‘Eddoboozi Lyabwe Lyabuna mu Nsi Zonna’
‘Mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’omwoyo omutukuvu.’—MATAYO 28:19.
1, 2. (a) Mulimu ki Yesu gwe yawa abayigirizwa be? (b) Lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baasobola okukola omulimu omunene ennyo bwe gutyo?
NG’EBULAYO akaseera katono addeyo mu ggulu, Yesu yawa abayigirizwa be omulimu ogw’okukola. Yabagamba: ‘Mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’omwoyo omutukuvu.’ (Matayo 28:19) Nga ogwo gwali mulimu gwa maanyi nnyo!
2 Kirowoozeeko! Ku Pentekoote 33 C.E., abayigirizwa nga 120 baafukibwako omwoyo omutukuvu era ne batandika okukola omulimu ogwabaweebwa nga babuulira abantu nti Yesu ye Masiya eyali asuubirwa okumala ebbanga eggwanvu, era nti okuyitira mu ye abantu mwe bandifunidde obulokozi. (Ebikolwa 2:1-36) Ababuulizi abatono bwe batyo bandisobodde batya okutuuka ku ‘bantu ab’omu mawanga gonna’? Mu maanyi g’abantu ekyo tekyandisobose, naye “Katonda ayinza byonna.” (Matayo 19:26) Abakristaayo abaasooka baalina obuwagizi bw’omwoyo gwa Yakuwa, era baali banyiikivu nnyo. (Zekkaliya 4:6; 2 Timoseewo 4:2) N’olwekyo, nga wayiseewo amakumi g’emyaka, omutume Pawulo yali asobola okugamba nti amawulire amalungi gaali gabuulirwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”—Abakkolosaayi 1:23.
3. Kiki ekyabuutikira Abakristaayo ab’amazima abakiikirirwa “eŋŋaano ennungi”?
3 Kumpi mu kyasa ekyasooka kyonna, okusinza okw’amazima kweyongera okubuna mu bitundu ebirala. Kyokka, Yesu yali agambye nti ekiseera kyandituuse Setaani n’asiga “eŋŋaano ey’omunsiko” era Abakristaayo ab’amazima abakiikirirwa “eŋŋaano ennungi,” bandibadde babuutikirwa okumala ebyasa bingi okutuukira ddala mu kiseera eky’amakungula. Oluvannyuma lw’abatume okufa, obunnabbi obwo bwatuukirira.—Matayo 13:24-39.
Okweyongera okw’Amaanyi Leero
4, 5. Okutandikira mu 1919, mulimu ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gwe baatandika okukola, era lwaki omulimu ogwo tegwali mwangu?
4 Mu 1919, ekiseera kyali kituuse Abakristaayo ab’amazima abakiikirirwa eŋŋaano ennungi okwawulibwa ku ŋŋaano ey’omu nsiko. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali bakimanyi nti omulimu omukulu Yesu gwe yali abawadde gwali gukyagenda mu maaso. Baali bakkiririza ddala nti bali mu “nnaku ez’oluvannyuma” era baali bamanyi bulungi obunnabbi bwa Yesu nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (2 Timoseewo 3:1; Matayo 24:14, NW) Mazima ddala, baali bamanyi nti waliwo omulimu ogw’amaanyi ogwalina okukolebwa.
5 Kyokka, okufaananako abayigirizwa abaaliwo mu 33 C.E., Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baali boolekaganye n’omulimu omuzibu. Baali batono era nga basangibwa mu nsi ntono. Kati olwo, bandisobodde batya okubuulira amawulire amalungi ‘mu mawanga gonna’? Kijjukire nti omuwendo gw’abantu abaaliwo ku nsi gweyongera okuva ku bukadde nga 300 mu kiseera kya Bakayisaali okutuukira ddala ku buwumbi nga 2 oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri. Era abantu bandyeyongedde obungi mu kyasa eky’amakumi abiri kyonna.
6. Emyaka we gyatuukira mu 1930, amawulire amalungi gaali gatuuse wa?
6 Wadde kyali kityo, abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta, okufaananako baganda baabwe ab’omu kyasa ekyasooka, baatandika okukola omulimu ogwali gubaweereddwa nga beesigira ddala Yakuwa, era nga bayambibwako omwoyo gwe. Emyaka we gyatuukira mu 1930, ababuulizi nga 56,000 baali babuulidde amazima ga Baibuli mu nsi nga 115. Omulimu omunene gwali gumaze okukolebwa, naye ogusingawo n’obunene, gwali gukyalina okukolebwa.
7. (a) Mulimu ki ogw’amaanyi Abakristaayo abaafukibwako amafuta gwe baayolekagana nagwo? (b) Nga bayambibwako ‘ab’endiga endala,’ omulimu gw’okubuulira gukulaakulanye gutya okutuuka leero?
7 Kati ate, okutegeera obulungi “ekibiina ekinene” ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9, kwaleetawo omulimu omulala ogw’amaanyi era ne kireetera Abakristaayo abo abanyiikivu okuba n’essuubi ery’okuyambibwako mu mulimu gwabwe. Ekibiina ekinene eky’abantu abatamanyiddwa muwendo ‘eky’ab’endiga endala,’ kwe kugamba, abakkiriza abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, baalina okukuŋŋaanyizibwa okuva mu “buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Yokaana 10:16) Abo bandibadde ‘baweereza Yakuwa emisana n’ekiro.’ (Okubikkulirwa 7:15) Ekyo kitegeeza nti bandibadde bayamba mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. (Isaaya 61:5) Ekyavaamu, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baasanyuka nnyo okulaba ng’omuwendo gw’ababuulizi gweyongera okuva mu nkumi n’enkumi okutuukira ddala mu bukadde. Mu mwaka 2003, entikko empya ey’ababuulizi 6,429,351 beenyigira mu mulimu gw’okubuulira—ng’ate abasinga obungi ku bo ba mu kibiina ekinene.a Abakristaayo abaafukibwako amafuta basiima nnyo obuyambi buno, era n’ab’endiga endala nabo basiima nnyo enkizo gye balina ey’okuyamba baganda baabwe abaafukibwako amafuta.—Matayo 25:34-40.
8. Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye baakola mu kunyigirizibwa okw’amaanyi okwaliwo mu kiseera kya ssematalo ow’okubiri?
8 Ekibiina ky’abantu ekikiikirirwa eŋŋaano ennungi bwe kyaddamu okweyoleka, Setaani yabalwanyisa nnyo. (Okubikkulirwa 12:17) Kiki kye yakola ekibiina ekinene bwe kyatandika okulabika? Yakiyigganya nnyo! Tuyinza okubuusabuusa nti si ye yakubiriza obulumbaganyi obwakolebwa ku kusinza okw’amazima mu kiseera kya ssematalo ow’okubiri? Ku njuyi zombi ez’olutalo olwo, Abakristaayo baafuna ebizibu bya maanyi nnyo. Ab’oluganda abaagalwa bangi baabonaabona nnyo, abamu ne batuuka n’okufa olw’okukkiriza kwabwe. Wadde kyali kityo, okuyitira mu bikolwa byabwe, baalaga nti balina endowooza y’emu ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; ab’omubiri bayinza kunkola ki?” (Zabbuli 56:4; Matayo 10:28) Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala abaanywezebwa omwoyo gwa Yakuwa, baagumira wamu. (2 Abakkolinso 4:7) N’ekyavaamu, “ekigambo kya Katonda ne kibuna.” (Ebikolwa 6:7) Mu 1939, olutalo bwe lwabalukawo, Abakristaayo abeesigwa 72,475 be beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka, lipoota etali nzijuvu ey’omwaka 1945, omwaka olutalo mwe lwagwera, yalaga nti Abajulirwa 156,299 be baali babuulira amawulire amalungi. Setaani nga yawangulwa bubi nnyo!
9. Masomero ki amalala agaatandikibwawo mu kiseera kya Ssematalo ow’Okubiri?
9 Kya lwatu, ebizibu ebyaliwo mu ssematalo ow’okubiri tebyaleetera baweereza ba Yakuwa kubuusabuusa nti omulimu gw’okubuulira gusobola okutuukirizibwa. Mazima ddala, mu 1943, ng’olutalo lutuuse ku ntikko yaalwo, amasomero amalala abiri gaatandikibwawo. Erimu, kati eriyitibwa Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, lyali lya kukubirizibwa mu bibiina byonna okusobola okutendeka Abajulirwa kinnoomu okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Eddala, eriyitibwa Essomero lya Watchtower Erya Baibuli ery’e Giriyadi, lyali lya kutendeka baminsani abandiyambye mu mulimu gw’okubuulira mu nsi endala. Yee, olutalo bwe lwakoma, Abakristaayo ab’amazima baali beetegefu okwenyigira mu mulimu ogw’amaanyi ogwaliwo.
10. Obunyiikivu bw’abantu ba Yakuwa bweyoleka butya mu 2003?
10 Era amasomero ago nga gakoze omulimu gwa maanyi! Olw’okuba batendekeddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, bonna abakulu n’abato, abazadde n’abaana, wadde n’abalwadde, benyigidde mu mulimu omukulu ennyo Yesu gwe yabawa era bakyagwenyigiramu. (Zabbuli 148:12, 13; Yoweeri 2:28, 29) Mu mwaka 2003, abantu 825,185 buli mwezi, baayoleka obunyiikivu bwabwe nga bakola nga bapayoniya ab’ekiseera ekitono oba ab’ekiseera kyonna. Mu mwaka ogwo gwennyini, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa 1,234,796,477 nga bategeeza abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Mazima ddala, Yakuwa asanyukira nnyo obunyiikivu bw’abantu be!
Mu Nsi Endala
11, 12. Byakulabirako ki ebirungi ebiraga omulimu ogukoleddwa abaminsani?
11 Okumala emyaka mingi, abayizi okuva mu ssomero ly’e Giriyadi era ne gye buvuddeko awo abayizi abavudde mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, balina ebirungi bingi bye bakoze. Ng’ekyokulabirako, mu Brazil waaliyo ababuulizi abatasukka 400 abaminsani abaasooka we baatuukirayo mu 1945. Abaminsani abo era n’abalala abaabaddirira, bakoze butaweera nga bali wamu ne baganda baabwe ab’omu Brazil, era Yakuwa abawadde emikisa mingi nnyo. Nga kisanyusa nnyo omuntu yenna ajjukira ennaku ezo ez’edda okulaba nga mu mwaka 2003 Brazil yatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 607,362!
12 Lowooza ku Japan. Nga ssematalo ow’okubiri tannabalukawo, mu nsi eyo mwalimu ababuulizi nga 100. Mu kiseera ky’olutalo, okuyigganyizibwa okw’amaanyi kwaviirako omuwendo gw’ababuulizi okukendeera, era olutalo we lwatuukira ku nkomerero yaalwo, Abajulirwa batono nnyo abaali bakyali abalamu mu by’omwoyo. (Engero 14:32) Abo abatono abaali abeesigwa, baasanyuka nnyo mu mwaka 1949 bwe baafuna abaminsani 13 okuva mu ssomero ly’e Giriyadi, era mangu ddala n’abaminsani abo baasanyukira nnyo baganda baabwe Abajapani abaabaniriza obulungi. Nga wayiseewo emyaka 50, mu mwaka 2003, Japan yafuna entikko y’ababuulizi 217,508! Mazima ddala, Yakuwa awadde abantu be omukisa mu nsi eyo. Lipoota eziringa ezo ziva ne mu nsi endala nnyingi. Abo abasobola okubuulira mu nsi endala, balina kinene kye bakoze mu kubunyisa amawulire amalungi ne kiba nti mu mwaka 2003, amawulire ago gaawulirwa mu nsi 235, ne mu bizinga okwetooloola ensi yonna. Yee, ekibiina ekinene kiva mu “mawanga gonna.”
“Mu Buli . . . Bika n’Abantu n’Ennimi”
13, 14. Yakuwa yalaga atya omuganyulo oguli mu kubuulira amawulire amalungi mu ‘nnimi zonna’?
13 Ekyamagero ekyasooka okubaawo ng’abayigirizwa baakamala okufukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekoote 33 C.E., kyali kwogerera mu nnimi eri ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanye. Abo bonna abaabawulira bayinza okuba nga baali boogera olulimi olwali lukozesebwa mu nsi nnyingi, oboolyawo Oluyonaani. Olw’okuba baali ‘basajja abajjumbira eddiini,’ kirabika baali basobola n’okutegeera obulungi obuweereza bw’Ekiyudaaya obw’omu yeekaalu. Naye baakwatibwako nnyo bwe baawulira amawulire amalungi nga gabuulirwa mu nnimi zaabwe.—Ebikolwa 2:5, 7-12.
14 Ne leero, ennimi nnyingi zikozesebwa mu mulimu gw’okubuulira. Obunnabbi tebulaga nti ekibiina ekinene kyandibadde kiva mu mawanga mwokka, naye era na mu ‘buli bika n’abantu n’ennimi.’ Mu ngeri etuukagana na kino, okuyitira mu Zekkaliya, Yakuwa yagamba bw’ati: ‘Abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ (Zekkaliya 8:23) Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa tebakyalina kirabo kya kwogerera mu nnimi, bamanyi omuganyulo oguli mu kuyigiriza abantu mu nnimi zaabwe enzaaliranwa.
15, 16. Kiki abaminsani n’ababuulizi abalala kye bakoze okusobola okubuulira mu nnimi ezoogerwa mu nsi gye baba bagenze?
15 Kyo kituufu nti leero waliwo ennimi ntono ezikozesebwa mu buli kifo, gamba ng’Olungereza, Olufalansa n’Olusipanisi. Kyokka, abo abavudde mu nsi zaabwe ne bagenda okuweereza mu nsi endala, bagezaako okuyiga ennimi ezoogerwa mu nsi ezo basobole okubuulira amawulire amalungi abantu ‘abaagala obulamu obutaggwaawo.’ (Ebikolwa 13:48) Ekyo kiyinza okubeera ekizibu. Ab’oluganda mu ggwanga ly’omu South Pacific eriyitibwa Tuvalu bwe baayagala okufuna ebitabo mu lulimi lwabwe, omu ku baminsani yasalawo okubivvuunula. Olw’okuba tewaaliwo nkuluze yonna mu lulimi olwo, yatandika okukola olukalala lw’ebigambo by’Olutuvalu. Nga wayiseewo ekiseera, akatabo Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsib kaakubibwa mu Lutuvalu. Abaminsani bwe baatuuka mu Curaçao, tewaaliwo bitabo byesigamiziddwa ku Baibuli wadde enkuluze mu lulimi Olupapiyamento olwogerwa mu nsi eyo. Era waaliwo obutakkaanya bwa maanyi ku ngeri olulimu olwo gye lulina okuwandiikibwamu. Wadde ng’ebizibu ebyo byaliwo, nga wakayitawo emyaka ebiri gyokka oluvannyuma lw’abaminsani abaasooka okutuuka mu nsi eyo, tulakiti eyeesigamiziddwa ku Baibuli eyasooka yakubibwa mu lulimi olwo. Leero, Olupapiyamento lwe lumu ku nnimi 133 Watchtower mwe efulumira awamu n’Olungereza buli mwezi.
16 Mu Namibia, abaminsani abaasooka baali tebayinza kufuna Mujulirwa yenna ow’omu nsi eyo asobola okubayamba okuvvuunula. Okwongereza ku ekyo, olulimi Olunama olwogerwa mu nsi eyo, terwalina bigambo bya kukozesa ku bigambo ebikozesebwa ennyo mu bitabo byaffe, gamba nga “ekituukiridde.” Omuminsani omu agamba: “Okusobola okuvvuunula, nnasinga kweyambisa basomesa be nnali njigiriza Baibuli. Olw’okuba baali bamanyi kitono nnyo ku mazima, nnalinanga okukolera awamu nabo okusobola okukakasa nti buli sentensi ntuufu.” Wadde kyali kityo, oluvannyuma tulakiti Obulamu mu Nsi Empya yavvuunulwa mu nnimi nnya ezoogerwa mu Namibia. Leero Watchtower efuluma obutayosa mu Lukwanyama ne mu Ludonga.
17, 18. Biki ebikolebwa mu Mexico ne mu nsi endala?
17 Mu Mexico, olulimi olusinga okukozesebwa lwe Lusipanisi. Kyokka, ng’Abasipanisi tebannagendayo, waaliwo ennimi nnyingi ezaali zoogerwa mu nsi eyo era nga nnyingi ku zo zikyakozesebwa. N’olwekyo, ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa kati bikubibwa mu nnimi musanvu ezoogerwa mu Mexico era ne mu Lulimi lwa Bakiggala olw’Omu Mexico. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ke katabo akafuluma buli mwezi akaasooka okufulumizibwa mu lulimi Olumaya olwogerwa Abayindi b’omu Amerika. Mazima ddala, enkumi n’enkumi z’Abamaya, Abaziteki n’abalala be bamu ku babuulizi b’Obwakabaka 572,530 abali mu Mexico.
18 Gye buvuddeko awo, abantu bukadde na bukadde baddukidde mu nsi endala ng’abanoonyi b’obubudamo oba basengukiddeyo olw’ebizibu by’eby’enfuna. N’ekivuddemu, ensi nnyingi kati zirimu abantu bangi aboogera ennimi engwira. Abajulirwa ba Yakuwa beewaddeyo okubayamba. Ng’ekyokulabirako, mu Italy mulimu ebibiina ebyogera ennimi 22 ng’ogyeko Oluyitale. Okusobola okuyamba ab’oluganda okubuulira abantu aboogera ennimi endala, gye buvuddeko awo, amasomo gaategekebwa okusobola okubayamba okuyiga ennimi 16 nga mwe muli n’Olulimi lwa Bakiggala olw’Omu Italy. Mu nsi endala nnyingi, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba mu ngeri y’emu okusobola okutuukirira abantu bangi abasengukiddeyo. Yee, nga bayambibwako Yakuwa, kati ekibiina ekinene kiva mu bantu aboogera ennimi nnyingi.
“Mu Nsi Zonna”
19, 20. Bigambo ki eby’omutume Pawulo ebituukirizibwa leero? Nnyonnyola.
19 Mu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yawandiika: “Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, eddoboozi [lyabwe] lyabuna mu nsi zonna.” (Abaruumi 10:18) Ekyo bwe kiba nga kyatuukirira mu kyasa ekyasooka, tekituukiridde nnyo n’okusingawo leero! Obukadde n’obukadde bw’abantu—oboolyawo n’okusinga abantu abaali babaddewo mu kiseera kyonna mu byafaayo, bagamba: “Neebazanga Mukama mu biro byonna: ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.”—Zabbuli 34:1.
20 Okugatta ku ekyo, omulimu teguddiridde. Ababuulizi b’Obwakabaka beeyongera bweyongezi obungi. Essaawa ezimalibwa mu mulimu gw’okubuulira zeeyongedde nnyo obungi. Abantu bukadde na bukadde baddiŋŋanwa era bikumi na bikumi bayigirizibwa Baibuli. Era abantu abaagala amazima bagenda beeyongera obungi. Omwaka oguwedde abantu 16,097,622 be baaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Yesu. Mazima ddala, wakyaliwo omulimu gwa maanyi ogulina okukolebwa. Ka tweyongere okukoppa obwesigwa bwa baganda baffe abagumiikiriza okuyigganyizibwa okw’amaanyi ennyo. Era ka twoleke obunyiikivu ng’obwa baganda baffe abeenyigidde mu buweereza bwa Yakuwa okuviira ddala mu 1919. Ka ffenna tweyongere okukolera ku bigambo bino eby’omuwandiisi wa Zabbuli ebigamba nti: “Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama.”—Zabbuli 150:6.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba lipoota y’omwaka eri ku lupapula 18 okutuuka ku 21 mu magazini eno.
b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Mulimu ki ab’oluganda gwe baatandika okukola mu 1919, era lwaki gwali muzibu?
• Baani abaakuŋŋaanyizibwa okusobola okuwagira omulimu gw’okubuulira?
• Biki abaminsani n’abalala abaweerereza mu nsi endala bye bakoze?
• Bujulizi ki bw’oyinza okuwaayo obulaga nti Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’abantu be leero?
[Ekipande ekiri ku lupapula 26-29]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2003
(Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2003)