Makko
14 Mu kiseera ekyo waali wabulayo ennaku bbiri embaga ey’Okuyitako+ n’ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ zituuke.+ Bakabona abakulu n’abawandiisi baali bakola olukwe olw’okumukwata, bamutte;+ 2 baali bagamba nti: “Tetumukwata ku lunaku lwa mbaga; abantu bayinza okwegugunga.”
3 Bwe yali e Bessaniya ng’alya* mu nnyumba ya Simooni omugenge, omukazi n’ajja n’eccupa y’amafuta ag’akaloosa agayitibwa naludo, ag’omuwendo omungi, agaali gatatabuddwamu kintu kyonna. N’asumulula eccupa n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.+ 4 Awo abamu ne basunguwala, ne bagamba nti: “Lwaki amafuta gano ag’akaloosa goonooneddwa? 5 Gandibadde gatundibwa eddinaali* ezisukka mu 300 era ssente ezo ne ziweebwa abaavu!” Omukazi ne bamusunguwalira nnyo.* 6 Naye Yesu n’abagamba nti: “Mumuleke. Lwaki mumumalako emirembe? Ankoledde ekintu ekirungi.+ 7 Abaavu mubeera nabo bulijjo,+ era musobola okubakolera ebirungi buli lwe muba mwagadde, naye temujja kuba nange bulijjo.+ 8 Akoze ky’asobola; asiize omubiri gwange amafuta ag’akaloosa ng’aguteekateeka okuziikibwa.+ 9 Mazima mbagamba nti, yonna mu nsi amawulire amalungi gye galibuulirwa,+ omukazi ono ky’akoze nakyo kiryogerwako okumujjukira.”+
10 Awo Yuda Isukalyoti, omu ku Kkumi n’Ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu ng’ayagala okumuwaayo gye bali.+ 11 Bwe baawulira kye yabagamba, ne basanyuka era ne bamusuubiza okumuwa ssente eza ffeeza.+ Awo n’atandika okunoonya engeri y’okumulyamu olukwe.
12 Awo ku lunaku olusooka olw’embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse,+ kwe baaweerangayo ssaddaaka ey’embaga ey’Okuyitako,+ abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tukutegekere wa gy’onooliira Okuyitako?”+ 13 Awo n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti: “Mugende mu kibuga, era mujja kusanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi. Mumugoberere,+ 14 era mugambe nnannyini nnyumba mw’anaayingira nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: “Ekisenge ky’abagenyi mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange kiri ludda wa?”’ 15 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke; eyo gye muba mututegekera.” 16 Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bayingira mu kibuga ne basanga nga byonna biringa bwe yali abagambye, ne bategeka embaga ey’Okuyitako.
17 Obudde bwe bwawungeera, n’ajja n’Ekkumi n’Ababiri.+ 18 Bwe baali batudde ku mmeeza nga balya, Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, omu ku mmwe alya nange, ajja kundyamu olukwe.”+ 19 Ne banakuwala era kinnoomu ne bamubuuza nti: “Ye nze?” 20 N’abagamba nti: “Y’oyo omu ku Kkumi n’Ababiri, akoza nange mu kibya.+ 21 Mazima ddala Omwana w’omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe bimwogerako, naye zisanze omuntu oyo alyamu Omwana w’omuntu olukwe!+ Kyandisinzeeko singa omuntu oyo teyazaalibwa.”+
22 Bwe baali balya, n’akwata omugaati n’asaba, n’agumenyamu, era n’agubawa ng’agamba nti: “Mukwate; guno gukiikirira omubiri gwange.”+ 23 Ate era n’akwata ekikopo, ne yeebaza, n’akibawa, bonna ne banywako.+ 24 N’abagamba nti: “Kino kikiikirira ‘omusaayi gwange+ ogw’endagaano,’+ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi.+ 25 Mazima mbagamba nti sirinywa nate ku mwenge gwa mizabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa nga musu mu Bwakabaka bwa Katonda.” 26 Bwe baamala okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda,* ne bagenda ku Lusozi olw’Emizeyituuni.+
27 Yesu n’abagamba nti: “Mmwenna mujja kwesittala, kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba,+ endiga ne zisaasaana.’+ 28 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulemberamu okugenda e Ggaliraaya.”+ 29 Naye Peetero n’amugamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala, nze sijja kwesittala.”+ 30 Yesu n’amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti leero, mu kiro kino kyennyini, enkoko bw’eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ 31 Naye Peetero ne yeeyongera okukikkaatiriza nti: “Ne bwe kinaaba nga kitegeeza kufiira wamu naawe, sijja kukwegaana.” N’abalala bonna ne boogera ekintu kye kimu.+
32 Awo ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano, ŋŋende nsabe.”+ 33 N’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana,+ n’atandika okuwulira ennaku ey’amaanyi era ne yeeraliikirira nnyo. 34 N’abagamba nti: “Nnina ennaku ya maanyi,+ ejula okunzita. Musigale wano, mutunule.”+ 35 Ne yeeyongerako katono mu maaso n’avunnama n’atandika okusaba nti bwe kiba kisoboka essaawa eyo ereme kumutuukako. 36 N’agamba nti: “Abba,*+ ebintu byonna biyinzika gy’oli; nzigyaako ekikopo kino. Naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”+ 37 Awo n’akomawo n’abasanga nga beebase, n’agamba Peetero nti: “Simooni, weebase? Tosobodde kusigala ng’otunula wadde essaawa emu bw’eti?+ 38 Musigale nga mutunula era musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.+ Kyo kituufu omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”+ 39 N’addayo nate, n’asaba ng’ayogera ebigambo bye bimu.+ 40 N’akomawo nate n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaali gabazitoye, ne batamanya kya kumuddamu. 41 N’akomawo omulundi ogw’okusatu n’abagamba nti: “Mu kiseera nga kino mwebase era muwummudde! Ekyo kimala! Essaawa etuuse!+ Laba! Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’aboonoonyi. 42 Musituke tugende. Laba! Andyamu olukwe atuuse.”+
43 Bwe yali akyayogera, amangu ago Yuda, omu ku Kkumi n’Ababiri, n’atuuka ng’ali n’ekibinja ky’abantu nga balina ebitala n’emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, abawandiisi, n’abakadde.+ 44 Oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero kwe baali bajja okumutegeerera ng’agamba nti: “Gwe nnaanywegera nga y’oyo; mumukwate, mumutwale.” 45 Awo n’ajja butereevu w’ali n’amugamba nti: “Labbi!” era n’amunywegera. 46 Ne bamukwata. 47 Naye, omu ku abo abaali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala kye n’atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amukutulako okutu.+ 48 Naye Yesu n’abagamba nti: “Muzze n’ebitala n’emiggo okunkwata ng’abakwata omubbi?+ 49 Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu ne njigiriza+ naye ne mutankwata. Naye kino kibaddewo Ebyawandiikibwa bisobole okutuukirira.”+
50 Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.+ 51 Naye omuvubuka eyali yeebikkiridde ku mubiri gwe olugoye lwa kitaani lwokka, n’amugoberera; ne bagezaako okumukwata, 52 naye n’abeesimattulako, n’abalekera olugoye, n’adduka ng’ali bwereere.*
53 Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu,+ era bakabona abakulu bonna, abakadde, n’abawandiisi ne bakuŋŋaana.+ 54 Naye Peetero n’amugoberera ng’amwesudde akabanga akawerako, n’atuuka mu luggya lwa kabona asinga obukulu, n’atuula wamu n’abaweereza n’ayota omuliro.+ 55 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu n’ab’Olukiiko Olukulu bonna baali banoonya obujulizi bwe bandisinziddeko okutta Yesu, naye ne batabufuna.+ 56 Bangi baamuwaako obujulizi obw’obulimba+ naye nga tebukwatagana. 57 Era abamu baasituka ne bawa obujulizi obw’obulimba nga bagamba nti: 58 “Twamuwulira ng’agamba nti: ‘Nja kumenya yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono, era mu nnaku ssatu nja kuzimba endala, etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’”+ 59 Naye n’obujulizi obwo nabwo bwali tebukwatagana.
60 Awo kabona asinga obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti: “Tolina na kimu ky’oddamu? Kiki ky’oyogera ku ebyo abasajja bano bye bakulumiriza?”+ 61 Naye n’asirika n’ataddamu kigambo kyonna.+ Nate kabona asinga obukulu n’amubuuza nti: “Ggwe Kristo Omwana w’Oyo Atenderezebwa?” 62 Yesu n’addamu nti: “Ye nze; era mugenda kulaba Omwana w’omuntu+ ng’atudde ku mukono ogwa ddyo+ ogw’Oyo ow’Amaanyi, era ng’ajjira ku bire eby’eggulu.”+ 63 Olwawulira ebyo kabona asinga obukulu n’ayuza ebyambalo bye n’agamba nti: “Tukyetaaga obujulizi obulala?+ 64 Muwulidde bw’avvoola. Mulowooza mutya?”* Bonna ne bagamba nti agwanidde kufa.+ 65 Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu,+ ne bamubikka ku maaso era ne bamukuba ebikonde nga bagamba nti: “Bw’oba oli nnabbi, tubuulire akukubye!” Abaweereza b’omu kkooti ne bamukuba empi mu maaso era ne bamutwala.+
66 Awo Peetero bwe yali mu luggya, omu ku bawala abaweereza aba kabona asinga obukulu n’ajja,+ 67 bwe yalaba Peetero ng’ayota omuliro, n’amutunuulira n’amugamba nti: “Naawe wabadde ne Yesu Omunnazaaleesi.” 68 Naye ne yeegaana ng’agamba nti: “Simumanyi era ne bye mwogera sibitegeera,” n’afuluma n’agenda okumpi n’omulyango. 69 Ng’ali eyo, omuwala omuweereza n’amulaba, era n’agamba abaali bayimiridde awo nti: “Ono y’omu ku bo.” 70 Era Peetero ne yeegaana. Oluvannyuma lw’akaseera katono, abo abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti: “Mazima ddala oli omu ku bo kubanga oli Mugaliraaya.” 71 Naye n’atandika okukolima n’okulayira nti: “Omuntu oyo gwe mwogerako simumanyi!” 72 Amangu ago enkoko n’ekookolima omulundi ogw’okubiri.+ Awo Peetero n’ajjukira Yesu kye yali amugambye nti: “Enkoko bw’eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ Awo n’atulika n’akaaba.