Ekyamateeka
32 “Wulira ggwe eggulu, nange ka njogere,
N’ensi k’ewulire ebigambo by’akamwa kange.
2 Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng’enkuba;
Ebigambo byange binaagwa ng’omusulo,
Ng’enkuba etonnya empola empola ku muddo
Era ng’enkuba ennyingi etonnya ku bimera.
3 Nja kulangirira erinnya lya Yakuwa.+
Mwogere ku maanyi ga Katonda waffe!+
5 Bo bennyini be beeyisizza obubi.+
Si baana be, ensobi yaabwe.+
Mulembe ogwakyama!+
6 Bwe mutyo bwe musaanidde okuyisa Yakuwa,+
Mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?+
Si ye Kitaawo eyakuteekawo,+
Eyakukola era n’akutebenkeza?
7 Jjukira ennaku ez’edda;
Lowooza ku myaka egy’emirembe egyayita.
Buuza kitaawo akubuulire;+
Buuza abakadde bakutegeeze.
8 Asingayo Okuba Waggulu bwe yawa amawanga obusika,+
Bwe yayawulamu abaana ba Adamu,*+
Yassaawo ensalo z’amawanga+
Ng’asinziira ku muwendo gw’abaana ba Isirayiri.+
11 Ng’empungu bw’eyigiriza obwana bwayo okubuuka,
Bw’epapalira we buli,
Bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo n’ebutwala,
Bw’ebusitulira ku biwaawaatiro byayo,+
12 Yakuwa yekka ye yamukulemberamu;*+
Tewaaliwo katonda mulala eyali naye.+
13 Yamutambuliza ku bifo by’ensi ebigulumivu,+
N’alya emmere ey’omu nnimiro.+
Yamuliisa omubisi gw’enjuki okuva mu lwazi
N’amafuta okuva mu lwazi olugumu,
14 Yamuwa omuzigo oguva mu ggana n’amata agava mu kisibo,
N’endiga ezisingayo obulungi,*
N’endiga ennume ez’e Basani, n’embuzi ennume,
N’eŋŋaano esingayo obulungi;+
Era yanywa envinnyo eva mu mubisi* gw’ezzabbibu.
15 Yesuluni* bwe yagejja, yasamba.
Ogezze, oyimbulukuse, obwegedde.+
Bw’atyo yaleka Katonda eyamukola,+
N’anyooma Olwazi olw’obulokozi bwe.
17 Baawaayo ssaddaaka eri badayimooni so si eri Katonda,+
Eri bakatonda be baali batamanyi,
Abapya abaali baakajja,
Eri bakatonda bajjajjammwe be bataamanya.
19 Yakuwa bwe yakiraba n’abavaako,+
Olw’okuba batabani be ne bawala be baamunyiiza.
20 Bw’atyo n’agamba nti, ‘Ndibakweka obwenyi bwange;+
Ndiraba ekiribatuukako.
Kyendiva mbakwasa obuggya nga nkozesa eggwanga eritalina mugaso;+
Ndibanyiiza nga nkozesa eggwanga essirusiru.+
22 Obusungu bwange bukoleezezza omuliro+
Ogujja okwaka okutuukira ddala wansi emagombe,*+
Gujja kwokya ensi n’ebigiriko
Gujja kwokya emisingi gy’ensozi.
23 Ndibongerako ebizibu;
Ndibamalirako obusaale bwange.
Ndibasindikira amannyo g’ensolo+
N’obusagwa bw’ebyewalula eby’omu nfuufu.
25 Ebweru ekitala kiribaggyako abaabwe;+
Munda entiisa eribaggyako abaabwe,+
Baliggibwako omulenzi n’omuwala embeerera,
Ayonka n’omusajja ow’envi.+
26 Nnandibadde ŋŋamba nti: “Nja kubasaasaanya;
Nja kubaleetera obutaddamu kujjukirwa mu bantu,”
Bayinza okugamba nti: “Tuwangudde olw’amaanyi gaffe;+
Yakuwa si y’akoze bino byonna.”
29 Kale singa baalina amagezi!+ Kino bandibadde bakifumiitirizaako.+
Bandibadde balowooza ku ebyo ebyandivuddemu.+
30 Omu yandisobodde atya okugoba 1,000,
N’ababiri okuddusa 10,000?+
Tekyandisobose okuggyako ng’Olwazi lwabwe y’abatunze+
Era okuggyako nga Yakuwa y’abawaddeyo.
32 Omuzabbibu gwabwe guva ku muzabbibu gw’e Sodomu
Guva mu nnimiro z’e Ggomola.+
Ezzabbibu lyabwe zzabbibu lya butwa,
Ebirimba byalyo bikaawa.+
33 Omwenge gwabwe busagwa bwa misota,
Busagwa obw’enswera obw’amaanyi.
34 Kino sikiterese?
Tekiteekeddwako envumbo mu tterekero lyange?+
35 Okuwoolera eggwanga kwange awamu n’okusasula,+
Mu kiseera ekigereke ekigere kyabwe lwe kiriseerera,+
Kubanga olunaku olw’okubonaabona kwabwe luli kumpi,
Era ekibalindiridde kijja kujja mu bwangu.’
36 Yakuwa aliramula abantu be,+
Naye alisaasira* abaweereza be,+
Bw’aliraba ng’amaanyi gaabwe gakendedde,
Era ng’abateesobola era abatalina maanyi bokka be basigaddewo.
37 Aligamba nti, ‘Bakatonda baabwe baluwa,+
Olwazi mwe baddukiranga,
38 Abaalyanga amasavu ga ssaddaaka zaabwe,*
Abaanywanga omwenge gw’ebiweebwayo byabwe eby’eby’okunywa?+
Bajje babayambe mmwe.
Ka babeere ekifo kyammwe eky’okuddukiramu.
Nzita era mpa obulamu.+
40 Mpanika omukono gwange eri eggulu,
Era ndayira nti: “Nga bwe ndi omulamu emirembe n’emirembe,”+
41 Bwe ndiwagala ekitala kyange ekitemagana,
Ne nneetegeka okusala omusango,+
Ndiwoolera eggwanga ku balabe bange+
Era ndisasula abo abatanjagala.
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
Omusaayi gw’abattiddwa era n’abawambe,
Ekitala kyange kirirya ennyama,
Okuva ku mitwe gy’abakulembeze b’omulabe.’
43 Musanyuke mmwe amawanga awamu n’abantu be,+
Kubanga aliwoolera eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza be,+
Era aliwoolera eggwanga ku balabe be+
Alitangirira* ensi y’abantu be.”
44 Bw’atyo Musa n’ajja n’ayogera ebigambo byonna eby’oluyimba luno ng’abantu bawulira,+ era yali ne Koseya*+ mutabani wa Nuuni. 45 Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isirayiri yonna, 46 n’abagamba nti: “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye njogera nga mbalabula leero,+ musobole okuyigiriza abaana bammwe okukolera ku bigambo byonna eby’Amateeka gano.+ 47 Kubanga kino si kigambo ekitaliimu nsa, wabula bwe bulamu bwammwe,+ era bwe munaakolera ku kigambo kino mujja kuwangaala mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani.”
48 Era Yakuwa n’ayogera ne Musa ku lunaku olwo lwe lumu, n’amugamba nti: 49 “Yambuka ku lusozi luno olw’e Abalimu,+ Olusozi Nebo,+ oluli mu nsi ya Mowaabu, olutunudde e Yeriko, olabe ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri ebeere yaabwe.+ 50 Oluvannyuma ojja kufiira ku lusozi olwo lw’ogendako ogoberere abantu bo,* nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku Lusozi Kooli+ n’agoberera abantu be, 51 olw’okuba mmwembi temwalaga bwesigwa gye ndi mu Bayisirayiri ku mazzi g’e Meriba+ ekiri mu Kadesi, mu ddungu lya Zini, n’olw’okuba temwantukuza mu maaso g’abantu ba Isirayiri.+ 52 Ensi ojja kugirengera bulengezi, naye tojja kugenda mu nsi eyo gye mpa abantu ba Isirayiri.”+