Yuda
1 Nze Yuda, omuddu wa Yesu Kristo era muganda wa Yakobo,+ mpandiikira abo abaayitibwa,+ Katonda Kitaffe b’ayagala era abakuumibwa basobole okubeera ne Yesu Kristo:+
2 Okusaasirwa n’emirembe n’okwagala ka bibongerweko.
3 Abaagalwa, wadde nga nnali nfuba nnyo okubawandiikira ebikwata ku bulokozi bwaffe ffenna,+ nnalaba nga kyetaagisa okubawandiikira, mbakubirize okulwanirira ennyo okukkiriza+ okwaweebwa abatukuvu omulundi ogumu. 4 Ensonga lwaki mbawandiikira eri nti abantu abamu abaayogerwako edda mu Byawandiikibwa nti balisalirwa omusango bebbiridde ne bayingira mu mmwe. Abantu abo tebatya Katonda, bafuula ekisa kya Katonda waffe eky’ensusso okuba ekyekwaso eky’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwagwa,*+ era si beesigwa eri oyo atulinako obwannannyini, Mukama waffe, Yesu Kristo.+
5 Newakubadde nga bino byonna mubimanyi bulungi, njagala okubajjukiza nti, wadde nga Yakuwa* yanunula abantu okuva mu nsi ya Misiri,+ oluvannyuma yazikiriza abo abataalaga kukkiriza.+ 6 Ne bamalayika abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu,+ yabasiba emirembe n’emirembe mu kizikiza ekikutte, nga balindirira omusango ogw’oku lunaku olukulu.+ 7 Ate era, n’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali biriraanyeewo bwe baakola nga bo, ne bayitiriza okukola ebikolwa eby’obugwenyufu* ne bakozesa emibiri gyabwe mu ngeri etali ya mu butonde,+ baabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo ne baba ekyokulabirako gye tuli.+
8 Wadde ng’ebyo byonna byaliwo, abantu abo beerimbalimba,* boonoona omubiri, banyooma ababakulembera, era bavuma ab’ekitiibwa.+ 9 So nga Mikayiri+ malayika omukulu+ bw’atakkiriziganya na Mulyolyomi ku bikwata ku mulambo gwa Musa,+ teyamusalira musango era teyamuvuma+ naye yamugamba nti: “Yakuwa* k’akunenye.”+ 10 Naye abantu bano bavumirira ebintu byonna bye batategeera;+ balinga ensolo ezitalina magezi, era beeyisa ng’ensolo mu bintu byonna bye bakola,+ bwe batyo ne beeyonoona.
11 Zibasanze, kubanga bakutte ekkubo lya Kayini+ era baddukidde mu kkubo ekkyamu erya Balamu+ olw’okwagala okufuna empeera, era bazikiriridde mu bigambo bya Koola+ eby’obujeemu.+ 12 Bano ze njazi eziri wansi mu mazzi abaliira awamu nammwe ku bijjulo by’ab’oluganda,+ basumba abeeriisa bokka awatali kutya,+ bire ebitali bya nkuba embuyaga by’ezza eno n’eri;+ miti egitabala bibala ng’ekiseera kyagyo kituuse, egifiiridde ddala* ne gisimbulwa; 13 mayengo g’oku nnyanja ageefuukuula ne gabimba ejjovu, ng’ejjovu lino bye bikolwa byabwe ebiswaza,+ mmunyeenye ezitali mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte emirembe n’emirembe.+
14 Enoka+ ow’omusanvu mu lunyiriri lwa Adamu naye yabalagulako bwe yagamba nti: “Laba! Yakuwa* yajja ne bamalayika be abatukuvu mitwalo na mitwalo,+ 15 okulamula abantu bonna,+ n’okusingisa omusango abo bonna abatatya Katonda olw’ebintu byonna ebitali bya butuukirivu bye baakola, n’olw’ebintu byonna ebibi aboonoonyi abatatya Katonda bye baamwogerako.”+
16 Abantu bano batolotooma,+ beemulugunya olw’embeera gye balimu, bakola ng’okwegomba kwabwe bwe kuli,+ era emimwa gyabwe gyogera ebigambo eby’okwewaana era bawaanawaana abalala olw’okwagala okubaako bye beefunira.+
17 Naye mmwe abaagalwa, mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo, 18 bwe baabagambanga nti: “Mu kiseera eky’enkomerero walibaawo abasekerezi nga bagoberera okwegomba kwabwe okw’ebintu ebitali bya butuukirivu.”+ 19 Bano be baleetawo enjawukana,+ bali ng’ensolo,* tebafaayo ku bya mwoyo.* 20 Naye mmwe abaagalwa, mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, era musabe nga mulina omwoyo omutukuvu,+ 21 musobole okwekuumira mu kwagala kwa Katonda,+ nga bwe mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo okunaabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.+ 22 Ate era, mweyongere okusaasira+ abo ababuusabuusa;+ 23 mubawonye+ nga mubakwakkula mu muliro. N’abalala mweyongere okubasaasira, nga mukikola mu kutya, era nga mukyawa n’ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.+
24 Katonda asobola okubakuuma ne muteesittala era ne muyimirira mu maaso g’ekitiibwa kye nga temuliiko kamogo+ era nga muli basanyufu nnyo, 25 Katonda omu yekka Omulokozi waffe, atulokola okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwe ekitiibwa, obukulu, amaanyi, n’obuyinza okuva edda n’edda ne kaakano era n’emirembe n’emirembe. Amiina.