Matayo
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Ani asinga obukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu?”+ 2 Awo n’ayita omwana omuto, n’amuteeka wakati waabwe, 3 n’agamba nti: “Mazima mbagamba nti, okuggyako nga mukyuse ne muba ng’abaana abato,+ temuliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu.+ 4 N’olwekyo, buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto, y’asinga obukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu;+ 5 era buli asembeza omu ku bato ng’ono ku lw’erinnya lyange, nange aba ansembezezza. 6 Naye buli eyeesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, kyandisinzeeko singa asibibwa mu bulago olubengo olusikibwa endogoyi n’asuulibwa mu nnyanja.+
7 “Zisanze ensi kubanga ereetera abantu okwesittala! Kya lwatu nti ebyesittaza bijja kubaawo, naye zisanze omuntu oyo aleetera abalala okwesittala! 8 Era singa omukono gwo oba ekigere kyo kikuleetera okwesittala, kitemeko okisuule.+ Kisingako okufuna obulamu ng’ekitundu kyo ekimu eky’omubiri kitemeddwako oba ng’oli mulema, okusinga lw’oba n’emikono ebiri oba ebigere ebibiri naye n’osuulibwa mu muliro ogutayinza kuzikizibwa.+ 9 Era singa eriiso lyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule. Kisingako okufuna obulamu ng’olina eriiso limu, okusinga okubeera n’amaaso abiri naye n’osuulibwa mu Ggeyeena awaaka omuliro.+ 10 Temunyoomanga omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe abali mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+ 11 *—
12 “Mulowooza mutya? Omuntu bw’aba n’endiga 100, emu n’ebula,+ taleka 99 mu nsozi n’agenda okunoonya emu ebuze?+ 13 Mazima mbagamba nti, bw’agizuula, agisanyukira nnyo okusinga endiga 99 ezitaabuze. 14 Bw’atyo ne Kitange* ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.+
15 “Muganda wo bw’ayonoona, genda omulage ensobi ye* nga muli mmwekka ggwe naye.+ Bw’akuwuliriza, ojja kuba okomezzaawo muganda wo mu kkubo ettuufu.+ 16 Naye bw’atakuwuliriza, twalayo omuntu omulala omu oba babiri, buli nsonga eryoke ekakasibwe nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.+ 17 Bw’atabawuliriza, yogera n’ekibiina. Ekibiina nakyo bw’atakiwuliriza, mutwale nga munnaggwanga+ oba omusolooza w’omusolo.+
18 “Mazima mbagamba nti byonna bye musiba ku nsi, ne mu ggulu biriba bisibiddwa, ne byonna bye musumulula ku nsi, ne mu ggulu biriba bisumuluddwa. 19 Era mbagamba nti bwe muba babiri ku nsi ne mukkiriziganya okusaba ekintu kyonna ekikulu, Kitange ali mu ggulu ajja kukibakolera.+ 20 Kubanga abantu babiri oba basatu bwe bakuŋŋaana mu linnya lyange,+ mbeera wakati mu bo.”
21 Awo Peetero n’ajja n’amubuuza nti: “Mukama wange, emirundi emeka muganda wange gy’anankolanga ekibi, ne mba nga nnina okumusonyiwa? Emirundi musanvu?” 22 Yesu n’amuddamu nti: “Nkugamba nti si mirundi musanvu, wabula emirundi 77.+
23 “Eyo ye nsonga lwaki Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku kabaka eyali ayagala abaddu be okumusasula bye yali ababanja. 24 Bwe yali atandise okubasasuza, ne bamuleetera omusajja gwe yali abanja ttalanta 10,000.* 25 Naye olw’okuba yali tasobola kuzisasula, mukama we n’alagira omusajja oyo atundibwe awamu ne mukazi we, n’abaana be, era n’ebintu byonna bye yalina, ebbanja lisobole okusasulwa.+ 26 Awo omuddu n’agwa wansi, n’amuvunnamira, n’amugamba nti, ‘Ŋŋumiikiriza, nja kukusasula byonna.’ 27 Mukama w’omuddu bwe yawulira ekyo, n’amukwatirwa ekisa, n’amuleka, n’ebbanja n’alisazaamu.+ 28 Naye omuddu oyo bwe yafuluma, n’asanga omu ku baddu banne gwe yali abanja eddinaali* 100, n’amukwata, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Sasula byonna bye nkubanja.’ 29 Awo muddu munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ŋŋumiikiriza, nja kukusasula.’ 30 Naye n’atamuwuliriza, n’amusibisa mu kkomera okutuusa lw’alimala okusasula ebbanja. 31 Baddu banne bwe baalaba ebyali bibaddewo, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebintu byonna ebyali bibaddewo. 32 Mukama we n’amuyita n’amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, nnakusonyiwa ebbanja lyo lyonna bwe wanneegayirira. 33 Naawe togwanidde kusaasira muddu munno nga nange bwe nnakusaasira?’+ 34 Awo mukama we n’asunguwala, n’amuwaayo eri abakuumi b’ekkomera okumusiba okutuusa lw’alimala okusasula ebbanja lyonna. 35 Ne Kitange ow’omu ggulu bw’atyo bw’alibakola+ singa buli omu ku mmwe tasonyiyira ddala muganda we kuva ku mutima.”+