A5
Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani
Abeekenneenya Bayibuli bakikkiriza nti erinnya lya Katonda erikiikirirwa ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya (יהוה), lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka emirundi nga 7,000. Kyokka bangi balowooza nti erinnya eryo teryali mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyasooka. Eyo ye nsonga lwaki, mu Bayibuli nnyingi eziriwo ennaku zino erinnya Yakuwa terisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, abamu bye bayita Endagaano Empya. Ne bwe baba bavvuunula ennyiriri ezijuliza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya omuli erinnya lya Katonda, abavvuunuzi bangi bakozesa ekitiibwa “Mukama” mu kifo ky’okukozesa erinnya lya Katonda.
Abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya tebaagoberera nkola eyo. Mu nkyusa eno, erinnya Yakuwa lirimu emirundi 237 mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekyo kyakolebwa olw’ensonga zino enkulu ebbiri: (1) Ebiwandiiko eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebiriwo kati si bye byasookera ddala. Bingi ku biwandiiko ebiriwo leero, byakoppololwa nga waayiseewo ebyasa nga bibiri ng’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyasooka bimaze okuwandiikibwa. (2) Mu kiseera ebiwandiiko ebyo we byakoppololerwa, abo abaabikoppolola bayinza okuba nga awaali erinnya lya Katonda baateekawo ekigambo Kyʹri·os, ng’ekyo kye kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “Mukama,” oba bayinza okuba nga baakoppolola okuva mu biwandiiko omutaali linnya lya Katonda.
Abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya baakiraba nti waliwo obukakafu bwa maanyi obulaga nti erinnya lya Katonda lyali lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyasooka. Era baasalawo okuliteekamu nga basinziira ku nsonga zino wammanga:
Kopi ez’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ezaakozesebwanga mu kiseera kya Yesu ne mu kiseera ky’abatume zaalimu erinnya lya Katonda emirundi mingi. Edda, ekyo abantu abamu baakiwakanyanga. Naye kati okuva bwe kiri nti kopi ez’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ezaakozesebwanga mu kyasa ekyasooka zaazuulibwa okumpi ne Qumran, waliwo obukakafu bwa maanyi obulaga obutuufu bw’ensonga eyo.
Mu kiseera kya Yesu n’abatume, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyali bivvuunuddwa mu Luyonaani byalimu erinnya lya Katonda. Okumala ebyasa bingi, abeekenneenya ba Bayibuli baali balowooza nti erinnya lya Katonda teryali mu Septuagint, nga bino bye Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyali bivvuunuddwa mu Luyonaani. Kyokka mu kyasa ekya 20 ezimu ku Septuagint ezaakozesebwanga mu kiseera kya Yesu zaazuulibwa era abeekenneenya ba Bayibuli ne bazeetegereza. Mu Septuagint ezo mwalimu erinnya lya Katonda nga liwandiikiddwa mu nnukuta ez’Olwebbulaniya. N’olwekyo, mu kiseera kya Yesu, Ebyawandiikibwa ebyali mu Luyonaani byalimu erinnya lya Katonda. Kyokka ekyasa eky’okuna E.E. we kyatuukira, ebimu ku biwandiiko bya Septuagint ebyali bimanyiddwa ennyo, gamba nga Codex Vaticanus ne Codex Sinaiticus, tebyalimu linnya lya Katonda okuva ku Olubereberye okutuuka ku Malaki. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti ebiwandiiko ebyakoppololwa okuva mu kiseera ekyo tebiriimu linnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, abamu bye bayita Endagaano Empya.
Lumu Yesu yagamba nti: “Nzize mu linnya lya Kitange.” Era yagamba nti ebyo bye yakola yabikola mu ‘linnya lya Kitaawe’
Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani biraga nti Yesu yayogeranga ku linnya lya Katonda era yalibuuliranga abalala. (Yokaana 17:6, 11, 12, 26) Lumu Yesu yagamba nti: “Nzize mu linnya lya Kitange.” Era yagamba nti ebyo bye yakola yabikola mu ‘linnya lya Kitaawe.’—Yokaana 5:43; 10:25.
Okufaananako Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani nabyo byaluŋŋamizibwa Katonda, bwe kityo kiba tekikola makulu okuba nti byo tebiriimu linnya lya Katonda. Mu kyasa ekyasooka E.E., omuyigirizwa Yakobo yagamba abakadde ab’omu Yerusaalemi nti: “Simiyoni annyonnyodde bulungi engeri Katonda gye yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.” (Ebikolwa 15:14) Kyandibadde tekikola makulu Yakobo okwogera ebigambo ebyo singa abantu abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali tebamanyi linnya lya Katonda era nga tebalikozesa.
Erinnya lya Katonda lirabika mu bufunze mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Mu Okubikkulirwa 19:1, 3, 4, 6, erinnya lya Katonda lirabikira mu kigambo “Aleruuya.” Ekigambo ekyo kiva mu kigambo eky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Mutendereze Ya.” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako. Waliwo amannya mangi mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani agalina akakwate n’erinnya lya Katonda. Mu butuufu, waliwo ebitabo ebitali bimu ebiraga nti erinnya Yesu litegeeza “Yakuwa Bwe Bulokozi.”
Ebiwandiiko by’Abayudaaya eby’edda biraga nti Abakristaayo Abayudaaya baakozesanga erinnya lya Katonda mu biwandiiko byabwe. Ekiwandiiko ekiyitibwa Tosefta, ekirimu amateeka era ekyawandiikibwa awo nga mu 300 E.E., kyogera bwe kiti ku biwandiiko by’Abakristaayo ebyayokebwa ku Ssabbiiti: “Ebitabo by’Ababuulizi b’Enjiri n’ebitabo bya minim [abagambibwa okuba Abakristaayo Abayudaaya] tebabitaasa muliro. Naye babireka omuliro ne gubyokya, byo awamu n’erinnya lya Katonda eribirimu.” Era ekiwandiiko ekyo kiraga nti Labbi Yosé Omugaliraaya, eyaliwo ku ntandikwa y’ekyasa eky’okubiri E.E., yagamba nti mu nnaku endala eza wiiki, “omuntu abisalamu [ebiwandiiko by’Abakristaayo] erinnya lya Katonda, oluvannyuma ne byokebwa.”
Abeekenneenya Bayibuli abamu bagamba nti kirabika erinnya lya Katonda lyali lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyajulizibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekitabo ekiyitibwa The Anchor Bible Dictionary, wansi w’omutwe, “Erinnya lya Katonda mu Ndagaano Empya,” kigamba nti: “Waliwo obukakafu obulaga nti Erinnya lya Katonda, Yahweh, lyali mu nnyiriri ezimu oba zonna ez’Endagaano Enkadde ezaajulizibwa mu Ndagaano Empya.” Omwekenneenya ayitibwa George Howard agamba nti: “Okuva bwe kiri nti Erinnya lya Katonda lyali mu Bayibuli ey’Oluyonaani [Septuagint] eyakozesebwanga ekkanisa mu kyasa ekyasooka, kituukirawo okugamba nti abawandiisi b’Endagaano Empya bwe baabanga bajuliza okuva mu Byawandiikibwa tebaggyangamu linnya lya Katonda.”
Abavvuunuzi ba Bayibuli abeesigika baakozesa erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekyo abamu ku bavvuunuzi abo baakikola emyaka mingi emabega nga n’Enkyusa ey’Ensi Empya tennafulumizibwa. Ezimu ku nkyusa za Bayibuli ze bavvuunula ze zino: A Literal Translation of the New Testament . . . From the Text of the Vatican Manuscript, eya Herman Heinfetter (1863); The Emphatic Diaglott, eya Benjamin Wilson (1864); The Epistles of Paul in Modern English, eya George Barker Stevens (1898); St. Paul’s Epistle to the Romans, eya W. G. Rutherford (1900); The New Testament Letters, eya J.W.C. Wand, Bisopu ow’e London (1946). Okugatta ku ekyo, mu nkyusa ya Bayibuli ey’Olusipeyini eyafulumizibwa ku ntandikwa y’ekyasa 20, omuvvuunuzi waayo Pablo Besson yakozesa erinnya “Jehová” mu Lukka 2:15 ne mu Yuda 14, era mu obugambo obuli wansi nga 100 mu nzivuunula ye, yalaga ennyiriri endala oboolyawo azandibaddemu erinnya lya Katonda. Ebyasa bingi emabega nga n’enzivuunula ezo tezinnafulumizibwa, enkyusa ez’Olwebbulaniya ez’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ezaafulumizibwa okuva mu kyasa 16 n’okweyongerayo, zaakozesanga erinnya lya Katonda mu nnyiriri nnyingi. Mu Lugirimaani mwokka, enkyusa za Bayibuli ezisukka mu 11 zikozesa erinnya “Jehovah” (oba “Yahweh”) mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, so ng’ate enkyusa za Bayibuli endala nnya ziteeka erinnya eryo mu bukomera oluvannyuma lw’ekitiibwa “Mukama.” Enkyusa za Bayibuli ez’Olugirimaani ezisukka mu 70 zikozesa erinnya lya Katonda mu bugambo obwa wansi oba mu bigambo by’abavvuunuzi ebirala.
Waliwo enkyusa za Bayibuli eziri mu nnimi ezisukka mu kikumi ezirimu erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Mu nnimi nnyingi ezoogerwa mu Afirika, Amerika, Asiya, Bulaaya, ne ku bizinga bya Pacific erinnya lya Katonda liwandiikibwa mu ngeri ezitali zimu. (Laba olupapula 2062 ne 2063.) Abo abavvuunula enkyusa za Bayibuli ezo baasalawo okukozesa erinnya lya Katonda olw’ensonga ezifaananako ng’ezo eziragiddwa waggulu. Ezimu ku nzivuunula ezo ez’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani zaafulumizibwa emyaka mitono emabega, nga muno mwe muli Rotuman Bible eya 1999, ekozesa erinnya “Jihova” emirundi 51 mu nnyiriri 48, n’enkyusa ya Batak (Toba) eya 1989 mu Indonesia, ekozesa erinnya “Jahowa” emirundi 110.
Tewali kubuusabuusa nti erinnya lya Katonda, Yakuwa, lisaanidde okuzzibwa mu bifo mwe lirina okuba mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekyo kyennyini abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya kye baakola. Erinnya lya Katonda balissaamu nnyo ekitiibwa era beewalira ddala okuliggya mu bifo mwe lyali mu Byawandiikibwa ebyasooka.—Okubikkulirwa 22:18, 19.