Sanyukira Wamu ne Katonda Omusanyufu
‘Eky’enkomerero, ab’oluganda mweyongere okusanyuka, era Katonda ow’okwagala era ow’emirembe anaabeera nammwe.’—2 ABAKKOLINSO 13:11.
1, 2. (a) Lwaki bangi tebalina ssanyu mu bulamu? (b) Essanyu kye ki, era tuyinza tutya okulifuna?
MU NNAKU zino embi, abantu bangi balina bitono ebibasanyusa. Akatyabaga bwe kabatuukako oba bwe katuuka ku mwagalwa waabwe, bayinza okuwulira nga Yobu ow’edda, eyagamba: “Omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde [o]buyinike.” (Yobu 14:1) Abakristaayo nabo bakosebwa ebizibu ebiriwo ‘mu biro bino eby’okulaba ennaku,’ era tekyewuunyisa nti abaweereza ba Yakuwa abeesigwa emirundi egimu baggwaamu amaanyi.—2 Timoseewo 3:1.
2 Wadde kiri kityo, Abakristaayo basobola okubeera abasanyufu wadde nga bagezesebwa. (Ebikolwa 5:40, 41) Okusobola okutegeera kino bwe kisoboka, sooka olowooze essanyu kye liri. Essanyu linnyonnyoddwa nga “enneewulira gy’oba nayo olw’okufuna oba okusuubira okufuna ekintu.”a Nga tufumiitiriza ku ssanyu eritulindiridde mu nsi ya Katonda empya, tuyinza okubeera abasanyufu.
3. Mu ngeri ki mwe kiyinza okugambibwa nti buli omu alina ensonga okuba omusanyufu?
3 Buli omu alina ebintu by’ayinza okusiima. Omutwe gwa maka ayinza okufiirwa omulimu gwe. Mu butonde, kino kimweraliikiriza. Ayagala okulabirira abaagalwa be. Wadde kiri kityo, bw’aba ng’alina amaanyi era nga mulamu bulungi, ekyo yandibadde akisiima. Singa afuna omulimu aba asobola okukola ennyo. Ku luuyi olulala, omukyala Omukristaayo ayinza okufuna obulwadde obumumaliramu ddala amaanyi. Naye, ayinza okusiima obuwagizi bw’ab’emikwano n’ab’omu maka ge abamuyamba okwaŋŋanga obulwadde bwe n’ekitiibwa n’obuvumu. Era Abakristaayo bonna ab’amazima, ka babe mu mbeera ki, bayinza okusanyuka olw’okuba n’enkizo ey’okumanya Yakuwa, “Katonda omusanyufu,” ne Yesu Kristo, “omusanyufu era Alina Obuyinza Obungi.” (1 Timoseewo 1:11, NW; 6:15, NW) Yee, Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo basanyufu nnyo. Bakuumye essanyu lyabwe wadde ng’embeera ku nsi za njawulo nnyo ku ezo Yakuwa ze yagenderera ku lubereberye. Ekyokulabirako kyabwe kiyinza okutuyigiriza bingi ku ngeri y’okukuumamu essanyu lyaffe.
Tebafiirwangako Ssanyu Lyabwe
4, 5. (a) Yakuwa yakola ki abantu abaasooka bwe baajeema? (b) Yakuwa yakuuma atya endowooza ennuŋŋamu eri abantu?
4 Mu lusuku Adeni, Adamu ne Kaawa baali balamu bulungi era nga batuukiridde mu ndowooza yaabwe. Baalina omulimu oguganyula ogw’okukola, n’embeera ennungi ennyo ezibeetoolodde ez’okugukoleramu. Ekisinga byonna, baalina enkizo ey’okuwuliziganyanga ne Yakuwa obutayosa. Kyali kigendererwa kya Katonda babeere n’ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu. Kyokka, bazadde baffe abaasooka tebaali bamativu n’ebirabo bino ebirungi. Babba ekibala ekyagaanibwa okuva ku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi.’ Ekikolwa kino eky’obujeemu kye kyaviirako ennaku, ffe, bazzukulu baabwe, gye tulina leero.—Olubereberye 2:15-17; 3:6; Abaruumi 5:12.
5 Kyokka, Yakuwa teyakkiriza butasiima bwa Adamu ne Kaawa kumumalako ssanyu lye. Yali mukakafu nti abamu ku zzadde lyabwe bandimuweerezza. Mu butuufu, yali mukakafu nnyo ne kiba nti wadde Adamu ne Kaawa baali tebannazaala mwana waabwe asooka, yalangirira ekigendererwa kye eky’okununula bazzukulu baabwe abawulize! (Olubereberye 1:31; 3:15) Mu byasa ebyaddirira, abantu abasinga obungi baagoberera ekyo Adamu ne Kaawa kye baakola, naye Yakuwa teyayabulira bantu olw’obujeemu ng’obwo obwali bucaase ennyo. Wabula, yassaayo omwoyo eri abasajja n’abakazi ‘abaasanyusa omutima gwe,’ abo abafuba okumusanyusa kubanga baali bamwagala.—Engero 27:11; Abaebbulaniya 6:10.
6, 7. Nsonga ki ezaayamba Yesu okusigala nga musanyufu?
6 Ate Yesu Kristo yakuuma atya essanyu lye? Ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekiri mu ggulu, Yesu yalina omukisa okulaba ebikolwa by’abasajja n’abakazi ku nsi. Obutali butuukirivu bwabwe bwali bweyoleka lwatu, naye Yesu yali abaagala nnyo. (Engero 8:31) Oluvannyuma bwe yajja ku nsi ‘n’abeera’ mu bantu, endowooza gye yalina ku bantu teyakyuka. (Yokaana 1:14) Kiki ekyasobozesa Omwana wa Katonda atuukiridde okukuuma endowooza ennuŋŋamu ng’eyo ku bantu aboonoonyi?
7 Okusooka, Yesu yali tasuubira kisukkiridde ku bimukwatako era n’ebikwata ku balala. Yakimanya nti yali tagenda kukyusa nsi yonna. (Matayo 10:32-39) N’olwekyo, yasanyukanga nnyo omuntu omu omwesimbu bwe yabangako ekirungi ky’akolawo ng’awulidde amawulire amalungi. Wadde ng’enneeyisa n’endowooza y’abayigirizwa be emirundi egimu yali tematiza, Yesu yali amanyi nti mu mitima gyabwe baali baagala okukola Katonda by’ayagala, era yabaagala olw’ensonga eyo. (Lukka 9:46; 22:24, 28-32, 60-62) Eky’okwetegerezebwa kiri nti, mu kusaba kwe eri Kitaawe ow’omu ggulu, Yesu yayogera bw’ati ku ngeri ennungi abayigirizwa be gye baali beeyisizzaamu okutuuka mu kiseera ekyo: “Bakutte ekigambo kyo.”—Yokaana 17:6.
8. Menya engeri ezimu mwe tuyinza okukoppa Yakuwa ne Yesu ku bikwata ku kukuuma essanyu lyaffe.
8 Awatali kubuusabuusa, ffenna twandiganyuddwa nga tufumiitiriza ku kyokulabirako Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo kye bassaawo ku nsonga eno. Tuyinza okukoppa Yakuwa mu ngeri esingawo, oboolyawo nga tetweraliikirira kisukkiridde ebintu bwe bitabeera nga bwe tusuubira? Tuyinza okweyongera okutambulira mu bigere bya Yesu nga tubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku mbeera ze tulimu kati, era nga tetugwa lubege ku bye tusuubira okutuukiriza oba bye tusuubira mu balala? Ka tulabe engeri egimu ku misingi gino bwe giyinza okukozesebwa mu ngeri ey’omuganyulo mu kintu ekikulu ennyo eri Abakristaayo abanyiikivu buli wamu mu buweereza bw’ennimiro.
Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Buweereza
9. Yeremiya yaddamu atya okufuna essanyu, era ekyokulabirako kye kiyinza kitya okutuyamba?
9 Yakuwa ayagala tubeere basanyufu mu buweereza bwe. Essanyu lyaffe teryandyesigamye ku bibala bye tufuna. (Lukka 10:17, 20) Nnabbi Yeremiya yabuulira okumala emyaka egiwera mu kitundu omutaavanga bibala. Bwe yalowooza ku ngeri embi abantu gye baayanukulamu, yafiirwa essanyu lye. (Yeremiya 20:8) Naye bwe yalowooza ku bulungi bw’obubaka, yaddamu okufuna essanyu. Yeremiya yagamba Yakuwa: “Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda w’eggye.” (Yeremiya 15:16) Yee, Yeremiya yasanyukira mu nkizo ye ey’okubuulira ekigambo kya Katonda. Naffe tusobola.
10. Tuyinza tutya okukuuma essanyu lyaffe mu buweereza wadde ng’ekitundu kye tubuuliramu kati tekivaamu bibala?
10 Wadde ng’abasinga obungi bagaana okubaako kye bakola nga bawulidde amawulire amalungi, tulina ensonga enkulu ennyo ey’okubeera abasanyufu nga twenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Jjukira nga Yakuwa yali mukakafu nti abantu abamu bandimuweerezza. Okufaananako Yakuwa, tubeere n’essuubi nti abamu mu nkomerero banaategeera ensonga y’obufuzi ne bakkiriza obubaka bw’Obwakabaka. Tetuteekwa kwerabira nti embeera z’abantu zikyuka. Bwe babaako kye bafiirwa, oba bwe batuukibwako akatyabaga, n’omuntu ali obulungi ayinza okutandika okulowooza ku makulu g’obulamu. Onooba mwetegefu okuyamba singa omuntu ng’oyo atandika ‘okulaba obwetaavu bwe obw’eby’omwoyo’? (Matayo 5:3) Omuntu mu kitundu ky’obuuliramu ayinza okubeera omwetegefu okuwuliriza amawulire amalungi omulundi gw’onoddako okumukyalira!
11, 12. Kiki ekyaliwo mu kibuga ekimu, era kiki kye tuyigamu?
11 Embeera eri mu kitundu ky’obuuliramu nayo eyinza okukyuka. Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu kabuga akatono, mwalimu akabinja k’emigogo gy’abafumbo n’abaana baabwe. Abajulirwa ba Yakuwa bwe baabakyaliranga, baategezebwanga ebigambo bye bimu ku buli luggi, “Tetwagala!” Singa omuntu yenna yalaga nti ayagala okumanya ebisingawo ku bubaka bw’Obwakabaka, baliraanwa baamumalangamu mangu amaanyi aleme kuddamu kwogera n’Abajulirwa. Kya lwatu, kwali kusoomooza kwa maanyi okubuulira mu kifo ekyo. Wadde kyali kityo, Abajulirwa tebaalekulira. Beeyongera mu maaso okubuulira. Kiki ekyavaamu?
12 Ekiseera bwe kyayitawo, bangi ku baana mu kibuga ekyo baakula, ne bayingira obufumbo, ne batandika amaka agaabwe. Nga bakitegedde nti engeri y’obulamu bwabwe teyabaleetera ssanyu lya nnamaddala, abamu ku bavubuka bano abakuze baatandika okunoonya amazima. Baagasanga bwe baabaako kye bakolawo nga bawulidde amawulire amalungi agalangirirwa Abajulirwa. N’olwekyo, oluvannyuma lw’emyaka mingi, ekibiina ekitono kyatandika okukula. Teebereza essanyu ly’ababuulizi b’Obwakabaka abataalekulira! Ka obunyiikivu mu kubuulira obubaka bw’Obwakabaka butuleetere essanyu lye limu!
Bakkiriza Banno Bajja Kukuyamba
13. Ani gwe tuyinza okukyukira nga tuweddemu amaanyi?
13 Okunyigirizibwa bwe kweyongera oba bw’otuukibwako ekizibu mu bulamu, wa w’oyinza okufuna okubudaabudibwa? Obukadde n’obukadde bw’abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo okusooka beeyuna Yakuwa mu kusaba, ate oluvannyuma ne bagenda eri baganda baabwe ne bannyinaabwe Abakristaayo. Ng’ali ku nsi, Yesu yennyini yasiima obuwagizi bw’abayigirizwa be. Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, yaboogerako ‘ng’abo abaamunywererako mu kugezesebwa kwe.’ (Lukka 22:28) Kya lwatu, abayigirizwa abo baali tebatuukiridde. Naye obwesigwa bwabwe bwabudaabuda Omwana wa Katonda. Naffe tuyinza okufuna amaanyi okuva mu basinza bannaffe.
14, 15. Kiki ekyayamba omugogo gw’abafumbo okwaŋŋanga okufa kwa mutabani waabwe, era kiki ky’oyiga mu ekyo?
14 Omugogo gw’Abakristaayo abayitibwa Michel ne Diane baategeera engeri obuwagizi bwa baganda baabwe ne bannyinaabwe gye buli obw’omuwendo. Mutabani waabwe, Jonathan, ow’emyaka 20, Omukristaayo omunywevu era eyalina essuubi mu biseera eby’omu maaso, bamukebera ne bamusanga ng’alina ekizimba mu bwongo. Abasawo baafuba nnyo okuwonya obulamu bwe, naye embeera ya Jonathan yeeyongera okwonooneka okutuusa bwe yafa. Michel ne Diane baayisibwa bubi nnyo. Weewaawo baakiraba nti Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olw’akawungeezi ako lwali lunaatera okuggwa. Naye olw’okwagala okubudaabudibwa, baasaba omukadde eyali nabo okubawerekerako mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Baatuuka ng’ekibiina kitegeezebwa ku kufa kwa Jonathan. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, abazadde abaali bakaaba beetooloolwa baganda baabwe ne bannyinaabwe ababawambaatira era ne babagamba ebigambo ebibudaabuda. Diane ajjukira: “Twali tuwulira bubi nnyo bwe twatuuka mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Naye nga ab’oluganda baatubudaabuda nnyo era ne batuzzaamu amaanyi! Wadde baali tebayinza kumalawo bulumi bwaffe, baatuyamba okugumira ekizibu ekyo!”—Abaruumi 1:11, 12; 1 Abakkolinso 12:21-26.
15 Ennaku yaleetera Michel ne Diane okusemberera baganda baabwe. Era yabaleetera buli omu okusemberera munne. Michel agamba: “Njize okwagala mukyala wange mu ngeri esingawo. Bwe tuba nga tuweddemu amaanyi, twogera ku mazima ga Baibuli n’engeri Yakuwa gy’atuwaniriramu.” Diane agattako: “Essuubi ly’Obwakabaka kati lya makulu nnyo okusinga bwe kyali kibadde.”
16. Lwaki kikulu okutegeeza baganda baffe bye twetaaga?
16 Yee, baganda baffe ne bannyinaffe bayinza ‘okutuzzaamu amaanyi’ mu biseera ebizibu mu bulamu. Bwe kityo ne batuyamba okukuuma essanyu lyaffe. (Abakkolosaayi 4:11, NW) Kya lwatu tebayinza kumanya biri mu birowoozo byaffe. N’olwekyo, bwe tuba twetaaga obuyambi, kiba kirungi okubategeeza. Bwe kityo tuyinza okusiima okubudaabuda kwonna baganda baffe kwe bayinza okutuwa, nga tukutwala ng’okuva eri Yakuwa.—Engero 12:25; 17:17.
Tunuulira Ekibiina Kyo
17. Maama ali obwannamunigina ayolekagana na kusoomooza ki, era abantu abali nga ye twandibatutte tutya?
17 Gy’okoma okwetegereza bakkiriza bano, gy’okoma okubasiima n’okufuna essanyu ng’oli nabo. Tunuulira ekibiina kyo. Kiki ky’olaba? Waliwo omuzadde ali obwannamunigina agezaako okukuza abaana be mu mazima? Olowoozezza ku kyokulabirako ekirungi ky’ataddewo? Teebereza ebimu ku bizibu by’ayolekaganye nabyo. Maama omu ayitibwa Jeanine, ali obwannamunigina amenya ebimu ku byo: ekiwuubaalo, okutawaanyizibwa abasajja ku mulimu, n’eby’enfuna ebizibu. Naye agamba nti ekizibu ekisinga byonna, kikwata ku kukola ku byetaago by’abaana be eby’enneewulira ez’omunda, okuva buli mwana bwali ow’enjawulo. Jeanine amenya ekizibu ekirala: “Kuba kusoomooza kwa maanyi nnyo okwewala okufuula mutabani wo omutwe gw’amaka adde mu kifo ky’omwami ataliiwo. Nnina muwala wange, era kizibu nnyo okwewala okumutegeeza ebizibu byange eby’omunda.” Okufaananako enkumi n’enkumi z’abazadde abali obwannamunigina abatya Katonda, Jeanine akola ekiseera kyonna era alabirira amaka ge. Era ayigiriza abaana be Baibuli, abatendeka mu buweereza, era n’abaleeta mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (Abaefeso 6:4) Nga Yakuwa ateekwa okuba omusanyufu ennyo okulaba okufuba kw’amaka gano okwa buli lunaku okukuuma obugolokofu! Tekireeta ssanyu mu mitima gyaffe okuba n’abalinga abo mu ffe? Yee, mazima ddala.
18, 19. Laga engeri gye tuyinza okweyongera okusiima abali mu kibiina kyaffe.
18 Ddamu otunuulire ekibiina kyo. Oyinza okulaba bannamwandu oba bassemwandu ‘abatayosa kujja’ mu nkuŋŋaana. (Lukka 2:37) Bafuna ekiwuubaalo emirundi egimu? Awatali kubuusabuusa. Basalirwa nnyo bannaabwe mu bufumbo! Naye banyiikivu mu buweereza bwa Yakuwa era bafaayo ku balala. Endowooza yaabwe ennuŋŋamu eyongera ku ssanyu ly’ekibiina! Omukristaayo amaze mu buweereza bw’ekiseera kyonna emyaka egisukka mu 30 yagamba: “Ekimu ku kisinzeeyo okundeetera essanyu kwe kulaba baganda bange ne bannyinaze abakulu mu myaka abayise mu kugezesebwa okw’amaanyi nga bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa!” Yee, Abakristaayo abakulu mu myaka mu ffe bazzaamu nnyo abato amaanyi.
19 Ate abappya abaakatandika okukolagana n’ekibiina? Tetuddamu maanyi bwe booleka okukkiriza kwabwe mu nkuŋŋaana? Lowooza ku kukulaakulana kwe bakoze kasookedde batandika okuyiga Baibuli. Yakuwa ateekwa okuba ng’abasanyukira nnyo. Naffe tubasanyukira? Tubasiima, ne tubeebaza olw’okufuba kwabwe?
20. Lwaki kiyinza okugambibwa nti buli ali mu kibiina alinamu ekifo ekikulu?
20 Oli mufumbo, bwannamunigina, oba muzadde ali obwannamunigina? Oli mulenzi oba muwala atalina maama oba taata? Oli nnamwandu oba ssemwandu? Obadde okolagana n’ekibiina okumala emyaka mingi oba wakatandika? Beera mukakafu nti ekyokulabirako kyo eky’obwesigwa kituzzaamu ffenna amaanyi. Era bwe weenyigira mu kuyimba ennyimba z’Obwakabaka, bw’obaako ky’oddamu oba n’owa emboozi mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase, ky’okola ekyo kyongera ku ssanyu lyaffe. Ekisingawo n’obukulu, kisanyusa omutima gwa Yakuwa.
21. Tulina ensonga nnyingi okukola ki, naye bibuuzo ki ebijjawo?
21 Yee, ne mu biseera bino ebizibu, tuyinza okubeera abasanyufu nga tusinza Katonda waffe omusanyufu. Tulina ensonga nnyingi okwanukula okubuulirira kwa Pawulo: ‘Mweyongere okusanyuka, era Katonda ow’okwagala n’emirembe ajja kubeera nammwe.’ (2 Abakkolinso 13:11) Kiba kitya singa tutuukibwako akatyabaga k’omu butonde, oba tuyigganyizibwa, oba ne tufuna obuzibu obw’amaanyi mu by’enfuna? Tuyinza okukuuma essanyu lyaffe ne mu mbeera ng’ezo? Funa eby’okuddamu nga weekenneenya ekitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 119, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okuddamu?
• Essanyu linnyonnyolebwa litya?
• Okubeera n’endowooza ennuŋŋamu kituyamba kitya okusigala nga tuli basanyufu?
• Kiki ekiyinza okutuyamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku kitundu ekibiina kyaffe kye kibuuliramu?
• Oyinza okusiima baganda bo ne bannyoko mu kibiina kyo mu ngeri ki?
[Ebifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Abantu mu kitundu kye tubuuliramu bayinza okukyuka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abali mu kibiina kyo boolekagana na mbeera ki?