Okwefuga—Kwetaagisa Okusobola Okusiimibwa Yakuwa
“Omu ku b’eŋŋanda zange bwe yatandika okulwana nange, nnamukwata mu bulago ne ntandika okumutuga. Nnali njagala kumutta.”—Paul.
“Awaka nnanyiiganga mangu ne ku buntu obutaliimu. Nnamenyanga ebintu ng’entebe, eby’okuzannyisa, oba kyonna ekyambanga okumpi.”—Marco.
Tuyinza obutatuuka ku ssa lya Paul ne Marco, naye ffenna oluusi tuzibuwalirwa okwefuga. Ekyo kiri kityo kubanga twasikira ekibi okuva ku Adamu, omuntu eyasooka. (Bar. 5:12) Okufaananako Paul ne Marco, abamu bazibuwalirwa okufuga obusungu. Abalala bazibuwalirwa okufuga ebirowoozo byabwe. Ng’ekyokulabirako, bamalira nnyo ebirowoozo byabwe ku bintu ebitiisa oba obimalamu amaanyi. Ate abalala bazibuwalirwa okwefuga bwe kituuka ku bikolwa eby’okwegatta, ku kukozesa obubi omwenge, n’okukozesa ebiragalalagala.
Abo abatafuga birowoozo byabwe, kwegomba kwabwe, oba ebikolwa byabwe, bagwa mu mitawaana mingi. Naye ekyo tusobola okukyewala. Tutya? Nga tuyiga okwefuga. Okusobola okuyiga okwefuga, ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino bisatu: (1) Okwefuga kye ki? (2) Lwaki kikulu nnyo okwefuga? (3) Tuyinza tutya okukulaakulanya engeri eyo eri mu “kibala eky’omwoyo”? (Bag. 5:22, 23) Ate era tugenda kulaba bye tuyinza okukola singa oluusi twesanga nga tulemereddwa okwefuga.
OKWEFUGA KYE KI?
Omuntu eyeefuga takolera ku buli nneewulira gy’aba nayo oba ku buli kirowoozo ekiba kimujjidde. Mu kifo ky’ekyo, yeewala okwogera oba okukola ebintu ebinyiiza Katonda.
Yesu yatuyamba okumanya kye kitegeeza okwefuga. Bayibuli egamba nti: “Bwe yavumibwa ye teyavuma. Bwe yali abonaabona teyatiisatiisa, naye yeewaayo eri Oyo asala omusango mu butuukirivu.” (1 Peet. 2:23) Yesu yeefuga abalabe be bwe baali bamujerega ng’awanikiddwa ku muti ogw’okubonaabona. (Mat. 27:39-44) Era emabegako yeefuga abakulembeze b’eddiini abaali batamwagala bwe baagezaako okumukwasa mu bye yali ayogera. (Mat. 22:15-22) Ate era yassaawo ekyokulabirako ekirungi Abayudaaya abaali abasunguwavu bwe baakwata amayinja okumukuba! Mu kifo ky’okusalawo naye okubayisa obubi, ‘Yesu yeekweka n’afuluma mu yeekaalu.’—Yok. 8:57-59.
Tusobola okukoppa Yesu? Yee, tusobola. Omutume Peetero yawandiika nti: “Kristo yabonaabona ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peet. 2:21) Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okukoppa Yesu nga tufuba okwefuga. Lwaki kikulu okwefuga?
LWAKI KIKULU OKWEFUGA?
Tulina okwefuga bwe tuba ab’okusiimibwa Yakuwa. Ne bwe tuba nga tumaze ekiseera kiwanvu nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, enkolagana yaffe naye esobola okwonooneka singa tulemererwa okwefuga mu bye tukola ne mu bye twogera.
Lowooza ku Musa, eyali “asingayo okuba omuwombeefu mu bantu bonna abaali ku nsi” mu kiseera ekyo. (Kubal. 12:3) Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi ng’agumiikiriza okwemulugunya kw’Abayisirayiri, Musa yalemererwa okwefuga. Yasunguwala nnyo Abayisirayiri bwe baddamu okwemulugunya olw’obutaba na mazzi. Yayogera bubi eri abantu, n’abagamba nti: “Muwulire mmwe abajeemu! Mu lwazi luno mwe tunaabaggira amazzi?”—Kubal. 20:2-11.
Musa yalemererwa okwefuga. Teyawa Yakuwa kitiibwa olw’ekyamagero kye yakola eky’okuwa abantu amazzi. (Zab. 106:32, 33) Bwe kityo, Yakuwa teyamukkiriza kuyingira mu Nsi Ensuubize. (Kubal. 20:12) Ekiseera kyonna ekyasigalayo eky’obulamu bwe, Musa ateekwa okuba nga yejjusa olw’obutafuga busungu ku olwo.—Ma. 3:23-27.
Ekyo kituyigiriza ki? Ne bwe tuba nga tumaze mu mazima ekiseera kiwanvu, tetusaanidde kwogera bubi eri abo ababa batunyiizizza oba ababa beetaaga okutereezebwa. (Bef. 4:32; Bak. 3:12) Kyo kituufu nti bwe tugenda tukula, oluusi tekitubeerera kyangu kwoleka bugumiikiriza. Naye tusaanidde okujjukira Musa. Tetwagala kwonoona nkolagana yaffe ne Yakuwa olw’okulemererwa okwefuga. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukulaakulanya engeri eno enkulu ennyo?
ENGERI GYE TUYINZA OKUKULAAKULANYAAMU OKWEFUGA
Saba Yakuwa akuwe omwoyo omutukuvu. Lwaki? Kubanga okwefuga kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda, era Yakuwa awa omwoyo gwe abo abagumusaba. (Luk. 11:13) Okuyitira mu mwoyo gwe, Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okwefuga. (Baf. 4:13) Ate era asobola okutuyamba okukulaakulanya n’engeri endala eziri mu kibala ky’omwoyo, gamba ng’okwagala, ezisobola okukifuula ekyangu gye tuli okwefuga.—1 Kol. 13:5.
Weewala ekintu kyonna ekiyinza okukifuula ekizibu gy’oli okwefuga. Ng’ekyokulabirako, weewale emikutu gya Intaneeti n’eby’okwesanyusaamu ebirala ebirimu ebintu ebibi. (Bef. 5:3, 4) Mu butuufu, tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okwagala okukola ebintu ebikyamu. (Nge. 22:3; 1 Kol. 6:12) Ng’ekyokulabirako, omuntu azibuwalirwa okwefuga bwe kituuka ku bikolwa eby’obugwenyufu kiyinza okumwetaagisa okwewalira ddala okusoma ebitabo ebikwata ku mukwano oba okulaba firimu ezikwata ku mukwano.
Kiyinza okutuzibuwalira okukolera ku magezi ago. Naye bwe tufuba, Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okwefuga. (2 Peet. 1:5-8) Atuyamba okufuga ebirowoozo byaffe, ebigambo byaffe, n’ebikolwa byaffe. Ekyo tukirabira ku Paul ne Marco, abaayogeddwako ku ntandikwa. Bombi baayiga okufuga obusungu bwabwe. Era lowooza ne ku w’oluganda omu eyateranga okuva mu mbeera ng’avuga emmotoka, n’atuuka n’okuyombanga n’abavuzi b’emmotoka abalala. Kiki kye yakolawo? Agamba nti: “Nnasabanga nnyo buli lunaku. Nnasoma ebitundu ebiri mu bitabo byaffe ebyogera ku kwefuga era ne nkwata mu mutwe ebyawandiikibwa ebisobola okunnyamba. Wadde nga kino mmaze emyaka mingi nga nkikola, buli ku makya nnejjukiza nti nnina okusigala nga ndi mukkakkamu. Era bwe mbaako gye ndaga, nsimbula bukyali nneme kugenda nga mpapa.”
BWE TULEMERERWA OKWEFUGA
Oluusi tuyinza okulemererwa okwefuga. Ekyo bwe kibaawo tuyinza okuwulira nga tuswala okutuukirira Yakuwa mu kusaba. Naye awo we tuba tusingira okwetaaga okusaba. N’olwekyo tuukirira mu bwangu Yakuwa mu kusaba. Musabe akusonyiwe, nnoonya obuyambi bwe, era ba mumalirivu obutaddamu kukola nsobi eyo y’emu. (Zab. 51:9-11) Yakuwa tajja kugaya ssaala eyo gy’osaba mu bwesimbu akusonyiwe. (Zab. 102:17) Omutume Yokaana yatujjukiza nti omusaayi gw’Omwana wa Katonda “gutunaazaako ebibi byonna.” (1 Yok. 1:7; 2:1; Zab. 86:5) Kijjukire nti Yakuwa agamba abantu okuba abeetegefu okusonyiwanga bannaabwe enfunda n’enfunda. N’olwekyo tuli bakakafu nti Yakuwa naye akola ekintu kye kimu gye tuli.—Mat. 18:21, 22; Bak. 3:13.
Kyanyiiza Yakuwa, Musa bwe yalemererwa okwefuga mu ddungu. Wadde kiri kityo, Yakuwa yasonyiwa Musa. Era Bayibuli eraga nti Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi era nti tulina okumukoppa. (Ma. 34:10; Beb. 11:24-28) Yakuwa teyakkiriza Musa kuyingira mu Nsi Ensuubize, naye ajja kumuzuukiza abeere mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Naffe tusobola okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo singa tufuba okukulaakulanya okwefuga.—1 Kol. 9:25.