Okuva
34 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Weetemere ebipande bibiri eby’amayinja nga biringa biri ebyasooka,+ era nja kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka+ bye wamenya.+ 2 Weeteekereteekere olw’enkya kubanga ku makya ojja kugenda ku Lusozi Sinaayi oyimirire eyo mu maaso gange ku ntikko y’olusozi.+ 3 Naye tewabaawo muntu n’omu ayambuka naawe, era tewalabibwa muntu mulala yenna awantu wonna ku lusozi. Ate era tewaba ndiga wadde ente eziriira mu maaso g’olusozi olwo.”+
4 Awo Musa n’atema ebipande by’amayinja bibiri nga biringa biri ebyasooka, n’agolokoka ku makya nnyo n’ayambuka ku Lusozi Sinaayi nga Yakuwa bwe yali amulagidde, n’atwala n’ebipande by’amayinja ebibiri. 5 Awo Yakuwa n’akkira+ mu kire n’ayimirira eyo naye, n’alangirira erinnya lya Yakuwa.+ 6 Yakuwa n’ayita mu maaso ge ng’alangirira nti: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi+ era ow’ekisa,+ alwawo okusunguwala+ era alina okwagala kungi okutajjulukuka+ n’amazima amangi,*+ 7 alaga okwagala okutajjulukuka eri enkumi n’enkumi,+ asonyiwa ensobi, okwonoona, n’ebibi,+ naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango,+ abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.”+
8 Awo Musa n’ayanguwa n’akka ku maviivi n’avunnama. 9 N’agamba nti: “Ai Yakuwa, bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde Yakuwa, gendera wakati mu ffe,+ wadde nga tuli bantu bakakanyavu,*+ era tusonyiwe ensobi zaffe n’ebibi byaffe,+ era otutwale ng’abantu bo.” 10 N’amuddamu nti: “Laba nkola nammwe endagaano: Nja kukolera mu maaso g’abantu bo bonna ebintu eby’ekitalo ebitakolebwangako* mu nsi yonna oba mu mawanga gonna;+ era abantu bonna b’olimu bajja kulaba ebikolwa bya Yakuwa, kubanga ekintu kye mbakolera kyewuunyisa.+
11 “Ssaayo omwoyo ku ebyo bye nkulagira leero.+ Laba ngoba mu maaso go Abaamoli, Abakanani, Abakiiti, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi.+ 12 Weegendereze oleme kukola ndagaano n’abantu ababeera mu nsi gy’ogendamu,+ kireme okuba ekyambika gye muli.+ 13 Naye ebyoto byabwe mujja kubimenyaamenya, n’empagi zaabwe ezisinzibwa mujja kuzibetenta, era n’ebikondo byabwe ebisinzibwa* mujja kubitemaatema.+ 14 Tovunnamiranga katonda mulala yenna,+ kubanga Yakuwa amanyiddwa nga* Katonda ayagala abantu okumwemalirako.* Ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako.+ 15 Weegendereze oleme kukola ndagaano n’abantu ababeera mu nsi eyo, kubanga bwe banaaba nga benda ne bakatonda baabwe, era nga bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe,+ wajja kubaawo akuyita olye ku ssaddaaka ye.+ 16 N’ekinaavaamu, ojja kuwasiza batabani bo abamu ku bawala baabwe+ era bawala baabwe bajja kwenda ne bakatonda baabwe, baleetere batabani bo okwenda ku bakatonda baabwe.+
17 “Teweekoleranga bakatonda ab’ebyuma.+
18 “Ojja kukwatanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.+ Ojja kulyanga emigaati egitali mizimbulukuse nga bwe nnakulagira; kino ojja kukikolanga okumala ennaku musanvu mu kiseera ekigereke mu mwezi gwa Abibu,*+ kubanga omwezi gwa Abibu gwe waviiramu e Misiri.
19 “Buli mwana ow’obulenzi omubereberye* wange,+ nga mw’otwalidde n’ebisolo byo byonna, k’ebe nte ennume oba endiga ennume embereberye.+ 20 Omwana gw’endogoyi omubereberye ogununuzanga endiga. Naye bw’otoogununulenga omenyanga ensingo yaagwo. Buli mwana ow’obulenzi omubereberye mu baana bo omununulanga.+ Tewabanga n’omu ajja mu maaso gange ngalo nsa.
21 “Ojja kukolanga emirimu mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu ojja kuwummulanga.*+ Ne mu kiseera eky’okulima n’eky’okukungula ojja kuwummulanga.
22 “Ojja kukwatanga Embaga ey’Amakungula ng’okozesa ebibala by’eŋŋaano ebibereberye, era ojja kukwatanga n’Embaga ey’Ensiisira ku nkomerero y’omwaka.+
23 “Emirundi esatu mu mwaka, abasajja bo bonna bajja kulabikanga mu maaso ga Yakuwa Katonda wa Isirayiri,+ Mukama ow’amazima. 24 Kubanga nja kugoba amawanga mu maaso go,+ era ngaziye ensi yo; tewali n’omu ajja kwegomba nsi yo ng’ogenze okulabika mu maaso ga Yakuwa Katonda wo emirundi esatu mu mwaka.
25 “Omusaayi gwa ssaddaaka yange toguweerangayo wamu n’ekintu kyonna ekirimu ekizimbulukusa.+ Ssaddaaka ey’embaga ey’Okuyitako tesigalangawo okutuusa enkeera.+
26 “Oleetanga mu nnyumba ya Yakuwa Katonda wo+ ebibala by’ettaka lyo ebibereberye ebisingayo obulungi.
“Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina waagwo.”+
27 Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Ojja kuwandiika ebigambo bino,+ kubanga endagaano gye nkola naawe era ne Isirayiri ngyesigamya ku bigambo bino.”+ 28 Musa yabeera eyo ne Yakuwa okumala ennaku 40 emisana n’ekiro. Teyalya mmere era teyanywa mazzi.+ Yawandiika ku bipande by’amayinja ebigambo by’endagaano, Amateeka Ekkumi.*+
29 Awo Musa n’akka okuva ku Lusozi Sinaayi ng’akutte ebipande eby’amayinja ebibiri eby’Obujulirwa mu mukono gwe.+ Naye Musa teyamanya nti yali ayakaayakana mu maaso olw’okuba yali ayogedde ne Katonda. 30 Alooni n’Abayisirayiri bonna bwe baalaba nga Musa ayakaayakana mu maaso, ne batya okumusemberera.+
31 Naye Musa n’abayita. Awo Alooni n’abakulu bonna ab’omu kibiina ne bagenda gy’ali, n’ayogera nabo. 32 Oluvannyuma Abayisirayiri bonna ne basembera we yali n’abawa ebiragiro byonna Yakuwa bye yali amuweeredde ku Lusozi Sinaayi.+ 33 Musa bwe yamalanga okwogera nabo nga yeebikka ekitambaala mu maaso.+ 34 Naye bwe yagendanga mu maaso ga Yakuwa okwogera naye, nga yeggyako ekitambaala okutuusa lwe yafulumanga.+ Oluvannyuma yafulumanga n’ategeeza Abayisirayiri ebiragiro ebyabanga bimuweereddwa.+ 35 Abayisirayiri bwe baalabanga nga Musa ayakaayakana mu maaso, nga Musa addamu okwebikka ekitambaala mu maaso okutuusa lwe yayingiranga okwogera ne Katonda.*+