Omubuulizi
7 Erinnya eddungi* lisinga amafuta amalungi,+ n’olunaku olw’okufiirako lusinga olw’okuzaalibwako. 2 Okugenda mu nnyumba omuli okukungubaga kisinga okugenda mu nnyumba omuli embaga,+ kubanga okufa ye nkomerero ya buli muntu, era abalamu basaanidde okukifumiitirizaako. 3 Okuba mu nnaku kisinga okuseka,+ kubanga okunyiikaala kuleetera omutima okulongooka.+ 4 Omutima gw’ab’amagezi guba mu nnyumba omuli okukungubaga, naye omutima gw’abasirusiru guba mu nnyumba omuli okusanyuka.+
5 Okuwuliriza ow’amagezi ng’akunenya+ kisinga okuwuliriza oluyimba lw’abasirusiru. 6 Kubanga ng’amaggwa bwe gatulika nga gaakira wansi w’entamu, n’enseko z’omusirusiru bwe ziba bwe zityo;+ ekyo nakyo butaliimu. 7 Okunyigirizibwa kuyinza okulalusa ow’amagezi, n’enguzi eyonoona omutima.+
8 Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo. Okuba omugumiikiriza kisinga okuba ow’amalala.+ 9 Toyanguyirizanga* kusunguwala,+ kubanga abasirusiru be baba ab’obusungu.*+
10 Tobuuzanga nti, “Lwaki ebiseera ebyayita bisinga bino ebiriwo kati?” kubanga ekyo tekiba kibuuzo kya magezi.+
11 Omuntu ow’amagezi bw’afuna obusika kiba kintu kirungi era kigasa abo abalaba ekitangaala ky’enjuba.* 12 Kubanga amagezi kya bukuumi+ nga ne ssente bwe ziri eky’obukuumi,+ naye ensonga lwaki okumanya kwe kusinga okuba okw’omugaso y’eno: Amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.+
13 Lowooza ku ebyo Katonda ow’amazima bye yakola, kubanga ani ayinza okugolola kye yakyamya?+ 14 Ku lunaku olulungi, beera musanyufu,+ naye ku lunaku olw’ebizibu,* kimanye nti zombi Katonda ye yazikola,+ abantu baleme okutegeera* ebintu ebiribatuukako mu biseera eby’omu maaso.+
15 Mu bulamu bwange obutaliimu+ ndabye ebintu byonna. Ndabye omutuukirivu afiira mu butuukirivu+ bwe n’omubi awangaala wadde nga mubi.+
16 Toyitirizanga kuba mutuukirivu+ era teweetwalanga kuba wa magezi nnyo.+ Lwaki weereetera emitawaana?+ 17 Toyitirizanga kuba mubi era tobanga musirusiru.+ Lwaki ofa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka?+ 18 Kirungi okukolera ku kulabula kuno ate na kuli oleme kukusuula muguluka;+ oyo atya Katonda ajja kukukolerako kwombi.
19 Omuntu alina amagezi gamufuula wa maanyi okusinga abantu ekkumi ab’amaanyi abali mu kibuga.+ 20 Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n’atayonoona.+
21 Ate era tossa mwoyo ku buli kigambo abantu kye boogera,+ sikulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akwogerako bubi;* 22 kubanga okimanyi mu mutima gwo nti naawe emirundi mingi oyogera bubi ku balala.+
23 Bino byonna nnabifumiitirizaako nga nkozesa amagezi ge nnina, ne ŋŋamba nti: “Nja kuba wa magezi.” Naye ekyo saakituukako. 24 Ebibaddewo bitusukkiriddeko era bya munda nnyo, ani ayinza okubitegeera?+ 25 Omutima gwange nnagussa ku bintu ebirala kubanga nnayagala mmanye amagezi kye gali era n’ensonga lwaki ebintu bibaawo. Nnayagala nnoonye ebintu bino era mbinoonyerezeeko, era ntegeere ng’obusirusiru bubi, n’eddalu busirusiru.+ 26 Kino kye nnazuula: Omukazi alinga ekitimba ky’omuyizzi, era alina omutima ogulinga akatimba k’omuvubi, n’engalo eziringa enjegere z’ekkomera, mubi okusinga okufa. Omuntu asanyusa Katonda ow’amazima ajja kuwona omukazi oyo,+ naye omukazi oyo ajja kukwasa omwonoonyi.+
27 Omubuulizi*+ agamba nti, “Laba! Kino kye nnazuula. Mbadde nnoonyereza ku bintu kimu ku kimu nsobole okutuuka ku kusalawo, 28 naye kye mbaddenga nnoonya sikifunye. Mu bantu olukumi nzuddemu omusajja omutuukirivu omu, naye mu abo bonna sirabyemu mukazi n’omu omutuukirivu. 29 Kino kyokka kye nzudde: Katonda ow’amazima yakola abantu nga bagolokofu+ naye bo ne beegunjizaawo amakubo amalala.”+