Ani Asobola Okununula Abo Abali mu Buzibu?
“Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda . . . Kubanga anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga.”—ZAB. 72:1, 12.
1. Ebyo ebyatuuka ku Dawudi bituyigiriza ki ku busaasizi bwa Katonda?
NG’EBIGAMBO ebyo ebiyinza okuba nga byawandiikibwa Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda bizzaamu nnyo amaanyi! Emyaka mingi emabega nga tannawandiika bigambo ebyo, Dawudi yakola obwenzi ne Basuseba, ekintu ekyamuleetera okunakuwala ennyo. Mu kiseera ekyo, Dawudi yeegayirira Katonda ng’agamba nti: “Mu bungi obw’okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna. . . . Ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo. . . . Laba, nze n[n]atondebwa mu bubi; ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.” (Zab. 51:1-5) Olw’obusaasizi bwe, Yakuwa akijjukira nti twasikira obutali butuukirivu.
2. Zabbuli eya 72 etuyigiriza ki?
2 Yakuwa amanyi bulungi embeera embi gye tulimu. Naye nga bwe kyalagulwa, Kabaka Katonda gw’alonze “anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga.” (Zab. 72:12, 13) Abantu ng’abo banaanunulwa batya? Zabbuli eya 72 etuwa eky’okuddamu. Zabbuli eno eyogera ku bufuzi bwa mutabani wa Dawudi, Sulemaani, esonga ku ngeri Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, gy’ajja okununulamu olulyo lw’omuntu okuva mu bizibu.
Ebikwata ku Bufuzi bwa Kristo
3. Sulemaani yasaba ki, era biki Katonda bye yamuwa?
3 Oluvannyuma lw’okulagira Sulemaani afuulibwe kabaka, Dawudi eyali akaddiye yawa Sulemaani obulagirizi bwe yagoberera obulungi. (1 Bassek. 1:32-35; 2:1-3) Oluvannyuma Yakuwa yalabikira Sulemaani mu kirooto n’amugamba nti: “Saba kye mba nkuwa.” Sulemaani yasaba ekintu kimu kyokka: “Muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy’abantu bo, njawulemu ebirungi n’ebibi.” Olw’okuba ekyo Sulemaani kye yasaba kyalaga nti yali muwombeefu, Katonda yamuwa kye yasaba era n’amwongerako n’ebirala.—1 Bassek. 3:5, 9-13.
4. Kabaka omukazi ow’e Seeba yayogera atya ku bufuzi bwa Sulemaani?
4 Yakuwa yawa Sulemaani omukisa, era obufuzi bwe bwaleeta emirembe n’enkulaakulana ebitabangawo mu gavumenti yonna ku nsi. (1 Bassek. 4:25) Mu bantu abagenda okulaba engeri Sulemaani gye yali afugamu mwe mwali kabaka omukazi ow’e Seeba awamu n’ekibinja ky’abaweereza be. Yagamba nti: “Ekigambo kye nnawulira mu nsi yange kyali kya mazima . . . saabuulirwa kitundu: amagezi go n’omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira.” (1 Bassek. 10:1, 6, 7) Kyokka amagezi Yesu ge yayoleka gaasingira wala aga Sulemaani, eyo ye nsonga lwaki yeeyogerako bw’ati: “Laba! asinga Sulemaani ali wano.”—Mat. 12:42.
Obuweerero mu Bufuzi by’Oyo Asinga Sulemaani Obukulu
5. Zabbuli eya 72 eraga ki, era esonga ku ki?
5 Kati ka twetegereze ebiri mu Zabbuli eya 72 tulabe emikisa eginaafunibwa mu bufuzi bwa Yesu Kristo, oyo asinga Sulemaani obukulu. (Soma Zabbuli 72:1-4.) Zabbuli eno eraga engeri Yakuwa gy’awuliramu ku bikwata ku ‘bufuzi’ bw’Omwana we, “Omulangira ow’Emirembe,” Yesu Kristo. (Is. 9:6, 7, NW) Ng’akolera ku bulagirizi bwa Katonda, oyo asinga Sulemaani obukulu ajja ‘kusalira abaavu omusango mu butuukirivu, era alokole abaana b’abo abatalina bintu.’ Obufuzi bwe bujja kuba bwa mirembe era nga bwa butuukirivu. Ebyo Yesu bye yakola ng’ali ku nsi, byali bisonga ku ebyo by’ajja okukola mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi obugenda okujja.—Kub. 20:4.
6. Ebyo Yesu bye yakola biraga bitya emikisa eginaaleetebwa obufuzi bwe?
6 Lowooza ku ebyo Yesu Kristo bye yakola ebituyamba okutegeera ebyo by’anaakolera abantu ng’atuukiriza Zabbuli eya 72. Tukwatibwako nnyo olw’ekisa kye yalaga abo abaali babonaabona. (Mat. 9:35, 36; 15:29-31) Ng’ekyokulabirako, omusajja omugenge yatuukirira Yesu n’amwegayirira ng’agamba nti: “Bw’oba oyagala, osobola okunnongoosa.” Yesu yamuddamu nti: “Njagala. Longooka.” Era omusajja oyo yawonyezebwa! (Mak. 1:40-42) Oluvannyuma, Yesu yasanga nnamwandu eyali afiiriddwa omwana we gwe yalina yekka. Yesu ‘yamusaasira,’ era n’agamba omwana we nti, “Situka!” Omwana we yasituka era n’addamu okuba omulamu nate!—Luk. 7:11-15.
7, 8. Yesu yayoleka atya amaanyi Katonda ge yamuwa okuwonya?
7 Yakuwa yawa Yesu amaanyi okukola ebyamagero. Kino kyeyolekera mu ebyo ebyaliwo ebikwata ku ‘mukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi okumala emyaka kkumi n’ebiri.’ Wadde nga yali ‘alumiziddwa nnyo olw’obujjanjabi abasawo bangi bwe baamuwanga, era nga yali awaddeyo ebintu bye byonna,’ yeeyongeranga kuba bubi. Omukazi oyo yagenda mu kibinja kya bantu abaali bakuŋŋaanye era n’akwata ku Yesu—ekintu ekyali kimenya etteeka eryali likwata ku mukazi ‘avaamu omusaayi.’ (Leev. 15:19, 25) Yesu yawulira ng’amaanyi gamuvuddemu bw’atyo n’abuuza ani yali amukutteko. ‘Ng’atidde era ng’akankana, omukazi y’afukamira mu maaso ge n’amubuulira amazima gonna.’ Bwe yakimanya nti Yakuwa yali awonyezza omukazi oyo, Yesu yamukwata mu ngeri ey’ekisa era n’amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.”—Mak. 5:25-27, 30, 33, 34.
8 Ng’oggyeko okuwonya abalwadde, amaanyi Katonda ge yawa Yesu okukola ebyamagero gateekwa okuba nga galina kinene kye gaakola ku abo abaalabanga ebyamagero ebyo nga bikolebwa. Ng’ekyokulabirako, bangi bateekwa okuba nga baakwatibwako nnyo bwe baalaba Yesu nga awonya abantu bwe yali tannatandika Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi. (Luk. 6:17-19) Yokaana Omubatiza bwe yatuma ababaka babiri okugenda okukakasa obanga ddala Yesu ye yali Masiya, ababaka abo baasanga Yesu ‘awonya bangi abaalina endwadde n’abaaliko emyoyo emibi, era ne bamuzibe ng’abazibula amaaso.’ Oluvannyuma Yesu yagamba ababaka abo ababiri nti: “Mubuulire Yokaana bye mulabye ne bye muwulidde: abazibe b’amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, n’abaavu babuulirwa amawulire amalungi.” (Luk. 7:19-22) Ng’obubaka obwo buteekwa okuba nga bwazzaamu nnyo Yokaana amaanyi!
9. Ebyamagero Yesu bye yakola byali bisonga ku ki?
9 Kituufu nti obuweerero Yesu bwe yawa abantu abaali babonaabona mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi bwali bwa kaseera buseera. Abo be yawonya ne be yazuukiza oluvannyuma baafa. Wadde kiri kityo, ebyamagero Yesu bye yakola ng’ali ku nsi byali bisonga ku buweerero obw’emirembe n’emirembe abantu bwe bajja okufuna mu bufuzi bwa Masiya.
Olusuku lwa Katonda Olugenda Okujja!
10, 11. (a) Emikisa gy’Obwakabaka ginaaganyula abantu kumala bbanga ki, era obufuzi bwa Yesu bunaaba butya? (b) Ani anaabeera ne Kristo mu Lusuku lwa Katonda, era kirimwetaagisa kukola ki okusobola okubeerawo emirembe gyonna?
10 Lowooza ku bulamu bwe buliba mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Soma Zabbuli 72:5-9.) Abaweereza ba Katonda omu ow’amazima bajja kunyumirwa obulamu mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna! Kabaka Yesu Kristo ajja kuweweeza abantu, ‘ng’enkuba etonnya ku ssubi erisaliddwa era ng’empandaggirize ezifukirira ensi.’
11 Bw’olowooza ku kutuukirizibwa kwa zabbuli eno, tokwatibwako nnyo olw’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi? Awatali kubuusabuusa, omukozi w’obubi eyali akomereddwa yasanyuka nnyo Yesu bwe yamugamba nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Luk. 23:43) Mu Bufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, omusajja oyo ajja kuzuukizibwa. Bw’anaagondera obufuzi bwa Kristo, ajja kusobola okubeera ku nsi emirembe gyonna mu bulamu obutuukiridde era obw’essanyu.
12. Mu bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, kakisa ki abatali batuukirivu abanaazuukizibwa ke banaaweebwa?
12 Oyo asinga Sulemaani obukulu, Yesu Kristo, bw’anaaba ng’afuga, “abatuukirivu banaalabanga omukisa.” (Zab. 72:7) Mu kiseera ekyo, Kristo ajja kulaga abantu okwagala n’ekisa nga bwe yakola ng’ali wano ku nsi. Mu nsi ya Katonda empya eyasuubizibwa, “n’abatali batuukirivu” abanaazuukizibwa bajja kuweebwa akakisa okutuukana n’emitindo gya Yakuwa kibasobozese okuba abalamu. (Bik. 24:15) Kya lwatu nti abo abanaagaana okukola ebyo Katonda by’ayagala tebajja kukkirizibwa kweyongera kuba balamu, okuva bwe kiri nti bayinza okumalawo emirembe n’obutebenkevu ebinaaba mu nsi empya.
13. Ekitundu Obwakabaka kye bunaafuga kinaaba kyenkana wa obunene, era lwaki tewali kijja kumalawo mirembe gyabwo?
13 Eky’okuba nti oyo asinga Sulemaani obukulu ajja kufuga ensi yonna, kiragibwa mu bigambo bino: “Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era okuva ku Mugga [Fulaati] okutuuka ku nkomerero z’ensi. Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; n’abalabe be balikomba enfuufu.” (Zab. 72:8, 9) Yee, Yesu Kristo ajja kufuga ensi yonna. (Zek. 9:9, 10) Abo abanaatwala obufuzi bwe nga bwa muwendo awamu n’emikisa gye bunaaleeta “balimufukaamirira” kyeyagalire. Ku luuyi olulala, ababi abanaagaana okwenenya bajja kuzikirizibwa, ne bwe banaaba ba ‘myaka kikumi.’ (Is. 65:20) Bwe kityo, “balikomba enfuufu.”
Yesu Atulumirirwa
14, 15. Tumanya tutya nti Yesu ategeera bulungi embeera abantu gye balimu era nti ajja ‘kuwonya omunafu bw’anaakaabanga’?
14 Abantu bonna aboonoonyi bali mu mbeera mbi nnyo era beetaaga okuyambibwa mu bwangu. Naye ffe tulina essuubi. (Soma Zabbuli 72:12-14.) Yesu, oyo asinga Sulemaani obukulu, atulumirirwa olw’okuba akimanyi bulungi nti tetutuukiridde. Ate era Yesu yabonaabona olw’obutuukirivu, era Katonda yamuleka okuyita mu kugezesebwa okw’amaanyi ku lulwe. Yesu yalumizibwa nnyo mu mwoyo era “entuuyo ze ne ziba ng’amatondo g’omusaayi agatonnya ku ttaka”! (Luk. 22:44) Oluvannyuma ng’ali ku muti ogw’okubonaabona, yagamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” (Mat. 27:45, 46) Wadde nga yabonaabona nnyo, era nga ne Sitaani yakola kyonna ky’asobola okumuggya ku Yakuwa, Yesu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa Katonda.
15 Tuli bakakafu nti Yesu alaba obulumi bwe tuyitamu era ajja ‘kuwonya omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi.’ Okufaananako Kitaawe ow’omu ggulu, Yesu ajja ‘kuwulira abaavu,’ ajja ‘kuwonya abalina emitima egimenyese, era asibe ebiwundu byabwe.’ (Zab. 69:33; 147:3) Yesu ‘atulumirirwa mu bunafu bwaffe,’ olw’okuba naye ‘yagezesebwa mu byonna nga ffe.’ (Beb. 4:15) Nga kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Kabaka Yesu Kristo kati afuga mu ggulu era nti ayagala nnyo okuleetera abantu ababonaabona obuweerero!
16. Lwaki Sulemaani yali asobola okulumirirwa abo be yali afuga?
16 Olw’okuba Sulemaani yali musajja wa magezi era nga mutegeevu, ateekwa okuba nga ‘yasaasiranga abaavu.’ Ate era naye kennyini yafuna ebizibu ebitali bimu. Muganda we Amunoni yakwata mwannyina Tamali, era muganda wa Sulemaani Abusaalomu yatta Amunoni olw’ekyo kye yakola. (2 Sam. 13:1, 14, 28, 29) Abusaalomu yagezaako okweddiza entebe ya Dawudi, naye olukwe lwe yakola lwagwa butaka, era Yowaabu yamutta. (2 Sam. 15:10, 14; 18:9, 14) Oluvannyuma, muganda wa Sulemaani Adoniya yagezaako okweddiza obwakabaka. Singa ekyo kyatuukirira, tewali kubuusabuusa nti Sulemaani yandittiddwa. (1 Bassek. 1:5) Ebyo Sulemaani bye yayogera mu kusaba kwe ng’awaayo yeekaalu ya Yakuwa biraga nti yali ategeera bulungi ebizibu abantu bye boolekagana nabyo. Bwe yali asabira abantu be yali afuga, Sulemaani yagamba nti: “Abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n’obuyinike bwe . . . [Yakuwa] osonyiwanga osasulanga buli muntu ng’amakubo ge gonna bwe gali.”—2 Byom. 6:29, 30.
17, 18. Buyinike ki abaweereza ba Katonda bwe boolekaganye nabwo, era kiki ekibayambye okubwaŋŋanga?
17 Ebintu bye tuyiseemu mu bulamu biyinza okutuleetera ‘obuyinike.’ Mary,a Omujulirwa wa Yakuwa ali mu myaka 30, agamba nti: “Waliwo ebintu bingi ebindeetera essanyu, naye buli lwe nzijukira ebintu bye nnayitamu mpulira obuswavu era nneesisiwala. Kino kindeetera ennaku ey’amaanyi ne nkaaba n’okukaaba, nga gy’obeera ebintu ebyo byabaddewo jjo. Bwe ndowooza ku bintu ebyo muli mpulira nga sirina mugaso era ekyo kindeetera okwennyamira.”
18 Bangi ku baweereza ba Katonda bayise mu mbeera ng’eyo, naye kiki ebibayambye okugigumira? Mary agamba nti, “Baganda bange ne bannyinaze mu kibiina bannyambye okuddamu okufuna essanyu. N’ekirala, nfuba okussa ebirowoozo byange ku bisuubizo bya Yakuwa eby’omu biseera eby’omu maaso, era ndi mukakafu nti okukaaba kwange kujja kukoma, nfune essanyu.” (Zab. 126:5) Tusaanidde okussa obwesige bwaffe mu Mwana wa Katonda, oyo gw’alonze okufuga. Nga bumwogerako, obunnabbi bwagamba nti: “Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima: n’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.” (Zab. 72:13, 14) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi!
Ensi Empya Ejja
19, 20. (a) Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli eya 72, kizibu ki ekigenda okumalibwawo Obwakabaka? (b) Obufuzi bwa Kristo okusingira ddala ani gwe bunaaweesa ekitiibwa n’ettendo, era owulira otya bw’olowooza ku ebyo bye bunaakola?
19 Ddamu olowooze ku bulamu bwe buliba mu nsi ya Katonda empya ng’ejjudde abantu abatuukiridde era nga bafugibwa oyo asinga Sulemaani obukulu. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” (Zab. 72:16) Okuva bwe kiri nti emmere enkalu tetera kulimibwa ku ntikko z’ensozi, ebigambo bino biraga nti wajja kubaawo emmere nnyingi ku nsi. Ebibala by’ensi “binaayuuganga nga Lebanooni,” ekifo ekyali ekigimu ennyo mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani. Teeberezaamu! Wajja kuba tewakyaliwo bbula lya mmere, buzibu buva ku ndya mbi, wadde alumwa enjala! Abantu bonna bajja kulya “embaga ey’ebya ssava.”—Is. 25:6-8; 35:1, 2.
20 Okusingira ddala ani anaaweebwa ekitiibwa n’ettendo olw’emikisa egyo gyonna? Kabaka ow’Emirembe n’Emirembe era Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa Katonda. Mu kiseera ekyo, ffenna tujja kugatta wamu amaloboozi gaffe okuyimba ebigambo ebikomekkereza Zabbuli eya 72: “Erinnya [lya Kabaka Yesu Kristo] linaabeereranga emirembe gyonna; erinnya lye linaalwangawo ng’enjuba: n’abantu banaalabanga omukisa mu ye; amawanga gonna ganaamuyitanga wa mukisa. Yeebazibwenga [Yakuwa] Katonda, Katonda wa Isiraeri, akola eby’amagero yekka: n’erinnya lye ery’ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina.”—Zab. 72:17-19.
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya likyusiddwa.
Wandizzeemu Otya?
• Obunnabbi obuli mu Zabbuli eya 72 busonga ku ki?
• Oyo asinga Sulemaani obukulu y’ani, era ekitundu ky’anaafuga kinaaba kyenkana wa obunene?
• Ku mikisa egyogerwako mu Zabbuli eya 72, guluwa gw’osinga okwesunga?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Obufuzi bwa Sulemaani obwali obulungi bwali busonga ku ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Ka tukole kyonna ekisoboka okuba abamu ku abo abanaabeera mu Lusuku lwa Katonda nga bafugibwa oyo asinga Sulemaani obukulu