Omubuulizi
12 Kale jjukiranga Omutonzi wo ow’Ekitalo ng’okyali muvubuka,+ ng’ennaku ez’obuyinike tezinnajja,+ nga n’emyaka teginnatuuka mw’oligambira nti: “Sikyanyumirwa bulamu”; 2 Ng’ekitangaala ky’enjuba, n’omwezi, n’emmunyeenye tekinnaggwaawo,+ nga n’ebire tebinnaleeta nnamutikkwa wa nkuba;* 3 ku lunaku abakuumi b’ennyumba lwe balitandika okukankana, n’abasajja ab’amaanyi ne bakutama, n’abakazi ne balekera awo okusa olw’okuba basigadde batono, n’abakyala abalingiza mu madirisa nga tebakyalaba bulungi;+ 4 ng’enzigi ezitunudde mu luguudo ziggaddwa, n’eddoboozi ly’okusa nga likendedde, ng’omuntu azuukuka olw’okuwulira eddoboozi ly’akanyonyi, era nga n’abawala bayimba mu ddoboozi ery’ekimpoowooze.+ 5 Era omuntu aba atya ebigulumivu, era nga yeeraliikirira obuzibu obuyinza okumutuukako mu nguudo. Omuti gw’omuloozi gumulisa,+ n’ejjanzi ligenda lyekulula, n’ekibala ekyagazisa omuntu okulya kyatika, olw’okuba omuntu agenda mu nnyumba ye ey’olubeerera+ era ng’abakungubazi batambulatambula mu nguudo;+ 6 ng’omuguwa ogwa ffeeza tegunnakutuka, nga n’ekibya ekya zzaabu tekinnayatika, era ng’ensuwa eri ku luzzi tennayatika, nga ne nnamuziga ekozesebwa okusena amazzi mu luzzi tennayatika. 7 Olwo enfuufu n’edda mu ttaka+ gye yali mu kusooka, n’omwoyo* ne gudda eri Katonda ow’amazima eyaguwa abantu.+
8 Omubuulizi*+ agamba nti: “Butaliimu! Byonna butaliimu!”+
9 Ng’oggyeeko okuba nti omubuulizi yali afuuse wa magezi, yayigirizanga abantu bye yali amanyi,+ era yafumiitirizanga n’anoonyereza asobole okusengeka engero nnyingi.+ 10 Omubuulizi yafuba okunoonya ebigambo ebisanyusa+ era n’okuwandiika ebigambo ebituufu era eby’amazima.
11 Ebigambo by’abantu ab’amagezi biringa emiwunda,+ era ebigambo byabwe ebikuŋŋaanyiziddwa biringa emisumaali egikomereddwa ne ginywera; omusumba abigaba ali omu. 12 Mwana wange, ng’oggyeeko ebyo, ebirala byonna obyegenderezanga: Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, era okubisoma ekisukkiridde kukooya omubiri.+
13 Ng’ebintu byonna bimaze okuwulirwa, eky’enkomerero kye kino: Tyanga Katonda ow’amazima+ era okwatenga ebiragiro bye,+ kubanga ekyo omuntu ky’ateekeddwa okukola.+ 14 Kubanga Katonda ow’amazima alisalira abantu omusango okusinziira ku ebyo bye bakola, nga mw’otwalidde na buli ekikolebwa mu nkiso, ka kibe kirungi oba kibi.+