2 Bassekabaka
4 Awo omu ku bakyala b’abaana ba bannabbi+ n’agamba Erisa nti: “Omuweereza wo, baze, yafa, era okimanyi bulungi nti omuweereza wo oyo yali atya Yakuwa.+ Naye kaakano abanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be.” 2 Awo Erisa n’amugamba nti: “Kiki kye mba nkukolera? Mbuulira, olina ki mu nnyumba?” Omukazi n’amuddamu nti: “Omuzaana wo talina kintu kyonna mu nnyumba okuggyako ensumbi y’amafuta g’ezzeyituuni.”+ 3 Erisa n’amugamba nti: “Genda osabe baliraanwa bo bonna bakuwe ensumbi. Funa nnyingi nga bw’osobola. 4 Bw’omala yingira mu nnyumba yo weggaliremu ne batabani bo, ottululire amafuta g’ezzeyituuni mu nsumbi ezo zonna, era ezijjudde oziteeke ebbali.” 5 Awo omukazi n’ava awali Erisa.
Bwe yeggalira mu nnyumba ne batabani be, batabani be ne bamuweereza ensumbi, n’agattulula.+ 6 Ensumbi bwe zajjula, n’agamba omu ku batabani be nti: “Ndeetera ensumbi endala.”+ Naye n’amuddamu nti: “Tewali nsumbi ndala.” Awo amafuta ne galekera awo.+ 7 Omukazi n’agenda n’abuulira omusajja wa Katonda ow’amazima, omusajja wa Katonda n’amugamba nti: “Genda otunde amafuta ago osasule amabanja go, era ssente ezinaafikkawo zikuyimirizeewo ggwe ne batabani bo.”
8 Lwali lumu, Erisa n’agenda e Sunemu.+ Eyo waaliyo omukazi ow’ekitiibwa eyamwegayirira okulya ku mmere ewuwe.+ Buli Erisa lwe yayitangawo, ng’akyama ew’omukazi oyo okulya ku mmere. 9 Awo n’agamba bba nti: “Nkimanyi nti omusajja atera okuyita wano musajja wa Katonda era mutukuvu. 10 Ka tuzimbe akasenge waggulu ku nnyumba+ tumuteeremu ekitanda, emmeeza, entebe, n’ekikondo ky’ettaala; buli lw’anajjanga wano ng’asula omwo.”+
11 Lwali lumu, Erisa n’ajja nga bwe yakolanga n’ayingira mu kasenge akaali waggulu ku nnyumba agalamireko omwo. 12 N’agamba Gekazi+ omuweereza we nti: “Mpitira omukazi oyo Omusunamu.”+ Awo n’amuyita n’agenda n’ayimirira mu maaso ge. 13 Erisa n’agamba Gekazi nti: “Gamba omukazi oyo nti, ‘Oteganye nnyo okutulabirira.+ Kiki kye wandyagadde nkukolere?+ Olina ky’oyagala nkwogerereyo eri kabaka+ oba omukulu w’eggye?’” Omukazi n’addamu nti: “Nedda, sirina buzibu bwonna, kubanga ndi mu bantu bange.” 14 Erisa n’agamba nti: “Kati kiki kye tuba tumukolera?” Gekazi n’addamu nti: “Talina mwana wa bulenzi,+ ate nga bba akaddiye.” 15 Amangu ago Erisa n’agamba nti: “Muyite.” N’amuyita, omukazi n’agenda n’ayimirira ku mulyango. 16 Erisa n’amugamba nti: “Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, ojja kuba olera omwana ow’obulenzi.”+ Naye omukazi n’agamba nti: “Mukama wange, oli musajja wa Katonda ow’amazima! Tolimba muweereza wo.”
17 Kyokka omukazi yafuna olubuto, era mu kiseera ekyo omwaka ogwaddirira yazaala omwana ow’obulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye. 18 Omwana yakula, era lumu yagenda eri kitaawe eyali n’abakunguzi, 19 n’amukaabirira nti: “Omutwe gunnuma! Omutwe gunnuma!” Kitaawe n’agamba omuweereza we nti: “Musitule omutwalire nnyina.” 20 N’amusitula n’amutwalira nnyina. Omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa mu ttuntu, oluvannyuma n’afa.+ 21 Nnyina n’ayambuka n’amugalamiza ku kitanda ky’omusajja wa Katonda ow’amazima,+ n’aggalawo ekisenge n’afuluma. 22 N’ayita bba n’amugamba nti: “Nkusaba ompeereze omu ku baweereza, n’emu ku ndogoyi, ŋŋende bunnambiro ew’omusajja wa Katonda ow’amazima, nkomewo.” 23 Naye bba n’amugamba nti: “Lwaki ogenda okumulaba leero ng’ate si kuboneka kwa mwezi+ era nga si ssabbiiti?” Kyokka omukazi n’amuddamu nti: “Teweeraliikirira, buli kimu kiri bulungi.” 24 Awo n’assa amatandiiko ku ndogoyi n’agamba omuweereza we nti: “Yanguwa. Tokendeeza ku sipiidi okuggyako nga nkugambye.”
25 Bw’atyo n’agenda n’atuuka ew’omusajja wa Katonda ow’amazima ku Lusozi Kalumeeri. Omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yamulengera ng’akyali wala, n’agamba Gekazi omuweereza we nti: “Laba! Omukazi Omusunamu wuuli ajja. 26 Dduka omusisinkane, omubuuze nti: ‘Oli bulungi? Balo ali bulungi? Omwana ali bulungi?’” Omukazi n’addamu nti: “Buli kimu kiri bulungi.” 27 Bwe yatuuka awaali omusajja wa Katonda ow’amazima ku lusozi, n’amukwata ebigere. Awo Gekazi n’asembera okumusikawo,+ naye omusajja wa Katonda ow’amazima n’amugamba nti: “Muleke, kubanga alina ennaku nnyingi, era Yakuwa akinkisizza n’atambuulira.” 28 Awo omukazi n’agamba nti: “Mukama wange, nnakusabako ompe omwana ow’obulenzi? Saakugamba nti, ‘Tonsuubiza bya bulimba’?”+
29 Amangu ago Erisa n’agamba Gekazi nti: “Fungiza engoye ozisibire mu kiwato,+ okwate omuggo gwange ogende. Bw’osanga omuntu yenna mu kkubo, tomulamusa, era bwe wabaawo omuntu yenna akulamusa, tomuddamu. Bw’onootuuka, omuggo gwange oguteeke mu bwenyi bw’omwana.” 30 Naye nnyina w’omwana n’agamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka.”+ Awo Erisa n’asituka n’agenda naye. 31 Gekazi n’agenda n’abasookayo, n’assa omuggo mu bwenyi bw’omwana, naye ne wataba kanyego.+ Awo n’addayo okusisinkana Erisa n’amugamba nti: “Omwana tazuukuse.”
32 Erisa bwe yayingira mu nnyumba, n’alaba omwana eyali afudde ng’agalamiziddwa ku kitanda kye.+ 33 Awo n’ayingira ne yeggalirayo n’omulambo gw’omwana n’atandika okusaba Yakuwa.+ 34 N’agenda ku kitanda n’agalamira ku mwana, n’ateeka akamwa ke ku kamwa k’omwana, n’amaaso ge ku maaso g’omwana, n’ebibatu bye ku bibatu by’omwana. Yasigala agalamidde ku mwana okutuusa omubiri gw’omwana lwe gwatandika okubuguma.+ 35 Erisa n’atambula mu nnyumba ng’adda eno n’eri, oluvannyuma n’agenda ku kitanda n’addamu n’agalamira ku mwana. Omwana n’ayasimula emirundi musanvu, oluvannyuma n’azibula amaaso.+ 36 Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti: “Yita omukazi Omusunamu.” N’amuyita n’agenda eri Erisa. Erisa n’amugamba nti: “Situla omwana wo.”+ 37 Omukazi n’ayingira n’agwa ku bigere bye n’avunnama mu maaso ge, oluvannyuma n’asitula omwana we n’afuluma.
38 Erisa bwe yaddayo e Girugaali, yasanga waliyo enjala nnyingi mu kitundu.+ Abaana ba bannabbi+ baali batudde mu maaso ge, n’agamba omuweereza we+ nti: “Teekako entamu ennene ofumbire abaana ba bannabbi emmere.” 39 Awo omu ku bo n’agenda ku ttale okunoga enva, n’asanga ekiryo eky’omu nsiko, n’anogako ebibala, n’ajjuza olugoye lwe n’akomawo n’abisalaasala n’abiteeka mu ntamu naye nga tabimanyi. 40 Oluvannyuma baabigabula abantu, naye olwabiryako, ne baleekaana nti: “Omusajja wa Katonda ow’amazima, mu ntamu mulimu obutwa!” Ne balemererwa okubirya. 41 Awo n’agamba nti: “Muleeteeyo ku buwunga.” Bwe yamala okubuyiwa mu ntamu, n’agamba nti: “Mugabule abantu balye.” Mu ntamu temwali kintu kya bulabe kyonna.+
42 Awo omusajja omu n’ava e Bbaali-salisa,+ n’atwalira omusajja wa Katonda ow’amazima emigaati 20 egyali gikoleddwa mu bibala bya ssayiri+ ebibereberye, era n’atwala n’ensawo y’emmere ey’empeke.+ Awo Erisa n’agamba nti: “Mubiwe abantu balye.” 43 Naye omuweereza we n’agamba nti: “Bino nnaabigabula ntya abantu 100?”+ N’amuddamu nti: “Biwe abantu balye, kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Bajja kulya bifikkenawo.’”+ 44 Awo n’abiwa abantu ne balya, ne bifikkanawo,+ nga Yakuwa bwe yali agambye.