Makko
12 Awo era n’atandika okwogera nabo ng’akozesa engero, n’agamba nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y’emizabbibu,+ n’agissaako olukomera, n’ateekamu essogolero ly’envinnyo,+ n’azimbamu omunaala; awo n’agipangisa abalimi, n’agenda mu nsi ey’ewala.+ 2 Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omuddu eri abalimi amuleetere ku bibala eby’omu nnimiro ye ey’emizabbibu. 3 Naye ne bamukwata ne bamukuba era ne bamugoba n’addayo ngalo nsa. 4 N’addamu n’abatumira omuddu omulala, era ono ne bamutema olubale era ne bamuswazaswaza.+ 5 N’abatumira n’omuddu omulala, ono ne bamutta. N’abatumira n’abalala bangi, era abamu ne babakuba, ate abalala ne babatta. 6 Yali akyalinayo omuntu omulala omu, ng’ono ye mwana we omwagalwa.+ Ono gwe yasembayo okubatumira ng’agamba nti, ‘Omwana wange bajja kumussaamu ekitiibwa.’ 7 Naye abalimi abo ne bagambagana nti, ‘Ono ye musika.+ Mujje tumutte, obusika bube bwaffe.’ 8 Ne bamukwata ne bamutta, ne bamusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu.+ 9 Kiki nnannyini nnimiro y’emizabbibu ky’anaakola? Ajja kujja atte abalimi abo, ennimiro agiwe abalala.+ 10 Temusomanga ku kyawandiikibwa kino ekigamba nti: ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.*+ 11 Kino Yakuwa* y’akikoze era kitwewuunyisa nnyo’?”+
12 Awo ne baagala okumukwata kubanga baakitegeera nti olugero lwe yali ageze lwali lukwata ku bo, naye ne batya ekibiina ky’abantu, ne bamuleka, ne bagenda.+
13 Ne bamutumira abamu ku Bafalisaayo n’abagoberezi ba Kerode, bamukwase mu by’ayogera.+ 14 Bwe baatuuka w’ali, ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era totwalirizibwa ndowooza ya muntu yenna, kubanga totunuulira ndabika ya kungulu, wabula oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima. Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda? 15 Tusasule, oba tetusasula?” Bwe yategeera obunnanfuusi bwabwe, n’abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere eddinaali.”* 16 Ne bagimuleetera. N’ababuuza nti: “Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” 17 Yesu n’abagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali,+ naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ Ne beewuunya olw’ebyo bye yayogera.
18 Awo Abasaddukaayo abagamba nti teri kuzuukira,+ ne bajja ne bamubuuza nti:+ 19 “Omuyigiriza, Musa yatugamba nti omusajja bw’afa n’aleka mukyala we, naye nga tazadde mwana, muganda we asaanidde okutwala omukyala oyo, azaalire muganda we abaana.+ 20 Waaliwo ab’oluganda musanvu. Ow’olubereberye yawasa, naye n’afa nga tazadde mwana. 21 Ow’okubiri n’atwala mukyala we, era naye n’afa nga tazadde mwana; n’ow’okusatu bw’atyo. 22 Bonna omusanvu tebaaleka baana. Oluvannyuma omukazi naye yafa. 23 Mu kuzuukira, aliba mukyala w’ani? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.” 24 Yesu n’abagamba nti “Mwabula, kubanga temumanyi Byawandiikibwa wadde amaanyi ga Katonda.+ 25 Kubanga abantu bwe balizuukira, tebaliwasa era tebalifumbirwa, naye baliba nga bamalayika mu ggulu.+ 26 Naye ku bikwata ku kuzuukizibwa kw’abafu, temusomangako mu kitabo kya Musa ng’ayogera ku byaliwo ku kisaka, Katonda bwe yamugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo’?+ 27 Si Katonda wa bafu naye wa balamu. Mwabula nnyo.”+
28 Awo omu ku bawandiisi eyali azze era eyali abawulidde nga bawakana, bwe yalaba ng’abazzeemu bulungi, n’amubuuza nti: “Tteeka ki erisinga obukulu mu gonna?”+ 29 Yesu n’addamu nti: “Erisinga obukulu lye lino, ‘Wulira ggwe Isirayiri, Yakuwa* Katonda waffe ye Yakuwa* omu, 30 era oyagalanga Yakuwa* Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’+ 31 Eriddako lye lino, ‘Oyagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.’+ Tewali tteeka lisinga gano bukulu.” 32 Omuwandiisi n’amugamba nti: “Omuyigiriza, oyogedde mazima, ‘Katonda ali Omu, era teri mulala okuggyako ye’;+ 33 era okumwagala n’omutima gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna era n’okwagala muliraanwa* wo nga bwe weeyagala, kisinga ebiweebwayo byonna ebyokebwa ne ssaddaaka.”+ 34 Yesu bwe yalaba ng’omuwandiisi azzeemu mu ngeri ey’amagezi, n’amugamba nti: “Toli wala n’Obwakabaka bwa Katonda.” Naye tewaali muntu yenna eyafuna obuvumu okubaako ekirala ky’amubuuza.+
35 Kyokka Yesu bwe yali ayigiriza mu yeekaalu yababuuza nti: “Lwaki abawandiisi bagamba nti Kristo mwana wa Dawudi?+ 36 Dawudi kennyini yaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu+ n’agamba nti, ‘Yakuwa* yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo.”’+ 37 Dawudi kennyini amuyita Mukama we, kati olwo ayinza atya okuba omwana we?”+
Ekibiina ky’abantu kyali kinyumirwa by’ayogera. 38 Era bwe yali ayigiriza n’agamba nti: “Mwegendereze abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde amaganduula, era abaagala okulamusibwa mu butale+ 39 n’okutuula mu bifo eby’omu maaso* mu makuŋŋaaniro era ne mu bifo ebisingayo okuba eby’ekitiibwa ku bijjulo.+ 40 Banyaga ebintu* bya bannamwandu, era basaba essaala empanvu olw’okweraga. Bano bajja kuweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”
41 Awo n’atuula okumpi n’obusanduuko omusuulibwa ssente+ n’alaba abantu nga basuulamu ssente, era abagagga bangi baali basuulamu ssente nnyingi.+ 42 Awo nnamwandu omwavu n’ajja n’asuulamu obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo.*+ 43 N’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nnamwandu ono omwavu ataddemu kingi okusinga abalala bonna abatadde ssente mu busanduuko.+ 44 Abalala bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ye, wadde ng’ali mu bwetaavu, ataddemu byonna by’abadde alina.”+