Engero
8 Amagezi tegakoowoola?
N’okutegeera tekwogerera waggulu?+
2 Amagezi gayimirira ku bifunvu+ ku mabbali g’ekkubo,
Ne mu masaŋŋanzira.
4 “Mmwe abantu, mbayita;
Nkoowoola buli omu.*
5 Mmwe abatalina bumanyirivu, muyige okubeera ab’amagezi;+
Mmwe abasirusiru, mufune omutima omutegeevu.
6 Muwulirize, kubanga bye njogera bikulu,
Emimwa gyange bye gyogera bituufu;
7 Akamwa kange bye koogera bya mazima,
Emimwa gyange gikyayira ddala ebintu ebibi.
8 Byonna akamwa kange bye koogera bya butuukirivu.
Tewali na kimu ku byo kinyooleddwanyooleddwa oba kikyamye.
9 Bitegeerekeka bulungi eri abategeevu,
Era bituufu eri abo abafunye okumanya.
10 Mu kifo kya ffeeza, mulondewo bye mbayigiriza,
Ne mu kifo kya zzaabu asinga obulungi, mulondewo okumanya,+
11 Kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja;*
Ebintu ebirala byonna ebyegombebwa tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
12 Nze amagezi mbeera wamu n’okutegeera;
Nfunye okumanya n’obusobozi bw’okulowooza obulungi.+
13 Okutya Yakuwa kwe kukyawa ebintu ebibi.+
Nkyawa okwegulumiza, amalala,+ ekkubo ebbi, n’ebigambo ebitasaana.+
15 Nnyamba bakabaka okufuga,
Nnyamba abakungu okuteekawo amateeka ag’obutuukirivu.+
16 Nnyamba abafuzi okufuga,
Era nnyamba abakungu okulamula mu butuukirivu.
17 Njagala abo abanjagala,
N’abo abannoonya bajja kunzuula.+
18 Nnina obugagga n’ekitiibwa,
Era nnina eby’obugagga eby’olubeerera n’obutuukirivu.
19 Ebyo bye ngaba bisinga zzaabu, wadde oyo alongooseddwa,
Era ebirabo bye mbawa bisinga ffeeza asinga obulungi.+
20 Mu kkubo ery’obutuukirivu mwe ntambulira,
Wakati mu mpenda ez’obwenkanya;
21 Abanjagala mbawa eby’obusika eby’omuwendo,
Era nzijuza amaterekero gaabwe.
24 Nnateekebwawo nga tewannabaawo nnyanja,+
Wadde ensulo ezijjudde amazzi.
25 Nnateekebwawo ng’ensozi tezinnassibwawo,
Era nga n’obusozi tebunnateekebwawo,
26 Nga tannatonda nsi n’ettale,
N’ettaka ly’oku nsi eryasooka.
27 Bwe yali ateekateeka eggulu+ nnaliwo;
Bwe yateekerawo amazzi ensalo,*+
28 Bwe yassaawo* ebire,
Bwe yassaawo ensulo z’ennyanja,
29 Bwe yateerawo ennyanja ekiragiro
Ereme kusukka nsalo ze yateekawo,*+
Bwe yassaawo emisingi gy’ensi,*
Nze gwe yayagalanga ennyo;+
Nnasanyukiranga mu maaso ge bulijjo;+
31 Nnasanyukira ensi ye ebeerekamu,
Era okusingira ddala nnayagala nnyo abaana b’abantu.*
32 Kale baana bange, mumpulirize;
Balina essanyu abo abatambulira mu makubo gange.
33 Muwulirize bye mbayigiriza+ mubenga n’amagezi,
Temubivangako.
34 Alina essanyu oyo ampuliriza.
Akeera okujja* ku nzigi zange buli lunaku,
N’alindira ku myango gy’enzigi zange;
35 Kubanga oyo anzuula ajja kufuna obulamu,+
Era asiimibwa Yakuwa.
36 Naye oyo anneesamba yeerumya yekka;
N’abo abankyawa baagala okufa.”+