1 Bassekabaka
2 Dawudi bwe yali ng’anaatera okufa, yawa mutabani we Sulemaani ebiragiro bino: 2 “Nnaatera okufa.* Kale beera muvumu+ era wa maanyi.+ 3 Gondera Yakuwa Katonda wo, otambulirenga mu makubo ge, era okwatenga amateeka ge n’ebiragiro bye n’okujjukiza kwe, nga bwe biwandiikiddwa mu Mateeka ga Musa;+ bw’onookola bw’otyo, ojja kutuuka ku buwanguzi* mu byonna by’onookolanga ne yonna gy’onoogendanga. 4 Yakuwa ajja kutuukiriza kye yansuubiza ng’agamba nti: ‘Singa abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe ne batambulira mu bwesigwa mu maaso gange n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna,+ tewaalemenga kubaawo musajja wa mu lunyiriri lwo* atuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri.’+
5 “Ate era omanyi bulungi ekyo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, kye yakola abakulu b’eggye lya Isirayiri ababiri, Abuneeri+ mutabani wa Neeri ne Amasa+ mutabani wa Yeseri. Yabatta n’ayiwa omusaayi+ gw’olutalo mu kiseera eky’emirembe, n’ateeka omusaayi gw’olutalo ku musipi gwe yali yeesibye mu kiwato ne ku ngatto ze yali ayambadde. 6 Obangako ky’okolawo okusinziira ku magezi go n’otomuleka kufa bukadde.+
7 “Naye batabani ba Baluzirayi+ Omugireyaadi obalaganga okwagala okutajjulukuka, era babeeranga mu abo abalya ku mmeeza yo, kubanga bannyamba+ era bampagira bwe nnali nga nziruse Abusaalomu+ muganda wo.
8 “Ate era waliwo ne Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu. Ye yankolimira ekikolimo ekibi ennyo+ ku lunaku lwe nnagenda e Makanayimu,+ kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira mu linnya lya Yakuwa nti: ‘Sijja kukutta na kitala.’+ 9 Kale tolema kumubonereza,+ kubanga oli musajja wa magezi era omanyi bulungi ky’ogwanidde okumukola; tomulekanga kufa bukadde.”*+
10 Awo Dawudi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi.+ 11 Dawudi yafugira Isirayiri emyaka 40. Mu Kebbulooni+ yafugirayo emyaka 7, ate mu Yerusaalemi n’afugirayo emyaka 33.+
12 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ya Dawudi kitaawe, era obwakabaka bwe ne bugenda nga bunywera.+
13 Oluvannyuma lw’ekiseera, Adoniya mutabani wa Kaggisi yajja eri Basu-seba nnyina Sulemaani. Basu-seba n’amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” Adoniya n’amuddamu nti: “Nzize lwa mirembe.” 14 Awo Adoniya n’amugamba nti: “Waliwo kye njagala okukugamba.” Basu-seba n’amuddamu nti: “Kiŋŋambe.” 15 Adoniya n’amugamba nti: “Okimanyi bulungi nti obwakabaka bwali bwa kuba bwange, era Abayisirayiri bonna nze gwe baali basuubira okuba kabaka;+ naye obwakabaka tebwampeebwa wabula ne buweebwa muganda wange, kubanga kyava eri Yakuwa okuba nti bwafuuka bubwe.+ 16 Kale kaakano waliwo ekintu kimu kye nkusaba. Togaana kukinkolera.” Awo Basu-seba n’amugamba nti: “Kyogere.” 17 Adoniya n’amugamba nti: “Nkwegayiridde, ŋŋambira Kabaka Sulemaani ampe Abisaagi+ Omusunamu abe mukazi wange, kubanga mmanyi nga tajja kugaana kukikola.” 18 Basu-seba n’addamu nti: “Kale! Nja kukwogererayo eri kabaka.”
19 Awo Basu-seba n’agenda eri Kabaka Sulemaani okwogererayo Adoniya. Awo kabaka n’ayimuka okumwaniriza era n’amuvunnamira. Kabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, era n’alagira ne baleetera nnyina entebe, nnyina n’atuula ku mukono gwe ogwa ddyo. 20 Awo nnyina n’amugamba nti: “Waliwo ekintu kitono kye nkusaba. Togaana kukikola.” Kabaka n’amugamba nti: “Kimbuulire maama; sijja kugaana kukikola.” 21 Basu-seba n’agamba nti: “Adoniya muganda wo aweebwe Abisaagi Omusunamu abe mukazi we.” 22 Awo Kabaka Sulemaani n’agamba nnyina nti: “Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunamu? Musabire nno n’obwakabaka,+ kubanga ye mukulu wange,+ era Abiyasaali kabona ne Yowaabu+ mutabani wa Zeruyiya+ bamuwagira.”
23 Awo Kabaka Sulemaani n’alayira mu linnya lya Yakuwa nti: “Katonda ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange, Adoniya bw’atattibwe olw’ekyo ky’asabye. 24 Ate era nga Yakuwa bw’ali omulamu antuuzizza n’annyweza+ ku ntebe y’obwakabaka bwa kitange Dawudi era anzimbidde ennyumba*+ nga bwe yasuubiza, Adoniya agenda kuttibwa+ olwa leero.” 25 Amangu ago Kabaka Sulemaani n’atuma Benaya+ mutabani wa Yekoyaada, Benaya n’agenda n’atta Adoniya.*
26 Kabaka n’agamba Abiyasaali+ kabona nti: “Genda e Anasosi+ mu bibanja byo, kubanga ogwanidde kufa, naye olwa leero sigenda kukutta olw’okuba wasitulanga Essanduuko ya Yakuwa, Mukama Afuga Byonna, mu kiseera kya kitange Dawudi,+ era olw’okuba wabonaabonera wamu ne kitange mu kubonaabona kwe kwonna.”+ 27 Sulemaani n’agoba Abiyasaali ku mulimu gw’okuweereza nga kabona wa Yakuwa, okutuukiriza ekyo Yakuwa kye yayogera ku nnyumba ya Eli+ e Siiro.+
28 Amawulire ago bwe gaatuuka ku Yowaabu, Yowaabu n’addukira mu weema ya Yakuwa+ ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto. (Yowaabu yali awagira Adoniya+ wadde nga yali tawagidde Abusaalomu.)+ 29 Awo ne bategeeza Kabaka Sulemaani nti: “Yowaabu addukidde mu weema ya Yakuwa era ali ku mabbali g’ekyoto.” Awo Sulemaani n’atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada n’amugamba nti: “Genda omutte!” 30 Awo Benaya n’agenda mu weema ya Yakuwa n’agamba Yowaabu nti: “Kabaka akugambye nti, ‘Fuluma!’” Naye Yowaabu n’agamba nti “Nedda! Nja kufiira wano.” Awo Benaya n’addayo eri kabaka n’amugamba nti: “Bw’ati Yowaabu bw’ayogedde, era bw’ati bw’anzizeemu.” 31 Kabaka n’amugamba nti: “Kola nga bw’agambye; mutte omuziike, nze n’ennyumba ya kitange tuggibweko omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga.+ 32 Ate era Yakuwa ajja kumusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yatta n’ekitala abasajja ababiri abaali abatuukirivu era abalungi okumusinga, nga kitange Dawudi tategedde: Abuneeri+ mutabani wa Neeri eyali omukulu w’eggye lya Isirayiri,+ ne Amasa+ mutabani wa Yeseri eyali omukulu w’eggye lya Yuda.+ 33 Yowaabu n’ezzadde lye* be bavunaanyizibwa ku kufa kwabwe* emirembe n’emirembe;+ naye eri Dawudi, n’ezzadde lye,* n’ennyumba ye, n’entebe ye ey’obwakabaka, ka wabeewo emirembe egiva eri Yakuwa ennaku zonna.” 34 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’agenda n’atta Yowaabu, ne bamuziika mu maka ge agaali mu ddungu. 35 Kabaka n’alonda Benaya+ mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, era kabaka n’assa Zadooki+ kabona mu kifo kya Abiyasaali.
36 Oluvannyuma kabaka n’atumya Simeeyi+ n’amugamba nti: “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeerenga omwo; tovangawo n’ogenda mu kifo ekirala. 37 Olunaku lw’olivaawo n’osomoka Ekiwonvu Kidulooni,+ okimanyanga nti ojja kufa. Omusaayi gwo gunaaba ku mutwe gwo.” 38 Awo Simeeyi n’agamba kabaka nti: “Ky’oyogedde kya bwenkanya. Nga mukama wange bw’ayogedde, bw’atyo n’omuweereza wo bw’anaakola.” Simeeyi n’abeera mu Yerusaalemi okumala ekiseera kiwanvu.
39 Naye bwe waayitawo emyaka esatu, abaddu ba Simeeyi babiri ne baddukira ewa Akisi+ mutabani wa Maaka, eyali kabaka wa Gaasi. Simeeyi bwe yategeezebwa nti: “Laba! Abaddu bo bali Gaasi,” 40 amangu ago, Simeeyi n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n’agenda e Gaasi ewa Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi bwe yakomawo n’abaddu be, 41 ne bagamba Sulemaani nti: “Simeeyi yavudde mu Yerusaalemi n’agenda e Gaasi era kati akomyewo.” 42 Awo kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti: “Saakulayiza mu linnya lya Yakuwa ne nkulabula nti: ‘Olunaku lw’oliva wano n’ogenda mu kifo ekirala kyonna, okimanyanga nti ojja kufa’? Ate era tewaŋŋamba nti, ‘Ky’oyogedde kya bwenkanya; nja kukigondera’?+ 43 Kale lwaki tokuumye kirayiro kye walayirira mu maaso ga Yakuwa n’ekiragiro kye nnakuwa?” 44 Kabaka era n’agamba Simeeyi nti: “Omanyi mu mutima gwo ebintu ebibi byonna bye wakola kitange Dawudi;+ era ebibi ebyo bye wakola, Yakuwa ajja kubizza ku mutwe gwo.+ 45 Naye Kabaka Sulemaani ajja kuweebwa omukisa,+ era entebe ya Dawudi ejja kunywezebwa mu maaso ga Yakuwa emirembe n’emirembe.” 46 Awo kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’afuluma n’atta Simeeyi.+
Bwe butyo obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.+