“Mukama Waffe, Tuyigirize Okusaba”
‘Omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, Mukama waffe, tuyigirize okusaba.’—LUKKA 11:1.
1. Lwaki omu ku bayigirizwa ba Yesu yamusaba okubayigiriza okusaba?
LUMU mu 32 C.E., omuyigirizwa omu yeetegereza Yesu ng’asaba. Yali tasobola kuwulira bye yali ayogera ne Kitaawe, olw’okuba kirabika Yesu yali asaba mu kasirise. Kyokka, Yesu bwe yamala okusaba, omuyigirizwa n’amugamba nti: “Mukama waffe, tuyigirize okusaba.” (Lukka 11:1) Kiki ekyaleetera omuyigirizwa okugamba bw’atyo? Okusaba kwali kukulu nnyo mu bulamu bw’Abayudaaya era ne mu kusinza kwabwe. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya birimu essaala nnyingi mu kitabo kya Zabbuli ne mu bitabo ebirala. N’olwekyo, omuyigirizwa yali tasaba kuyigirizibwa kintu kye yali talina ky’amanyiiko oba kye yali takolangako. Awatali kubuusabuusa, yali amanyi bulungi okusaba kw’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya okwabanga okw’okweraga obwerazi. Kyokka kati yali yeetegerezza Yesu ng’asaba era kirabika yalaba enjawulo ya maanyi wakati w’okusaba kw’abakulembeze b’eddiini n’engeri Yesu gye yasabamu.—Matayo 6:5-8.
2. (a) Kiki ekiraga nti Yesu yali tategeeza nti essaala ey’okulabirako tulina kuggiddamu kigambo ku kigambo? (b) Lwaki twagala okumanya engeri y’okusabamu?
2 Emyezi nga 18 emabega bwe yali ayigiriza ku Lusozi, Yesu yawa abayigirizwa be eky’okulabirako ekiraga engeri gye bandisabyengamu. (Matayo 6:9-13) Oboolyawo ku mulundi ogwo omuyigirizwa ono teyaliiwo, n’olwekyo, mu ngeri ey’ekisa Yesu yaddamu ensonga enkulu ezaali mu ssaala eyo ey’okulabirako. Ekyewuunyisa kiri nti teyagiddamu kigambo ku kigambo, ekiraga nti teyagenderera tugisabenga ng’ekikwate. (Lukka 11:1-4) Okufaananako omuyigirizwa oyo atamanyiddwa linnya, naffe twagala okuyigirizibwa engeri y’okusabamu tusobole okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. N’olwekyo, ka twekenneenye essaala ey’okulabirako nga bwe yawandiikibwa omutume Matayo. Erimu ebintu musanvu eby’okusaba, nga bisatu ku byo bikwata ku bigendererwa bya Katonda ate ebina bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri n’eby’omwoyo. Mu kitundu kino tujja kwekenneenya ebisatu ebisooka.
Kitaffe Omwagazi
3, 4. Kiba kiraga ki bwe tuyita Yakuwa “Kitaffe”?
3 Okuviira ddala ku ntandikwa, Yesu yalaga nti okusaba kwaffe kwandibadde kwoleka enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era nga kumuweesa ekitiibwa. Ng’okusingira ddala ayagala okuganyula abayigirizwa be abaali okumpi naye ku lusozi, Yesu yabagamba okuyita Yakuwa “Kitaffe ali mu ggulu.” (Matayo 6:9) Okusinziira ku mwekenneenya omu, Yesu k’abe nga yali ayogera mu Lwebbulaniya oba Olulamayiki, ekigambo “Kitaffe” kye yakozesa kifaananako n’ekigambo omwana omuto ky’ayinza okukozesa ng’ayita kitaawe mu ngeri ey’okwagala. Okuyita Yakuwa “Kitaffe” kyoleka enkolagana ennungi ennyo gye tulina naye.
4 Era mu kugamba nti “Kitaffe,” tuba tulaga nti tuli mu luse lw’abantu omuli abasajja n’abakazi abangi ennyo abamanyi nti Yakuwa y’Agaba Obulamu. (Isaaya 64:8; Ebikolwa 17:24, 28) Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa “baana ba Katonda,” era basobola okugamba nti: “Aba, Kitaffe!” (Abaruumi 8:14, 15) Obukadde n’obukadde bafuuse bannaabwe abeesigwa. Bano beewaddeyo eri Yakuwa era balaze okwewaayo kwabwe nga babatizibwa mu mazzi. Bano bonna ‘ab’endiga endala’ basobola okutuukirira Yakuwa okuyitira mu linnya lya Yesu era nabo bamuyita “Kitaffe.” (Yokaana 10:16; 14:6) Bulijjo tusobola okutuukirira Kitaffe ow’omu ggulu nga tuyitira mu kusaba, ne tumutendereza, era ne tumwebaza olw’ebirungi byonna by’atukoledde, era ne tumutegeeza ebituzitooweredde nga tuli bakakafu nti atufaako.—Abafiripi 4:6, 7; 1 Peetero 5:6, 7.
Okwagala Erinnya lya Yakuwa
5. Bigambo ki ebisooka mu ssaala ey’okulabirako, era lwaki bituukirawo?
5 Ebigambo ebisooka mu ssaala eyo biraga ebintu ebisaanidde okukulembezebwa mu kusaba. Bigamba: “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Yee, okutukuza erinnya lya Yakuwa kyandibadde kikulu nnyo gye tuli kubanga tumwagala era tuwulira bubi nnyo olw’ekivume ekiteekeddwa ku linnya lye. Obwewagguzi bwa Setaani n’okusendebwasendebwa kw’abafumbo abaasooka okujeemera Yakuwa Katonda, byaviirako erinnya lya Katonda okusiigibwa enziro era ne bireetawo okubuusabuusa ku ngeri Katonda gy’afugamu obutonde bwonna. (Olubereberye 3:1-6) Ate era, okuva ku bwewagguzi obwasooka, erinnya lya Yakuwa lisiigiddwa nnyo enziro olw’ebikolwa n’enjigiriza ebikyamu eby’abo abeegamba nti bamukiikirira.
6. Kiki kye tutajja kukola bwe tusaba nti erinnya lya Yakuwa litukuzibwe?
6 Bwe tusaba erinnya lya Katonda litukuzibwe, kiraga oludda lwe tuliko ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna, kwe kugamba, nti tuwagira Yakuwa ng’omufuzi w’obutonde bwonna. Yakuwa ayagala obutonde bubeeremu bamalayika n’abantu abagondera obufuzi bwe olw’okuba bamwagala era baagala n’ebyo byonna ebizingirwa mu linnya lye. (1 Ebyomumirembe 29:10-13; Zabbuli 8:1; 148:13) Okwagala kwe tulina eri erinnya lya Yakuwa kujja kutuyamba okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya eryo ettukuvu. (Ezeekyeri 36:20, 21; Abaruumi 2:21-24) Obutonde bwonna okusobola okubeera mu mirembe kyesigamye ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa n’okugondera obufuzi bwe. N’olwekyo, bwe tusaba nti “erinnya lyo litukuzibwe,” tuba tulaga nti tuli bakakafu nti ebigendererwa bya Yakuwa bijja kutuukirizibwa.—Ezeekyeri 38:23.
Obwakabaka Bwe Tusaba
7, 8. (a) Obwakabaka Yesu bwe yatuyigiriza okusaba kye ki? (b) Biki bye tuyiga ebikwata ku Bwakabaka buno mu kitabo kya Danyeri n’eky’Okubikkulirwa?
7 Ekintu eky’okubiri kye tusaba mu ssaala ey’okulabirako kiri: “Obwakabaka bwo bujje.” (Matayo 6:10) Kino kikwatagana n’ekisooka. Ekyo Yakuwa ky’anaakozesa okutukuza erinnya lye bwe Bwakabaka bwa Masiya, gavumenti ye ey’omu ggulu ng’era Omwana we Yesu Kristo ye Kabaka waabwo gw’alonze. (Zabbuli 2:1-9) Obunnabbi bwa Danyeri bwogera ku Bwakabaka bwa Masiya nga “ejjinja” eryatemebwa mu “lusozi.” (Danyeri 2:34, 35, 44, 45) Olusozi lukiikirira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna, n’olwekyo Obwakabaka obukiikirirwa ejjinja, ngeri ndala eyoleka obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna. Mu bunnabbi, ejjinja ‘lyafuuka olusozi olunene olwajjula ensi yonna,’ ekiraga nti Obwakabaka bwa Masiya bujja kukiikirira obufuzi bwa Katonda mu kufuga ensi.
8 Kristo ali wamu n’abantu abalala 144,000 mu bufuzi bw’Obwakabaka era ‘baagulibwa mu nsi,’ basobole okufugira awamu naye nga bakabaka era bakabona. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1-4; 20:6) Bano Danyeri aboogerako nga “abatukuvu b’Oyo ali waggulu,” era bonna awamu ne Kristo ng’Omutwe gwabwe bafuna ‘obwakabaka n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu. Obwakabaka bwabwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo era n’amatwale gonna galibaweereza galibawulira.’ (Danyeri 7:13, 14, 18, 27) Ennyiriri ezo zinnyonnyola bulungi gavumenti ey’omu ggulu Kristo gye yayigiriza abagoberezi okusaba.
Lwaki Tukyasaba Obwakabaka Bujje?
9. Lwaki kikyatwetaagisa okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje?
9 Mu ssaala ye ey’okulabirako, Kristo yatuyigiriza okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Masiya bwateekebwawo mu ggulu mu 1914.a Kati olwo kikyatwetaagisa okusaba Obwakabaka obwo “bujje”? Yee, kubanga mu bunnabbi bwa Danyeri, Obwakabaka bwa Masiya obukiikirirwa ejjinja bugenda kuzikiriza obufuzi bw’abantu obukiikirirwa ekibumbe ekinene. Ejjinja lijja kubetenta ekibumbe kifuuke enfuufu. Obunnabbi bwa Danyeri bugamba: ‘Obwakabaka obwo tebulirekerwa ggwanga ddala. Bujja kumenyaamenya era buzikirize obwakabaka obwo bwonna era bwo bubeerewo emirembe gyonna.’—Danyeri 2:44.
10. Lwaki twesunga nnyo okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda?
10 Twesunga nnyo okulaba nga Obwakabaka bwa Katonda buzikiriza enteekateeka ya Setaani eno embi kubanga kino kijja kuviirako okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa ettukuvu n’okusaanyawo abo bonna abaziyiza obufuzi bwa Katonda. Tunyiikira okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje,” era awamu n’omutume Yokaana tugamba nti: “Amiina: jjangu Mukama waffe Yesu.” (Okubikkulirwa 22:20) Yee, Yesu k’ajje atukuze erinnya lya Yakuwa era agulumize obufuzi Bwe, mu ngeri eyo, ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bituukirire nti: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka erinnya lyo Yakuwa, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”—Zabbuli 83:18.
“By’Oyagala Bikolebwe”
11, 12. (a) Tuba tutegeeza ki bwe tusaba nti Katonda by’ayagala “bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu”? (b) Kiki ekirala kye tuba tutegeeza bwe tusaba nti Yakuwa by’ayagala bikolebwe?
11 Ekyaddako, Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba nti: “By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Obutonde bwonna bwajjawo lwa kwagala kwa Yakuwa. Ebitonde eby’omu ggulu eby’amaanyi bigamba: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” (Okubikkulirwa 4:11) Yakuwa alina ekigendererwa eri ebintu “ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.” (Abaefeso 1:8-10) Bwe tusaba nti by’oyagala bikolebwe, mu butuufu tuba tusaba Yakuwa atuukirize ekigendererwa kye. N’ekirala, tuba tulaga nti twesunga okulaba nga Katonda by’ayagala bikolebwa mu nsi yonna.
12 Ate era bwe tusaba bwe tutyo, twoleka nti tuli beetegefu okutambuza obulamu bwaffe nga Yakuwa bw’ayagala. Yesu yagamba: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” (Yokaana 4:34) Okufaananako Yesu, ng’Abakristaayo abeewaddeyo, tusanyuka okukola Katonda by’ayagala. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri Omwana we kutukubiriza obutaluubirira ‘bintu bantu bye beegomba wabula okukola Katonda by’ayagala.’ (1 Peetero 4:1, 2; 2 Abakkolinso 5:14, 15) Tufuba okwewala okukola ebintu bye tumanyi nti bikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. (1 Abassesaloniika 4:3-5) Bwe twegulira ebiseera okusoma Baibuli n’okwesomesa, ‘tweyongera okutegeera Mukama waffe ky’ayagala,’ era kino kizingiramu okubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’—Abaefeso 5:15-17; Matayo 24:14.
Yakuwa by’Ayagala mu Ggulu
13. Mu ngeri ki Katonda by’ayagala gye byali bikolebwa edda ennyo nga Setaani tanneewaggula?
13 Yakuwa by’ayagala byali bikolebwa mu ggulu dda nnyo ng’omu ku baana be tanneewaggula era nga tannafuuka Setaani. Ekitabo ky’Engero kyogera ku magezi nga kitegeeza Omwana wa Katonda omubereberye. Kiraga nti okumala obukadde n’obukadde bw’emyaka egitamanyiddwa, Omwana wa Katonda omu yekka ‘yasanyukanga bulijjo,’ okukola Kitaawe ky’ayagala. N’ekyavaamu, yafuuka ‘omukoza wa Yakuwa omukulu’ mu kutonda ebintu byonna “mu ggulu ne mu nsi, ebirabika n’ebitalabika.” (Engero 8:22-31; Abakkolosaayi 1:15-17) Yakuwa yakozesa Yesu nga Kigambo we, oba Omwogezi we.—Yokaana 1:1-3.
14. Kiki kye tuyinza okuyiga okuva mu Zabbuli 103 ekikwata ku ngeri bamalayika mu ggulu gye batuukirizaamu Yakuwa by’ayagala?
14 Omuwandiisi wa Zabbuli alaga nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingiridde mu butonde bwonna era nti obukadde n’obukadde bwa bamalayika bagoberera obulagirizi bwe n’amateeka ge. Tusoma: “Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; n’obwakabaka bwe bufuga byonna. Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: mmwe abazira ab’amaanyi abatuukiriza ekigambo kye, nga muwulira eddoboozi ery’ekigambo kye. Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; abaweereza be, abakola by’ayagala. Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, mu bifo byonna by’afugiramu.”—Zabbuli 103:19-22.
15. Katonda by’ayagala byatuukirizibwa bitya mu ggulu Yesu bwe yafuulibwa Kabaka?
15 Oluvannyuma lw’okwewaggula, Setaani yali akyasobola okugendanga mu ggulu, nga bwe kiragibwa mu kitabo kya Yobu. (Yobu 1:6-12; 2:1-7) Kyokka, ekitabo ky’Okubikkulirwa kyagamba nti ekiseera kyandituuse Setaani ne badayimooni be ne bagobebwa mu ggulu. Kirabika ekiseera ekyo kyatuuka amangu ddala nga Yesu Kristo amaze okufuulibwa Kabaka mu 1914. Okuva olwo, mu ggulu tewaddayo kubeerayo kifo ky’abewagguzi abo. Kati bali ku nsi. (Okubikkulirwa 12:7-12) Mu ggulu tekyaliyo n’omu awakanya bufuzi bwa Katonda, bonna abaliyo batenderereza wamu “Omwana gw’Endiga” Yesu Kristo era bagondera Yakuwa nga bamutendereza. (Okubikkulirwa 4:9-11) Mazima ddala Yakuwa by’ayagala bikolebwa mu ggulu.
Yakuwa by’Ayagala Bikolebwe mu Nsi
16. Essaala ey’okulabirako eraga etya nti ebyo Kristendomu by’eyigiriza ebikwata ku ssuubi ly’abantu bikyamu?
16 Amakanisa ga Kristendomu tegoogera ku kigendererwa kya Katonda eri ensi nga gagamba nti abantu abalungi bonna bagenda mu ggulu. Kyokka Yesu yatuyigiriza okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Ddala kiyinza okugambibwa nti leero Katonda by’ayagala bikolebwa mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obukambwe, obutali bwenkanya, endwadde, n’okufa? Mazima ddala nedda! N’olwekyo tusaanide okusaba Katonda by’ayagala bikolebwe mu nsi, era nga kino kituukagana n’ekisuubizo omutume Peetero kye yawandiika: “Tusuubira eggulu eriggya [gavumenti y’Obwakabaka bwa Masiya efugibwa Kristo] n’ensi empya [abantu abatuukirivu], obutuukirivu mwe butuula.”—2 Peetero 3:13.
17. Katonda alina Ekigendererwa ki eri ensi?
17 Yakuwa yalina ekigendererwa mu kutonda ensi. Yaluŋŋamya nnabbi Isaaya okuwandiika: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda eyabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.” (Isaaya 45:18) Katonda yateeka abafumbo ababiri abaasooka mu lusuku lwe olulabika obulungi n’abagamba nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:27, 28; 2:15) Kya lwatu, Katonda ayagala ensi ebeereko abantu abatuukiridde, abaagala okugondera obufuzi bwe, era n’okubeera mu Lusuku lwe emirembe gyonna nga Kristo bwe yasuubiza.—Zabbuli 37:11, 29; Lukka 23:43.
18, 19. (a) Kiki ekiteekwa okukolebwa nga Katonda by’ayagala tebinnakolebwa mu bujjuvu ku nsi? (b) Biki ebirala ebiri mu ssaala ya Yesu ey’okulabirako ebijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
18 Ekigendererwa kya Katonda eri ensi tekisobola kutuukirizibwa mu bujjuvu, ng’ensi ekyaliko abantu abatagondera obufuzi bwe. Ng’akozesa eggye lya bamalayika wansi w’obukulembeze bwa Kristo, Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ Enteekateeka ya Setaani yonna embi nga mw’otwalidde eddiini ez’obulimba, eby’obufuzi, eby’obusuubuzi omutali bwesigwa, awamu n’amagye, byonna bijja kusaanyizibwawo. (Okubikkulirwa 11:18; 18:21; 19:1, 2, 11-18) Obufuzi bwa Yakuwa bujja kugulumizibwa n’erinnya lye litukuzibwe. Bino byonna bye tusaba bwe tugamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:9, 10.
19 Kyokka, mu ssaala gye eyatuwa, Yesu yalaga nti tusobola n’okusaba bye twetaaga. Ebikwata ku kusaba kuno bijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba essuula 6 ey’akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Okwejjukanya
• Lwaki kituukirawo okuyita Yakuwa “Kitaffe”?
• Lwaki kikulu nnyo okusaba erinnya lya Yakuwa litukuzibwe?
• Lwaki tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje?
• Kiki ekizingirwamu bwe tusaba Katonda by’ayagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Engeri Yesu gye yasabangamu, yayawukanira ddala ku y’Abafalisaayo eyali ey’okweraga obwerazi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Abakristaayo basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, erinnya lye litukuzibwe ne by’ayagala bikolebwe