Okubikkulirwa
19 Oluvannyuma lw’ebyo, ne mpulira eddoboozi eddene mu ggulu eryali ng’ery’ekibiina ekinene. Ne bagamba nti: “Mutendereze Ya!*+ Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe, 2 kubanga emisango gy’asala gya mazima era gya butuukirivu.+ Kubanga atuukirizza omusango gwe yasalira malaaya omukulu eyayonoona ensi n’ebikolwa bye eby’obugwenyufu,* era awooledde eggwanga ku malaaya oyo olw’omusaayi gw’abaddu be.”+ 3 Amangu ago ne bagamba omulundi ogw’okubiri nti: “Mutendereze Ya!*+ Omukka oguva mu Babulooni gunyooka emirembe n’emirembe.”+
4 Abakadde 24+ n’ebiramu ebina+ ne bavunnama ne basinza Katonda atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne bagamba nti: “Amiina! Mutendereze Ya!”*+
5 Era eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka ne ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe mmwe mmwenna abaddu be,+ mmwe abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa.”+
6 Ne mpulira eddoboozi eryali ng’ery’ekibiina ekinene, era ng’ery’amazzi amangi agayira, era ng’ery’okubwatuka kw’eggulu okw’amaanyi. Ne bagamba nti: “Mutendereze Ya,*+ kubanga Yakuwa* Katonda waffe, Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ atandise okufuga nga kabaka.+ 7 Ka tusanyuke, tujaganye, era tumuwe ekitiibwa kubanga embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse, era ne mukazi we yeeteeseteese. 8 Akkiriziddwa okwambala olugoye olwa kitaani olulungi, olumasamasa, era oluyonjo, kubanga olugoye lwa kitaani olulungi lukiikirira ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.”+
9 N’aŋŋamba nti: “Wandiika nti: Balina essanyu abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.”+ Era n’aŋŋamba nti: “Bino bye bigambo bya Katonda eby’amazima.” 10 Awo ne nvunnama mu maaso ge okumusinza. Naye n’aŋŋamba nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola!+ Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.+ Sinza Katonda;+ kubanga okuwa obujulirwa ku Yesu kye kigendererwa ky’obunnabbi.”+
11 Ne ndaba eggulu nga libikkuddwa, era laba! embalaasi enjeru.+ Oyo eyali agyebaggadde ayitibwa Mwesigwa+ era wa Mazima,+ era asala emisango mu butuukirivu era alwana olutalo mu butuukirivu.+ 12 Amaaso ge gaalinga ennimi z’omuliro,+ era ku mutwe gwe kwaliko engule nnyingi. Yali awandiikiddwako erinnya eritamanyiddwa muntu yenna okuggyako ye, 13 era yali ayambadde ekyambalo eky’okungulu ekyali kimansiddwako omusaayi, era erinnya lye ye Kigambo+ kya Katonda. 14 Eggye ery’omu ggulu lyali limugoberera nga lyebagadde embalaasi enjeru era nga lyambadde engoye eza kitaani ennungi, enjeru, era ennyonjo. 15 Mu kamwa ke mwali muvaamu ekitala ekiwanvu+ era ekyogi eky’okutemesa amawanga, era aligalunda n’omuggo ogw’ekyuma.+ Era alirinnyirira essogolero ly’omwenge gw’obusungu obungi obwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.+ 16 Ku kyambalo kye eky’okungulu, kwe kugamba, awali ekisambi kye, kwaliko erinnya lino: Kabaka wa bakabaka, era Mukama wa bakama.+
17 Era ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba, n’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: “Mujje wano, mukuŋŋaane wamu ku kijjulo kya Katonda ekinene,+ 18 mulye ennyama ya bakabaka, n’ey’abaduumizi b’amagye, n’ey’abasajja ab’amaanyi,+ n’ey’embalaasi, n’ey’abo abazeebagadde,+ n’ennyama y’abantu bonna, ab’eddembe n’abaddu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa.”
19 Ne ndaba ensolo ne bakabaka b’ensi n’amagye gaabwe nga bakuŋŋaanye wamu okulwana n’oyo atudde ku mbalaasi n’eggye lye.+ 20 Ensolo n’ekwatibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba+ eyakolanga obubonero mu maaso gaayo. Obubonero obwo bwe yakozesanga okubuzaabuza abo abaafuna akabonero k’ensolo+ n’abo abasinza ekifaananyi kyayo.+ Byombi ne bisuulibwa mu nnyanja eyaka omuliro n’obuganga,*+ nga biramu. 21 Naye abalala ne battibwa n’ekitala ekiwanvu ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi,+ ebinyonyi byonna ne bikkuta ennyama yaabwe.+