Okubikkulirwa
7 Oluvannyuma lw’ebyo nnalaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi era nga bazinywezezza, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, ku nnyanja, oba ku muti gwonna. 2 Ne ndaba malayika omulala ng’ayambuka okuva ebuvanjuba ng’alina akabonero ka Katonda omulamu; n’ayogera n’eddoboozi eddene eri bamalayika abana abaaweebwa obuyinza okukola akabi ku nsi ne ku nnyanja, 3 ng’agamba nti: “Temukola kabi ku nsi, ku nnyanja, ne ku miti, okutuusa nga tumaze okussa akabonero+ ku baddu ba Katonda waffe mu byenyi byabwe.”+
4 Ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero; baali 144,000,+ okuva mu buli kika ky’abaana ba Isirayiri:+
5 Ab’omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero baali 12,000;
ab’omu kika kya Lewubeeni baali 12,000;
ab’omu kika kya Gaadi baali 12,000;
6 ab’omu kika kya Aseri baali 12,000;
ab’omu kika kya Nafutaali baali 12,000;
ab’omu kika kya Manase+ baali 12,000;
7 ab’omu kika kya Simiyoni baali 12,000;
ab’omu kika kya Leevi baali 12,000;
ab’omu kika kya Isakaali baali 12,000;
8 ab’omu kika kya Zebbulooni baali 12,000;
ab’omu kika kya Yusufu baali 12,000;
ab’omu kika kya Benyamini baali 12,000 abaateekebwako akabonero.
9 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba era laba! ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, nga bava mu mawanga gonna n’ebika n’abantu n’ennimi+ nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru,+ era nga bakutte amatabi g’enkindu.+ 10 Ne boogera n’eddoboozi eddene nga bagamba nti: “Obulokozi bwaffe buva eri Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ n’eri Omwana gw’Endiga.”+
11 Bamalayika bonna baali bayimiridde okwetooloola entebe y’obwakabaka n’abakadde+ n’ebiramu ebina, era ne bavunnama mu maaso g’entebe y’obwakabaka ne basinza Katonda, 12 nga bagamba nti: “Amiina! Ettendo n’ekitiibwa n’amagezi n’okwebaza n’amaanyi n’obusobozi bibeere eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.+ Amiina.”
13 Awo omu ku bakadde n’aŋŋamba nti: “Bano abambadde ebyambalo ebyeru+ be baani, era bava wa?” 14 Amangu ago ne mmugamba nti: “Mukama wange, ggwe omanyi.” N’aŋŋamba nti: “Bano be baayita mu kibonyoobonyo ekinene,+ era baayoza ebyambalo byabwe mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga ne babitukuza.+ 15 Eyo ye nsonga lwaki bali mu maaso g’entebe ya Katonda ey’obwakabaka, era bamuweereza mu yeekaalu ye emisana n’ekiro; era Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ alibabikkako weema ye.+ 16 Tebaliddamu kulumwa njala wadde ennyonta, era omusana tegulibookya newakubadde ekyokya ekirala kyonna,+ 17 kubanga Omwana gw’Endiga+ ali wakati w’entebe y’obwakabaka alibalunda+ era alibatwala awali ensulo ez’amazzi ag’obulamu.+ Ate era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”+