Isaaya
66 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Eggulu ye ntebe yange ey’obwakabaka, ate ensi ye ntebe y’ebigere byange.+
Kale nnyumba ya ngeri ki gye muyinza okunzimbira?+
Era ekifo kyange eky’okuwummuliramu kiri ludda wa?”+
2 “Omukono gwange gwe gwakola ebintu bino byonna,
Era byonna bwe bityo bwe byatuuka okubaawo,” Yakuwa bw’agamba.+
“Kale ono gwe nja okutunuulira,
Omwetoowaze era alina omwoyo oguboneredde, akankana* olw’ekigambo kyange.+
3 Oyo asala ente ennume alinga oyo atta omuntu.+
Oyo awaayo endiga ng’ekiweebwayo alinga oyo amenya ensingo y’embwa.+
Oyo awaayo ekirabo alinga oyo awaayo omusaayi gw’embizzi!+
Oyo awaayo obubaani obweru+ alinga oyo atendereza ekifaananyi.+
Balonzeewo amakubo gaabwe,
Era basanyukira ebintu ebyenyinyaza.
4 Nja kusalawo engeri y’okubabonerezaamu,+
Era ebintu bye batya bye nja okubatuusaako.
Kubanga bwe nnayita, tewali n’omu yayitaba;
Bwe nnayogera, tewali n’omu yawuliriza.+
Baakolanga ebintu ebibi mu maaso gange,
Era baasalawo okukola ebintu ebitansanyusa.”+
5 Wulira ekigambo kya Yakuwa ggwe akankana* olw’ekigambo kye:
“Baganda bo abatakwagala era abakuboola olw’erinnya lyange baagamba nti, ‘Yakuwa agulumizibwe!’+
Naye Katonda alirabika era alikuleetera okusanyuka,
Era bo be baliswala.”+
6 Waliwo oluyoogaano mu kibuga, oluyoogaano mu yeekaalu!
Yakuwa asasula abalabe be ekyo ekibagwanira.
7 Omukazi yali tannalumwa bisa, n’azaala.+
Yali tannalumwa kuzaala, n’azaala omwana ow’obulenzi.
8 Ani yali awuliddeko ekintu ng’ekyo?
Ani yali alabye ku bintu ng’ebyo?
Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu?
Oba eggwanga liyinza okuzaalibwa omulundi gumu?
Kyokka Sayuuni olwali okulumwa ebisa, n’azaala abaana be.
9 “Nnyinza okutuusa omwana okuzaalibwa ate ne simuganya kuzaalibwa?” Yakuwa bw’agamba.
“Oba okuggula nnabaana ate ne mmuggala?” Katonda wo bw’agamba.
10 Musanyukire wamu ne Yerusaalemi+ era mujaganyize wamu naye mmwe mmwenna abamwagala.+
Musanyukire nnyo wamu naye, mmwe mmwenna abamukungubagira,
11 Kubanga muliyonka ne mukkutira ddala amabeere ge ag’okubudaabuda,
Era mulinywera ddala ne musanyukira mu kitiibwa kye ekingi.
12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
Muliyonka era muliweekebwa,
Mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.
13 Nga maama bw’abudaabuda omwana we,
Nange bwe ntyo bwe ndibabudaabuda;+
Era mulibudaabudibwa olwa Yerusaalemi.+
14 Kino mulikiraba emitima gyammwe ne gisanyuka,
Amagumba gammwe galitinta ng’omuddo omuto.
15 “Kubanga Yakuwa alijja ng’omuliro,+
Era amagaali ge galinga kibuyaga,+
Alijja okwesasuza ng’alina obusungu bungi,
Okubonereza ng’akozesa ennimi z’omuliro.+
16 Kubanga Yakuwa alikozesa omuliro okutuukiriza omusango ogwasalibwa,
Alikozesa ekitala kye okutta bonna abalina omubiri;*
Era abo Yakuwa b’alitta baliba bangi.
17 “Abo abeetukuza era abeerongoosa okugenda mu nnimiro*+ nga bagoberera oyo ali mu makkati, abo abalya ennyama y’embizzi+ n’ebintu eby’omuzizo n’emmese,+ bonna balizikirira,” Yakuwa bw’agamba. 18 “Okuva bwe mmanyi ebikolwa byabwe n’ebirowoozo byabwe, ndijja ne nkuŋŋaanya abantu ab’amawanga gonna n’ennimi, era balijja ne balaba ekitiibwa kyange.”
19 “Nditeeka akabonero mu bo, era ndituma abamu ku abo abaddukira mu mawanga—abaddukira e Talusiisi,+ e Puli, n’e Ludi,+ abo abaleega omutego gw’obusaale, abaddukira e Tubali, e Yavani,+ ne mu bizinga ebiri ewala—abatawuliranga ku binkwatako oba abatalabanga ku kitiibwa kyange; balirangirira ekitiibwa kyange mu mawanga.+ 20 Balireeta baganda bammwe bonna okuva mu mawanga gonna+ ng’ekirabo eri Yakuwa; balibaleetera ku mbalaasi, mu magaali, mu bigaali ebibikkiddwako, ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira ezidduka ennyo; balibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, Yerusaalemi, ng’abantu ba Isirayiri bwe baleeta ekirabo kyabwe mu nnyumba ya Yakuwa nga kiri mu kibya ekirongoofu,” Yakuwa bw’agamba.
21 “Abamu ku bo ndibafuula bakabona ate abalala ndibafuula Abaleevi,” Yakuwa bw’agamba.
22 “Ng’eggulu eriggya n’ensi empya+ bye ntonda bwe birisigalawo mu maaso gange, ezzadde lyo n’erinnya lyo nabyo bwe bityo bwe birisigalawo,”+ Yakuwa bw’agamba.