1 Abakkolinso
7 Ku bikwata ku bintu bye mwawandiika, kiba kirungi omusajja obutakwata ku* mukazi; 2 naye olw’obwenzi* obuyitiridde, buli musajja abeere ne mukyala we,+ n’omukazi abeere n’omwami we.+ 3 Omwami asasule mukyala we ekimugwanira, n’omukyala naye asasule omwami we ekimugwanira.+ 4 Omukyala tafuga mubiri gwe, wabula omwami we y’agufuga; mu ngeri y’emu, n’omwami naye tafuga mubiri gwe wabula mukyala we y’agufuga. 5 Buli omu tammanga munne, okuggyako nga waliwo ekiseera kye mulagaanye, musobole okufuna ekiseera okusaba era musobole okuddamu okuba awamu, Sitaani alemenga okubakema olw’obuteefuga. 6 Kyokka, kino sikiwa ng’ekiragiro wabula muyinza okukikola. 7 Naye nnandyagadde abantu bonna babeere nga nze. Kyokka, buli muntu alina ekirabo kye+ Katonda kye yamuwa, omu mu ngeri eno, omulala mu ngeri endala.
8 Naye abatali bafumbo ne bannamwandu mbagamba nti, kirungi basigale nga nze.+ 9 Naye bwe baba tebasobola kwefuga, bayingire obufumbo, kubanga okuyingira obufumbo kisinga okufugibwa okwegomba okw’amaanyi.+
10 Abafumbo mbalagira, naye si nze abalagira wabula Mukama waffe, nti omukyala talekanga mwami we.+ 11 Naye bw’amulekanga, tafumbirwanga, oba si ekyo addiŋŋane n’omwami we; n’omwami talekanga mukyala we.+
12 Abalala nze mbagamba, so si Mukama waffe,+ nti ow’oluganda yenna bw’aba n’omukyala atali mukkiriza, naye ng’omukyala oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga; 13 n’omukyala alina omwami atali mukkiriza era ng’omwami oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga. 14 Kubanga omwami atali mukkiriza atukuzibwa lwa mukyala we, n’omukyala atali mukkiriza atukuzibwa lwa wa luganda; singa tekyali bwe kityo abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu. 15 Naye atali mukkiriza bw’asalawo okugenda, muleke agende; muganda waffe oba mwannyinaffe tavunaanyizibwa mu mbeera ng’eyo, naye Katonda yabayita okuba mu mirembe.+ 16 Ggwe omukyala, omanyi otya obanga ojja kulokola omwami wo?+ Oba ggwe omwami, omanyi otya obanga ojja kulokola mukyala wo?
17 Buli omu atambule nga Yakuwa* bwe yamuwa omugabo, era nga Katonda bwe yamuyita.+ Bwe ntyo bwe ndagira ebibiina byonna. 18 Waliwo eyayitibwa nga mukomole?+ Alemenga okufuuka atali mukomole. Waliwo eyayitibwa nga si mukomole? Alemenga okukomolebwa.+ 19 Okukomolebwa si kikulu, n’obutakomolebwa si kikulu,+ ekikulu kwe kukwata ebiragiro bya Katonda.+ 20 Buli muntu asigale mu mbeera gye yayitirwamu.+ 21 Wayitibwa ng’oli muddu? Ekyo tekikweraliikiriza;+ naye bw’oba ng’osobola okufuuka ow’eddembe, kozesa akakisa ako. 22 Omuntu yenna mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu afuna eddembe era aba wa Mukama waffe;+ mu ngeri y’emu, oyo eyayitibwa nga wa ddembe, muddu wa Kristo. 23 Mwagulwa omuwendo munene;+ mulekere awo okubeera abaddu b’abantu. 24 Ab’oluganda, buli muntu embeera gye yayitirwamu, asigale mu mbeera eyo mu maaso ga Katonda.
25 Ku bikwata ku batali bafumbo,* sirina kiragiro kye mbawa kuva eri Mukama waffe, naye mbawa endowooza yange+ ng’oyo eyasaasirwa Mukama waffe nsobole okubeera omwesigwa. 26 N’olwekyo, olw’ebizibu ebiriwo, ndowooza nti kiba kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27 Wagattibwa n’omukyala? Toyawukana naye.+ Wayawukana n’omukyala? Tonoonya mukyala. 28 Naye ne bw’oyingira obufumbo, oba tokoze kibi. Era omuntu atali mufumbo* bw’ayingira obufumbo aba takoze kibi. Naye abo abayingira obufumbo bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe. Naye mmwe mbawonya okubonaabona.
29 Ate era ab’oluganda, mbagamba nti ekiseera ekisigaddeyo kitono.+ N’olwekyo, abo abalina abakyala babe ng’abatabalina, 30 n’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka, abagula babe ng’abatalina bintu, 31 n’abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu; kubanga embeera y’ensi eno ekyukakyuka. 32 Njagala muleme kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeeraliikirira ebintu bya Mukama waffe, engeri gy’ayinza okusanyusaamu Mukama waffe. 33 Naye omusajja omufumbo yeeraliikirira bintu bya nsi,+ engeri gy’ayinza okusanyusaamu mukyala we, 34 era aba agabanyiziddwamu. Ate omukazi atali mufumbo oba embeerera, yeeraliikirira bintu bya Mukama waffe,+ asobole okuba omutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bintu bya nsi, engeri gy’ayinza okusanyusaamu omwami we. 35 Kino nkibagamba olw’okubaganyula mmwe, si lwa kubakugira, wabula okubasobozesa okukola ekisaanira n’okuweereza Mukama waffe nga tewali kibataataaganya.
36 Naye omuntu yenna alowooza nti okusigala nga si mufumbo kimuleetera okweyisa mu ngeri etesaana, bw’aba ng’amaze okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka, era ng’okuyingira obufumbo kye kintu ekituufu okukola, akole ky’ayagala; aba takoze kibi. Abantu ng’abo bayingire obufumbo.+ 37 Naye singa omuntu yenna aba amaliridde mu mutima gwe, nga talina bwetaavu buno, naye ng’asobola okwefuga, era ng’asazeewo mu mutima gwe okusigala nga si mufumbo, ajja kuba akoze bulungi.+ 38 N’olwekyo, oyo ayingira obufumbo aba akoze bulungi, naye oyo asigala nga si mufumbo y’asingako.+
39 Omukyala aba asibiddwa ng’omwami we akyali mulamu.+ Naye omwami we bw’afa* aba wa ddembe okufumbirwa gw’ayagala, naye mu Mukama waffe mwokka.+ 40 Naye okusinziira ku ndowooza yange, bw’asigala nga bw’ali lw’asinga okuba omusanyufu. Ndi mukakafu nti nnina omwoyo gwa Katonda.