Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abaruumi
OMUTUME Pawulo atuuka mu kibuga e Kkolinso awo nga 56 C.E. ng’ali ku lugendo lwe olw’okusatu olw’obuminsani. Akimanyiiko nti engeri Abakristaayo b’omu Ruumi Abayudaaya gye batunuuliramu ebintu ya njawulo ku y’Abakristaayo ab’Amawanga. Pawulo abawandiikira ebbaluwa okubayamba okubeera obumu mu Kristo.
Mu bbaluwa ye eyo eri Abaruumi, Pawulo annyonnyola ekisobozesa abantu okuweebwa obutuukirivu n’engeri abantu ng’abo gye balina okutambuzaamu obulamu bwabwe. Ebbaluwa eyo etuyamba okweyongera okumanya Katonda n’Ekigambo kye, era eteeka essira ku kisa kya Katonda eky’ensusso, ne ku kifo Yesu ky’alina mu kulokolebwa kwaffe.—Beb. 4:12.
BAWEEBWA OBUTUUKIRIVU—BATYA?
Pawulo awandiika nti: “Bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa [kya Katonda] olw’okununulibwa okuli mu Kristo Yesu.” Era Pawulo agamba nti: “Omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza awatali bikolwa bya mu mateeka.” (Bar. 3:23, 24, 28) Olw’okukkiririza mu kikolwa ekimu ‘eky’obutuukirivu’ Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘baweebwa obutuukirivu’ okufuna obulamu obw’omu ggulu era bafuuka basika wamu ne Kristo, ate bo ‘ab’ekibiina ekinene’ ekya ‘ab’endiga endala’ ‘baweebwa obutuukirivu’ ne bafuuka mikwano gya Katonda abalina essuubi ery’okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’—Bar. 5:18; Kub. 7:9, 14, NW; Yok. 10:16; Yak. 2:21-24; Mat. 25:46.
Pawulo abuuza nti: “Tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Kitalo.” Pawulo agamba nti: ‘Muli baddu ba kibi ekireeta okufa oba muli baddu ba buwulize obuleeta obutuukirivu.’ (Bar. 6:15, 16) Era agamba nti: “Bwe munaafiisanga ebikolwa by’omubiri olw’[o]mwoyo, muliba balamu.”—Bar. 8:13.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:24-32—Empisa ez’obugwenyufu ezoogerwako wano zaalinga mu Bayudaaya oba mu b’Amawanga? Wadde ng’ebyogerwako wano biyinza okuba nga byakolebwanga mu Bayudaaya ne mu b’Amawanga, Pawulo wano yali ayogera ku Baisiraeri bakyewaggula ab’edda. Wadde nga baali bamanyi amateeka ga Katonda ag’obutuukirivu, ‘tebakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi.’ N’olwekyo, baalina omusango.
3:24, 25—‘Ekinunulo kya Kristo Yesu’ kyasobola kitya okutangirira “ebibi ebyakolebwanga edda” nga tekinnaba kuweebwayo? Obunnabbi obukwata ku Masiya obwasooka obuli mu Olubereberye 3:15 bw’atuukirizibwa mu 33 C.E., Yesu bwe yattibwa ku muti ogw’okubonaabona. (Bag. 3:13, 16) Kyokka, Yakuwa olwamala okwogera ebigambo by’obunnabbi ebyo, ekinunulo yali akitwala ng’ekimaze okuweebwayo, kubanga tewali kintu kyonna kiyinza kumulemesa kutuukiriza bigendererwa bye. N’olwekyo, ng’asinziira ku ssaddaaka Yesu Kristo gye yali ajja okuwaayo mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa yali asobola okusonyiwa ebibi by’abazzukulu ba Adamu abaali bakkiririza mu kisuubizo ekyo. Ekinunulo era kisobozesa abantu abaafa mu kiseera ng’Obukristaayo tebunnatandika okuzuukizibwa.—Bik. 24:15.
6:3-5—Kitegeeza ki okubatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu n’okubatizibwa okuyingira mu kufa kwe? Yakuwa bw’afuka omwoyo omutukuvu ku bagoberezi ba Kristo, babeera bumu ne Yesu era beegatta ku kibiina, nga kino gwe mubiri gwa Kristo, nga ye gwe Mutwe gwakyo. (1 Kol. 12:12, 13, 27; Bak. 1:18) Okwo kwe kubatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta era ‘babatizibwa okuyingira mu kufa kwa Kristo’ mu ngeri nti obulamu bwabwe buba bwa kwefiiriza era beefiiriza essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. N’olwekyo, okufaananako Kristo, bwe bafa obulamu bwabwe babuwaayo nga ssaddaaka wadde ng’okufa okwabwe tekukola nga kinunulo. Okubatizibwa kwabwe okuyingira mu kufa kwa Kristo kukomekkerezebwa bwe bafa ne bazuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu.
7:8-11—‘Ekibi kyafuna kitya we kiyima okuyita mu mateeka’? Amateeka gaayamba abantu okutegeera ekibi mu bujjuvu, ne beeyongera okukimanya nti boonoonyi. Kino kyabaleetera okutegeera nti baali bakola ebibi bingi nga tebamanyi, era bangi baakizuula nti baali boonoonyi okusinga bwe baali balowooza. N’olwekyo, kiyinza okugambibwa nti ekibi kyafuna we kiyima okuyita mu Mateeka.
Bye Tuyigamu:
1:14, 15. Waliwo ensonga eziwerako lwaki tulina okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Emu ku zo eri nti tulina ebbanja ly’abantu abaagulibwa n’omusaayi gwa Yesu era tuvunaanyizibwa okubayamba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda.
1:18-20. Abantu abatatya Katonda era abatali batuukirivu “tebalina kya kuwoza” kubanga engeri za Katonda ezitalabika zitegeererwa ku bintu bye yatonda.
2:28; 3:1, 2; 7:6, 7. Pawulo bw’amala okwogera ku bintu ebitasanyusa Bayudaaya, ayogera ebirala ebibawooyawooya. Kino kituwa ekyokulabirako ku ngeri gye tusaanidde okukwatamu ensonga ezeetaaga obwegendereza.
3:4. Abantu kye bagamba bwe kiba kikontana n’Ekigambo kya Katonda, tulaga nti ‘Katonda wa mazima’ nga twesiga Baibuli ky’egamba era nga tukola nga Katonda bw’ayagala. Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa, tusobola okubayamba okukiraba nti Katonda wa mazima.
4:9-12. Okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa ng’obutuukirivu ne bwe yali nga tannakomolebwa ku myaka 99. (Lub. 12:4; 15:6; 16:3; 17:1, 9, 10) Mu ngeri eyo, Katonda yalaga bulungi ekisobozesa omuntu okuba omutuukirivu mu maaso ge.
4:18. Okuba n’okukkiriza kyetaagisa okuba n’essuubi. Okukkiriza kwaffe kwesigamye ku kuba na ssuubi.—Beb. 11:1.
5:18, 19. Mu bumpimpi era mu ngeri etegeerekeka obulungi Pawulo alaga engeri Yesu gy’afaananamu Adamu, era alaga engeri omuntu omu gy’asobola ‘okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Mat. 20:28) Bwe tuba tuyigiriza abalala, tusaanidde okunnyonnyola ebintu mu bumpimpi era mu ngeri etegeerekeka obulungi.—1 Kol. 4:17.
7:23. Ebitundu byaffe eby’omubiri, gamba ng’emikono, amagulu, n’olulimi biyinza ‘okutuleetera okufugibwa etteeka ly’ekibi,’ n’olwekyo tusaanidde okwewala okubikozesa obubi.
8:26, 27, NW. Bwe twesanga mu mbeera enzibu nga tetumanyi kya kusaba, ‘omwoyo gwennyini gwegayirira ku lwaffe.’ Olwo nno, Yakuwa, Oyo ‘awulira okusaba,’ akkiriza ebigambo by’essaala eziri mu Kigambo kye ne biba ng’ebyogeddwa ffe.—Zab. 65:2.
8:38, 39. Ebizibu, dayimooni, ne gavumenti z’abantu tebisobola kuleetera Yakuwa kulekera awo kutwagala; era naffe tebirina kutuleetera kulekera awo kumwagala.
9:22-28; 11:1, 5, 17-26. Obunnabbi bungi obukwata ku kuzzibwawo kwa Isiraeri butuukirizibwa ab’ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ng’abo abakirimu ‘tebayitibwa kuva mu Bayudaaya bokka, naye era ne mu b’amawanga.’
10:10, 13, 14. Okwagala Katonda ne bantu bannaffe wamu n’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa n’ebisuubizo bye, bitukubiriza okuba abanyiikivu mu buweereza obw’Ekikristaayo.
11:16-24, 33, NW. ‘Ng’ekisa kya Katonda n’obusungu bwe’ biri mu kigero kituufu! Yee, “Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; kubanga amakubo ge gonna [ga bwenkanya].”—Ma. 32:4.
OBULAMU OBUTUUKANA N’OKUWEEBWA OBUTUUKIRIVU
Pawulo agamba nti: “Kyenvudde mbeegayirira, ab’oluganda, olw’okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda.” (Bar. 12:1) Olw’okuba Abakristaayo baweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza, Pawulo by’addako okwogera bikwata ku ngeri buli omu gy’atunuuliramu Mukristaayo munne, engeri gy’atunuuliramu abalala, era n’ab’obuyinza.
Pawulo awandiika nti: “Buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza.” Agamba nti: “Okwagala [kwammwe] kubeerenga kwa mazima.” (Bar. 12:3, 9) “Buli muntu awulirenga abakulu abafuga.” (Bar. 13:1) Bwe kituuka ku nsonga omuntu z’alina okwesalirawo okusinziira ku muntu we ow’omunda, Pawulo akubiriza Abakristaayo ‘obutasalira bannaabwe musango.’—Bar. 14:13.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
12:20—Tuyinza tutya ‘okukumira amanda g’omuliro’ ku mutwe gw’omulabe? Mu biseera bya Baibuli, ebintu nga zaabu ne ffeeza byateekebwanga mu kyoto nga wansi waakyo ne waggulu wateekeddwayo amanda agaaka. Amanda agaabanga waggulu gaabyokyanga ne bisaanuuka, era ne byeyawula ku bikyafu ebyabangamu. Mu ngeri y’emu, tukumira amanda g’omuliro ku mutwe gw’omulabe bwe tumuyisa obulungi n’ayoleka engeri ze ennungi mu kifo ky’okuba omukakanyavu.
12:21—‘Tuwangula tutya obubi olw’obulungi’? Engeri emu gye tukikolamu kwe kunywerera ku mulimu Yakuwa gwe yatuwa ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka okutuusa lw’aligamba nti guwedde.—Mak. 13:10.
13:1, NW—Ab’obuyinza abafuga okuba nti ‘Katonda y’abakkiriza okubeera mu bifo byabwe’ kitegeeza ki? Gavumenti z’abantu ‘Katonda yazikkiriza okubeera mu bifo byazo’ mu ngeri nti Katonda azikkiriza okufuga, era yalagula okuteekebwawo kw’ezimu ku zo. Kino kyeyolekera bulungi mu ebyo Baibuli bye yalagula ku bafuzi abamu.
Bye Tuyigamu:
12:17, 19. Bwe tuwoolera eggwanga tuba tukoze ekintu ekirina okukolebwa Yakuwa yekka. Nga kuba kwetulinkiriza kwa maanyi ‘okuwalana omuntu ekibi olw’ekibi’!
14:14, 15. Tetusaanidde kuwa muganda waffe bya kulya oba bya kunywa ebiyinza okumwesittaza.
14:17. Okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda okusinga kisinziira ku kuba mutuukirivu, wa mirembe era musanyufu, so si ku biki omuntu by’alya ne by’anywa oba by’asalawo obutalya n’obutanywa.
15:7. Tusaanidde okwaniriza awatali kusosola abo bonna abajja mu kibiina nga baagala okumanya amazima, n’okubuulira bonna be tusanga obubaka bw’Obwakabaka.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Ekinunulo kitangirira ebibi ebyakolebwa nga tekinnaweebwayo?