2 Timoseewo
2 N’olwekyo mwana wange,+ funanga amaanyi mu kisa eky’ensusso ekiri mu Kristo Yesu; 2 era ebintu bye wawulira okuva gye ndi, bangi bye baawaako obujulirwa,+ bitegeeze abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala. 3 Ng’omusirikale omulungi+ owa Kristo Yesu, beera mwetegefu okubonaabona.+ 4 Tewali muntu aweereza ng’omusirikale ayinza okwenyigira mu by’obusuubuzi* asobole okusiimibwa oyo eyamuwandiika mu busirikale. 5 Ate era omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo egy’empaka, taweebwa ngule bw’atagoberera mateeka.+ 6 Omulimi akola ennyo y’alina okusooka okulya ku bibala. 7 Fumiitirizanga ku bye njogera; mazima ddala Mukama ajja kukuyamba okutegeera ebintu byonna.
8 Jjukira nti Yesu Kristo yazuukizibwa mu bafu+ era nti yali zzadde lya Dawudi,+ ng’amawulire amalungi ge mbuulira bwe gagamba,+ 9 era olw’amawulire gano amalungi mbonaabona era nsibiddwa mu kkomera ng’omumenyi w’amateeka.+ Naye ekigambo kya Katonda tekisibiddwa.+ 10 Olw’ensonga eno, ngumiikiriza ebintu byonna ku lw’abalonde,+ nabo basobole okufuna obulokozi obuli mu Kristo Yesu awamu n’ekitiibwa eky’emirembe n’emirembe. 11 Ebigambo bino byesigika ebigamba nti: Mazima ddala, bwe tuba nga twafiira wamu naye, tujja kubeera balamu wamu naye;+ 12 bwe tugumiikiriza, tujja kufugira wamu naye nga bakabaka;+ bwe tumwegaana naye ajja kutwegaana;+ 13 bwe tutabeera beesigwa, ye asigala mwesigwa kubanga tayinza kukola kintu kikontana n’ekyo ky’ali.
14 Bajjukizenga ebintu bino, obalagirenga* mu maaso ga Katonda okwewalanga okuwakana ku bikwata ku bigambo, kubanga ekyo tekirina mugaso gwonna, wabula kisaanyaawo* okukkiriza kw’abo abawuliriza. 15 Fubanga nnyo okulaba nti osiimibwa mu maaso ga Katonda, omukozi ataliiko kimukwasa nsonyi, akwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.+ 16 Naye weewalenga ebigambo ebitaliimu nsa ebitaweesa Katonda kitiibwa,+ kubanga bijja kwongera bwongenzi okuleetawo ebikolwa Katonda by’akyawa, 17 era ebigambo ng’ebyo bijja kusaasaana ng’ebbwa erigenda lirya omubiri. Kumenaayo ne Fireeto be bamu ku abo+ abasaasaanya ebigambo ng’ebyo. 18 Abantu bano bawabye okuva mu mazima nga bagamba nti okuzuukira kwamala dda okubaawo;+ era basaanyaawo okukkiriza kw’abamu. 19 Kyokka omusingi gwa Katonda omugumu gusigala nga munywevu nga guliko akabonero kano, “Yakuwa* amanyi ababe,”+ era nti, “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa*+ alekeyo obutali butuukirivu.”
20 Mu nnyumba ennene temubaamu bibya bya zzaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti n’eby’ebbumba, era ebimu bikozesebwa mu mirimu egy’ekitiibwa ate ebirala mu gitali gya kitiibwa. 21 N’olwekyo, singa omuntu yeewala ebibya ebikozesebwa mu mirimu egitali gya kitiibwa, ajja kuba kintu* ekikozesebwa mu mirimu egy’ekitiibwa, ekitukuziddwa, ekigasa nnyini kyo, era ekitegekeddwa okukola buli mulimu omulungi. 22 Kale ddukanga okwegomba okw’omu buvubuka, naye luubiriranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, ng’oli wamu n’abo abakoowoola Mukama n’omutima omuyonjo.
23 Ate era, weewalenga empaka ez’ekisiru era ezitalina makulu,+ ng’okimanyi nti zireetawo okuyomba. 24 Kubanga omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu* eri bonna,+ ng’asobola okuyigiriza, nga yeefuga bwe bamuyisa obubi,+ 25 era ng’aba mukkakkamu bw’aba abuulirira abajeemu;+ oboolyawo Katonda anaabasobozesa okwenenya* basobole okutegeerera ddala amazima,+ 26 baddemu okutegeera obulungi bave mu mutego gw’Omulyolyomi, kubanga abakwasizza nga balamu basobole okutuukiriza by’ayagala.+