Abaruumi
14 Musembeze omuntu omunafu mu kukkiriza,+ naye temumusalira musango olw’endowooza ze ez’enjawulo.* 2 Omuntu omu alina okukkiriza okumusobozesa okulya buli kintu, naye omunafu alya nva eziva mu bimera zokka. 3 Oyo alya aleme kunyooma oyo atalya, era n’oyo atalya aleme kusalira musango oyo alya,+ kubanga Katonda yamusembeza. 4 Ggwe ani asalira omuweereza w’omulala omusango?+ Mukama we y’asalawo obanga anaayimirira oba anaagwa.+ Mazima ddala ajja kuyimirira kubanga Yakuwa* asobola okumuyimiriza.
5 Omuntu omu olunaku olumu alutwala nga lusinga olulala;+ omulala olunaku olumu alutwala nga lulinga endala zonna;+ buli muntu abe mukakafu ku ekyo ky’akkiriza. 6 Oyo akwata olunaku alukwata ku lwa Yakuwa.* Era n’oyo alya, alya ku lwa Yakuwa,* kubanga yeebaza Katonda;+ n’oyo atalya, talya ku lwa Yakuwa,* kyokka naye yeebaza Katonda.+ 7 Mu butuufu, tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe,+ era tewali n’omu afa ku bubwe. 8 Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Yakuwa,*+ era bwe tufa, tufa ku bwa Yakuwa.* N’olwekyo, ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tuli ba Yakuwa.*+ 9 Olw’ensonga eyo, Kristo yafa era n’azuukira, alyoke abeere Mukama w’abafu n’abalamu.+
10 Naye lwaki osalira muganda wo omusango?+ Oba, lwaki onyooma muganda wo? Ffenna tujja kuyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda ey’okusalirako emisango.+ 11 Kubanga kyawandiikibwa nti: “‘Nga bwe ndi omulamu,’+ Yakuwa* bw’agamba, ‘buli vviivi lirinfukaamirira, era buli lulimi lulyatula mu lujjudde nti nze Katonda.’”+ 12 N’olwekyo, buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.+
13 Kale, buli omu ku ffe alekere awo okusalira munne omusango,+ naye mumalirire obutateerawo wa luganda kyesittaza oba ekimuviirako okugwa.+ 14 Mmanyi era ndi mukakafu mu Mukama waffe Yesu nti tewali kintu kitali kirongoofu;+ wabula tekiba kirongoofu eri oyo akitwala nti si kirongoofu. 15 Bwe kiba nti onakuwaza muganda wo olw’emmere gy’olya, oba tokyatambulira mu kwagala.+ Oyo Kristo gwe yafiirira tomuzikiriza olw’emmere gy’olya.+ 16 N’olwekyo, temulekanga kirungi kye mukola okwogerwako obubi. 17 Kubanga Obwakabaka bwa Katonda tebutegeeza kulya na kunywa,+ wabula butegeeza butuukirivu, mirembe, n’essanyu okuyitira mu mwoyo omutukuvu. 18 Kubanga oyo aweereza Kristo mu ngeri eyo akkirizibwa Katonda era asiimibwa abantu.
19 N’olwekyo, tukole ebyo ebireeta emirembe+ era ebituyamba okuzimbagana.+ 20 Lekera awo okwonoona omulimu gwa Katonda olw’emmere.+ Kyo kituufu nti ebintu byonna birongoofu, naye kiba kibi omuntu okulya, bwe kiba nga kinaaleetera abalala okwesittala.+ 21 Kiba kirungi obutalya nnyama, oba obutanywa mwenge, oba obutakola kintu kyonna ekyesittaza muganda wo.+ 22 Okukkiriza kw’olina kukuume nga kuli wakati wo ne Katonda. Alina essanyu omuntu oyo ateesalira musango olw’ekyo ky’asalawo okukola. 23 Naye bw’aba abuusabuusa, asingibwa omusango singa alya, kubanga talya lwa kukkiriza. Mazima ddala, buli kintu ekitakolebwa lwa kukkiriza kiba kibi.