Ekyamateeka
23 “Omusajja gwe baalaawa nga bamwasa enjagi oba gwe baasalako ebitundu bye eby’ekyama, tajjanga mu kibiina kya Yakuwa.+
2 “Omwana eyazaalibwa ebweru w’obufumbo tajjanga mu kibiina kya Yakuwa;+ n’okutuukira ddala ku mulembe ogw’ekkumi tewabanga n’omu ku bazzukulu be ajja mu kibiina kya Yakuwa.
3 “Omwamoni oba Omumowaabu tajjanga mu kibiina kya Yakuwa;+ n’okutuukira ddala ku mulembe ogw’ekkumi tewabanga n’omu ku bazzukulu baabwe ajja mu kibiina kya Yakuwa, 4 olw’okuba tebaabawa mmere na mazzi bwe mwali mu kkubo nga muva e Misiri+ n’olw’okuba baagulirira Balamu mutabani wa Byoli ow’e Pesoli eky’omu Mesopotamiya okukukolimira.+ 5 Naye Yakuwa Katonda wo yagaana okuwuliriza Balamu;+ era ku lulwo Yakuwa Katonda wo yakyusa ekikolimo okuba omukisa+ kubanga Yakuwa Katonda wo yali akwagala.+ 6 Tobayambanga kubeera mu mirembe oba okuba obulungi ennaku zo zonna.+
7 “Tokyawanga Omwedomu kubanga muganda wo.+
“Tokyawanga Omumisiri kubanga wali mugwira mu nsi ye.+ 8 Bazzukulu baabwe abalizaalibwa bayinza okujja mu kibiina kya Yakuwa.
9 “Bw’onoosiisiranga okulwanyisa abalabe bo, weewalenga ekintu kyonna ekibi.*+ 10 Omusajja bw’anaafuukanga atali mulongoofu olw’okwerooterera ekiro,+ anaagendanga ebweru w’olusiisira. Tayingiranga nate mu lusiisira. 11 Bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga amazzi, era anaayingiranga mu lusiisira ng’enjuba egwa.+ 12 Wanassibwangawo ekifo eky’okukozesa* ebweru w’olusiisira, era eyo gy’onoogendanga. 13 Onoobanga n’ekifumu mu bintu byo. Bw’onoositamanga ebweru, onookisimisanga ekinnya era oluvannyuma n’obikka ku bubi bwo. 14 Olw’okuba Yakuwa Katonda wo atambulatambula mu lusiisira lwo+ okukununula n’okukugabulira abalabe bo, olusiisira lwo lulina okuba olutukuvu,+ aleme okulaba ekintu kyonna ekitasaana mu ggwe n’alekera awo okugenda naawe.
15 “Omuddu bw’addukanga ku mukama we n’ajja gy’oli, tomuzzangayo eri mukama we. 16 Anaabeeranga naawe mu kifo kyonna ky’anaabanga yeerobozza mu kimu ku bibuga byo, wonna w’anaayagalanga. Tomuyisanga bubi.+
17 “Tewabanga n’omu ku bawala ba Isirayiri oba omwana ow’obulenzi mu Isirayiri afuuka malaaya ow’omu yeekaalu.+ 18 Toleetanga mpeera ya* malaaya omukazi oba eya malaaya omusajja* mu nnyumba ya Yakuwa Katonda wo okusasula obweyamo, kubanga empeera eyo ya muzizo eri Yakuwa Katonda wo.
19 “Bw’owolanga muganda wo ssente, emmere, oba ekintu ekirala kyonna ekiwolwa olw’amagoba, tomuggyangako magoba.+ 20 Omugwira ye oyinza okumuggyako amagoba,+ naye muganda wo tomuggyangako magoba,+ Yakuwa Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu byonna by’onookola mu nsi gy’ogenda okutwala.+
21 “Bwe weeyamanga eri Yakuwa Katonda wo,+ tolonzalonzanga kutuukiriza kye weeyama,+ kubanga Yakuwa Katonda wo ajja kukwetaagisa okukituukiriza, era bw’otolikituukiriza, oliba oyonoonye.+ 22 Naye bw’oteeyamenga onoobanga toyonoonye.+ 23 Ky’onoobanga oyogedde okikolanga,+ era otuukirizanga ekyo akamwa ko kye kanaabanga keeyamye okuwaayo eri Yakuwa Katonda wo ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire.+
24 “Bw’ogendanga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onoolyanga ezzabbibu nga bw’onoobanga oyagadde, naye tobangako gy’oteeka mu nsawo yo.+
25 “Bw’ogendanga mu musiri gwa munno ogw’emmere ey’empeke, onoganga n’omukono gwo ebirimba ebyengedde, naye emmere ya munno togisalanga na kiwabyo.+