Luusi
2 Nawomi yalina omu ku b’eŋŋanda za bba eyali ayitibwa Bowaazi,+ omusajja ow’omu nnyumba ya Erimereki eyali omugagga ennyo.
2 Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti: “Nzikiriza ŋŋende mu nnimiro nnonderere+ ebirimba nga ngoberera oyo yenna anankwatirwa ekisa.” Nawomi n’amuddamu nti: “Genda mwana wange.” 3 Awo n’agenda mu nnimiro n’atandika okulonderera ebirimba ng’agoberera abakunguzi. Era yeesanga ng’ennimiro gye yagendamu yali ya Bowaazi+ ow’omu nnyumba ya Erimereki.+ 4 Awo Bowaazi n’atuuka ng’ava e Besirekemu n’agamba abakunguzi nti: “Yakuwa abeere nammwe.” Nabo ne bamuddamu nti: “Yakuwa akuwe omukisa.”
5 Bowaazi n’abuuza omusajja eyali akulira abakunguzi nti: “Omukazi ono ava mu maka g’ani?” 6 Omusajja eyali akulira abakunguzi n’amuddamu nti: “Ono ye mukazi Omumowaabu+ eyajja ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu.+ 7 Yaŋŋambye nti, ‘Nkusaba onzikirize nnonderere+ ebirimba* abakunguzi bye bagenda baleka emabega.’ Era okuva lwe yazze ku makya abadde akola okutuusa kati lw’atuddeko wano mu nsiisira awummuleko.”
8 Oluvannyuma Bowaazi n’agamba Luusi nti: “Wuliriza mwana wange. Togenda mu nnimiro ndala kulonderera birimba, era togenda walala wonna. Beera kumpi n’abakozi bange abakazi.+ 9 Tunula olabe gye bagenda okukungula ogende nabo. Ndagidde abasajja bange obutakukwatako.* Ennyonta bw’eneekuluma, ojja kugenda awali ensumbi z’amazzi onywe ku mazzi abasajja ge banaaba bakimye.”
10 Awo Luusi n’avunnama wansi, n’agamba nti: “Kivudde ku ki ggwe okunzisaako omwoyo n’onkwatirwa ekisa ate nga ndi mugwira?”+ 11 Bowaazi n’amuddamu nti: “Bambuulira byonna bye wakolera nnyazaala wo oluvannyuma lw’okufa kwa balo, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko n’ensi y’ab’eŋŋanda zo n’ojja mu bantu b’otomanyi.+ 12 Yakuwa akusasule olw’ebyo bye wakola,+ era Yakuwa Katonda wa Isirayiri akuwe empeera enzijuvu, kubanga oddukidde wansi w’ebiwaawaatiro bye okufuna obukuumi.”+ 13 Awo Luusi n’agamba nti: “Ka nneeyongere okusiimibwa mu maaso go mukama wange, kubanga oŋŋumizza era oyogedde ebigambo ebizzaamu omuweereza wo amaanyi, wadde nga siri omu ku baweereza bo.”
14 Ekiseera eky’okulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’amugamba nti: “Sembera wano olye ku mugaati era okoze mu nvinnyo enkaatuufu.” Bw’atyo n’atuula n’abakunguzi, era Bowaazi n’amuwa ssayiri ensiike* n’alya, n’akkuta, era n’afissanawo. 15 Bwe yayimuka okugenda okulonderera+ ebirimba,* Bowaazi n’alagira abasajja be nti: “Mumuleke alonderere ebirimba okuva ne mu ebyo ebisaliddwa, era temumuyisa bubi.+ 16 Ne mu binywa ebisibiddwa mumusowoleremu ebirimba mubireke emabega abikuŋŋaanye, era temubaako kintu kyonna kye mwogera okumulemesa.”
17 Awo ne yeeyongera okulonderera ebirimba mu nnimiro okutuukira ddala akawungeezi,+ era oluvannyuma n’akuba ebyo bye yali alonderedde ne bivaamu efa* nnamba eya ssayiri.* 18 Awo n’agisitula n’agenda mu kibuga, era nnyazaala we n’alaba bye yali alonderedde. Luusi era yaggyayo n’emmere gye yali afissizzaawo+ ng’amaze okukkuta, n’agimuwa.
19 Nnyazaala we n’amubuuza nti: “Olondereredde wa leero, era okoledde wa? Oyo akussizzaako omwoyo aweebwe omukisa.”+ Awo n’abuulira nnyazaala we nnannyini nnimiro gye yali akoledde, era n’amugamba nti: “Erinnya ly’omusajja nnannyini nnimiro gye nkoledde ye Bowaazi.” 20 Awo Nawomi n’agamba muka mwana we nti: “Yakuwa ataleseeyo kulaga abalamu n’abafu okwagala okutajjulukuka,+ amuwe omukisa.” Era Nawomi n’ayongerako nti: “Omusajja oyo atulinako oluganda.+ Y’omu ku banunuzi baffe.”+ 21 Awo Luusi Omumowaabu n’agamba nti: “Era yaŋŋambye nti, ‘Beeranga kumpi n’abakozi bange okutuusa lwe balimala okukungula ebirime byange byonna.’”+ 22 Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti: “Mwana wange, kirungi ogende n’abakozi be abakazi oleme okutawaanyizibwa mu nnimiro endala.”
23 Luusi ne yeeyongera okulondereranga ebirimba ng’ali wamu n’abakozi ba Bowaazi abakazi okutuusa amakungula ga ssayiri+ n’ag’eŋŋaano lwe gaggwaako. Era ne yeeyongera okubeera ne nnyazaala we.+