EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15
Bye Tuyigira ku Bigambo bya Yesu Ebyasembayo
“Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima. Mumuwulire.”—MAT. 17:5.
OLUYIMBA 17 “Njagala”
OMULAMWAa
1-2. Yesu yali mu mbeera ki nga tannayogera bigambo bye ebyasembayo?
OBUDDE bwa misana, olunaku lwa Nisaani 14, omwaka 33 E.E. Oluvannyuma lw’okuwaayirizibwa n’okusingisibwa omusango gw’atazza, Yesu avumibwa, abonyaabonyezebwa, era oluvannyuma akomererwa ku muti ogw’okubonaabona. Emisumaali gikomererwa mu mikono gye ne mu bigere bye. Awulira obulumi obw’amaanyi buli lw’assa omukka na buli lw’ayogera. Naye ateekeddwa okwogera kubanga alina ebintu ebikulu by’ayagala okutegeeza abalala.
2 Ka twekenneenye ebigambo Yesu bye yayogera ng’anaatera okufa n’ebyo bye tuyinza okubiyigirako. Mu ngeri endala, ka ‘tumuwulirize.’—Mat. 17:5.
“KITANGE, BASONYIWE”
3. Baani Yesu b’ayinza okuba nga yali ayogerako bwe yagamba nti: “Kitange, basonyiwe”?
3 Kiki Yesu kye yayogera? Oluvannyuma lw’okukomererwa ku muti, Yesu yasaba Yakuwa nti: “Kitange, basonyiwe.” Baani be yali asabira okusonyiyibwa? Ebigambo ebiddako bituyamba okumanya baani abo. Yagamba nti: “Tebamanyi kye bakola.” (Luk. 23:33, 34) Kirabika Yesu yali ategeeza abasirikale Abaruumi abaakomerera emisumaali mu mikono gye ne mu bigere bye. Baali tebamanyi kiki kye yali. Yesu era ayinza okuba nga yali asabira abamu ku abo abaali mu kibinja ky’abantu abaasaba nti akomererwe naye oluvannyuma abandibadde bamukkiririzaamu. (Bik. 2:36-38) Yesu teyakkiriza bintu bitali bya bwenkanya bye baali bamukoze kumuleetera kusiba kiruyi. (1 Peet. 2:23) Mu kifo ky’ekyo, yasaba Yakuwa asonyiwe abo abaali bamutta.
4. Kiki kye tuyigira ku ky’okuba nti Yesu yali mwetegefu okusonyiwa abo abaali bamuyisizza obubi?
4 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Okufaananako Yesu, tulina okuba abeetegefu okusonyiwa abalala. (Bak. 3:13) Abantu abamu nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zaffe, bayinza okutuyigganya olw’okuba tebategeera nzikiriza zaffe na ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Bayinza okutwogerako eby’obulimba, okutuswaza mu maaso g’abalala, okwonoona ebitabo byaffe, oba n’okututiisatiisa okutukolako akabi. Mu kifo ky’okubanyiigira, tusobola okusaba Yakuwa azibule amaaso gaabwe oboolyawo lumu basobole okulaba amazima. (Mat. 5:44, 45) Oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okusonyiwa, naddala bwe tuba nga tuyisiddwa bubi nnyo. Naye bwe tusunguwala ne tusiba ekiruyi ffe tukosebwa. Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Nkimanyi nti bwe nsonyiwa abalala tekitegeeza nti bye bankola sibitwala ng’ebibi, oba nti nsanyukira okunjooga. Wabula mba nsazeewo busazi obutabasibira kiruyi.” (Zab. 37:8) Bwe tusalawo okusonyiwa abalala, tuba tusazeewo obutakkiriza bintu bibi bye baba batukoze kutuleetera kuba basunguwavu.—Bef. 4:31, 32.
“OLIBA NANGE MU LUSUKU LWA KATONDA”
5. Kiki Yesu kye yasuubiza omu ku bamenyi b’amateeka be yakomererwa nabo, era lwaki yamusuubiza ekintu ekyo?
5 Kiki Yesu kye yayogera? Waliwo abamenyi b’amateeka babiri abaakomererwa awamu ne Yesu. Mu kusooka abamenyi b’amateeka abo bombi baavuma Yesu. (Mat. 27:44) Naye oluvannyuma omu ku bo yeekuba mu kifuba. Yakiraba nti Yesu yali ‘talina kikyamu ky’akoze.’ (Luk. 23:40, 41) N’ekisinga obukulu, yakyoleka nti yali akkiriza nti Yesu yandizuukiziddwa mu bafu era nti ekiseera kyandituuse n’afuga nga Kabaka. Yagamba Omulokozi oyo eyali anaatera okufa nti: “Yesu, onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” (Luk. 23:42) Omusajja oyo nga yayoleka okukkiriza okw’amaanyi! Yesu yamuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti, oliba nange [si mu Bwakabaka, wabula] mu Lusuku lwa Katonda.” (Luk. 23:43) Weetegereze nti Yesu yakakasa omusajja oyo nti yali ajja kuba mu Lusuku lwa Katonda. Olw’okuba Yesu akimanyi nti Kitaawe musaasizi, yagamba omumenyi w’amateeka oyo eyali anaatera okufa ebigambo ebyamuwa essuubi.—Zab. 103:8.
6. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba omumenyi w’amateeka?
6 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe. (Beb. 1:3) Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa n’okutulaga obusaasizi singa twenenya mu bwesimbu olw’ebibi bye twakola emabega era ne tukiraga nti tukkiriza nti asobola okutusonyiwa ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu Kristo ogwayiibwa. (1 Yok. 1:7) Abamu kibazibuwalira okukkiriza nti Yakuwa asobola okubasonyiwa ensobi ze baakola emabega. Bw’oba ng’oluusi bw’otyo bw’owulira, lowooza ku kino: Yesu bwe yali anaatera okufa, yasaasira omumenyi w’amateeka eyali atandika obutandisi okumukkiririzaamu. Yakuwa tasingawo nnyo okulaga obusaasizi abaweereza be abeesigwa abafuba okugondera amateeka ge!—Zab. 51:1; 1 Yok. 2:1, 2.
“LABA, MUTABANI WO! . . . LABA, MAAMA WO!”
7. Kiki Yesu kye yagamba Maliyamu ne Yokaana, nga bwe kiragibwa mu Yokaana 19:26, 27, era lwaki yakyogera?
7 Kiki Yesu kye yayogera? (Soma Yokaana 19:26, 27.) Yesu yali afaayo nnyo ku maama we, kirabika mu kiseera ekyo eyali nnamwandu. Oboolyawo baganda be baali basobola okulabirira maama we mu by’omubiri. Naye ani yandibadde amulabirira mu by’omwoyo? Tewaliwo kiraga nti mu kiseera ekyo baganda be baali bafuuse abayigirizwa be. Kyokka ye Yokaana yali mutume we omwesigwa era omu ku mikwano gye egy’oku lusegere. Abo abeegatta ku Yesu mu kuweereza Yakuwa, Yesu yali abatwala nga baganda be ab’eby’omwoyo. (Mat. 12:46-50) N’olwekyo, olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Maliyamu, era ng’amufaako, yamukwasa Yokaana amulabirire ng’akimanyi nti Yokaana yandibadde amulabirira bulungi mu by’omwoyo. Yagamba maama we nti: “Laba, mutabani wo” ate n’agamba Yokaana nti: “Laba, maama wo!” Okuva mu kiseera ekyo, Yokaana yali nga mutabani wa Maliyamu, era yalabiriranga Maliyamu nga maama we. Nga Yesu yalaga okwagala kungi eri omukazi oyo eyamulabirira obulungi nga yaakazaalibwa era eyamuli ku lusegere ng’afa!
8. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba Maliyamu ne Yokaana?
8 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Enkolagana gye tulina ne bakkiriza bannaffe esobola okuba ey’amaanyi okusinga enkolagana gye tulina n’ab’eŋŋanda zaffe. Ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutuyigganya oba okutwabulira, naye Yesu yagamba nti bwe tunywerera ku Yakuwa n’ekibiina kye, ebyo bye tufuna bikubisaamu “emirundi 100” ebyo bye tuba tufiiriddwa. Bangi ku bakkiriza bannaffe bayinza okuba nga batabani baffe, bawala baffe, bamaama baffe, oba bataata baffe. (Mak. 10:29, 30) Owulira otya bw’olowooza okuba mu luganda olw’eby’omwoyo olw’abantu abali obumu olw’okukkiriza n’okwagala kwe balina eri Yakuwa ne bantu bannaabwe?—Bak. 3:14; 1 Peet. 2:17.
“KATONDA WANGE, LWAKI ONJABULIDDE”
9. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 27:46 biraga ki?
9 Kiki Yesu kye yayogera? Yesu bwe yali anaatera okukutuka yagamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” (Mat. 27:46) Bayibuli tetubuulira nsonga lwaki Yesu yayogera ebigambo ebyo. Naye lowooza ku ekyo ebigambo ebyo kye bitulaga. Ekisooka, mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali atuukiriza obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:1.b Ate era ebigambo ebyo byakyoleka bulungi nti Yakuwa yali tatadde “lukomera” ku Mwana we kumukuuma. (Yob. 1:10) Yesu yali akimanyi nti Kitaawe yali amulekedde ddala mu mikono gy’abalabe be asobole okugezesebwa mu bujjuvu ku kigero omuntu yenna ky’atagezesebwangako. Ate era ebigambo ebyo biraga nti Yesu yali talina musango gwe yali azizza ogwali gumugwanyiza okufa.
10. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba Kitaawe?
10 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Ekimu ku bye tuyiga kiri nti tetusaanidde kusuubira Yakuwa kutukuuma butatuukibwako bintu bigezesa kukkiriza kwaffe. Nga Yesu bwe yayita mu kugezesebwa okw’amaanyi ennyo, naffe tusaanidde okuba abeetegefu okusigala nga tuli beesigwa ka kibe nga kyetaagisa kufa. (Mat. 16:24, 25) Kyokka tuli bakakafu nti Yakuwa tayinza kutuleka kugezesebwa kusukka ku ekyo kye tuyinza kugumira. (1 Kol. 10:13) Ekintu ekirala kye tuyiga kiri nti okufaananako Yesu, naffe tuyinza okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (1 Peet. 2:19, 20) Abo abatuyigganya tebatuyigganya lwa kuba nti tulina ekikyamu kye tukola, naye lwa kuba nti tetuli ba nsi era tuwa obujulirwa ku mazima. (Yok. 17:14; 1 Peet. 4:15, 16) Yesu yali ategeera ensonga lwaki Yakuwa yali amulese okubonaabona. Okwawukana ku Yesu, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa oluusi beebuuza ensonga lwaki Yakuwa aleka ebintu ebibi okubatuukako. (Kaab. 1:3) Kitaffe omusaasizi era omugumiikiriza akimanyi nti abaweereza be abo okwebuuza batyo kiba tekitegeeza nti tebalina kukkiriza, wabula nti baba beetaaga okubudaabuda okuva gy’ali.—2 Kol. 1:3, 4.
“ENNYONTA ENNUMA”
11. Lwaki Yesu yayogera ebigambo ebiri mu Yokaana 19:28?
11 Kiki Yesu kye yayogera? (Soma Yokaana 19:28.) Lwaki Yesu yagamba nti: “Ennyonta ennuma”? Yayogera bw’atyo “okusobola okutuukiriza” obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:15 awagamba nti: “Amaanyi gange gakaze ng’oluggyo; olulimi lwange lukwatira ku kibuno kyange.” Ate era oluvannyuma lw’okuyita mu kubonaabona okw’amaanyi, nga mw’otwalidde n’obulumi obw’amaanyi bwe yali awulira ng’ali ku muti ogw’okubonaabona, Yesu ateekwa okuba ng’ennyonta yali emuluma nnyo. Yali yeetaaga amuyamba okumuwa ku ky’okunywa.
12. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yayogera nti “Ennyonta ennuma”?
12 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Yesu teyakitwala nti kyali kyoleka bunafu okubuulira abalala engeri gye yali awuliramu era naffe tetusaanidde kukitwala bwe tutyo. Tuyinza okuba nga tetutera kwagala kubuulira balala bye twetaaga. Naye ekiseera bwe kituuka nga twetaaga obuyambi, tetusaanidde kulonzalonza kusaba balala kutuyamba. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tukaddiye oba nga tulina obulemu, tuyinza okusaba mukwano gwaffe okututwalako okugula ebintu oba okulaba omusawo. Bwe tuba nga twennyamidde oba nga tuweddemu amaanyi, tuyinza okusaba omukadde oba mukwano gwaffe omulala omukulu mu by’omwoyo okutuwuliriza oba okubaako ebigambo ebizzaamu amaanyi by’atugamba. (Nge. 12:25) Tusaanidde okukijjukira nti bakkiriza bannaffe batwagala era baagala okutuyamba nga tuli mu “biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Naye tebasobola kumanya biri mu birowoozo byaffe. Bayinza obutamanya nti twetaaga obuyambi okuggyako nga ffe kennyini tukibagambye.
“KIWEDDE!”
13. Biki Yesu bye yatuukiriza bwe yasigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa?
13 Kiki Yesu kye yayogera? Nga Nisaani 14 ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, Yesu yagamba nti: “Kiwedde!” (Yok. 19:30) Ebigambo ebyo biraga nti Yesu bwe yali abuzaayo akaseera katono akutuke, yali mukakafu nti yali atuukirizza byonna Yakuwa bye yali ayagala atuukirize. Yesu okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa, yatuukiriza ebintu ebitali bimu. Ekisooka, yalaga nti Sitaani mulimba. Yesu yalaga nti omuntu atuukiridde asobola okugondera Katonda mu ngeri etuukiridde, ka kibe ki Sitaani ky’akola. Eky’okubiri, Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo. Okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, kyasobozesa abantu abatatuukiridde okuba nga basobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda era kyabasobozesa n’okuba n’essuubi ery’okubaawo emirembe gyonna. Eky’okusatu, Yesu yakiraga nti obufuzi bwa Kitaawe bwa butuukirivu era yaggya ekivume ku linnya lya Kitaawe.
14. Buli lunaku tulina kuba bamalirivu kukola ki? Nnyonnyola.
14 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Tulina okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa buli lunaku. Lowooza ku bigambo ebyayogerwa Ow’oluganda Maxwell Friend, eyasomesaako mu ssomero lya Gireyaadi. Ku lukuŋŋaana olumu olubaako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo, Ow’oluganda Friend bwe yali awa emboozi yagamba nti: “Ky’osobola okukola leero kikole oba ky’osobola okwogera leero kyogere; tokyongezaayo nkya? Oli mukakafu nti enkya onoobaawo? Buli lunaku lutwale nga lw’osembyeyo okufuna akakisa okukyoleka nti ogwana okufuna obulamu obutaggwaawo.” Buli lunaku ka tulutwale nga lwe tusembyeyo okuba n’akakisa okukuuma obugolokofu bwaffe! Bwe tukola tutyo, ne bwe tuba nga twolekaganye n’okufa, tusobola okugamba Yakuwa nti, “Yakuwa, nkoze kyonna kye nsobola okukuuma obugolokofu bwange, okulaga nti Sitaani mulimba, okuggya ekivume ku linnya lyo, n’okuwagira obufuzi bwo!”
“NTEEKA OMWOYO GWANGE MU MIKONO GYO”
15. Okusinziira ku Lukka 23:46, Yesu yali mukakafu ku ki?
15 Kiki Yesu kye yayogera? (Soma Lukka 23:46.) Yesu, nga taliimu kubuusabuusa kwonna yagamba nti: “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Yesu yali akimanyi nti ebiseera bye eby’omu maaso byali mu mikono gya Yakuwa, era yali mukakafu nti Kitaawe yandimujjukidde.
16. Kiki ky’oyigidde ku muweereza wa Yakuwa omu eyalina emyaka 15?
16 Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Yesu? Beera mwetegefu okussa obulamu bwo mu mikono gya Yakuwa. Ekyo okusobola okukikola olina ‘okwesiga Yakuwa n’omutima gwo gwonna.’ (Nge. 3:5) Lowooza ku muweereza wa Yakuwa ayitibwa Joshua, eyalina emyaka 15 era eyalina obulwadde obwali bugenda okumutta. Yagaana obujjanjabi obwali bumenya amateeka ga Katonda. Bwe yali anaatera okufa, yagamba maama we nti: “Maama, ndi mu mikono gye Yakuwa. . . . Maama kino nkikugamba nga siriimu kubuusabuusa nti: Nkimanyi nti Yakuwa ajja kunzuukiza. Amanyi ekiri mu mutima gwange, era mmwagala nnyo.”c Ffenna tusaanidde okwebuuza nti, ‘Singa njolekagana n’ekizibu ekigezesa okukkiriza kwange era nga kisobola okunviirako okufa, nnaateeka obulamu bwange mu mikono gya Yakuwa nga ndi mukakafu nti ajja kunzijukira?’
17-18. Biki bye tuyize? (Laba akasanduuko “Bye Tuyigira ku Bigambo Yesu Bye Yasembayo Okwogera.”)
17 Nga tulina bingi bye tuyigira ku bigambo Yesu bye yasembayo okwogera! Bitujjukiza nti tusaanidde okusonyiwa abalala n’okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutusonyiwa. Tulina enkizo ey’okuba ne baganda baffe ne bannyinaffe ab’eby’omwoyo abeetegefu okutuyamba. Naye bwe tuba nga twetaaga obuyambi, tusaanidde okubategeeza. Tumanyi nti Yakuwa ajja kutuyamba okugumira ekizibu kyonna kye twolekagana nakyo. Ate era tulabye n’obukulu bw’okuba nti buli lunaku tulutwala nga lwe tusembyeyo okufuna akakisa okulaga nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tuli bakakafu nti tuli mu mikono gye.
18 Mazima ddala ebigambo Yesu bye yayogera ng’afiira ku muti bya makulu nnyo! Bwe tukolera ku ebyo bye tuyize, tujja kuba tukolera ku ekyo Yakuwa kye yayogera ku Mwana we nti: ‘Mumuwulirize.’—Mat. 17:5.
OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga wa Maanyi
a Nga bwe kiragibwa mu Matayo 17:5, Yakuwa ayagala tuwulirize Omwana we. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebitali bimu bye tusobola okuyigira ku bigambo Yesu bye yayogera ng’ali ku muti ogw’okubonaabona ng’anaatera okufa.
b Okumanya ensonga eziyinza okuba nga zaaleetera Yesu okujuliza Zabbuli 22:1, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu magazini eno.
c Laba Awake! eya Jjanwali 22, 1995, lup. 11-15.