Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Isaaya—I
“NAATUMA ani, era anaatugenderera ani?” Yakuwa Katonda bwe yakoowoola, Isaaya mutabani wa Amozi n’ayanukula nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.” (Isaaya 1:1; 6:8) Mu kiseera ekyo aweebwa omulimu ogw’okuweereza nga nnabbi. Ebyo Isaaya bye yakola ng’aweereza nga nnabbi biwandiikiddwa mu kitabo kya Baibuli ekiyitibwa erinnya lye.
Ekitabo kino ekyawandiikibwa Isaaya kennyini, ebikirimu byaliwo okuva mu 778 B.C.E. okutuuka mu 732 B.C.E., gy’emyaka nga 46. Wadde ng’ekitabo kino kirimu emisango Katonda gye yasalira Yuda, Isiraeri, n’amawanga agaliraanyewo, omulamwa gwakyo gukwata ku ‘bulokozi bwa Yakuwa.’ (Isaaya 25:9) Mu butuufu erinnya lya Isaaya litegeeza “Obulokozi bwa Yakuwa.” Ekitundu kino kijja kunokolayo ebimu ku biri mu kitabo kya Isaaya 1:1–35:10.
‘ENSIGALIRA BOKKA BE BALIKOMAWO’
Baibuli tekiraga oba ng’obubaka obuli mu ssuula ettaano ezisooka ez’ekitabo kino Isaaya yabuwa ng’amaze kufuuka nnabbi oba nga tannaba. (Isaaya 6:6-9) Wabula ekituufu kiri nti abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi balwadde mu by’omwoyo “okuva munda w’ebigere okutuuka ku mutwe.” (Isaaya 1:6) Okusinza ebifaananyi kucaase nnyo. Abakulembeze balya enguzi. Abakazi ba malala. Abantu tebakyaweereza Katonda ow’amazima mu ngeri gy’asiima. Isaaya atumibwa okugenda ‘okubuulira’ enfunda n’enfunda abantu abatayagala kutegeera wadde okuwuliriza.
Amaggye ga Busuuli n’aga Isiraeri geekobaana okulumba Yuda. Yakuwa akozesa Isaaya n’abaana be ‘ng’obubonero era ng’ebyewuunyo,’ okukakasa Yuda nti Abasuuli n’Abaisiraeri tebajja kuwangula. (Isaaya 8:18) Wabula, emirembe egy’olubeerera gijja kubeerawo mu bufuzi ‘bw’Omulangira w’Emirembe.’ (Isaaya 9:6, 7, NW) Yakuwa era ajja kusalira Bwasuli omusango, eggwanga ly’akozesa ‘ng’oluga lw’obusungu bwe.’ Oluvannyuma Yuda ajja kutwalibwa mu buwambe, naye ‘ensigalira bokka be balikomawo.’ (Isaaya 10:5, 21, 22, NW) Okusala omusango mu bwenkanya kujja kubaawo mu kiseera ky’obufuzi ‘bw’ettabi’ ery’akabonero erisibuka “mu kikolo kya Yese.”—Isaaya 11:1.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:8, 9—Kitegeeza ki nti muwala wa Sayuuni yali ‘wa kusigala ng’ensiisira eri mu lusuku lw’emizabbibu era ng’ekikuumirwa ekiri mu nnimiro y’emyungu’? Kitegeeza nti Yerusaalemi bwe kyandirumbiddwa Abasuuli, kyandirabise ng’ekitalina bukuumi n’akamu, okufaananako akasiisira akabeera mu lusuku lw’emizabbibu oba mu nnimiro y’emyungu akasobola okugwa amangu. Naye Yakuwa abayamba ne batazikirizibwa nga Sodomu ne Ggomola.
1:18—Ebigambo: “Mujje nno, tuteese fembi,” bitegeeza ki? Yakuwa yali tayita Baisiraeri kuteesa basobole okutuuka ku kukkaanya nga buli luuyi lubaako kye lwekkiriranya. Wabula, olunyiriri luno lulaga nti Yakuwa ng’Omulamuzi ow’obwenkanya awa Isiraeri akakisa okwenenya.
6:8a—Lwaki ekigambo “anaatugendera” kikozesebwa wano? Ekigambo “anaatugendera” kiraga nti Yakuwa alina gwali naye. Awatali kubuusabuusa, ono ye ‘Mwana we eyazaalibwa omu yekka.”—Yokaana 1:14; 3:16.
6:11—Isaaya yali ategeeza ki bwe yabuuza nti: “Mukama wange, birituusa wa okubaawo?” Isaaya yali tabuuza kiseera kye yandimaze ng’abuulira obubaka bwa Yakuwa eri abantu abaali bateefiirayo. Wabula yali ayagala kumanya ekiseera embeera y’abantu embi ey’eby’omwoyo kye yandimaze ng’ereeta ekivume ku linnya lya Katonda.
7:3, 4—Lwaki Yakuwa yasuubiza okuyamba Kabaka Akazi eyali omubi ennyo? Kabaka wa Busuuli n’owa Isiraeri baakola olukwe okuggyako Kabaka Akazi owa Yuda era basseeko mutabani wa Tabeeri ataali muzzukulu wa Dawudi. Olukwe lwa Setaani luno lwandikomezza endagaano y’Obwakabaka Katonda gye yakola ne Dawudi. Yakuwa yayamba Akazi okusobola okukuuma olunyiriri omwandiyitidde “Omulangira w’Emirembe.”—Isaaya 9:6.
7:8—Efulayimu ‘yamenyekamenyeka’ atya mu myaka 65? Okutwalibwa kw’abantu b’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi mu buwambe era n’okuleetebwa kw’abagwira mu Samaliya kwatandika “mu mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri,” ekiseera kitono nga Isaaya amaze okuwa obunnabbi buno. (2 Bassekabaka 15:29) Kino kyagenda mu maaso okutuukira ddala mu nnaku za Kabaka Esaludooni, owa Bwasuli eyasikira kitaawe Sennakeribu. (2 Bassekabaka 17:6; Ezera 4:1, 2; Isaaya 37:37, 38) Bwasuli okusengula abantu ng’ebawaŋŋangusiza mu bitundu eby’enjawulo kyamala emyaka 65 egyogerwako mu Isaaya 7:8.
11:1, 10—Yesu Kristo asobola atya okuba ‘ensibuka eva mu kikolo kya Yese’ era “ekikolo kya Yese”? (Abaruumi 15:12) Yesu “yava mu kikolo kya Yese” olw’okuba yali ava mu lunyiriri lwe. Yali muzzukulu wa Yese okuyitira mu Dawudi mutabani wa Yese. (Matayo 1:1-6; Lukka 3:23-32) Kyokka, eky’okufuuka kabaka kirina engeri gye kikyusa mu luganda lw’alina ne bajjajjaabe. Olw’okuba yaweebwa obuyinza okuwa abantu abawulize obulamu obutaggwaawo ku nsi, Yesu afuuka ‘Kitaabwe Ataggwaawo.’ (Isaaya 9:6) Era bwe kityo abeera ‘kikolo’ kya bajjajjaabe nga mw’otwalidde ne Yese.
Bye Tuyigamu:
1:3. Bwe tugaana okweyisa mu ngeri Omutonzi gy’atwetaagisa kiba kitegeeza nti endogoyi oba ente bitusinga amagezi. Ku luuyi olulala bwe tusiima byonna Yakuwa by’atukoledde, kijja kutuyamba okwewala okweyisa ng’abatalina magezi era ne tumwabulira.
1:11-13. Emikolo gy’eddiini egy’obunnanfuusi n’okusaba okw’okutuukiriza obutuukiriza omukolo Yakuwa tabyagala. Okusaba kwaffe n’ebikolwa byaffe birina okuba nga biva mu mutima ogulina ebigendererwa ebirungi.
1:25-27; 2:2; 4:2, 3. Obuddu n’obuwaŋŋanguse bwa Yuda byali bya kukoma ng’ensigalira abaali beenenyezza bakomyewo e Yerusaalemi era nga n’okusinza okw’amazima kuzziddwawo. Yakuwa alaga ekisa aboonoonyi abeenenya.
2:2-4. Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa, kisobozesa abantu okuva mu mawanga mangi okuyiga okuba ab’emirembe n’abantu abalala.
4:4. Yakuwa ajja kumalirawo ddala ebikolwa eby’ettemu n’obugwenyufu.
5:11-13. Obuteefuga ku bikwata ku by’okwesanyusaamu, kuba kugaana kukolera ku kumanya.—Abaruumi 13:13.
5:21-23. Abakadde Abakristaayo, oba abalabirizi bateekwa okwewala ‘okuba n’amagezi mu maaso gaabwe.’ Era balina okwefuga ne ‘batanywa mwenge’ mungi n’okwewala okuba ne kyekubiira.
11:3a. Ekyokulabirako kya Yesu n’enjigiriza ze biraga nti mu kutya Yakuwa mulimu essanyu.
‘YAKUWA ALISAASIRA YAKOBO’
Essuula 13 okutuuka ku 23 zikwata ku misango Katonda gye yasalira amawanga. Kyokka, ‘Yakuwa alisaasira Yakobo’ ng’akkiriza ebika byonna ebya Isiraeri okudda ewa boobwe. (Isaaya 14:1) Obubaka obulaga okuwaŋŋangusibwa kwa Yuda obuli mu ssuula 24 okutuuka ku 27 bulimu ekisuubizo ky’okukomezebwawo ku butaka. Yakuwa alaga obusungu bwe eri “abatamiivu ab’omu Efulayimu [Isiraeri]” olw’okukola omukago ne Busuuli era alaga obusungu bwe eri “kabona ne nnabbi” aba Yuda olw’okutta omukago ne Bwasuli. (Isaaya 28:1, 7) Omusango gusalibwa ku “Alyeri [Yerusaalemi]” ‘olw’okuserengeta okugenda e Misiri’ okunoonya obukuumi. (Isaaya 29:1; 30:1, 2) Wadde kiri kityo, abo abalaga okukkiriza mu Yakuwa basuubizibwa okulokolebwa.
Okufaananako ‘empologoma ento ewulugumira ku muyiggo gwayo,’ Yakuwa ajja kukuuma ‘Olusozi Saayuni.’ (Isaaya 31:4) Ate era waliwo ekisuubizo: “Laba, kabaka alifuga n’obutuukirivu.” (Isaaya 32:1) Wadde Bwasuli atiisatiisa Yuda n’aleetera ‘n’ababaka b’emirembe’ okukaaba ennyo, Yakuwa asuubiza nti abantu be bajja kuwonyezebwa, ‘kusonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.’ (Isaaya 33:7, 22-24) “Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n’ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna.” (Isaaya 34:2) Yuda tajja kusigala matongo. “Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti.”—Isaaya 35:1.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
13:17—Lwaki Abameedi baali tebafaayo ku ffeeza wadde okwegomba zaabu? Abameedi n’Abaperusi baatwalanga ettutumu ly’okuwangula olutalo nga lya muwendo nnyo okusinga omunyago. Kino kyeyoleka bulungi Kuulo bwe yaddiza Abaisiraeri abaali baddayo ku butaka ebintu ebya zaabu ne ffeeza Nebukadduneeza bye yali anyaze mu yeekaalu ya Yakuwa.
14:1, 2—Mu ngeri ki abantu ba Yakuwa gye ‘baawamba abo abaabawambanga’ era ne ‘bafuga abo abaabajooganga’? Kino kyatuukirizibwa ku bantu nga Danyeri, eyali omukungu mu Babulooni mu bufuzi bw’Abameedi n’Abaperusi; Eseza, eyafuuka kaddulubaale wa Buperusi; ne Moluddekaayi, eyalondebwa okuba katikkiro w’Obwakabaka bwa Buperusi.
20:2-5—Kituufu nti Isaaya yatambula bwereere okumala emyaka esatu? Kyandiba nti Isaaya yeeyambulako omunagiro gwe n’asigala mu nga ‘yeesibye akagoye ke ak’omunda.’—1 Samwiri 19:24, NW, obugambo obwa wansi.
21:1—Kitundu ki ekiyitibwa “eddungu ly’ennyanja”? Wadde nga Babulooni kiri wala nnyo ne nnyanja, kyogerwako bwe kityo olw’okuba emigga Fulaati ne Kidekeri gyabooganga buli mwaka amazzi ne ganjaala ne gakola “ennyanja.”
24:13-16—Mu ngeri ki Abayudaaya gye bandibadde “wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde”? Ng’ebibala ebimu bwe bisigala ku muti oba ku muzeyituuni oluvannyuma lw’amakungula, batono nnyo abandiwonyeewo nga Yerusaalemi ne Yuda bizikirizibwa. Yonna gye banditwaliddwa, ka wabe “buvanjuba [Babulooni ekiri Ebuvanjuba]” oba “mu bizinga eby’omu nnyanja [Mediterranean],” bandigulumizza Yakuwa.
24:21—Baani abayitibwa “eggye ly’abagulumivu,” ne “bakabaka ab’ensi ku nsi”? “Eggye ly’abagulumivu” giyinza okuba nga gye myoyo emibi. Ate bo “bakabaka ab’ensi ku nsi,” be bafuzi b’oku nsi, badayimooni be balinako obuyinza obungi.—1 Yokaana 5:19.
25:7—Ebigambo “ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n’eggigi erisaanikidde ku mawanga,” bitegeeza ki? Bitegeeza abalabe lukulwe ababiri ab’abantu—ekibi n’okufa.
Kye Tuyigamu:
13:20-22; 14:22, 23; 21:1-9. Bulijjo obunnabbi bwa Yakuwa butuukirira, nga bwe kyali ku bunnabbi obukwata ku Babulooni.
17:7, 8. Wadde ng’abantu abasinga mu Isiraeri tebaawuliriza, abamu basigala nga beesiga Yakuwa. Mu ngeri y’emu, abamu okuva mu Kristendomu bawuliriza obubaka bw’Obwakabaka.
28:1-6. Bwasuli ajja kuwamba Isiraeri, naye Katonda ajja kuwonyawo abo abeesigwa. Engeri Yakuwa gy’asalamu emisango ewa abatuukirivu essuubi.
28:23-29. Yakuwa agolola abantu abeesimbu nga bwe kiba kyetaagisa era okusinziira ku mbeera yaabwe.
30:15. Okufuna obulokozi bwa Yakuwa kitwetaagisa okulaga okukkiriza nga ‘tuwummula,’ oba bwe twewala okunoonya obulokozi okuyitira mu nteekateeka z’abantu. Bwe ‘tutereera’ oba bwe tuggwaamu okutya, era tuba tulaga nti tulina obwesige nti Yakuwa ajja kutukuuma.
30:20, 21. ‘Tulaba’ Yakuwa era ‘tuwulira’ eddoboozi lye ery’obulokozi nga tuwuliriza ky’atugamba okuyitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli, n’okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’—Matayo 24:45.
Obunnabbi bwa Isaaya Bunyweza Obwesige Bwaffe mu Kigambo kya Katonda
Nga tuli basanyufu nnyo olw’obubaka bwa Katonda obuli mu kitabo kya Isaaya! Obunnabbi obumaze okutuukirizibwa bunyweza obwesige bwaffe nti ‘ekigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa tekijja kudda gy’ali nga kyereere.’—Isaaya 55:11.
Ate kiri kitya ku bunnabbi obukwata ku Masiya, gamba ng’obwo obuli mu Isaaya 9:7 ne 11:1-5, 10? Tebunyweza okukkiriza kwaffe mu nteekateeka za Yakuwa ez’okutununula? Ekitabo kino era kirimu obunnabbi obutuukirizibwa ku kigera ekisingawo mu kiseera kyaffe, n’obwo obunaatuukirizibwa gye bujja. (Isaaya 2:2-4; 11:6-9; 25:6-8; 32:1, 2) Mazima ddala, ekitabo kya Isaaya kiwa obukakafu nti “ekigambo kya Katonda kiramu”!—Abebbulaniya 4:12.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6, 7]
Isaaya n’abaana be baali ‘ng’obubonero era ng’ebyewuunyo mu Isiraeri’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Yerusaalemi kyali kya kufuuka “ng’ensiisira eri mu lusuku lw’emizabbibu”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Abantu okuva mu mawanga bayambibwa batya ‘okuweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi’?