Abakkolosaayi
2 Kubanga njagala mmwe okutegeera nga bwe nfuba ennyo ku lwammwe ne ku lw’ab’omu Lawodikiya+ ne ku lw’abo bonna abatandabangako. 2 Ekyo nkikola emitima gyabwe gisobole okubudaabudibwa,+ basobole okubeera obumu mu kwagala,+ era bafune obugagga bwonna obw’okutegeerera ddala era n’okumanyira ddala ekyama kya Katonda ekitukuvu, ng’ono ye Kristo.+ 3 Mu ye eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya mwe byakwekebwa.+ 4 Kino nkibabuulira waleme kubaawo muntu yenna abalimba ng’akozesa ebigambo ebisendasenda. 5 Wadde nga siri nammwe mu mubiri, ndi nammwe mu mwoyo, nga nsanyuka okulaba enteekateeka yammwe ennungi+ n’okukkiriza okunywevu kwe mulina mu Kristo.+
6 N’olwekyo, nga bwe mukkirizza Mukama waffe Kristo Yesu, mweyongere okutambulira wamu naye, 7 nga muli banywevu, nga muzimbibwa mu ye,+ nga temusagaasagana mu kukkiriza+ nga bwe mwayigirizibwa, era nga musukkirira mu kwebaza.+
8 Mwegendereze waleme kubaawo abafuula abaddu* ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu+ ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo; 9 kubanga amaanyi ga Katonda gali mu ye.+ 10 N’olwekyo mulina buli kimu okuyitira mu ye, ng’oyo gwe mutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza.+ 11 Olw’enkolagana gye mulina naye, nammwe mwakomolebwa, naye si na mikono nga muggibwako omubiri ogw’ennyama,+ wabula mwakomolebwa n’okukomolebwa kwa Kristo.+ 12 Kubanga mwaziikibwa wamu naye mu kubatizibwa kwe,+ era olw’enkolagana gye mulina naye, nammwe mwazuukizibwa+ wamu naye okuyitira mu kukkiriza kwe mulina mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.+
13 Ate era, wadde nga mwali mufiiridde mu bibi byammwe ne mu butakomolebwa bw’emibiri gyammwe, Katonda yabafuula balamu wamu naye.+ Yatusonyiwa ebibi byaffe byonna,+ 14 era n’aggyawo* endagaano eyawandiikibwa,+ omwali amateeka+ era eyali omulabe waffe.+ Yagiggyawo ng’agikomerera ku muti ogw’okubonaabona.*+ 15 Ku muti ogwo, yawangula obufuzi n’obuyinza n’abyanika mu lujjudde ng’ebiwanguddwa,+ n’abikulembera mu kibinja ky’abawanguzi abayisa ekivvulu.
16 N’olwekyo, omuntu yenna tabasaliranga musango olw’eby’okulya n’eby’okunywa+ oba olw’embaga oba okukuza okuboneka kw’omwezi+ oba ssabbiiti.+ 17 Ebintu ebyo kye kisiikirize ky’ebyo ebigenda okujja,+ naye ebya ddala biri mu Kristo.+ 18 Omuntu yenna asanyukira obwetoowaze obw’obulimba n’okusinza bamalayika* tabalemesanga kufuna mpeera.+ Abantu ng’abo “bagugubira” ku bintu bye balabye. Beegulumiza awatali nsonga ntuufu olw’endowooza yaabwe ey’omubiri, 19 kyokka nga tebanywerera ku mutwe,+ ku oyo omubiri gwonna mwe gufunira bye gwetaaga, era ne gugattibwa wamu ennyingo n’ebinywa, ne gweyongera okukula nga Katonda y’agukuza.+
20 Bwe muba nga mwafiira wamu ne Kristo ku bikwata ku bintu eby’omu nsi ebisookerwako,+ lwaki ate muli ng’abakyali mu nsi, nga mugoberera amateeka agagamba nti:+ 21 “Temutwala, wadde okuloza, oba okukwata”? 22 Kubanga ebintu ebyo bya kuzikirira oluvannyuma lw’okubikozesa, era amateeka ago njigiriza za bantu.+ 23 Ebintu ebyo birabika ng’eby’amagezi mu kusinza abantu kwe beegunjizaawo ne mu kwetoowaza okw’obulimba, ne mu kubonyaabonya omubiri,+ naye tebirina mugaso mu kulwanyisa okwegomba kw’omubiri.