Matayo
12 Awo Yesu n’ayita mu nnimiro z’eŋŋaano ku Ssabbiiti. Abayigirizwa be enjala n’ebaluma era ne banoga ebirimba by’eŋŋaano ne balya.+ 2 Abafalisaayo bwe baabalaba ne bamugamba nti: “Laba! Abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”+ 3 N’abagamba nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola, ng’enjala emuluma, ye n’abasajja be yali nabo?+ 4 Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, ne balya emigaati egy’okulaga,+ ate nga ye n’abo be yali nabo baali tebakkirizibwa kugiryako okuggyako bakabona bokka?+ 5 Oba temusomangako mu Mateeka nti bakabona mu yeekaalu bakola emirimu ku Ssabbiiti ne batabaako musango?+ 6 Naye mbagamba nti oyo asinga yeekaalu ali wano.+ 7 Naye singa mwali mutegedde amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi+ so si ssaddaaka,’+ temwandinenyezza batalina musango. 8 Kubanga Omwana w’omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”+
9 Bwe yava mu kifo ekyo, yagenda mu kkuŋŋaaniro lyabwe, 10 era waaliwo omusajja eyalina omukono ogwakala!*+ Olw’okwagala okubaako kye bamuvunaana, ne bamubuuza nti, “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti?”+ 11 N’abagamba nti: “Ani ku mmwe bw’aba n’endiga emu n’egwa mu kinnya ku Ssabbiiti, atagiggyaamu?+ 12 Omuntu si wa muwendo nnyo okusinga endiga? N’olwekyo, kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi ku Ssabbiiti.” 13 Awo n’agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N’agugolola, ne guwona, ne guba nga guli omulala. 14 Abafalisaayo ne bafuluma era ne beekobaana okumutta. 15 Yesu bwe yakimanya, eyo n’avaayo. Era bangi ne bamugoberera,+ n’abawonya bonna, 16 naye n’abakuutira obutamumanyisa eri abalala,+ 17 okusobola okutuukiriza ebyo ebyayogerwa okuyitira mu nnabbi Isaaya, ebigamba nti:
18 “Laba! Omuweereza wange gwe nnalonda,+ gwe njagala ennyo era gwe nsanyukira!+ Ndimuteekako omwoyo gwange,+ era alimanyisa amawanga obwenkanya. 19 Taliyomba,+ era talireekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo ennene. 20 Olumuli olumenyese talirubetenta, era n’olutambi oluzimeera taliruzikiza+ okutuusa lw’alireetawo obwenkanya. 21 Mu linnya lye amawanga mwe galisuubirira.”+
22 Awo ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, era nga muzibe ate nga tayogera. N’amuwonya, era omusajja oyo n’asobola okwogera n’okulaba. 23 Ekibiina ky’abantu kyonna ne kyewuunya ne bagamba nti: “Ono taba nga ye Mwana wa Dawudi?” 24 Abafalisaayo bwe baakiwulira ne bagamba nti: “Omuntu ono agoba dayimooni ng’akozesa maanyi ga Beeruzebuli,* omufuzi wa badayimooni.”+ 25 Bwe yategeera kye baali balowooza, n’abagamba nti: “Buli bwakabaka obweyawulamu buzikirira, era buli kibuga oba amaka ebyeyawulamu tebisobola kusigalawo. 26 Bwe kityo, ne Sitaani bw’agoba Sitaani aba yeeyawuddemu; kati olwo obwakabaka bwe buba bunaayimirirawo butya? 27 Bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa maanyi ga Beeruzebuli, abaana* bammwe bazigoba bakozesa maanyi g’ani? Kyebaliva babasalira omusango. 28 Naye bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa omwoyo gwa Katonda, Obwakabaka bwa Katonda mubusubiddwa.+ 29 Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omusajja ow’amaanyi n’abbamu ebintu bye okuggyako ng’asoose kumusiba? Olwo aba asobola okunyaga eby’omu nnyumba ye. 30 Oyo ataba ku ludda lwange aba mulabe wange, era n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange aba asaasaanya.+
31 “Kale kyenva mbagamba nti abantu balisonyiyibwa ekibi kyonna n’okuvvoola kwonna, naye oyo avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa.+ 32 Ng’ekyokulabirako, oyo yenna avvoola Omwana w’omuntu alisonyiyibwa,+ naye oyo avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa, ka kibe mu biseera bino* oba mu biseera eby’omu maaso.+
33 “Bwe muba omuti omulungi n’ebibala byammwe bijja kuba birungi; naye bwe muba omuti omubi,* n’ebibala byammwe bijja kuba bibi; kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.+ 34 Mmwe abaana b’emisota egy’obusagwa,+ muyinza okwogera ebintu ebirungi nga muli babi? Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.+ 35 Omuntu omulungi afulumya ebintu ebirungi mu tterekero lye eddungi, so ng’ate omuntu omubi afulumya ebintu ebibi mu tterekero lye ebbi.+ 36 Naye mbagamba nti buli kigambo ekitaliimu nsa abantu kye boogera kiribavunaanibwa+ ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango; 37 kubanga olw’ebigambo byammwe muliyitibwa abatuukirivu, era olw’ebigambo byammwe, mulisalirwa omusango.”
38 Awo abamu ku bawandiisi n’Abafalisaayo ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, twagala otulage akabonero.”+ 39 N’abagamba nti: “Omulembe guno omubi era ogutali mwesigwa* gwagala okulaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuguweebwa okuggyako aka nnabbi Yona.+ 40 Kuba nga Yona bwe yali mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene okumala ennaku ssatu, emisana n’ekiro,+ n’Omwana w’omuntu ajja kumala ennaku ssatu mu ttaka, emisana n’ekiro.+ 41 Abantu b’omu Nineeve balizuukirira wamu n’ab’omulembe guno mu kiseera eky’okusala omusango era balibasingisa omusango, kubanga beenenya olw’ebyo Yona bye yababuulira.+ Naye laba! oyo asinga Yona ali wano.+ 42 Kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alizuukirira wamu n’ab’omulembe guno mu kiseera eky’okusala omusango era alibasingisa omusango, kubanga yava ewala ennyo n’ajja okuwulira amagezi ga Sulemaani.+ Naye laba! oyo asinga Sulemaani ali wano.+
43 “Omwoyo omubi bwe guva mu muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi nga gunoonya aw’okuwummulira naye ne gubulwa.+ 44 Awo ne gugamba nti, ‘Nja kuddayo mu nnyumba yange gye nnavaamu,’ era bwe gugituukamu, gugisanga njereere, ng’eyereddwa era ng’erongooseddwa. 45 Awo gugenda ne guleetayo emyoyo emirala musanvu egigusinga obubi, era bwe gimala okuyingira gibeera omwo; embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma ebeera mbi n’okusinga bwe yali mu kusooka.+ Era bwe kityo bwe kiriba eri omulembe guno omubi.”
46 Bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu, maama we ne baganda be+ baali bayimiridde wabweru nga baagala okwogera naye.+ 47 Awo ne wabaawo eyamugamba nti: “Laba! Maama wo ne baganda bo bayimiridde wabweru era baagala okwogerako naawe.” 48 N’addamu oyo eyayogera naye nti: “Maama wange ne baganda bange be baani?” 49 N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti: “Laba! Maama wange ne baganda bange be bano!+ 50 Buli akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala ye muganda wange, mwannyinaze, era maama wange.”+