Beera n’Endowooza Entuufu ku Nkozesa y’Omwenge
“Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; era buli akyama olw’ebyo talina magezi.”—ENGERO 20:1.
1. Omuwandiisi wa zabbuli yasiima atya ebirabo ebirungi Yakuwa by’atuwa?
“BULI kirabo kirungi, na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow’ebyaka,” bw’atyo omuyigirizwa Yakobo bwe yawandiika. (Yakobo 1:17) Ng’asiima ebintu ebingi ebirungi Katonda bye y’atuwa, omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Amereza ente essubi, n’omuddo okuweereza abantu; balyoke baggyenga emmere mu ttaka; n’omwenge ogusanyusa omutima gw’abantu, n’amafuta ganyirizenga amaaso ge, n’emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe.” (Zabbuli 104:14, 15) Okufaananako omuddo, emmere, n’amafuta, omwenge nakyo kirabo kirungi okuva eri Katonda. Ebirabo ebyo tulina kubikozesa tutya?
2. Bibuuzo ki ebikwata ku nkozesa y’omwenge bye tugenda okwekenneenya?
2 Ekirabo kiba kirungi singa kikozesebwa mu ngeri ennungi. Ng’ekyokulabirako, omubisi gw’enjuki “mulungi,” kyokka ‘si kirungi okulya omubisi gw’enjuki omungi.’ (Engero 24:13; 25:27) Wadde nga si kikyamu ‘okunywako ku mwenge,’ kiba kibi nnyo okugukozesa obubi. (1 Timoseewo 5:23) Baibuli egamba nti “omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; era buli akyama olw’ebyo talina magezi.” (Engero 20:1) Kati olwo, kitegeeza ki okukyama olw’omwenge?a Omwenge omungi gwe gwenkana wa? Endowooza entuufu ku mwenge y’eruwa?
Omuntu Asobola Atya “Okukyama” olw’Omwenge?
3, 4. (a) Kiki ekiraga nti okunywa omwenge n’otuuka ku ssa ly’okutamiira kivumirirwa mu Baibuli? (b) Bubonero ki obumu obulaga nti omuntu atamidde?
3 Mu Isiraeri ey’edda, omwana eyagugubiranga ku muze ogw’obuluvu n’obutamiivu, yakubibwanga amayinja n’afa. (Ekyamateeka 21:18-21) Omutume Pawulo yagamba bw’ati Abakristaayo: ‘Temwegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow’oluganda bw’aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw’atyo n’okulya temulyanga naye.’ Kya lwatu, Ebyawandiikibwa bivumirira omuntu yenna anywa omwenge n’atuuka ku ssa ery’okutamiira.—1 Abakkolinso 5:11; 6:9, 10.
4 Ng’eyogera ku bubonero bw’omuntu atamidde Baibuli egamba bw’eti: “Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, bwe gukka empola: enkomerero guluma ng’omusota, gusonsomola ng’embalasaasa. Amaaso go galiraba eby’ekitalo [“ebitategeerekeka,” NW], n’omutima gwo gulyogera ebigambo eby’obubambaavu.” (Engero 23:31-33) Omwenge ogusukkiridde guluma ng’omusota, guviirako endwadde, okuwunga, era oluusi n’okuzirika. Omuntu atamidde ayinza okulaba ebintu “ebitategeerekeka” mu ngeri nti asobola okuteebereza nti waliwo by’alaba kyokka nga tebiriiwo. Ayinza n’okwogera ebitajja era n’alemererwa okufuga ebirowoozo bye n’okwegomba okubi, ebintu by’atasobola kukola nga tatamidde.
5. Kabi ki akali mu kwekamirira omwenge?
5 Kiba kitya singa omuntu anywa omwenge mungi kyokka nga yeegendereza nnyo abalala baleme okutegeera nti atamidde? Abantu abamu si kyangu kubategeera nti batamidde ne bwe baba nga banywedde omwenge oguwerako. Kyokka, omuntu okulowooza nti omuze ogwo si mubi, aba yeerimba. (Yeremiya 17:9) Mpolampola, omuntu ng’oyo asobola okutandika ‘okufugibwa omwenge.’ (Tito 2:3) Ng’ayogera ku ekyo ekiviirako omuntu okufuuka lujuuju, omwekenneenya ayitibwa Caroline Knapp agamba: “Omuntu atandiikiriza mpolampola ne yeesanga ng’afuuse lujuuju.” Nga kya kabi nnyo okwekamirira omwenge!
6. Lwaki twandyewaze okwekatankira omwenge n’obuluvu?
6 Ate era lowooza ku kulabula kwa Yesu: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna.” (Lukka 21:34, 35) Omuntu tekimwetaagisa kusooka kunywa kutuuka ku ssa lya kutamiira n’alyoka anafuwa mu mubiri ne mu by’omwoyo. Kiba kitya singa olunaku lwa Yakuwa lumusanga mu mbeera ng’eyo?
Ebiyinza Okuva mu Kukozesa Obubi Omwenge
7. Lwaki okukozesa obubi omwenge kikontana n’obulagirizi obuli mu 2 Abakkolinso 7:1?
7 Okukozesa obubi omwenge kisobola okuleetera omuntu okufuna ebizibu bingi nnyo, kwe kugamba, mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Okukozesa obubi omwenge kiyinza okuleetera omuntu obulwadde bw’ekibumba awamu n’endwadde endala ezireetera omuntu okukankana. Ate era okukozesa obubi omwenge okumala ekiseera ekiwanvu kiyinza okulwaza omuntu kookolo, obulwadde bwa sukaali awamu n’endwadde endala ez’omutima n’ez’olubuto. Kya lwatu, okukozesa obubi omwenge kikontana n’obulagirizi buno obwa Baibuli: “Twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.”—2 Abakkolinso 7:1.
8. Okusinziira ku Engero 23:20, 21, kiki ekiyinza okuva mu kukozesa obubi omwenge?
8 Ate era okukozesa obubi omwenge kuba kwonoona sente, era kiyinza n’okuviirako omuntu okufiirwa omulimu ggwe. Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda yalabula bw’ati: “Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge; mu abo abeevuubiika ennyama.” Lwaki? Yannyonnyola bw’ati: “Kubanga omutamiivu n’omuluvu balituuka mu bwavu: n’okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.”—Engero 23:20, 21.
9. Lwaki kya magezi omuntu obutanywa mwenge ng’agenda okuvuga ekidduka?
9 Nga kyogera ku kabi akalala akali mu kukozesa obubi omwenge, ekitabo The Encyclopedia of Alcoholism kigamba: “Mu kunoonyereza okukoleddwa kizuuliddwa nti omwenge guyinza okuleetera omuntu okugenda nga yeerabira ebintu ebizingirwa mu kuvuga obulungi ekidduka.” Ebiva mu kuvuga ekidduka ng’otamidde, biba bya kabi nnyo. Mu Amerika wokka, buli mwaka abantu mitwalo na mitwalo bafa ate ng’abalala nkumi na nkumi bafuna ebisago eby’amaanyi ebiva mu bubenje obukolebwa abantu abavuga ebidduka nga batamidde. Abasinga okufuna emitawaana ng’egyo, be bavubuka abaakatandika okuvuga ebidduka era n’okunywa omwenge. Singa omuntu avuga ekidduka oluvannyuma lw’okunywa omwenge omungi, ayinza okugamba nti awa ekitiibwa obulamu Yakuwa Katonda bwe yamuwa ng’ekirabo? (Zabbuli 36:9) Olw’okuba obulamu butukuvu, kiba kirungi omuntu obutanywa ku mwenge bw’aba ng’akimanyi nti agenda kuvuga kidduka.
10. Omwenge gusobola gutya okutabangula ebirowoozo, era kiki ekiyinza okuvaamu?
10 Okunywa omwenge omungi kya kabi eri omubiri ne mu by’omwoyo. Baibuli egamba: ‘Omwenge omukulu n’omwenge omusu bimalawo okutegeera.’ (Koseya 4:11) Omwenge gutabangula ebirowoozo. Ekitabo ekyawandiikibwa ekitongole ky’omu Amerika ekiyitibwa National Institute on Drug Abuse kyagamba: “Omuntu bw’anywa omwenge gugenda mu lubuto, bwe guvaawo ne gugenda mu musaayi era mangu ddala ne gulinya ku bwongo. Awo gutandika okunafuya ebitundu ebimu eby’obwongo ebikwatagana n’obusobozi bw’omuntu obw’okulowooza era n’enneewulira ye. Ekivaamu, omuntu aba tasobola kwefuga bulungi.” Bwe tubeera mu mbeera ng’eyo, kiba kyangu nnyo ‘okukyama,’ okweyisa obubi era n’okugwa mu bikemo bingi.—Engero 20:1.
11, 12. Okunywa omwenge ogusukkiridde kiyinza kuviirako kabi ki mu by’omwoyo?
11 Kyokka, Baibuli egamba: “Oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.” (1 Abakkolinso 10:31) Ddala okunywa omwenge omungi kiweesa Katonda ekitiibwa? Kya lwatu, Omukristaayo yandyewaze okumanyibwa ng’omuntu anywa omwenge ekisukkiridde. Okumanyibwa mu ngeri eyo, kireeta ekivume ku linnya lya Yakuwa mu kifo ky’okumuweesa ekitiibwa.
12 Kiba kitya singa Omukristaayo anywa omwenge omungi ne yeesitazza mukkiriza munne oboolyawo oyo akyali omuppya mu mazima? (Abaruumi 14:21) Yesu yalabula: “Alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw’ennyanja.” (Matayo 18:6) Okunywa ekisukkiridde kiyinza okuviirako omuntu okufiirwa enkizo ze mu kibiina Ekikristaayo. (1 Timoseewo 3:1-3, 8) Ate era okukozesa obubi omwenge kiyinza okuviirako ebizibu bingi mu maka.
Tuyinza Tutya Okwewala Akabi Akayinza Okuva mu Kukozesa Obubi Omwenge?
13. Kintu ki ekikulu ekiyinza okuyamba omuntu okwewala okukozesa obubi omwenge?
13 Ekintu ekikulu ekiyinza okuyamba omuntu okwewala okukozesa obubi omwenge, si kwewala kutamiira kyokka naye era n’okwewala okugwekamirira. Ani yandikusaliddewo obungi bw’omwenge gw’olina okunywa? Olw’okuba waliwo bingi ebizingirwamu, tewayinza kubeerawo mateeka makakali agakwata ku bungi bw’omwenge omuntu gw’alina okunywa. Buli muntu alina okumanya ekkomo lye era n’atasukkawo. Kiki ekinaakuyamba okumanya omwenge ogw’ekigero n’oguyitiridde? Waliwo omusingi gwonna ogusobola okukuyamba?
14. Musingi ki oguyinza okutuyamba okwewala okukozesa obubi omwenge?
14 Baibuli egamba: “Kwatanga amagezi amatuufu n’okuteesa; bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, n’obuyonjo eri obulago bwo.” (Engero 3:21, 22) N’olwekyo, omusingi oguyinza okukuyamba gwe guno: Ekigero ky’omwenge kyonna ekikyusa ku busobozi bwo obw’okulowooza, guba gukusukkiriddeko. Naye olina okubeera omwesimbu ng’osalawo mwenge gwenkana wa gw’osaanidde okukomako.
15. Ddi lwe tutandinyweredde ddala ku mwenge?
15 Mu mbeera ezimu, kiyinza okwetaagisa obutanywera ddala ku mwenge. Olw’okuba guba gwa kabi eri omwana atannazaalibwa, omukazi ali olubuto ayinza okusalawo obutanywera ddala ku mwenge. Era tekyandibadde kya magezi okwewala okunywera omwenge awali omuntu eyaliko lujuuju oba awali oyo omuntu we ow’omunda gw’atakkiriza kunywa mwenge? Yakuwa yalagira abo abaakolanga emirimu gy’obwakabona mu weema: “Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, . . . bwe munaayingiranga mu weema ey’okusisinkanirangamu, muleme okufa.” (Eby’Abaleevi 10:8, 9) N’olwekyo, weewale okunywa omwenge ng’ogenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo oba ng’oli mu buweereza bw’ennimiro oba ng’okola emirimu gyonna egikwata ku by’omwoyo. Ate era, mu nsi ezimu gye bagaana okunywa omwenge oba gye gukkirizibwa okunywebwa abo bokka abatuusiza emyaka egimu eby’obukulu, kyetaagisa okugondera amateeka ag’ensi eyo.—Abaruumi 13:1.
16. Singa oweebwa omwenge, wandisazeewo otya eky’okukola?
16 Singa oweebwa omwenge, sooka weebuuze: ‘Ngunywe?’ Bw’osalawo okugunywa, jjukira ogwo gw’olina okukomako, era tosukkawo. Toganya oyo aba akukyazizza okukuleetera okusukka ku kkomo lyo. Era weegendereze ng’oli mu bifo omwenge gye gugabulwa mu bungi gamba nga ku mbaga. Mu nsi nnyingi, abaana bakkirizibwa okunywa omwenge. Buvunaanyizibwa bw’abazadde okuyigiriza abaana baabwe enkozesa ennungi ey’omwenge era n’okulaba nti abaana bagukozesa bulungi.—Engero 22:6.
Osobola Okuvvuunuka Ekizibu Ekyo
17. Kiki ekiyinza okukuyamba okumanya obanga okozesa bubi omwenge?
17 Olina ekizibu eky’okukozesa obubi omwenge? Bw’oba ng’okozesa bubi omwenge mu nkukutu, teweeyibaala, mangu ddala gujja kukuleetera obuzibu. N’olwekyo, weekebere mu bwesimbu. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Ntera okunywa okusinga bwe nnakolanga edda? Kati nnywa bika bya maanyi? Nnywa omwenge olw’okwagala okulekera awo okweraliikirira ebizibu? Waliwo omuntu yenna ow’omu maka gange oba mukwano gwange eyali ayogeddeko nange ku kizibu kino eky’okunywa omwenge? Okunywa kuleese ebizibu mu maka gange? Nkisanga nga kizibu obutanywa mwenge okumala wiiki, omwezi oba okumala emyezi egiwerako? Abalala mbakweka obungi bw’omwenge gwe nnywa? Kiba kitya singa ebimu ku bibuuzo ebyo nsobola okuddamu nti ye? Tobeera ng’omuntu ‘eyeeraba mu ndabirwamu kyokka amangu ago ne yeerabira bw’afaanana.’ (Yakobo 1:22-24) Baako ky’okola okusobola okugonjoola ekizibu ekyo. Kiki ky’osobola okukola?
18, 19. Kiki ekiyinza okukuyamba okulekera awo okukozesa obubi omwenge?
18 Omutume Pawulo yabuulirira Abakristaayo: “Temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo.” (Abaefeso 5:18) Manya ekigero ky’omwenge ky’olina okukomako. Beera mumalirivu obutasussa kigero ekyo era weefuge. (Abaggalatiya 5:22, 23) Olina emikwano egikupikiriza okwekamirira omwenge? Weegendereze. Baibuli egamba: ‘Oyo atambula n’abantu ab’amagezi, naye aliba wa magezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.’—Engero 13:20.
19 Bw’oba onywa omwenge olw’okwagala okwerabira ekizibu, ekizibu ekyo kyaŋŋange butereevu. Ebizibu by’olina osobola okubigonjoola ng’ogoberera okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda. (Zabbuli 119:105) Tolonzalonza kufuna buyambi okuva eri omukadde mu kibiina gwe weesiga. Kozesa bulungi ebintu Yakuwa by’atuwa okusobola okubeera omunywevu mu by’omwoyo. Nnyweza enkolagana yo ne Katonda. Musabe obutayosa—naddala ku nsonga ekwata ku bunafu bwo. Weegayirire Katonda ‘atereeze ensigo zo n’omutima gwo.’ (Zabbuli 26:2) Nga bwe kyogeddwako mu kitundu ekiwedde, kola kyonna ky’osobola okutambulira mu bugolokofu.
20. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okulwanyisa ekizibu ky’okwekamirira omwenge ekyeyongera obweyongezi?
20 Watya singa weesanga ng’ekizibu ky’okwekamirira omwenge kyeyongera bweyongezi wadde ng’ofubye okukirwanyisa? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okugoberera amagezi Yesu ge yawa: “Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng’obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng’olina emikono gyombi.” (Makko 9:43) Eky’okukola kiri nti: Tonywera ddala ku mwenge. Ekyo omukyala gwe tujja okuyita Irene kye yasalawo okukola. Agamba bw’ati: “Oluvannyuma lw’emyaka ng’ebiri n’ekitundu nga sinywa ku mwenge, ntera okufuna ekirowoozo nti okunywako akatono kiyinza obutavaamu kabi, njagala kulaba obanga nnyinza okwefuga. Naye buli lwe nfuna endowooza eyo, mu kaseera ako kennyini ntuukirira Yakuwa mu kusaba. Ndi mumalirivu obutaddamu kunywa ku mwenge okutuusa enteekateeka empya lw’erijja, era oboolyawo ne mu kiseera ekyo sirinywa mwenge.” Kisingako okwefiiriza okunywa omwenge mu kifo ky’okufiirwa obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya.—2 Peetero 3:13.
“Muddukenga Bwe Mutyo Mulyoke Muweebwe”
21, 22. Kiki ekiyinza okutulemesa okutuuka awamalirwa empaka mu mpaka ez’obulamu, era tuyinza tutya okukyewala?
21 Ng’ageraageranya obulamu bw’Omukristaayo ku mbiro ez’empaka, omutume Pawulo yagamba: ‘Temumanyi nti mu mbiro ez’empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo aba omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe. Buli muntu eyeetaba mu mizannyo egy’empaka yeegendereza mu byonna. Kale bonna bakola bwe batyo basobole okufuna engule eyonooneka, naye ffe etayonooneka. Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng’atamanyi; nnwana bwe nti si ng’akuba ebbanga; naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga; mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.’—1 Abakkolinso 9:24-27.
22 Abo bokka abamaliriza embiro z’empaka be basobola okuweebwa ekirabo. Nga tuli mu mpaka ez’obulamu, singa tukozesa bubi omwenge kiyinza okutulemesa okutuuka awamalirwa empaka. Tulina okwefuga. Okusobola okudduka nga twekakasa kiba kitwetaagisa ‘obuteekamirira mwenge.’ (1 Peetero 4:3) Okwawukana ku ekyo, tulina okwefuga mu buli kimu. Ku bikwata ku kunywa omwenge, kiba kya magezi ‘okwewala obutassaamu Katonda kitiibwa n’okwegomba okw’omu nsi, tulyoke tubeere n’endowooza ennuŋŋamu n’obutuukirivu n’okutyanga Katonda.’—Tito 2:12, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kitundu kino, ekigambo “omwenge” kikozesebwa okutegeeza ebintu nga bbiya, wayini n’ebika ebirala eby’amaanyi gamba nga walagi.
Ojjukira?
• Okukozesa obubi omwenge kizingiramu ki?
• Kabi ki akayinza okuva mu kukozesa obubi omwenge?
• Osobola otya okwewala akabi akava mu kukozesa obubi omwenge?
• Omuntu asobola atya okuvvuunuka ekizibu ky’okukozesa obubi omwenge?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Salawo nga bukyali w’olina okukoma
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Buli kiseera saba Yakuwa ku bikwata ku bunafu bw’olina