Makko
15 Amangu ddala ng’obudde bwakakya, bakabona abakulu, abakadde, n’abawandiisi, kwe kugamba, ab’Olukiiko Olukulu bonna, baakuŋŋaana wamu ne bateesa era ne basiba Yesu, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Piraato.+ 2 Piraato n’amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”+ Yesu n’amuddamu nti: “Ggwe kennyini okyogedde.”+ 3 Naye bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. 4 Piraato n’addamu n’amubuuza nti: “Tolina kya kuddamu?+ Laba emisango gye bakuwawaabira bwe giri emingi!”+ 5 Naye Yesu n’atayongera kumuddamu kintu kyonna, era Piraato ne yeewuunya.+
6 Buli mbaga ey’okuyitako lwe yatuukanga, yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye.+ 7 Mu kiseera ekyo, omusajja ayitibwa Balabba yali mu kkomera awamu n’abalala abaali bajeemedde gavumenti, era nga mu kujeemera gavumenti baali basse n’abantu. 8 Awo ekibiina ky’abantu ne kijja, ne basaba Piraato abakolere kye yabakoleranga bulijjo. 9 Piraato n’ababuuza nti: “Mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”+ 10 Kubanga yali akimanyi nti bakabona abakulu baamuwaayo olw’okuba baali bamukwatiddwa buggya.+ 11 Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira abantu bagambe Piraato abateere Balabba mu kifo kya Yesu.+ 12 Piraato n’addamu n’amubuuza nti: “Kati olwo oyo gwe muyita Kabaka w’Abayudaaya mmukole ki?”+ 13 Ne boogerera waggulu nate nti: “Mukomerere* ku muti!”+ 14 Naye Piraato n’ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki kye yakola?” Kyokka ne beeyongera okwogerera waggulu nti: “Mukomerere* ku muti!”+ 15 Awo Piraato olw’okwagala okusanyusa abantu, n’abateera Balabba; era oluvannyuma lw’okulagira Yesu akubibwe kibooko,+ n’amuwaayo akomererwe ku muti.+
16 Awo abasirikale ne bamutwala mu luggya, mu mbuga ya gavana, era ne bayita abasirikale bonna.+ 17 Ne bamwambaza olugoye olwa kakobe, era ne bakola engule ey’amaggwa ne bagimwambaza. 18 Ne batandika okumugamba nti: “Emirembe gibe naawe, Kabaka w’Abayudaaya!”+ 19 Ne bamukuba olumuli ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, era ne bakka ku maviivi ne bamuvunnamira. 20 Bwe baamala okumuduulira, ne bamuggyamu ekyambalo ekya kakobe ne bamwambaza ebyambalo bye eby’okungulu, ne bamutwala okumukomerera ku muti.+ 21 Awo omusajja ayitibwa Simooni ow’e Kuleene, kitaawe wa Alekizanda ne Luufo, yali ayitawo ng’ava mu kyalo, ne bamuwaliriza okusitula omuti gwa Yesu ogw’okubonaabona.*+
22 Awo ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Ggologoosa, nga bwe kiba kivvuunuddwa kitegeeza, “Ekifo ky’Ekiwanga.”+ 23 Nga bali eyo ne bagezaako okumuwa omwenge ogulimu miira,+ naye n’agaana okugunywa. 24 Ne bamukomerera ku muti era ne bagabana ebyambalo bye eby’okungulu nga babikubira akalulu okulaba buli omu ky’anaatwala.+ 25 Awo ne bamukomerera ku muti ku ssaawa ssatu.* 26 Omusango ogwali gumuvunaanibwa ne guwandiikibwa ku kapande mu bigambo bino: “Kabaka w’Abayudaaya.”+ 27 Ate era, baawanika abanyazi babiri ku miti okumpi naye, omu ku mukono gwe ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.+ 28 *— 29 Abo abaali bayitawo ne bamuvuma, ne banyeenya emitwe+ nga bwe bagamba nti: “Ggwe eyagamba okumenya yeekaalu ogizimbire mu nnaku ssatu,+ 30 weerokole ove ku muti ogw’okubonaabona* okke wansi.” 31 Ne bakabona abakulu n’abawandiisi nabo ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Yalokolanga balala; naye ye tasobola kwerokola!+ 32 Kristo Kabaka wa Isirayiri ave ku muti ogw’okubonaabona akke,* tukirabe tulyoke tukkirize.”+ N’abo abaali bawanikiddwa ku miti okumpi naye ne bamuvuma.+
33 Essaawa bwe zaawera omukaaga,* ensi eyo yonna n’ekwata ekizikiza okutuusa ku ssaawa mwenda.*+ 34 Ku ssaawa mwenda Yesu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakusaani?” ng’ebigambo ebyo bwe biba bivvuunuddwa bitegeeza: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”+ 35 Abamu ku abo abaali bayimiridde okumpi awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira! Ayita Eriya.” 36 Naye ne wabaawo omuntu eyadduka n’annyika ekisuumwa mu mwenge omukaatuufu, n’akiteeka ku lumuli n’amuwa anywe,+ ng’agamba nti: “Mumuleke! Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwanulayo.” 37 Awo Yesu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka n’afa.*+ 38 Olutimbe lw’omu yeekaalu+ ne luyulikamu wakati, okuva waggulu okutuuka wansi.+ 39 Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale* eyali ayimiridde awo ng’amutunuulidde bwe yalaba ebyaliwo ng’afa, n’agamba nti: “Mazima ddala, omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.”+
40 Waaliwo n’abakazi abaali balaba ebigenda mu maaso nga bali walako, era nga mu bano mwalimu Maliyamu Magudaleena awamu ne Maliyamu maama wa Yakobo Omuto* ne Yose, era ne Saalome,+ 41 abaatambulanga ne Yesu era abaamuweerezanga+ ng’ali e Ggaliraaya, era n’abakazi abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
42 Olw’okuba lwali lunaku lwa Kuteekateeka, kwe kugamba, ng’enkeera Ssabbiiti, era nga n’obudde bwali buwungedde, 43 Yusufu ow’e Alimasaya n’ajja; yali mukiise mu Lukiiko Olukulu, ng’assibwamu ekitiibwa, era nga naye yali alindirira Obwakabaka bwa Katonda. Yafuna obuvumu n’agenda ewa Piraato n’amusaba omulambo gwa Yesu.+ 44 Naye Piraato n’ayagala okumanya obanga Yesu yali afudde, era n’ayita omukulu w’ekibinja ky’abasirikale n’amubuuza obanga ddala yali afudde. 45 Piraato bwe yamala okufuna obukakafu okuva eri omusirikale nti Yesu yali afudde, n’akkiriza Yusufu okutwala omulambo gwe. 46 Awo n’agula olugoye olwa kitaani, n’amuwanulayo, n’amuzinga mu lugoye olwo n’amuteeka mu ntaana+ eyasimibwa mu lwazi; oluvannyuma n’ayiringisa ejjinja n’aliteeka ku mulyango gw’entaana.+ 47 Naye Maliyamu Magudaleena ne Maliyamu maama wa Yose ne beeyongera okutunuulira ekifo we baali batadde omulambo gwe.+