda kuva mu madiini ag’enjawulo?
8 Abantu 144,000 be bokka abalina omugabo mu kuzuukira okw’olubereberye. Yakuwa yatandika okubalonda ku Pentekoote 33 C.E., ekiseera kitono ng’amaze okuzuukiza Yesu. Bonna “balina erinnya [lya Yesu] n’erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa mu byenyi byabwe.” (Okubikkulirwa 14:1, 3) N’olwekyo, tebalondebwa kuva mu madiini ga njawulo. Bonna Bakristaayo, era beenyumiriza mu kubeera n’erinnya lya Kitaffe—Yakuwa. Bwe bazuukizibwa, baweebwa omulimu mu ggulu. Essuubi ery’okuweereza Katonda mu ggulu mazima ddala libawa essanyu lingi.
Kwatandika?
9. Okubikkulirwa 12:7 ne 17:14 zituyamba zitya okulaba ekiseera okuzuukira okw’olubereberye we kutandikira?
9 Okuzuukira okw’olubereberye kutandika ddi? Waliwo obukakafu obw’amaanyi nti kwatandika. Ng’ekyokulabirako, geraageranya essuula bbiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Okusooka, weetegereze Okubikkulirwa essuula 12. Mu ssuula eyo, tusoma nti Yesu Kristo bw’aba yaakatuuzibwa ku ntebe ey’obwakabaka, ye ne bamalayika be abatukuvu, balwanyisa Setaani ne badayimooni. (Okubikkulirwa 12:7-9) Nga magazini eno bw’ekiraze emirundi mingi, olutalo olwo lwaliwo mu 1914.b Naye weetegereze nti tewali n’omu ku bagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta agambibwa okuba naye mu lutalo olwo olw’omu ggulu. Kati ate genda mu ssuula 17. Mu ssuula eyo tusoma nti oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa “Babulooni [E]kinene,” Omwana gw’Endiga ajja kuwangula amawanga. Ate era wagamba nti: “Era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa [bajja kuwangula].” (Okubikkulirwa 17:5, 14) Abo ‘abayitibwa, abalonde era abeesigwa’ balina okuba nga baazuukizibwa okusobola okuba awamu ne Yesu ng’azikiriza ensi ya Setaani. N’olwekyo, abaafukibwako amafuta abafa nga Kalumagedoni tannatuuka, bazuukizibwa wakati wa 1914 ne Kalumagedoni.
10, 11. (a) Abakadde 24 be baani, era kiki omu ku bo ky’annyonnyola Yokaana? (b) Kino kitulaga ki?
10 Tuyinza okutegeera ekiseera kyennyini okuzuukira kuno okw’olubereberye lwe kutandika? Mu Okubikkulirwa 7:9-15, omutume Yokaana w’ayogerera ku kwolesebwa kwe yafuna okukwata ku ‘kibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala,’ wasobola okutuyamba okufuna eky’okuddamu. Omu ku bakadde 24, era nga bano be bakiikirira abantu 144,000 abasikira awamu ne Kristo mu ggulu, yannyonnyola Yokaana ebikwata ku kibiina ekinene.c (Lukka 22:28-30; Okubikkulirwa 4:4) Yokaana naye yalina essuubi ery’okugenda mu ggulu; naye olw’okuba yali akyali ku nsi mu kiseera ekyo omukadde we yayogera naye, mu kwolesebwa okwo Yokaana aba akiikirira abaafukibwako amafuta abali ku nsi abatannafuna mpeera yaabwe ey’omu ggulu.
11 Eky’okuba nti omu ku bakadde 24 ye yannyonnyola Yokaana ebikwata ku kibiina ekinene kitulaga ki? Kirabika nti abo abamaze okuzuukizibwa ku b’ekibiina ekyo eky’abakadde 24 bayinza okuba nga benyigira mu kubunyisa amazima agakwata ku Katonda leero. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga mu 1935 abaafukibwako amafuta abali ku nsi baategeerera ddala obulungi ebikwata ku kibiina ekinene. Bwe kiba nti omu ku bakadde 24 ye yakozesebwa okunnyonnyola ensonga eno, kitegeeza nti yali azuukiziddwa mu ggulu ng’omwaka 1935 tegunnatuuka. Ekyo kiba kiraga nti okuzuukira okw’olubereberye kwatandika wakati wa 1914 ne 1935. Naye tuyinza okumanyira ddala ekiseera kyennyini?
12. Nnyonnyola lwaki okuzuukira okw’olubereberye kuyinza okuba kwatandika mu 1918.
12 We tutuuse kiyinza okuba eky’omugaso okwekenneenya ekintu ekirala mu Baibuli ekifaananako na kino. Yesu Kristo yafukibwako amafuta mu 29 C.E., ng’oyo ajja okubeera Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Mu 33 C.E., nga wayiseewo emyaka esatu n’ekitundu, yazuukizibwa ng’omuntu ow’omwoyo. Kati olwo kiba kituufu okugamba nti olw’okuba Yesu yatuuzibwa ku ntebe ey’obwakabaka mu 1914, okuzuukira kw’abagoberezi be abaafukibwako amafuta kwatandika mu 1918, nga wayiseewo emyaka esatu n’ekitundu? Ekyo kiyinza okuba ekituufu. Wadde nga kino Baibuli terina wonna w’ekyogererako butereevu, kiba kikwatagana n’ebyawandiikibwa ebirala ebiraga nti okuzuukira okw’olubereberye kwatandika nga Kristo amaze kufuuka kabaka.
13. Mu ngeri ki 1 Abasessaloniika 4:15-17 gye walaga nti okuzuukira okw’olubereberye kwatandika ng’obufuzi bwa Kristo bwakatandika?
13 Ng’ekyokulabirako Pawulo yawandiika: “Ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja [“okubeerawo,” NW] kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’okwogerera waggulu n’eddoboozi lya malayika omukulu n’ekkondeere lya Katonda: n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.” (1 Abasessaloniika 4:15-17) N’olwekyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaafa nga Kristo tannatuuzibwa ku ntebe baazuukizibwa ne batwalibwa mu ggulu era mu ngeri eyo ne basookayo bannaabwe abaasangibwa nga bakyali balamu. Kino kitegeeza nti okuzuukira okw’olubereberye kuteekwa okuba kwatandika ng’obufuzi bwa Kristo bwakatandika era era nga kukyagenda mu maaso ‘mu kiseera kino eky’okubeerawo kwe.’ (1 Abakkolinso 15:23, NW) Abalina omugabo mu kuzuukira okw’olubereberye bonna tebazuukizibwa mulundi gumu, wabula okuzuukira kwabwe kubaawo okumala ekiseera.
‘Buli Omu Yaweebwa Ekyambalo Ekyeru’
14. (a) Okwolesebwa okuli mu Okubikkulirwa essuula 6 kutuukirizibwa ddi? (b) Kiki ekyogerwako mu Okubikkulirwa 6:9?
14 Ate era weetegereze ebiri mu Okubikkulirwa essuula 6. Mu ssuula eno Yesu, alabibwa nga kabaka eyeebagadde embalaasi ng’agenda awangula abalabe be. (Okubikkulirwa 6:2) Amawanga geenyigira mu ntalo ez’amaanyi. (Okubikkulirwa 6:4) Enjala eri buli wamu. (Okubikkulirwa 6:5, 6) Endwadde ez’amaanyi zisaanyawo obulamu bw’abantu. (Okubikkulirwa 6:8) Obunnabbi buno bwonna bukwatagana bulungi n’ebyo ebibaddewo ku nsi okuviira ddala mu 1914. Naye waliwo n’ekirala ekibaddewo. Kino kyogerwako mu lunyiriri oluddirira olwogera ku kyoto ky’ebiweebwayo. Wansi waakyo eriyo “emyoyo [gy’abo] abattibwa olw’ekigambo kya Katonda n’olw’okutegeeza kwe baalina.” (Okubikkulirwa 6:9) Omusaayi gw’abaweereza ba Yesu abattibwa olw’obuvumu n’obunyiikivu bwabwe mu kuwa obujulirwa guli wansi w’ekyoto ekyo.—Eby’Abaleevi 17:11.
15, 16. Nnyonnyola ensonga lwaki Okubikkulirwa 6:10, 11 woogera ku kuzuukira okw’olubereberye.
15 Okufaananako omusaayi gwa Abeeri omutuukirivu, n’omusaayi gw’Abakristaayo abattibwa gukaabirira Katonda. (Olubereberye 4:10) “Boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow’amazima, obutasala musango n’obutawalana ggwanga olw’omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?” Kiki ekiddirira? “Baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.”—Okubikkulirwa 6:10, 11.
16 Ebyambalo bino ebyeru byaweebwa bitaba bya musaayi ebyali wansi w’ekyoto? Kya lwatu nedda! Byaweebwa bantu abo abaali battiddwa era omusaayi gwabwe ne guba ng’ogwali guweereddwayo ku kyoto. Baafiirwa obulamu bwabwe olw’erinnya lya Yesu era baazuukizibwa ng’ebitonde eby’omwoyo. Ekyo tukimanyira ku ki? Mu ssuula ezisooka ez’ekitabo ky’Okubikkulirwa tusoma nti: “Awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n’akatono linnya lye mu kitabo ky’obulamu.” Ate era, jjukira nti abakadde 24 baali “bambadde engoye enjeru, ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu.” (Okubikkulirwa 3:5; 4:4) N’olwekyo, oluvannyuma lw’entalo, enjala, ne kawumpuli okutandika okubuna mu nsi yonna, abo 144,000, abaali baafa edda, abakiikirirwa omusaayi oguli wansi w’ekyoto, baazuukizibwa okugenda mu ggulu era ne bambazibwa engoye enjeru ez’akabonero.
17. Mu ngeri ki abo abaweebwa ebyambalo ebyeru gye ‘bawummula’?
17 Abaakazuukizibwa bano balina “okuwummula.” Balina okugumiikiriza okutuusa olunaku Katonda lw’alizikiriza abalabe be. “Baddu bannaabwe,” Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi, bakyalina okulaga obwesige nga bagezesebwa. Okuzikiriza abalabe ba Katonda bwe kulituuka, ekiseera ‘eky’okuwummula’ lwe kijja okuggwako. (Okubikkulirwa 7:3) Mu kiseera ekyo, abo abaazuukizibwa bajja kwegatta ku Yesu Kristo mu kuzikiriza ababi nga mw’otwalidde n’abo abaayiwa omusaayi gw’Abakristaayo ogutaliiko musango.—2 Abasessaloniika 1:7-10.
Kye Tuyigamu
18, 19. (a) Lwaki oyinza okugamba nti okuzuukira okw’olubereberye kugenda mu maaso kati? (b) Owulira otya oluvannyuma lw’okutegeera ebikwata ku kuzuukira okw’olubereberye?
18 Ekigambo kya Katonda tekiraga lunaku lwennyini okuzuukira okw’olubereberye lwe kutandika, naye kitulaga nti kubaawo ng’obufuzi bwa Kristo butandise era kutwala akabanga. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaafa ng’obufuzi bwa Kristo tebunnatandika be basooka okuzuukizibwa. Mu kiseera ekyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abafa nga beesigwa bazuukizibwa mangu ddala nga baakafa ne bafuuka ebitonde by’omwoyo eby’amaanyi. (1 Abakkolinso 15:52) Bonna abaafukibwako amafuta banaafuna empeera yaabwe ey’omu ggulu ng’olutalo lwa Kalumagedoni terunnabaawo? Tetumanyi. Kyokka tumanyi nti mu kiseera kya Katonda ekigereke 144,000 bonna bajja kuba nga bayimiridde ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu.
19 Ate era tumanyi nti abasinga obungi ku 144,000 beegatta dda ku Kristo. Batono nnyo abakyali ku nsi. Nga buno bukakafu bwa maanyi obulaga nti Katonda anaatera okuzikiriza enteekateeka ya Setaani yonna. Setaani ajja kusuulibwa mu bunnya. Oluvannyuma lw’ekyo, okuzuukira kw’abalala kujja kutandika, era abantu abeesigwa abakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu bajja kusobola okufuna obulamu obutuukiridde nga Adamu bwe yalina. Obunnabbi bwa Yakuwa obuli mu Olubereberye 3:15 bugenda kutuukirizibwa mu ngeri ey’ekitalo. Nga nkizo ya maanyi nnyo okuba abalamu mu biseera bino!
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya abalala omunaana, laba 1 Bassekabaka 17:21-23; 2 Bassekabaka 4:32-37; 13:21; Makko 5:35, 41-43; Lukka 7:11-17; 24:34; Yokaana 11:43-45; Ebikolwa 9:36-42.
b Okufuna ebyawandiikibwa ebikakasa nti okubeerawo kwa Kristo kwatandika mu 1914, laba akatabo Ddala Kiki Baibuli Ky’Eyigiriza? olupapula 215-18, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
c Okusobola okutegeera nti abakadde 24 bakiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta nga bali mu bifo byabwe eby’omu ggulu, laba ekitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand! olupapula 77, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
Ebyawandiikibwa bino wammanga bituyamba bitya okumanya ekiseera ‘okuzuukira okw’olubereberye’ we kubeererawo?
• 1 Abakkolinso 15:23; 1 Abasessaloniika 4:15-17
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Kuzuukira ki okubaawo ng’okuzuukira kw’abantu bonna tekunnabaawo?