1 Samwiri
25 Nga wayiseewo ekiseera Samwiri+ yafa, era Abayisirayiri bonna ne bakuŋŋaana wamu okumukungubagira n’okumuziika okumpi n’ennyumba ye e Laama.+ Awo Dawudi n’agenda mu ddungu ly’e Palani.
2 Waaliyo omusajja mu Mawoni+ eyakoleranga emirimu gye e Kalumeeri.*+ Omusajja oyo yali mugagga nnyo; yalina endiga 3,000 n’embuzi 1,000, era mu kiseera ekyo yali asala ebyoya by’endiga ze e Kalumeeri. 3 Omusajja oyo yali ayitibwa Nabbali,+ ow’omu luggya lwa Kalebu,+ era mukazi we yali ayitibwa Abbigayiri.+ Mukazi we yali mutegeevu era ng’alabika bulungi, naye omwami yali mukambwe era nga yeeyisa bubi nnyo.+ 4 Dawudi bwe yali mu ddungu, yakiwulirako nti Nabbali asala ebyoya by’endiga ze. 5 Dawudi n’atuma gy’ali abasajja kkumi n’abagamba nti: “Mugende e Kalumeeri, era bwe munaatuuka ewa Nabbali mumunnamusize. 6 Oluvannyuma mujja kumugamba nti: ‘Wangaala era emirembe ka gibe naawe ne ku b’omu nnyumba yo era ne ku byonna by’olina. 7 Nkitegeddeko nti osala ebyoya by’endiga zo. Abasumba bo bwe baali naffe, tetwabakolako kabi konna,+ era tewali kintu kyabwe na kimu ekyababulako ebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri. 8 Buuza abasajja bo bajja kukubuulira. Abasajja bange bakwatirwe ekisa, kubanga tujjidde mu kiseera kya ssanyu.* Nkwegayiridde, wa abaweereza bo ne mutabani wo Dawudi kyonna ky’osobola okubawa.’”+
9 Awo abasajja ba Dawudi ne bagenda eri Nabbali ne bamubuulira byonna Dawudi bye yali abatumye okumugamba. Bwe baamala okumugamba, 10 Nabbali n’addamu abaweereza ba Dawudi nti: “Dawudi y’ani, era mutabani wa Yese y’ani? Ennaku zino waliwo abaddu bangi abeewaggula ku bakama baabwe.+ 11 Kale nzirira ntya emigaati gyange n’amazzi gange n’ennyama gye nsalidde abasajja bange abasala ebyoya by’endiga, ne mbiwa abantu be simanyiiko na gye bavudde?”
12 Awo abasajja ba Dawudi ne baddayo ne bamubuulira byonna by’abagambye. 13 Amangu ago Dawudi n’agamba abasajja be nti: “Mwesibe buli omu ekitala kye!”+ Awo buli omu ne yeesiba ekitala kye, Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye, abasajja nga 400 ne bagoberera Dawudi, naye abasajja 200 ne basigala nga bakuuma ebintu.
14 Naye omu ku baweereza n’agamba Abbigayiri mukazi wa Nabbali nti: “Dawudi yatumye ababaka okuva mu ddungu baagalize mukama waffe emirembe, naye mukama waffe n’abavuma.+ 15 Abasajja abo baatuyisa bulungi nnyo. Tebaatukolako kabi konna, era tewali kintu na kimu kyatubulako ebbanga lyonna lye twamala nga tuli nabo ku ttale.+ 16 Ekiseera kyonna kye twali nabo nga tulunda endiga, baali nga bbugwe gye tuli emisana n’ekiro. 17 Kale kaakano salawo ky’onookola, kubanga akabi koolekedde mukama waffe n’ab’omu nnyumba ye bonna,+ era omusajja ng’oyo atalina mugaso+ tewali ayinza kwetantala kwogera naye.”
18 Awo Abbigayiri+ n’ayanguwa n’atikka ku ndogoyi emigaati 200, n’ensumbi ennene bbiri ez’omwenge, n’endiga ttaano ezaali zimaze okuttibwa, ne seya* ttaano ez’emmere ey’empeke ensiike, n’ebitole 100 eby’ezzabbibu enkalu, n’ebitole 200 eby’ettiini.+ 19 Awo n’agamba abaweereza be nti: “Munkulemberemu mugende, nze nja kujja nga mbavaako emabega.” Naye tewali kye yagamba mwami we Nabbali.
20 Bwe yali ng’aserengeta ng’ali ku ndogoyi ng’asiikiriziddwa olusozi, Dawudi n’abasajja be nabo baali bajja gy’ali, n’abasisinkana. 21 Dawudi muli yali agamba nti: “Nnakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja oyo mu ddungu. Tewali kintu na kimu ku bintu bye byonna ekyabula,+ kyokka kati mu kirungi ansasuddemu kibi.+ 22 Kale Katonda k’akole kye kimu abalabe ba Dawudi* era asinge nawo, singa we bunaakeerera nnaaba ndeseewo omusajja* yenna ku bantu be.”
23 Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n’ava mangu ku ndogoyi n’avunnama era ne yeeyala wansi mu maaso ga Dawudi. 24 Awo n’agwa ku bigere bya Dawudi n’amugamba nti: “Mukama wange, nze gw’oba onenya; omuweereza wo k’ayogere naawe, era wuliriza omuweereza wo ky’agamba. 25 Nkwegayiridde mukama wange, tofa ku musajja oyo Nabbali atalina mugaso,+ kuba ng’erinnya lye bwe liri naye bw’atyo bw’ali. Nabbali* lye linnya lye, era obusirusiru buli mu ye. Naye nze omuweereza wo saalabye basajja ba mukama wange be watumye. 26 Kale kaakano mukama wange, nga Yakuwa bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, Yakuwa y’akuwonyezza+ okuzza omusango gw’okuyiwa omusaayi+ n’okwerokola ggwe kennyini* n’omukono gwo. Abalabe bo n’abo abaagala okutuusa akabi ku mukama wange ka babe nga Nabbali. 27 Kaakano ekirabo* kino+ omuweereza wo ky’aleetedde mukama wange ka kiweebwe abavubuka abagoberera mukama wange.+ 28 Nkwegayiridde sonyiwa ekyonoono ky’omuweereza wo, kubanga Yakuwa talirema kuzimbira mukama wange nnyumba ey’olubeerera,+ kubanga mukama wange alwana entalo za Yakuwa,+ era tewali kibi kisangiddwa mu ggwe obulamu bwo bwonna.+ 29 Bwe wanaabangawo akuwondera ng’ayagala okukutta, Yakuwa Katonda wo ajja kukukuuma ng’omuntu bw’akuuma ebintu eby’omuwendo ebizingiddwa mu nsawo; naye obulamu bw’abalabe bo ajja kubuvuumuula ng’ejjinja eriri mu nvuumuulo. 30 Yakuwa bw’aliba akoledde mukama wange ebirungi byonna bye yasuubiza, era n’akufuula mukulembeze wa Isirayiri,+ 31 tolibaako kikulumiriza oba kye wejjusa mu mutima gwo olw’okuyiwa omusaayi awatali nsonga n’olw’okwerokola* ggwe kennyini n’omukono gwo.+ Yakuwa bw’alikolera mukama wange ebirungi, ojjukiranga omuweereza wo.”
32 Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye olwa leero ojje onsisinkane! 33 Katonda akuwe omukisa olw’obutegeevu bwo, era akuwe omukisa olw’okunziyiza olwa leero okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi+ n’olw’okunziyiza okwerokola* n’omukono gwange. 34 Naye nga Yakuwa Katonda wa Isirayiri anziyizizza okukukolako akabi+ bw’ali omulamu, singa toyanguye kujja kunsisinkana,+ we bwandikeeredde wandibadde tewasigaddeewo musajja n’omu* ku bantu ba Nabbali.”+ 35 Awo Dawudi n’akkiriza ebyo Abbigayiri bye yali amuleetedde, era n’amugamba nti: “Ddayo mirembe mu nnyumba yo. Mpulidde by’oŋŋambye era nja kukukolera by’onsabye.”
36 Oluvannyuma Abbigayiri yaddayo eri Nabbali. Nabbali yali afumbye ekijjulo nga kiringa ekijjulo kya kabaka, era Nabbali yali* musanyufu era ng’atamidde nnyo; Abbigayiri teyamugamba kintu kyonna okutuusa ku makya. 37 Ku makya, nga Nabbali omwenge gumuweddeko, mukyala we yamubuulira ebintu ebyo, omutima gwe ne guba ng’ogw’omuntu afudde, era n’agalamira awo ng’asannyaladde, ng’alinga ejjinja. 38 Oluvannyuma lw’ennaku nga kkumi, Yakuwa yakomya obulamu bwa Nabbali.
39 Dawudi bwe yawulira nti Nabbali afudde, n’agamba nti: “Yakuwa atenderezebwe, ampolerezza+ n’anzigyako ekivume kya Nabbali+ era n’aziyiza omuweereza we okukola ekintu kyonna ekibi,+ era ebibi Nabbali bye yakola, Yakuwa abizizza ku mutwe gwe!” Awo Dawudi n’atuma ababaka eri Abbigayiri ng’amusaba abe mukazi we. 40 Abaweereza ba Dawudi ne bagenda eri Abbigayiri e Kalumeeri, ne bamugamba nti: “Dawudi atutumye gy’oli, tukutwale obeere mukazi we.” 41 Amangu ago n’ayimuka n’avunnama ku ttaka, n’agamba nti: “Nzuuno omuddu wo, era nnaabanga omuweereza anaanaazanga ebigere+ by’abaweereza ba mukama wange.” 42 Abbigayiri+ n’ayanguwa n’ayimuka ne yeebagala endogoyi n’agenda, ng’abaweereza be abakazi bataano bamuvaako emabega; yagenda n’ababaka ba Dawudi n’afuuka mukazi we.
43 Dawudi yali awasizza ne Akinowamu+ ow’e Yezuleeri,+ era abakazi abo bombi baafuuka bakyala be.+
44 Naye Sawulo yali addidde Mikali+ muwala we eyali mukazi wa Dawudi, n’amuwa Paluti+ mutabani wa Layisi, ow’e Galimu.