Okukubaganya Ebirowoozo—Abantu Bonna Abalungi Bagenda mu Ggulu?
ABAJULIRWA BA YAKUWA baagala nnyo okukubaganya n’abantu ebirowoozo ku Bayibuli. Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Bayibuli kye weebuuza? Waliwo ekintu kyonna ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye wandyagadde okumanya? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.
Ekitundu ekiddirira kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Mark azze mu maka g’omwami ayitibwa Robert.
Abagenda mu Ggulu Bagenda Kukolayo Ki?
Mark: Bw’olowooza ku biseera eby’omu maaso, olowooza embeera eneetereera, enneeyongera okwononeka, oba ejja kusigala nga bw’eri kati?
Robert: Nsuubira embeera ejja kutereera. Nneesunga okugenda mu ggulu mbeere eyo ne Mukama.
Mark: Weebale nnyo. Bayibuli eyogera nnyo ku bulamu obw’omu ggulu ne ku nkizo ey’okugendayo. Naye olowooza abagenda mu ggulu bagenda kukolayo ki?
Robert: Tujja kubeera wamu ne Katonda era tumutendereze emirembe gyonna.
Mark: Ekyo kirungi nnyo. Kyokka, Bayibuli tekoma ku kwogera ku nkizo abo abagenda mu ggulu ze banaafuna naye era eyogera ne ku mulimu gwe bajja okukola.
Robert: Mulimu ki ogwo?
Mark: Omulimu ogwo gwogerwako wano mu Okubikkulirwa 5:10. Wagamba nti: “N’obafuula [Yesu] obwakabaka era bakabona ba Katonda waffe, era bajja kufuga ensi nga bakabaka.” Robert, weetegerezza ekyo abagenda mu ggulu kye bagenda okukolayo?
Robert: Olunyiriri lugambye nti bajja kufuga ensi nga bakabaka.
Mark: Weebale nnyo.
Banaafuga Baani?
Mark: Okuva bwe kiri nti abo abagenda mu ggulu bajja kubeera bakabaka, wateekwa okubaawo abantu be banaafuga, si bwe kiri? Ggwe ate, gavumenti eba yaaki nga terina b’efuga?
Robert: Ky’ogamba nkiraba.
Mark: Kati ekibuuzo kye tuyinza okwebuuza, banaafuga baani?
Robert: Nze ndowooza tujja kufuga abantu abanaaba bakyali ku nsi.
Mark: Awo oba otegeeza nti abantu bonna abalungi ba kugenda mu ggulu. Naye waliwo ekintu ekirala kye tusaanidde okulowoozaako. Kyandiba nti abamu ku bantu abalungi tebajja kugenda mu ggulu?
Robert: Nze ssiwulirangako Mukristaayo n’omu akkiriza ekyo.
Mark: Nkubuuzizza ekibuuzo ekyo nga nsinziira ku ebyo ebiri mu Zabbuli 37:29. Nkusaba osome olunyiriri olwo.
Robert: Kale. Wagamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”
Mark: Weebale nnyo. Weetegerezza abantu bangi abalungi we banaabeera?
Robert: Olunyiriri luno lugambye nti bajja kubeera ku nsi.
Mark: Kyekyo kyennyini, ate era tebajja kugibeerako kaseera buseera. Olunyiriri lugambye nti: “Banaagibeerangamu emirembe gyonna.”
Robert: Kirabika olunyiriri luno lutegeeza nti ensi tejja kuggwamu bantu balungi. Bwe tufa ne tugenda mu ggulu, abantu abalala abalungi bazaalibwa ne badda mu kifo kyaffe.
Mark: Abantu bangi bayinza okulowooza bwe batyo. Naye kyandiba nti olunyiriri olwo lutegeeza kintu kirala nnyo? Kyandiba nti lutegeeza nti abantu abalungi be bajja okubeera ku nsi emirembe gyonna?
Robert: Siri mukakafu ku ekyo, naye oyinza okwongera okunnyonnyola.
Ensi Ejja Kuba Lusuku lwa Katonda
Mark: Weetegereze ekyo ekyawandiikibwa ekirala kye kyogera ku ngeri obulamu gye bulibeeramu ku nsi mu biseera eby’omu maaso. Ka tusome Okubikkulirwa 21:4. Nga lwogera ku bantu abalibeerawo mu kiseera ekyo, olunyiriri luno lugamba nti: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde kukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” Ekyo si kirungi nnyo?
Robert: Kirungi. Naye nze ndowooza olunyiriri luno lwogera ku bulamu obw’omu ggulu.
Mark: Kyo kituufu nti abo abagenda mu ggulu nabo bajja kufuna emikisa gye gimu. Naye ddamu weetegereze olunyiriri olwo. Lugambye kiki ekijja okutuuka ku kufa?
Robert: Lugambye nti “tewalibaawo kufa nate.”
Mark: Weebale nnyo. Nsuubira okkiriziganya nange nti bw’ogamba nti ekintu tekiribaawo nate, oba olaga nti weekiri.
Robert: Oli mutuufu.
Mark: Mu ggulu tewabangayo kufa. Okufa kuli wano ku nsi.
Robert: Hmm. Nja kwongera okukirowoozaako.
Mark: Robert, kyo kituufu Bayibuli eyigiriza nti abantu abamu abalungi bajja kugenda mu ggulu, naye era eyigiriza nti abasinga obungi bajja kubeera wano ku nsi emirembe gyonna. Era nsuubira wali owuliddeko ebigambo bino: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.”—Matayo 5:5, Bayibuli y’Oluganda eya 1968.
Robert: Yee, ntera okuwulira ng’olunyiriri olwo lusomebwa mu kkanisa.
Mark: Bwe kiba nti abateefu bajja kusikira ensi, tekitegeeza nti abantu bajja kubeera ku nsi? Abo abanaabeera ku nsi bajja kufuna emikisa gye tusomyeko mu Okubikkulirwa 21:4. Bajja kubeera mu nsi erongooseddwa kubanga Katonda ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi nga mw’otwalidde n’okufa.
Robert: Kirabika ŋŋenda nkutegeera, naye sikiwa nti ekyawandiikibwa ekimu kyokka oba ebibiri bisobola okukakasa ensonga eyo.
Mark: Ekyo kituufu. Mu butuufu, waliwo ebyawandiikibwa ebiwerako ebyogera ku ngeri obulamu gye bulibeeramu wano ku nsi mu biseera eby’omu maaso. Okyalinayo akadde nkulage ekimu ku byawandiikibwa ebyo?
Robert: Yee, nninayo obudakiika butonotono.
“Omubi Talibeerawo”
Mark: Twasomye Zabbuli 37:29. Ka tuddeyo mu zabbuli eyo. Ku luno, tujja kusoma olunyiriri 10 ne 11. Nkusaba osome ennyiriri ezo.
Robert: Kale ka nzisome. “Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi: era banaasanyukiranga emirembe emingi.”
Mark: Weebale nnyo. Olunyiriri 11 lugambye nti “abawombeefu,” oba abantu abalungi, banaabeera wa?
Robert: Lugambye nti “balisikira ensi.” Naye ndowooza olunyiriri luno lwogera ku kiseera kino kye tulimu; kubanga abantu abalungi weebali ku nsi.
Mark: Ekyo kituufu. Naye era olunyiriri lugambye nti abantu abalungi bajja kubeera mu ‘mirembe emingi.’ Leero waliwo emirembe egya nnamaddala ku nsi?
Robert: Nedda, tegiriiwo.
Mark: Kati olwo, ekisuubizo ekyo kinaatuukirizibwa kitya? Oba ka nkozese ekyokulabirako kino: Ka tugambe nti olina amayumba g’abapangisa. Abamu ku bapangisa bo beeyisa bulungi, balabirira amayumba ge basulamu era bayisa bulungi bapangisa bannaabwe. Kikusanyusa nnyo era oyagala beeyongere okupangisa amayumba go. Naye ate abalala babi; boonoona amayumba go era bayisa bubi bapangisa bannaabwe. Abapangisa abo ababi bwe batakyusa mpisa zaabwe, kiki ky’okola?
Robert: Mbagoba mu mayumba gange.
Mark: Ekyo kyennyini Katonda ky’agenda okukola abantu ababi abali mu nsi leero. Ddamu weetegereze olunyiriri 10. Lugamba nti: “Omubi talibeerawo.” Mu ngeri endala, Katonda ajja “kuzikiriza” abantu abayisa bannaabwe obubi, nga nnannyini mayumba bw’agoba abapangisa ababi mu mayumba ge. Oluvannyuma abantu abalungi bajja kunyumirwa obulamu ku nsi nga bali mu mirembe. Nkimanyi nti enjigiriza eno egamba nti abantu abalungi bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna ya njawulo ku ebyo bye wayigirizibwa.
Robert: Oli mutuufu, enjigiriza eno sigiwulirangako mu kkanisa gye nsabiramu.
Mark: Era nga bwe wagambye, tekimala kusoma kyawandiikibwa kimu kyokka oba bibiri ebyogera ku njigiriza eyo. Mu butuufu, kitwetaagisa okwekenneenya Bayibuli yonna tumanye ky’egamba ku biseera eby’omu maaso eby’abantu abalungi. Naye okusinziira ku byawandiikibwa bye tusomye leero, olowooza kiyinzika okuba nti abantu abamu abalungi bajja kugenda mu ggulu, ate abalala abalungi babeere wano ku nsi emirembe gyonna?
Robert: Siri mukakafu. Naye okusinziira ku byawandiikibwa by’osomye, kiyinza okuba ekituufu. Ka nneeyongere okukirowoozaako.
Mark: Nga bwe weeyongera okulowooza ku nsonga eyo, wayinza okubaawo ebibuuzo ebirala bye weebuuza. Ng’ekyokulabirako, ate abantu abalungi abaatusookawo? Bonna baagenda mu ggulu? Bwe kitaba bwe kityo, bali ludda wa kati?
Robert: Ebibuuzo ebyo birungi nnyo!
Mark: Oboolyawo nnyinza okukolera ebintu bibiri. Ekisooka, ka nkuwandiikire ebyawandiikibwa bitonotono ebiddamu ebibuuzo ebyo.a Eky’okubiri, nnandyagadde okukomawo tukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo ebyo nga naawe omaze okwesomera ebyawandiikibwa ebyo n’okubifumiitirizaako. Olaba otya?
Robert: Ekyo kirungi, nneesunga okuddamu okukulaba. Weebale nnyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Soma Yobu 14:13-15; Yokaana 3:13; ne Ebikolwa 2:34.