Okuyiga—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
“Bw’onooganoonyanga . . . , ojja kuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.”—ENGERO 2:4, 5, NW.
1. Okusoma olw’okwesanyusaamu kuyinza kutya okutuleetera essanyu eppitirivu?
ABANTU bangi basoma nga baagala bwagazi kwesanyusaamu. Bye basoma bwe biba nga bizimba, okusoma kuyinza okubasobozesa okuwummula mu ngeri ey’omuganyulo. Ng’oggyeko okugoberera enteekateeka yaabwe ey’okusoma Baibuli obutayosa, Abakristaayo abamu banyumirwa okusoma mu Zabbuli, Engero, Enjiri, oba ebitundu ebirala ebya Baibuli. Engeri ennungi gye byawandiikibwamu ebaleetera essanyu ppitirivu. Abalala balondawo okusoma Yearbook of Jehovah’s Witnesses, magazini ya Awake!, ebibaddewo mu bulamu bw’abantu ebikubibwa mu katabo kano, oba ebikubibwa ebikwata ku byafaayo, ku nsi n’ebiramu ebigiriko, n’ebikwata ku nkolagana z’omu butonde.
2, 3. (a) Mu ngeri ki ebintu eby’omwoyo eby’omunda gye biyinza okugeraageranyizibwa ku mmere enkalubo? (b) Okuyiga kuzingiramu ki?
2 Wadde okusoma olw’okwesanyusaamu eyinza okuba engeri ey’okuwummulamu, okuyiga kwetaagisa okufuba. Omufirosoofo Omungereza Francis Bacon yawandiika bw’ati: “Ebitabo ebimu bisaanidde okulegebwako, ebirala okumirwa, ate ebimu ebitonotono okugaayibwa era n’okubisa.” Mazima ddala Baibuli eri mu kiti ekisembayo. Omutume Pawulo yawandiika: “Ku bimukwatako [Kristo, eyali akiikirirwa Merekizedeki eyali Kabaka era Kabona] tulina bingi eby’okumwogerako n’okunnyonnyola, okuva bwe mufuuse abaggavu b’amatu. . . . Emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw’okugakoza okwawulanga obulungi n’obubi.” (Abaebbulaniya 5:11 (NW), 14) Emmere enkalubo eteekwa okugaayibwa nga tennaba kumirwa era n’okugisa. Obubaka obw’eby’omwoyo obw’omunda bwetaaga okufumiitirizibwako nga tebunnaba kusimba makanda mu mutima.
3 Ekitabo ekiwa amakulu g’ebigambo kinnyonnyola “okuyiga” nga “ekikolwa oba enkola ey’okukozesa obwongo okufuna okumanya oba okutegeera, ng’oyitira mu kusoma, okunoonyereza, n’ebirala.” N’olwekyo, kizingiramu ekisingawo ku kusoma obusomi amangu, oboolyawo ng’osaza ku bigambo. Okuyiga guba mulimu, kutegeeza okufuba mu bwongo, n’okukozesa obusobozi bw’okulowooza. Kyokka, wadde okuyiga kwetaagisa okufuba, kino tekitegeeza nti okuyiga tekuyinza kunyuma.
Okufuula Okuyiga Okunyuma
4. Okusinziira ku muwandiisi wa Zabbuli, okuyiga Ekigambo kya Katonda kuyinza kutya okuzzaamu endasi n’okuganyula?
4 Okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda biyinza okukuzzaamu endasi n’amaanyi. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Etteeka lya Yakuwa lyatuukirira, likomyawo emmeeme. Okujukizibwa kwa Yakuwa kwesigika, kufuula abatalina bumanyirivu abagezi. Ebiragiro okuva eri Yakuwa bituukirivu, bisanyusa omutima; ekiragiro kya Yakuwa kirongoofu, kireetera amaaso okwakayakana.” (Zabbuli 19:7, 8, NW) Amateeka ga Yakuwa n’okujukizibwa kwe bizzaamu emmeeme yaffe amaanyi, binyweza embeera yaffe ey’eby’omwoyo, bituleetera essanyu mu mutima, ne bireetera amaaso gaffe okwakayakana nga galaba bulungi ebigendererwa bya Yakuwa eby’ekitalo. Nga kisanyusa nnyo!
5. Mu ngeri ki okuyiga gye kuyinza okutuleetera essanyu eppitirivu?
5 Bwe tuba tusobola okulaba ebirungi ebiva mu mulimu gwaffe, tutera okunyumirwa okugukola. Bwe kityo, okusobola okufuula okuyiga okusanyusa, twandyanguye okukozesa okumanya kwe twakafuna. Yakobo yawandiika: “Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’anyiikiriramu, nga si muwulizi ayeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.” (Yakobo 1:25) Bwe twanguwa okussa mu nkola ensonga ze tuyize, kituleetera okumatira kwa maanyi. Bwe tukola okunoonyereza nga tulina ekigendererwa eky’okuddamu ekibuuzo kye batubuuzizza nga tuli mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okuyigiriza nakyo kijja kutuleetera essanyu lya maanyi.
Okukulaakulanya Okwagala eri Ekigambo kya Katonda
6. Omuwandiisi wa Zabbuli 119 yayoleka atya nti assaayo omwoyo ku kigambo kya Yakuwa?
6 Eyayiiya Zabbuli 119, oboolyawo Keezeekiya ng’akyali omulangira omuto, yalaga nti yali ayagala ekigambo kya Yakuwa. Mu lulimi lw’ekitontome, yagamba: “Naayagalanga amateeka go. Sijja kwerabira kigambo kyo. Era okujukizibwa kwo kwe njagala . . . Era nja kwagala nnyo ebiragiro byo. Okusaasira kwo kujje gye ndi, mbeerenga omulamu; kubanga amateeka go ge njagala. Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Yakuwa, era amateeka go ge njagala.”—Zabbuli 119:16, 24, 47, 77, 174, NW.
7, 8. (a) Okusinziira ku kitabo ekimu, kitegeeza ki ‘okussaayo omwoyo’ ku Kigambo kya Katonda? (b) Tuyinza tutya okulaga okwagala kwe tulina eri Ekigambo kya Yakuwa? (c) Ezera yeeteekateeka atya nga tannasoma Mateeka ga Yakuwa?
7 Nga kinnyonnyola ekigambo ekivvuunulwa “naayagalanga” mu Zabbuli 119, ekitabo ekimu ekiwa amakulu g’ebigambo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya kigamba: “Enkozesa yaakyo mu lunyiriri 16 y’emu n’ey’ebigambo ebikozesebwa ku kusanyuka . . . era n’okufumiitiriza . . . Ebyogerwako ebiddiriŋŋana biri: kusanyuka, okufumiitiriza . . . Ensengeka eno eyinza okutegeeza nti okufumiitiriza ng’olina ekigendererwa y’engeri omuntu mw’ayitira okusanyukira ekigambo kya Yahweh. . . . Amakulu gatwaliramu okwoleka enneewulira.”a
8 Yee, okwagala kwe tulina eri Ekigambo kya Yakuwa kusaanidde okuva mu mutima, ensibuko y’enneewulira. Twandiwaddeyo ebiseera okulowooza ku bintu bye twakamala okusoma. Twandisizzaayo omwoyo ku bintu eby’omunda eby’eby’omwoyo, ne tubyemalirako, era ne tubifumiitirizzaako. Kino kyetaagisa okufumiitiriza n’okusaba. Okufaananako Ezera tuteekwa okuteekateeka emitima gyaffe okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda. Ku bimukwatako kyawandiikibwa: “Kubanga Ezera yali akakasizza [“ateeseteese,” NW] omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama n’okugakolanga n’okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n’emisango.” (Ezera 7:10) Weetegereze ekigendererwa eky’emirundi esatu ekyaleetera Ezera okuteekateeka omutima gwe: okuyiga, okuteeka mu nkola, n’okuyigiriza. Twandigoberedde ekyokulabirako kye.
Okuyiga ng’Ekikolwa eky’Okusinza
9, 10. (a) Mu ngeri ki omuwandiisi wa Zabbuli gye yassaayo omwoyo ku Kigambo kya Yakuwa? (b) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okussaayo omwoyo’ kitegeeza ki? (c) Lwaki kikulu nnyo ffe okutwala okuyiga Baibuli nga “ekikolwa eky’okusinza”?
9 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti yassaayo omwoyo eri amateeka ga Yakuwa, ebiragiro bye, n’okujjukizibwa kwe. Ayimba: “Nnasangayo omwoyo ku biragiro byo, era nnaalowoozanga ku makubo go. . . . Nnaayimusanga engalo zange eri ebiragiro byo bye nnaayagalanga, era nnasangayo omwoyo ku mateeka go. Amateeka go nga ngaagala! Ge nteekako omwoyo okuzibya obudde. Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna, kubanga okujukizibwa kwo nkuteekako omwoyo.” (Zabbuli 119:15, 48, 97, 99, NW) Kitegeeza ki ‘okussaayo omwoyo eri’ Ekigambo kya Yakuwa?
10 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okussaayo omwoyo’ era kitegeeza “okufumiitiriza, okwemalira ku kintu,” “okulowoolereza ku nsonga.” “Kikozesebwa ku kufumiitiriza ku mirimu gya Katonda . . . ne ku kigambo kya Katonda.” (Theological Wordbook of the Old Testament) Ekigambo ekivvuunulwa “okussaayo omwoyo” era kikwata ku “kufumiitiriza kw’omuwandiisi wa Zabbuli,” “okwagala kwe yalina okw’okuyiga” amateeka ga Katonda, nga “ekikolwa eky’okusinza.” Okutwala okuyiga Ekigambo kya Katonda ng’ekitundu ky’okusinza kwaffe kukwongera okubeera okukulu. N’olwekyo, kusaanidde okukolebwa n’obwegendereza awamu n’okusaba. Okuyiga kitundu kya kusinza kwaffe era kukolebwa okulongoosa okusinza kwaffe.
Okusima Munda mu Kigambo kya Katonda
11. Yakuwa abikkula atya ebintu eby’omwoyo eby’omunda eri abantu be?
11 Ng’awuniikiridde, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama! Ebirowoozo byo bya buziba.” (Zabbuli 92:5) Omutume Pawulo yayogera ku ‘bintu ebikwata ku Katonda eby’omunda,’ ebirowoozo eby’ebuziba Yakuwa by’abikkulira abantu be ‘okuyitira mu mwoyo gwe’ ogukolera ku kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. (1 Abakkolinso 2:10, NW; Matayo 24:45) Ekibiina ky’omuddu kifuba okuwa bonna emmere ey’eby’omwoyo—abappya ‘amata’ naye ‘abakulu mu by’omwoyo’ ‘emmere enkalubo.’—Abaebbulaniya 5:11-14.
12. Waayo ekyokulabirako ‘eky’ebintu eby’omunda ebikwata ku Katonda’ ebinnyonnyoddwa ekibiina ky’omuddu.
12 Okutegeera ‘ebintu ng’ebyo eby’omunda ebikwata ku Katonda,’ kyetaagisa okuyiga awamu n’okusaba n’okufumiitiriza ku Kigambo kye. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebirungi bikubiddwa ebiraga engeri Yakuwa gy’ayinza okuba omwenkanya era omusaasizi. Ye okulaga obusaasizi tekuba kuddirira mu bwenkanya bwe; wabula obusaasizi bwa Katonda nneeyoleka ey’obwenkanya bwa Katonda awamu n’okwagala kwe. Ng’asalira omwonoonyi omusango, Yakuwa asooka kulaba oba nga kisoboka okulaga obusaasizi okusinziira ku kinunulo kya Ssaddaaka y’Omwana we. Singa omwonoonyi teyeenenya oba nga mujeemu, Katonda obwenkanya bwe tabugattako busaasizi obuba butasaanira kumulagibwa. Mu buli ngeri, mwesigwa eri emisingi gye egya waggulu.b (Abaruumi 3:21-26) ‘Ng’obuziba bw’obugagga bw’amagezi ga Katonda bungi nnyo!’—Abaruumi 11:33.
13. Tuyinza tutya okusiima amazima ‘gonna awamu’ ag’eby’omwoyo agabikkuliddwa?
13 Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tusanyuka nnyo olw’okuba Yakuwa atutegeeza bingi ku birowoozo bye. Dawudi yawandiika: “Era n’ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! [Byonna] awamu, nga bingi! Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo [“obungi,” NW].” (Zabbuli 139:17, 18) Wadde bye tumanyi leero katundu katono nnyo ak’ebintu ebingi Yakuwa by’alitutegeeza mu biseera ebitakoma, tusiima nnyo amazima ag’omuwendo ag’eby’omwoyo ‘gonna awamu’ agatubikkuliddwa era tweyongera okugasimamu gonna mu Kigambo kya Katonda.—Zabbuli 119:160.
Okufuba n’Ebikozesebwa Ebirungi Byetaagibwa
14. Engero 2:1-6 ziggumiza zitya nti kyetaagisa okufuba okuyiga Ekigambo kya Katonda?
14 Okuyiga eby’omunda ebiri mu Baibuli kyetaagisa okufuba. Ensonga eyo yeeyoleka bulungi okuva mu kusoma n’obwegendereza Engero 2:1-6. Weetegereze ebigambo Kabaka Sulemaani ow’amagezi bye yakozesa okuggumiza nti okufuba kwetaagisa okufuna okumanya okuva eri Katonda, amagezi n’okutegeera. Yawandiika: “Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange, n’oterekanga ebiragiro byange ewuwo; n’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera; weewaawo bw’onookaabiranga okumanya, n’oliriranga okutegeera. Bw’onooganoonyanga nga ffeeza, n’ogakenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa; kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya Katonda. Kubanga Mukama awa amagezi; mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera.” (Italiki zaffe.) Yee, okuyiga okuganyula kwetaagisa okunoonyereza, n’okusima, ng’olinga anoonya eby’obugagga ebyakwekebwa.
15. Kyakulabirako ki okuva mu Baibuli ekiraga nti kyetaagisa engeri ennungi ez’okuyiga?
15 Okuyiga okuganyula mu by’omwoyo era kwetaagisa engeri ennungi ez’okuyiga. Sulemaani yawandiika: “Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n’olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi.” (Omubuulizi 10:10) Singa omukozi akozesa ekyuma ekisala ekitali kiwagale oba bw’atakikozesa bulungi, ajja kwonoona amaanyi ge era n’omulimu gwe tegujja kubeera mulungi. Mu ngeri y’emu, emiganyulo egiva mu biseera bye tuwaayo okuyiga giyinza okubeera egy’enjawulo okusinziira ku ngeri zaffe ez’okuyiga. Ebirowoozo ebirungi ennyo ku ngeri y’okulongoosaamu engeri gye tuyigamu bisangibwa mu Ssomo 7 mu Theocratic Ministry School Guidebook.c
16. Birowoozo ki ebiganyula ebituweereddwa okutuyamba okwenyigira mu kuyiga okw’omunda?
16 Ffundi bw’atandika omulimu gwe, ategeka by’ajja okukozesa. Mu ngeri y’emu, bwe tutandika okuyiga, tusaanidde okulonda mu tterekero lyaffe ery’ebitabo bye tunaakozesa mu kuyiga. Bw’omanya nti okuyiga mulimu era gwetaagisa okufuba mu bwongo, kiba kirungi okuyigira mu mbeera esaanira. Bwe tuba twagala okusigala obulindaala mu bw’ongo, okutuula ku ntebe ng’osomera ku mmeeza kiyinza okusingako okusomera ku kitanda oba mu ntebe ey’egandaalo. Oluvannyuma lw’okusomera akabanga, kiyinza okubeera eky’omuganyulo okutambulatambulamu n’okufuna ku kawewo.
17, 18. Waayo ebyokulabirako ku ngeri y’okukozesaamu ebikozesebwa ebirungi by’olina.
17 Tulina bingi eby’okukozesa mu kuyiga ebirungi ennyo. Ekisinga obukulu mu bino ye Baibuli ya New World Translation, kati efunika mu bulambirira oba mu bitundu mu nnimi 37. New World Translation erimu ebyawandiikibwa mu miwatwa, “Olukalala lw’Ebitabo bya Baibuli” oluwa erinnya ly’omuwandiisi, ekifo gye kyawandiikibwa, n’ekiseera ekyamalibwa nga kiwandiikibwa. Era erimu index y’ebigambo ebiri mu Baibuli, appendix, ne mmaapu. Mu nnimi ezimu, Baibuli eno ng’ekubiddwa mu nnukuta ennene, eyitibwa Reference Bible. Erimu ebyo byonna ebiri waggulu n’ebirala bingi, nga mw’otwalidde n’obugambo obutono obuli wansi nabwo obuteekeddwa mu index. Okozesa mu bujjuvu byonna ebiri mu lulimi lwo osobole okusima munda mu Kigambo kya Katonda?
18 Ekirala eky’omuwendo ennyo ekikozesebwa mu kuyiga gy’emizingo ebiri egya Insight on the Scriptures egikwata ku Baibuli. Bw’oba n’ekitabo kino mu lulimu lw’otegeera, wandikikozesezzanga buli lw’oba oyiga. Kijja kukutegeeza bingi ebikwata ku mitwe gy’omu Baibuli. Ekikozesebwa ekirala eky’omuganyulo kye kitabo “All Scripture Is In-spired of God and Beneficial.” Bw’oba otandika okusoma ekitabo ekirala mu Baibuli, kiba kirungi okwekenneenya ebikwata ku kitabo ekyo mu “All Scripture” okusobola okumanya ebyafaayo ebikikwatako, awamu n’okuwumbawumbako okw’ebitabo ebiri mu Baibuli n’omuganyulo gwabyo gye tuli. Ekirala ekikozesebwa mu kuyiga ekyakafulumizibwa ye Watchtower Library eri ku kompyuta, kati efunika mu nnimi mwenda.
19. (a) Lwaki Yakuwa atuwadde ebikozesebwa ebirungi eby’okuyiga Baibuli? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okusoma Baibuli n’okuyiga?
19 Yakuwa atuwadde ebikozesebwa bino byonna okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ okusobozesa abaweereza be ku nsi ‘okunoonya okumanya okukwata ku Katonda.’ (Engero 2:4, 5) Engeri ennungi ez’okuyiga zitusobozesa okumanya obulungi Yakuwa era n’okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Zabbuli 63:1-8) Yee, okuyiga guba mulimu, naye mulimu oguleeta essanyu era oguganyula. Kyokka, gwetaagisa okuwaayo ebiseera, oboolyawo olowooza, ‘Wa wenyinza okufuna ebiseera okusoma Baibuli n’okuyiga?’ Ensonga eno eggya kwekenneenyezebwa mu kitundu ekisembayo mu bitundu bino ebiddiriŋŋana.
[Obugambo obuli wansi]
a New International Dictionary of Old Testament Theology & Exegesis, Omuzingo 4, empapula 205-207.
b Laba Omunaala gw’Omukuumi, aka Agusito 1, 1998, olupapula 28, akatundu 7. Ku bikwata ku kuyiga Baibuli, oyinza okusoma ebitundu byombi mu katabo ako awamu n’ebitundu “Obwenkanya,” “Obusaasizi,” ne “Obutuukirivu” mu kitabo Insight on the Scriptures, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
c Kaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc. Bwe mutaba na katabo kano mu lulimu lwammwe, ebirowoozo ebirungi ku ngeri z’okuyiga biyinza okusangibwa mu magazini zino wammanga eza The Watchtower: Agusito 15, 1993, empapula 13-17; Maayi 15, 1986, empapula 19-20.
Ebibuuzo eby’Okwejjukanya
• Tuyinza tutya okufuula okuyiga kwaffe okuzzaamu endasi era okuganyula?
• Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tuyinza tutya ‘okwagala’ era ‘n’okusaayo omwoyo’ ku Kigambo kya Yakuwa?
• Engero 2:1-6 ziraga zitya nti kyetaagisa okufuba mu kuyiga Ekigambo kya Katonda?
• Byakukozesa ki ebirungi mu kuyiga Yakuwa by’atuwadde?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Okufumiitiriza n’okusaba bituyamba okukulaakulanya okwagala eri Ekigambo kya Katonda
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Okozesa mu bujjuvu ebikozesebwa okuyiga ebiriwo okusima munda mu Kigambo kya Katonda?