Yokaana
4 Yesu bwe yategeera nti Abafalisaayo baali bawulidde nti alina abayigirizwa bangi era nti yali abatiza abantu+ okusinga Yokaana— 2 wadde nga Yesu kennyini si ye yali abatiza wabula abayigirizwa be— 3 n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya. 4 Naye yali alina kuyitira Samaliya. 5 Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, ekyali okumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu.+ 6 Era eyo waaliyo oluzzi lwa Yakobo.+ Yesu n’atuula awo ku luzzi ng’akooye olw’olugendo. Zaali ssaawa nga mukaaga.*
7 Omukazi ow’omu Samaliya n’ajja okusena amazzi. Yesu n’amugamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.” 8 (Abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere.) 9 Omukazi Omusamaliya n’amugamba nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okunsaba amazzi ag’okunywa ng’ate nze ndi mukazi Musamaliya?” (Kubanga Abayudaaya tebakolagana na Basamaliya.)+ 10 Yesu n’amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda+ n’oyo akugamba nti, ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ wandibadde omusaba, n’akuwa amazzi agawa obulamu.”+ 11 N’amugamba nti: “Ssebo, tolina na kalobo ka kusenesa mazzi, ate ng’oluzzi luwanvu; kati olwo amazzi ago agawa obulamu ogaggye wa? 12 Ggwe osinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno, ye n’abaana be kwe baanywanga awamu n’ente ze?” 13 Yesu n’amuddamu nti: “Buli anywa ku mazzi gano ajja kuddamu okulumwa ennyonta. 14 Buli anywa ku mazzi ge nnaamuwa, taliddamu kulumwa nnyonta,+ naye amazzi ago ge nnaamuwa gajja kufuuka mu ye ensulo eneevangamu amazzi agawa obulamu obutaggwaawo.”+ 15 Omukazi n’amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago nneme kuddamu kulumwa nnyonta wadde okujjanga mu kifo kino okusena amazzi.”
16 N’amugamba nti: “Genda oyite omwami wo okomewo wano.” 17 Omukazi n’amuddamu nti: “Sirina mwami.” Yesu n’amugamba nti: “Oli mutuufu bw’ogamba nti, ‘Sirina mwami.’ 18 Kubanga waakabeera n’abaami bataano, era omusajja gw’oli naye kati si mwami wo. Ky’oyogedde kya mazima.” 19 Omukazi n’amugamba nti: “Ssebo, nkiraba nti oli nnabbi.+ 20 Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno, naye mmwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo abantu gye balina okusinziza.”+ 21 Yesu n’amugamba nti: “Kkiriza kye nkugamba; ekiseera kijja lwe mutalisinziza Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 Musinza kye mutamanyi,+ naye ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokozi busibuka* mu Bayudaaya.+ 23 Naye ekiseera kijja era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu lwe banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abalinga abo okumusinzanga.+ 24 Katonda Mwoyo,+ n’abo abamusinza bateekwa okumusinza mu mwoyo n’amazima.”+ 25 Omukazi n’amugamba nti: “Nkimanyi nti Masiya ayitibwa Kristo ajja. Oyo w’alijjira wonna, alitubuulira ebintu byonna.” 26 Yesu n’amugamba nti: “Ye nze ayogera naawe.”+
27 Mu kiseera ekyo, abayigirizwa be ne batuuka, ne beewuunya olw’okuba yali ayogera n’omukazi. Naye tewali yagamba nti: “Onoonya ki?” oba nti, “Lwaki oyogera naye?” 28 Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye ey’amazzi n’agenda mu kibuga n’agamba abantu nti: 29 “Mujje mulabe omusajja ambuulidde ebintu byonna bye nnakola. Kyandiba nti ye Kristo?” 30 Awo ne bava mu kibuga ne bajja gy’ali.
31 Mu kiseera ekyo, abayigirizwa baali bamwegayirira nti: “Labbi,+ lya.” 32 Naye n’abagamba nti: “Nnina emmere ey’okulya gye mutamanyi.” 33 Awo abayigirizwa ne bagambagana nti: “Waliwo omuntu yenna amuleetedde eky’okulya?” 34 Yesu n’abagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala+ n’okumaliriza omulimu gwe.+ 35 Temugamba nti ebulayo emyezi ena amakungula gatuuke? Laba! Mbagamba nti: Muyimuse amaaso gammwe mutunuulire ennimiro; zituuse okukungula.+ 36 Omukunguzi kati afuna empeera ye era akuŋŋaanya ebibala eby’obulamu obutaggwaawo, omusizi n’omukunguzi basobole okusanyukira awamu.+ 37 N’olwekyo, enjogera eno ya mazima egamba nti: Asiga aba mulala n’akungula aba mulala. 38 Nnabatuma okukungula bye mutaateganira. Abalala be baategana, mmwe ne muganyulwa mu kutegana kwabwe.”
39 Abasamaliya bangi ab’omu kibuga ekyo baamukkiriza olw’ebigambo by’omukazi eyawa obujulirwa ng’agamba nti: “Ambuulidde ebintu byonna bye nnakola.”+ 40 Abasamaliya bwe bajja gy’ali ne bamusaba abeereko nabo; n’abeera nabo okumala ennaku bbiri. 41 N’ekyavaamu, abalala bangi ne bamukkiriza olw’ebyo bye yayogera, 42 ne bagamba omukazi nti: “Tetukkiriza lw’ebyo bye wayogedde; kubanga ffe kennyini twewuliriddeko era tumanyi nti omusajja ono, ddala ye mulokozi w’ensi.”+
43 Oluvannyuma lw’ennaku ezo ebbiri, Yesu yavaayo n’agenda e Ggaliraaya. 44 Naye n’agamba nti nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi ye.+ 45 Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza olw’okuba baali balabye ebintu byonna bye yakola mu Yerusaalemi,+ kubanga nabo baaliyo ku mbaga.+
46 Awo n’addayo e Kaana eky’omu Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi omwenge.+ Waaliyo omukungu wa kabaka eyalina omwana omulwadde e Kaperunawumu. 47 Omusajja oyo bwe yawulira nti Yesu yali avudde mu Buyudaaya ng’azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende naye awonye omwana we kubanga yali anaatera okufa. 48 Naye Yesu n’amugamba nti: “Okuggyako nga mulabye obubonero n’ebyamagero, temuyinza kukkiriza.”+ 49 Omukungu wa kabaka n’amugamba nti: “Mukama wange, jjangu ng’omwana wange tannafa.” 50 Yesu n’amugamba nti: “Genda; omwana wo awonye.”+ Omusajja n’akkiriza ebigambo Yesu bye yamugamba, n’agenda. 51 Naye bwe yali agenda, abaddu be ne bamusisinkana ne bamugamba nti omwana we yali awonye. 52 N’ababuuza essaawa ze yali awoneddeko. Ne bamuddamu nti: “Omusujja gwamuvuddeko jjo ku ssaawa musanvu.” 53 Awo kitaawe w’omwana n’akitegeera nti eyo ye ssaawa yennyini Yesu gye yali amugambiddeko nti: “Omwana wo awonye.”+ Era ye n’ab’ennyumba ye bonna ne bakkiriza. 54 Kino kye kyamagero eky’okubiri+ Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya okuva mu Buyudaaya.