Lwakusatu, Noovemba 20
Komawo eri Yakuwa.—Is. 55:7.
Yakuwa bw’aba ng’asalawo obanga anaasonyiwa omuntu, asinziirako ku kuba nti omuntu oyo yali amanyi nti ekintu ky’akola kibi oba nedda. Ekyo Yesu yakiraga bulungi mu Lukka 12:47, 48. Omuntu akola ekibi mu bugenderevu ng’amanyi nti ekintu ky’akola kinyiiza Yakuwa, aba akoze ekibi eky’amaanyi era ayinza obutasonyiyibwa. (Mak. 3:29; Yok. 9:41) Bwe kiba bwe kityo, waliwo essuubi lyonna nti Yakuwa asobola okusonyiwa omuntu ng’oyo? Yee. Yakuwa era asinziira ku kuba nti omwonoonyi yeenenyezza mu bwesimbu. Okwenenya kitegeeza “okukyusa endowooza n’ekiruubirirwa.” Ate era omuntu aba yeenenyezza awulira bubi olw’ekibi ky’aba akoze oba olw’okulemererwa okukola ekituufu. Omuntu ng’oyo takoma ku kuwulira bubi olw’ekibi kye yakola, naye era awulira bubi olw’okuleka enkolagana ye ne Yakuwa okuddirira ne kimuviirako okukola ekibi ekyo. w22.06 5-6 ¶15-17
Lwakuna, Noovemba 21
Abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.—2 Tim. 3:12.
Abalabe baffe oluusi bakozesa emikutu gy’empuliziganya okusaasaanya eby’obulimba ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. (Zab. 31:13) Ab’oluganda abamu bakwatibwa era ne bavunaanibwa ng’abamenyi b’amateeka. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayolekagana n’embeera y’emu, omutume Pawulo bwe yayogerwako eby’obulimba era n’akwatibwa. Abamu baayabulira omutume Pawulo bwe yali ng’asibiddwa mu Rooma. (2 Tim. 1:8, 15; 2:8, 9) Lowooza ku ngeri Pawulo gye yawuliramu. Yali ayise mu bizibu bingi, era ng’atadde n’obulamu bwe mu kabi ku lwabwe. (Bik. 20:18-21; 2 Kol. 1:8) Ka tuleme kuba ng’abo abaayabulira Pawulo. Tekisaanidde kutwewuunyisa nti Sitaani alumba ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. Ayagala ab’oluganda abo balekera awo okuba abeesigwa eri Yakuwa, era naffe ayagala tutye. (1 Peet. 5:8) Weeyongere okuwagira baganda bo era n’okubanywererako.—2 Tim. 1:16-18. w22.11 16-17 ¶8-11
Lwakutaano, Noovemba 22
Totya Katonda n’akatono?—Luk. 23:40.
Kirabika omumenyi w’amateeka eyeenenya eyakomererwa okumpi ne Yesu yali Muyudaaya. Abayudaaya baasinzanga Katonda omu, naye abantu ab’amawanga amalala baasinzanga bakatonda bangi. (Kuv. 20:2, 3; 1 Kol. 8:5, 6) Singa omumenyi w’amateeka ayo yali wa gggwanga ddala, ekibuuzo ekiri mu kyawandiikibwa kya leero kyandibadde kigamba nti, “Totya bakatonda n’akatono?” Ate era Yesu teyatumibwa eri abantu ab’amawanga, wabula yatumibwa eri “endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” (Mat. 15:24) Katonda yali yategeeza Abayisirayiri nti yandizuukizizza abafu. Omumenyi w’amateeka eyeenenya ekyo ayinza okuba nga yali akimanyi, era ng’ebigambo bye bwe biraga, yali asuubira nti Yakuwa yandizuukizizza Yesu n’afuga mu Bwakabaka bwa Katonda. Ate era omusajja oyo ayinza okuba nga yali asuubira nti naye Katonda yandimuzuukizza. Olw’okuba yali Muyudaaya, omumenyi w’amateeka eyeenenya ayinza okuba nga yali amanyi ebikwata ku Adamu ne Kaawa. N’olwekyo, ayinza okuba nga yali akimanyi nti Olusuku lwa Katonda Yesu lwe yayogerako mu Lukka 23:43, lwandibadde wano ku nsi.—Lub 2:15. w22.12 8-9 ¶2-3