Ziyiza ‘Omwoyo gw’Ensi’
“Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda.”—1 KOL. 2:12.
1, 2. (a) Edda, lwaki buli kirombe mu Bungereza baalina okukifunira obunyonyi? (b) Kabi ki Abakristaayo ke boolekagana nako?
MU MWAKA gwa 1911, gavumenti ya Bungereza yayisa etteeka liyambeko mu kutaasa obulamu bw’abasimi b’amanda. Buli kirombe ky’amanda baalina okukifunira obunyonyi bubiri. Bwali bwaki? Bwe waabangawo ekirombe kyonna ekikwata omuliro, abadduukirize bakkangayo nabwo. Obunyonyi obwo obutono buyisibwa bubi nnyo bwe buba awali omukka ogw’obutwa. Mu kirombe eyo bwe waabangayo omukka ogw’obutwa, obunyonyi obwo olwabanga okugussa nga bunogoka nga bugwa. Kano kaabanga kabonero akalabula. Omukka ogwo omuntu tasobola kugulaba oba kuguwunyiriza era gutta olw’okuba gulemesa empewo gye tussa okutambula mu mubiri. Bwe watabaawo kintu kyonna kiyamba abadduukirize kumanya nti batandise okussa omukka ogwo ogw’obutwa, kyangu okuzirika ne bafa nga tebagutegeddeko n’akatono.
2 Mu ngeri ey’eby’omwoyo, Abakristaayo boolekaganye n’embeera efaananako ey’abasimi b’amanda. Batya? Yesu bwe yawa abayigirizwa be omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna, yali amanyi nti bandyolekaganye ne Setaani wamu n’omwoyo gw’ensi. (Mat. 10:16; 1 Yok. 5:19) Eno ye nsonga lwaki bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yasaba Kitaawe ng’agamba nti: “Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga [eri omubi].”—Yok. 17:15.
3, 4. Yesu yalabula atya abagoberezi be, era lwaki ekyo kitukwatako?
3 Yesu yalabula abagoberezi be ku kabi k’okufuuka abeebafu mu by’omwoyo akaali kayinza okubaleetera okufiirwa obulamu bwabwe. Bye yayogera bikulu nnyo eri ffe abaliwo mu kiseera kino eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. Yakubiriza abayigirizwa be nti: “Mutunulenga . . . musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’Omuntu.” (Luk. 21:34-36) Kya ssanyu nti Yesu era yasuubiza nti Kitaawe yandibawadde omwoyo omutukuvu gubajjukize era gubayambe okusigala nga bazuukufu era nga banywevu.—Yok. 14:26.
4 Ate kiri kitya eri ffe leero? Omwoyo ogwo omutukuvu naffe gusobola okutuyamba? Bwe kiba kityo, tulina kukola ki okugufuna? Omwoyo gw’ensi kye ki, era gweyoleka gutya? Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi ogwo?—Soma 1 Abakkolinso 2:12.
Mwoyo Mutukuvu oba Mwoyo gwa Nsi?
5, 6. Omwoyo omutukuvu guyinza kutuyamba gutya, era tulina kukola ki okusobola okugufuna?
5 Omwoyo gwa Katonda omutukuvu tegwaganyula ba mu kyasa ekyasooka bokka. Naffe leero tusobola okugufuna ne gutuyamba okukola ekituufu era ne gutuwa amaanyi okukola omulimu gwa Katonda. (Bar. 12:11; Baf. 4:13) Era gutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi gamba ng’okwagala, ekisa, n’obulungi, nga bino byonna ‘bibala bya mwoyo’ ogwo. (Bag. 5:22, 23) Kyokka, abantu abatayagala mwoyo gwe omutukuvu Yakuwa tabakaka kugufuna.
6 Kati kiba kirungi okwebuuza, ‘Nnina kukola ki okusobola okufuna omwoyo omutukuvu?’ Baibuli eraga nti waliwo ebintu ebiwerako bye tuyinza okukola. Ekimu ku byo kyangu ddala—saba Katonda agukuwe. (Soma Lukka 11:13.) Ekirala kye tuyinza okukola kwe kusoma n’okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo ekyaluŋŋamizibwa omwoyo gwe. (2 Tim. 3:16) Kya lwatu nti si buli asoma Baibuli nti afuna omwoyo gwa Katonda. Naye Omukristaayo owa nnamaddala bw’asoma Ekigambo kya Katonda, asobola okukkiriza by’ayize mu Kigambo ekyo ekyaluŋŋamizibwa. Era kikulu okukikkiriza nti Yakuwa yalonda Yesu okumukiikirira era nti mu ye Katonda mw’ayitira okutuwa omwoyo gwe omutukuvu. (Bak. 2:6) Bwe kityo, kiba kirungi ne tukoppa ekyokulabirako kya Yesu era ne tukolera ku ebyo bye yayigiriza. (1 Peet. 2:21) Gye tukoma okufuba okukoppa Kristo, gye tukoma okufuna omwoyo omutukuvu.
7. Omwoyo gw’ensi gweyoleka gutya mu bantu?
7 Ku luuyi olulala, omwoyo gw’ensi guleetera abantu okwoleka engeri za Setaani. (Soma Abaefeso 2:1-3.) Omwoyo gw’ensi gweyoleka mu ngeri eziwerako. Nga bwe tulaba buli wamu leero, omwoyo ogwo gukubiriza abantu okumenya amateeka ga Katonda. Gutumbula “okwegomba kw’omubiri n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu.” (1 Yok. 2:16) Gukubiriza ebikolwa by’omubiri gamba ng’obwenzi, okusinza ebifaananyi, obulogo, obuggya, obusungu, n’obutamiivu. (Bag. 5:19-21) Guleetera abantu okuvvoola ebintu ebitukuvu. (2 Tim. 2:14-18) Tewali kubuusabuusa nti omuntu gy’akoma okwoleka omwoyo gw’ensi ogwo, gy’akoma okuba nga Setaani.
8. Kiki buli omu ku ffe ky’alina okusalawo?
8 Tewali n’omu ku ffe asobola kugamba nti talina mwoyo gwonna gumufuga. Buli muntu alina okusalawo mwoyo ki gw’ayagala gufuge obulamu bwe—mwoyo mutukuvu oba mwoyo gwa nsi. Abo abafugibwa omwoyo gw’ensi basobola okugweggyamu era ne bakkiriza omwoyo omutukuvu okubawa obulagirizi mu bulamu. Ate n’abo ababadde bafugibwa omwoyo omutukuvu basobola okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi. (Baf. 3:18, 19) Kati ka tulabe engeri gye tusobola okuziyizamu omwoyo gw’ensi.
Weetegereze Obubonero Obulabula
9-11. Obumu ku bubonero obulaga nti omwoyo gw’ensi gutandise okutuyingira bwe buluwa?
9 Abasimi b’amanda mu Bungereza abaayogeddwako beeyambisanga bunyonyi okumanya obanga waliwo omukka ogw’obutwa. Omuntu bwe yalabanga akanyonyi nga kagwa, yalinanga okubaako ky’akolawo mu bwangu asobole okuwonya obulamu bwe. Bwe kituuka ku by’omwoyo, bubonero ki obuyinza okutulabula nti omwoyo gw’ensi gutandise okutuyingira?
10 Oboolyawo mu kiseera we twayigira amazima ne twewaayo eri Yakuwa twali twagala nnyo okusoma Baibuli. Twandiba nga twali tusaba nnyo. Era osanga okugenda mu nkuŋŋaana kyali kituwa essanyu, nga buli lukuŋŋaana lwe tubeeramu tuba ng’omuntu abadde omuyonta n’anywa amazzi. Ebyo byonna byatuyambanga okweggyamu omwoyo gw’ensi n’okugwewalira ddala.
11 Na kati tukyafuba okusoma Baibuli buli lunaku? (Zab. 1:2) Tukyasaba obutayosa era essaala zaffe ziviira ddala ku mutima? Kituwa essanyu okubeerawo mu nkuŋŋaana, era zonna tuzibeeramu buli wiiki? (Zab. 84:10) Oba kyandiba nti ebimu ku bintu ebyo tutandise okubiragajjalira? Kituufu nti kati tuyinza okuba nga tulina eby’okukola bingi, era nga kizibu okuba n’enteekateeka ennungi etusobozesa okwerabirira obulungi mu by’omwoyo. Naye bwe kiba nti ddala tugayaliridde ebintu ebyo ebyali bituyamba, kyandiba nti omwoyo gw’ensi gutandise okutuyingira? Bwe kiba kityo, tunaafuba okuddamu okusoma Baibuli, okusaba, era n’okugenda mu nkuŋŋaana nga bwe twakolanga mu kusooka?
‘Temuzitoowererwanga’
12. Kiki Yesu kye yagamba abayigirizwa be ‘okwekuumanga,’ era lwaki?
12 Kiki ekirala kye tuyinza okukola okusobola okuziyiza omwoyo gw’ensi? Yesu bwe yagamba abayigirizwa be nti “mutunulenga,” waliwo ebintu bye yali yaakamala okubalabulako. Yagamba nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika.”—Luk. 21:34, 35.
13, 14. Bibuuzo ki ebikwata ku kulya n’okunywa bye tusaanidde okwebuuza?
13 Lowooza ku kulabula okwo. Yesu yali avumirira kulya na kunywa? Nedda! Yali amanyi bulungi ebigambo bya Sulemaani: “Mmanyi nga tewali kintu [kigasa baana ba bantu] okusinga okusanyuka n’okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. Era buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.” (Mub. 3:12, 13) Kyokka, Yesu era yali akimanyi nti bwe kituuka ku kulya emmere n’okunywa omwenge, omwoyo gw’ensi gulemesa abantu okwefuga.
14 Tuyinza tutya okumanya obanga omwoyo gw’ensi tegunnaba kutuleetera kufuuka baluvu oba batamiivu? Tuyinza okwebuuza: ‘Mpulira ntya bwe nsoma ku kubuulirira okukwata ku buluvu mu Baibuli oba mu bitabo byaffe? Bye nsoma mbisambajja nga ŋŋamba nti tebinkwatako oba nti byekubidde nnyo olubege, oboolyawo nga nfuna bye nneekwasa?a Ntwala ntya amagezi agaweebwa ku kunywa omwenge, naddala agakwata ku kunywa ekisaanidde n’okwewala ‘okutamiira’? Nsambajja okubuulirira ng’okwo, nga nnonyerezaayo ensonga lwaki tekunkwatako? Abalala bwe baŋŋambako nti nnywa nnyo, nneewolereza oba nnyiiga? Nkubiriza abalala obutagoberera kubuulirira kwa Baibuli ng’okwo?’ Tewali kubuusabuusa nti endowooza omuntu gy’alina esobola okulaga obanga omwoyo gw’ensi gutandise okumuyingira.—Geraageranya Abaruumi 13:11-14.
Weewale Okweraliikirira Ekisusse
15. Kiki Yesu kye yalabulako?
15 Ekintu ekirala ekituyamba okuziyiza omwoyo gw’ensi kwe kwewala okweraliikirira ekisusse. Yesu yali akimanyi nti olw’okuba tetutuukiridde, n’ebintu bye twetaaga mu bulamu obwa bulijjo byandituleetedde okweraliikirira. Bw’atyo yagamba abayigirizwa be nti: “Temweraliikiriranga.” (Mat. 6:25) Kirungi okufaayo ku bintu ebikulu gamba ng’okwagala okusanyusa Katonda, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo, n’okulabirira ab’omu maka gaffe. (1 Kol. 7:32-34) Kati olwo kiki kye tuyiga mu kulabula kwa Yesu?
16. Omwoyo gw’ensi gukola ki ku bantu?
16 Olw’okuba omwoyo gw’ensi gukubiriza abantu okuba n’ebintu ebingi basobole okweraga, guleetera bangi okweraliikirira ekisusse. Guleetera abantu okulowooza nti ssente ye kamala byonna era nti ekitiibwa ky’omuntu kiva ku bintu by’alina, so si ku kuba na ngeri za Kikristaayo. Abo abalina endowooza eyo balafuubanira eby’obugagga era basula tebeebase nga baagala bagule ebintu ebisingayo okuba eby’omulembe era eby’ebbeeyi. (Nge. 18:11) Omuntu bw’aba n’endowooza ng’eyo enkyamu ku kuba n’ebintu kimuleetera okweraliikirira n’atuuka n’okuddirira mu by’omwoyo.—Soma Matayo 13:18, 22.
17. Tuyinza tutya okwewala okweraliikirira ekisusse?
17 Tusobola okwewala okweraliikirira ekisusse bwe tukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Musooke munoonye obwakabaka [bwa Katonda] n’obutuukirivu bwe.” Yesu atukakasa nti bwe tukola tutyo, ebyo bye twetaaga mu bulamu tujja kubifuna. (Mat. 6:33) Tuyinza tutya okulaga nti tukkiririza mu kisuubizo ekyo? Emu ku ngeri gye tukiraga kwe kusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda, nga tutambulira ku mitindo gye bwe kituuka ku by’ensimbi. Ng’ekyokulabirako, twewala okukumpanya emisolo n’okulimba wadde mu bintu “ebitono” nga tukola bizineesi. Tufuba okutuukiriza obweyamo bwaffe mu by’ensimbi, nga bwe tugamba nti ‘Yee, tuba tutegeeza Yee’ bwe kituuka ku kusasula amabanja gaffe. (Mat. 5:37, NW; Zab. 37:21) Omuntu bw’alaga obwesigwa ng’obwo ayinza obutagaggawala, naye asiimibwa Katonda, aba n’omuntu ow’omunda omulungi, era teyeeraliikirira kisusse.
18. Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki ekirungi, era tuganyulwa tutya bwe tumukoppa?
18 Okusobola okukulembeza Obwakabaka kitwetaagisa okumanya ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. Lowooza ku kyokulabirako kya Yesu. Oluusi yayambalanga olugoye olw’ebbeeyi. (Yok. 19:23) Yawoomerwanga okulya emmere n’okunywa ku mwenge ng’ali ne mikwano gye. (Mat. 11:18, 19) Naye, okuba n’ebintu ebirungi n’okwesanyusaamu si kye yali akulembeza mu bulamu bwe. Kye yali akulembeza kwe kukola Yakuwa by’ayagala. (Yok. 4:34-36) Obulamu buba bwa makulu nnyo bwe tukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Tufuna essanyu bwe tuyamba abantu abennyamivu okufuna okubudaabudibwa okuva mu Byawandiikibwa. Tufuna emikwano, tuba n’obuwagizi bw’ekibiina, era tusanyusa omutima gwa Yakuwa. Bwe tuba tumanyi bulungi ebintu ebisinga obukulu mu bulamu, ebintu bye tulina, n’okwagala okwesanyusaamu tebijja kutufuga. Mu kifo ky’ekyo, bijja kutuyamba buyambi mu kuweereza Yakuwa. Era gye tukoma okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka, gye tukoma okweggyamu omwoyo gw’ensi.
Weeyongere ‘Okulowooza eby’Omwoyo’
19-21. Tuyinza tutya okweyongera ‘okulowooza eby’omwoyo,’ era lwaki tusaanidde okukikola?
19 Omuntu agenda okukola ekintu ab’asoose kukirowoozaako. Abantu bakola ebintu bingi nga bakubirizibwa endowooza enkyamu ne balowooza nti babikoze mu butanwa. Eno ye nsonga lwaki omutume Pawulo atukubiriza okukuuma ebirowoozo byaffe. Yawandiika nti: “Abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo [balowooza] bya mwoyo.”—Bar. 8:5.
20 Tuyinza tutya okukakasa nti bye tulowooza—bwe kityo, ne bye tukola—tebyoleka mwoyo gwa nsi? Tuteekwa okukuuma ebirowoozo byaffe nga tufuba okulaba nti endowooza y’ensi teyingira mu birowoozo byaffe. Ng’ekyokulabirako, bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, tukuuma ebirowoozo byaffe bwe twewala programu ezikubiriza eby’obugwenyufu oba ettemu. Tukimanyi bulungi nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu era omuyonjo teguyinza kutubeeramu ng’ebirowoozo byaffe bikyafu. (Zab. 11:5; 2 Kol. 6:15-18) Ng’oggyeko ekyo, okubaawo mu nkuŋŋaana, okusoma Baibuli obutayosa, okusaba, n’okufumiitiriza, bituyamba okufuna omwoyo gwa Katonda. Era bwe tuba abanyiikivu mu kubuulira tuba tukolera wamu n’omwoyo omutukuvu.
21 Awatali kubuusabuusa, tuteekwa okuziyiza omwoyo gw’ensi wamu n’okwegomba kw’omubiri kwe gukubiriza. Kino kikulu okukikola kubanga, nga Pawulo bwe yagamba, “okulowooza kw’omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw’omwoyo bwe bulamu n’emirembe.”—Bar. 8:6.
[Obugambo obuli wansi]
a Obuluvu eba ndowooza omuntu gy’aba nayo eyeeyolekera mu kuba n’omululu n’obutasobola kwefuga mu nsonga y’okulya. N’olwekyo, tebusinziira ku bunene bwa muntu, wabula businziira ku ngeri omuntu gy’atwalamu eby’okulya. Omuntu ayinza okuba ow’ekigero oba omutono ennyo, naye nga muluvu. Ku luuyi olulala, omuntu okuba omunene ekisusse kiyinza okuba nga kiva ku bulwadde oba nga kya nsikirano. Ekyogerwako wano kwe kuba nti omuntu alulunkanira eby’okulya, so si ku kuba nti munene oba mutono.—Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2004.
Okyajjukira?
• Tulina kukola ki okusobola okufuna omwoyo omutukuvu?
• Omwoyo gw’ensi guyinza kutuleetera kukola bintu ki?
• Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Saba omwoyo omutukuvu ng’ogenda ku mulimu oba ku ssomero
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Tuteekwa okukuuma ebirowoozo byaffe nga biyonjo, okuba abeesigwa nga tukola bizineesi, n’okwewala emize emibi