ESSUULA 9
Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
YESU yali munyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi, era yateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekirungi. Yagendanga eri abantu, n’ababuulira era n’abayigiririza mu maka gaabwe ne mu bifo ebya lukale. (Mat. 9:35; 13:36; Luk. 8:1) Yesu yayigirizanga abantu kinnoomu, era yayigiriza n’ebibinja by’abantu. (Mak. 4:10-13; 6:35-44; Yok. 3:2-21) Yakozesanga buli kakisa okubuulira abantu ebigambo ebizzaamu amaanyi era ebiwa essuubi. (Luk. 4:16-19) Ne bwe yabanga yeetaaga okuwummula oba okubaako ky’alya, yakozesanga akakisa konna ke yabanga afunye okubuulira. (Mak. 6:30-34; Yok. 4:4-34) Bwe tusoma ku buweereza bwa Yesu, kituleetera okwagala okumukoppa ng’abatume bwe baakola.—Mat. 4:19, 20; Luk. 5:27, 28; Yok. 1:43-45.
2 Ka tulabe engeri ezitali zimu Abakristaayo ze bayinza okukolamu omulimu Yesu Kristo gwe yatandikawo emyaka nga 2,000 emabega.
OKUBUULIRA NNYUMBA KU NNYUMBA
3 Abajulirwa ba Yakuwa tumanyi emiganyulo egiri mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka nnyumba ku nnyumba. Tukikoledde ebbanga ddene ne kiba nti tumanyiddwa wonna ng’abantu ababuulira nnyumba ku nnyumba. Okubuulira nnyumba ku nnyumba kitusobozesa okutuuka ku bukadde n’obukadde bw’abantu mu kiseera kitono. (Mat. 11:19; 24:14) Ate era kiraga nti twagala Yakuwa ne baliraanwa baffe.—Mat. 22:34-40.
4 Abajulirwa ba Yakuwa si be baatandikawo enkola ey’okubuulira nnyumba ku nnyumba. Omutume Pawulo naye yayigirizanga abantu mu maka gaabwe. Bwe yali abuulira abakadde b’omu Efeso ebikwata ku buweereza bwe, yabagamba nti: “Okuva ku lunaku lwe nnatuuka mu ssaza ly’e Asiya, . . . saalekayo kubabuulira bintu bya muganyulo wadde okubayigiriza . . . nnyumba ku nnyumba.” Pawulo yakozesa engeri eyo n’engeri endala ez’okubuulira, ‘okuwa Abayudaaya n’Abayonaani obujulirwa mu bujjuvu beenenye badde eri Katonda era bakkiririze mu Mukama waffe Yesu.’ (Bik. 20:18, 20, 21) Mu kiseera ekyo, abafuzi Abaruumi baali bakubiriza abantu okusinza ebifaananyi, era bangi baali ‘batya nnyo bakatonda’ abo. Abantu kyali kibeetaagisa okunoonya “Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu,” oyo eyali “agamba abantu yonna gye bali nti beenenye.”—Bik. 17:22-31.
5 Leero, kitwetaagisa okubuulira abantu amawulire amalungi mu bwangu. Olw’okuba enkomerero y’ensi ya Sitaani eneetera okutuuka, tusaanidde okwongeramu amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Okubuulira nnyumba ku nnyumba ye ngeri esingayo obulungi ey’okunoonyaamu abantu abaagala amazima. Engeri eno ey’okubuulira ekyakolera ddala bulungi nga bwe kyali mu biseera bya Yesu n’abatume.—Mak. 13:10.
6 Weenyigira mu bujjuvu mu kubuulira nnyumba ku nnyumba? Bwe kiba bwe kityo, ba mukakafu nti Yakuwa asiima by’okola. (Ezk. 9:11; Bik. 20:35) Okubuulira nnyumba ku nnyumba kiyinza okuba nga tekikwanguyira. Oyinza okuba ng’olina obulemu ku mubiri, oba ng’abantu bangi mu kitundu ky’obuuliramu tebaagala kuwuliriza. Gavumenti eyinza okuba nga yateeka obukwakkulizo ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Oyinza n’okuba ng’olina ensonyi, era nga kikuzibuwalira okutandika okwogera n’omuntu gw’otomanyi, era nga buli lw’oba ogenda okubuulira nnyumba ku nnyumba, obaamu okutya. Naye toggwaamu maanyi. (Kuv. 4:10-12) Embeera yo teyawukana nnyo ku ya baganda bo abali mu bitundu ebirala.
7 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) Ebigambo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi. Tuwulira ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Baf. 4:13) Fuba nnyo okuwagira enteekateeka z’ekibiina ez’okubuulira nnyumba ku nnyumba. Bw’obuulira n’abalala, bakuyamba era bakuzzaamu amaanyi. Saba Yakuwa akuyambe okuvvuunuka okusoomooza kwonna kw’oyinza okuba ng’ofuna mu buweereza, era weeyongere okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu.—1 Yok. 5:14.
8 Gy’okoma okubuulira, gy’okoma okufuna akakisa okubuulira abalala ‘essuubi ly’olina.’ (1 Peet. 3:15) Weeyongera okulaba enjawulo eriwo wakati w’abo abalina essuubi ly’okufugibwa Obwakabaka n’abo abatalirina. (Is. 65:13, 14) Ate era oba musanyufu okukimanya nti ogondera ekiragiro kya Yesu ekigamba nti: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu.” Oyinza n’okuyamba abantu okumanya Yakuwa, n’amazima agabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.—Mat. 5:16; Yok. 17:3; 1 Tim. 4:16.
9 Ebibiina biba n’enteekateeka ey’okubuulira nnyumba ku nnyumba ku wiikendi ne ku nnaku endala mu wiiki. Mu bitundu ababuulizi gye batatera kusanga bantu waka mu biseera eby’oku makya, ebibiina ebimu bikola enteekateeka ey’okubuulira akawungeezi. Mu bitundu ng’ebyo, abantu bayinza okuba n’obudde mu biseera eby’olw’eggulo oba eby’akawungeezi.
OKUNOONYA ABO ABAGWANIRA
10 Yesu yalagira abayigirizwa be ‘okunoonya’ abo abagwanira. (Mat. 10:11) Yesu bwe yali anoonya abagwanira teyakoma ku kubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu butuufu, yakozesanga buli kakisa ke yafunanga okubuulira. (Luk. 8:1; Yok. 4:7-15) Abatume nabo baabuuliranga abantu mu bifo ebitali bimu.—Bik. 17:17; 28:16, 23, 30, 31.
Ekiruubirirwa kyaffe kwe kutuusa amawulire amalungi ag’Obwakabaka ku buli muntu
11 Naffe leero, ekiruubirirwa kyaffe kwe kutuusa amawulire amalungi ku buli muntu. Kino okusobola okukikola, tulina okukoppa engeri Yesu n’abatume be gye baakolangamu omulimu ogwo, okumanya embeera eziriwo mu nsi, n’okumanya embeera y’abantu abali mu kitundu kyaffe. (1 Kol. 7:31) Ng’ekyokulabirako, okubuulira mu bifo ebikolerwamu bizineesi kivuddemu ebirungi. Mu nsi nnyingi, okubuulira ku nguudo, mu bifo emmotoka we zisimba, ne mu bifo ebirala abantu we bayinza okusangibwa, kivuddemu ebirungi bingi. Ebibiina ebimu bikozesa enkola ey’okuteeka ebitabo ku mmeeza oba ku bugaali. Okugatta ku ekyo, ofiisi y’ettabi eyinza okukola enteekateeka ey’okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu bibuga, era ekozesa ababuulizi okuva mu bibiina eby’enjawulo. Mu ngeri eyo, abantu abatatera kusangibwa waka nabo basobola okufuna amawulire amalungi.
12 Bwe tusanga abantu mu bifo ebya lukale abaagala okumanya ebikwata ku Bayibuli, tusobola okubawa ekitabo ekituukirawo. Okusobola okwongera okuyamba abantu ng’abo, osobola okubawa essimu oba endagiriro yo, oba osobola okukola enteekateeka n’obakyalira, oba oyinza okubalagirira omukutu gwaffe jw.org, oba okubalagirira ekifo ekibali okumpi Abajulirwa ba Yakuwa we bakuŋŋaanira. Osobola okufuna essanyu lingi bw’obuulira mu bifo ebya lukale, era kikusobozesa n’okugaziya ku buweereza bwo.
13 Naye, okulangirira amawulire amalungi si kye kyokka ekizingirwa mu mulimu Abakristaayo gwe balina okukola leero. Bw’oba ow’okuyamba abantu okutegeera amazima agabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo, kikwetaagisa okuddayo enfunda n’enfunda eri abo ababa basiimye obubaka bwaffe. Ekyo kibasobozesa okukulaakulana mu by’omwoyo.
OKUDDIŊŊANA
14 Yesu yagamba abagoberezi be nti: ‘Mujja kuba bajulirwa bange okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.’ (Bik. 1:8) Ate era yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” (Mat. 28:19, 20) Bw’oddayo eri abantu abaasima obubaka bwaffe, bayinza okusanyuka okuddamu okukulaba, era naawe ne kikuleetera essanyu. Bw’obaako ebintu ebirala ebiri mu Bayibuli by’obayigiriza, kiyinza okunyweza okukkiriza kwabwe era ne kibayamba n’okumanya obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo. (Mat. 5:3) Bwe weeteekateeka obulungi era n’oddayo mu kiseera kye mwalagaana, bayinza okufuuka abayizi ba Bayibuli. Ekyo kye kirina okuba ekiruubirirwa kyaffe nga tuzzeeyo eri abantu abaasiima obubaka bwaffe. Tetusaanidde kukoma ku kusiga nsigo ez’amazima, naye era tulina n’okuddayo ne tuzifukirira.—1 Kol. 3:6.
15 Ababuulizi abamu kiyinza obutabanguyira kuddayo eri abantu abaasiima obubaka bwaffe. Ggwe oyinza okuba nga tokisangamu buzibu bwonna okubuulira omuntu ku mulundi ogusooka, naye nga kikuzibuwalira okuddayo okukubaganya naye ebirowoozo ku Bayibuli. Bwe weeteekateeka obulungi kikuyamba okuggwamu okutya. Kolera ku magezi agatuweebwa mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki. Oyinza n’okugamba omubuulizi alina obumanyirivu akuwerekereko.
OKUYIGIRIZA ABANTU BAYIBULI
16 Firipo omubuulizi w’enjiri bwe yali ayogera n’Omwesiyopiya omulaawe eyali asoma Ekigambo kya Katonda, yamubuuza nti: “Ddala otegeera by’osoma?” Omusajja oyo yamuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?” Firipo yatandikira ku kyawandiikibwa omusajja oyo kye yali asoma, “n’amubuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu.” (Bik. 8:26-36) Tetumanyi kiseera Firipo kye yamala ng’ayogera n’omusajja oyo, naye Firipo yamunnyonnyola ebyawandiikibwa okutuusa lwe yafuuka omukkiriza era n’asaba abatizibwe. Omusajja oyo yafuuka omuyigirizwa wa Yesu Kristo.
17 Abantu bangi leero tebamanyi biri mu Bayibuli. N’olwekyo kiyinza okukwetaagisa okubaddira emirundi mingi era n’okubayigiriza okumala wiiki eziwerako, emyezi egiwera, sinakindi omwaka n’okusingawo, kibasobozese okunyweza okukkiriza kwabwe era n’okufuna ebisaanyizo by’okubatizibwa. Obugumiikiriza n’okwagala by’oyoleka ng’oyigiriza abantu Bayibuli bivaamu emiganyulo, kubanga Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Bik. 20:35.
18 Awatali kubuusabuusa, bw’onooba oyigiriza abantu Bayibuli ojja kukozesa ekimu ku bitabo bye tukozesa nga tuyigiriza abantu. Bw’okolera ku bulagirizi obutuweebwa mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki era n’okolera wamu n’ababuulizi abalina obumanyirivu mu kuyigiriza, ojja kusobola okuyigiriza obulungi, era ojja kuyamba abantu okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo.
19 Bw’oba weetaaga obuyambi ku ngeri y’okuyigirizaamu abantu Bayibuli, yogerako n’omu ku bakadde oba n’ow’oluganda yenna alina obumanyirivu mu kuyigiriza abantu Bayibuli. Amagezi agaweebwa mu katabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe era n’ebyokulabirako ebitulagibwa mu lukuŋŋaana olwo, nabyo bijja kukuyamba. Weesige Yakuwa, era musabe akuyambe. (1 Yok. 3:22) N’olwekyo, ng’oggyeeko okuyigiriza ab’omu maka go, ba n’ekiruubirirwa eky’okufuna omuntu omulala gw’oyigiriza Bayibuli. Bw’onooba n’abayizi ba Bayibuli, essanyu ly’ofuna mu buweereza lijja kweyongera.
OKUYAMBA ABAPYA OKWEGATTA KU KIBIINA KYA YAKUWA
20 Bwe tuyamba abantu okumanya Yakuwa Katonda era ne bafuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo, baba beegasse ku kibiina. Abayizi ba Bayibuli bakulaakulana mangu mu by’omwoyo bwe bategeera ekibiina kya Yakuwa era ne bakolera wamu nakyo. Vidiyo ez’enjawulo ne brocuwa eyitibwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? byategekebwa okubayamba okutegeera ekibiina kya Yakuwa. Ate era osobola n’okukozesa ebimu ku ebyo ebiri mu Ssuula 4 ey’akatabo kano.
21 Bw’oba waakatandika okuyigiriza omuntu Bayibuli, muyambe okukitegeera nti Yakuwa alina ekibiina ky’akozesa okulaba nti amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna. Mubuulire omugaso gw’ebitabo ebikozesebwa okuyigiriza abantu Bayibuli, era omunnyonnyole engeri gye bikubibwamu n’engeri gye bibunyisibwamu bannakyewa abeewaddeyo okuweereza Katonda. Omuyizi wo mukubirize okujja mu nkuŋŋaana eziba ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Munnyonnyole engeri enkuŋŋaana zaffe gye zikubirizibwamu, era bw’aba azze mu nkuŋŋaana, mwanjule eri ab’oluganda. Ate bw’ajja ku lukuŋŋaana olunene, mwanjule eri ab’oluganda abalala. Ku nkuŋŋaana ng’ezo, ajja kukyerabirako n’agage nti abantu ba Yakuwa baagalana nnyo, ate ng’okwagala ke kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:35) Omuyizi bw’anaagenda yeeyongera okutegeera ekibiina kya Yakuwa, enkolagana ye ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera.
OKUKOZESA EBITABO EBINNYONNYOLA BAYIBULI
22 Abakristaayo abaasooka baali banyiikivu nnyo mu kubuulira. Baakoppololanga Ebyawandiikibwa, ne kiba nti baabanga n’eby’okusoma buli omu ku lulwe, era n’eby’okusomera awamu ng’ekibiina. Ate era baakubirizanga abantu abalala okusoma Ekigambo kya Katonda. Kopi z’Ebyawandiikibwa bye baakoppolola zaali ntono nnyo, era baazitwalanga nga za muwendo nnyo. (Bak. 4:16; 2 Tim. 2:15; 3:14-17; 4:13; 1 Peet. 1:1) Leero, Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa ebyuma ebiri ku mulembe okukuba obukadde n’obukadde bwa Bayibuli, ebitabo, tulakiti, brocuwa, ne magazini, mu nnimi nnyingi.
23 Bw’oba obuulira amawulire amalungi, fuba okukozesa ebitabo ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa. Bw’olowooza ku ngeri ggwe kennyini gy’oganyuddwa mu kusoma ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, kijja kukubiriza okubigabirako abalala.—Beb. 13:15, 16.
24 Omuwendo gw’abantu abakozesa Intaneeti gweyongera buli lukya. Eyo ye nsonga lwaki omukutu gwaffe ogwa jw.org, gukola kinene nnyo mu kubunyisa amawulire amalungi. Abantu basobola okukozesa kompyuta okusoma oba okuwuliriza Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola. Abo ababa bataagala kwogera naffe oba abo ababeera mu bitundu awali Abajulirwa ba Yakuwa abatono ennyo nabo basobola okusoma ebikwata ku nzikiriza zaffe ku mukutu gwaffe ogwa jw.org nga bali mu maka gaabwe.
25 N’olwekyo, tulagirira abantu ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti buli lwe tuba tufunye akakisa. Omuntu bw’abuuza ekibuuzo ekikwata ku nzikiriza zaffe, tusobola okukozesa essimu yaffe oba kompyuta okumulaga eky’okuddamu mu kiseera ekyo kyennyini. Bwe tusanga omuntu ayogera olulimi olulala, nga mw’otwalidde n’olulimi lwa bakiggala, tuyinza okumugamba agende ku mukutu gwaffe asobole okufuna Bayibuli n’ebitabo ebirala eby’olulimi lwe. Ababuulizi bangi bakozesezza emu ku vidiyo eziri ku mukutu gwaffe okutandika okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Bayibuli.
OKUBUULIRA EMBAGIRAWO
26 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwe muli kitangaala kya nsi. . . . Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.” (Mat. 5:14-16) Ate era Yesu yagamba nti: “Nze kitangaala ky’ensi,” era abayigirizwa be baamukoppa. Yesu yateerawo Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi bwe yaleka ‘ekitangaala eky’obulamu’ okwaka era kyaganyula abo bonna abaamuwuliriza.—Yok. 8:12.
27 Omutume Pawulo naye yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. (1 Kol. 4:16; 11:1) Bwe yali mu Asene, buli lunaku yabuuliranga abantu abaabanga mu katale. (Bik. 17:17) Abakristaayo ab’omu Firipi baakoppa Pawulo. Eyo ye nsonga lwaki yabagamba nti baali baaka ng’ekitangaala mu bantu ab’omulembe ogwakyama. (Baf. 2:15) Naffe leero bwe tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira amawulire amalungi, tuba tuleka ekitangaala kyaffe okwaka. Ate era tusobola okuleka ekitangaala kyaffe okwaka okuyitira mu bye twogera ne bye tukola. Kyo kituufu nti bwe tuba tweyisa bulungi, abantu abalala basobola okukiraba nti tuli ba njawulo. Kyokka, bwe tubabuulira amawulire amalungi, bamanya ensonga lwaki tuli ba njawulo.
28 Abajulirwa ba Yakuwa bangi babuulira abantu be baba basisinkanye ku mirimu, ku masomero, mu bidduka ebya lukale, oba mu bifo ebirala. Bwe tuba ku lugendo, tuyinza okufuna akakisa okubuulira abo be tuba tuli nabo. Bwe tuba tunyumya n’omuntu, tusaanidde okukozesa akakisa konna ke tuba tufunye okumubuulira. Ka tubeerenga beetegefu bulijjo okubuulira abalala wonna we tubasanga.
29 Ekinaatukubiriza okubuulira abalala kwe kukijjukira nti bwe tukola bwe tutyo tuba tutendereza Omutonzi waffe era tuba tuleetera erinnya lye okugulumizibwa. Okugatta ku ekyo, tuyinza n’okuyamba abantu ab’emitima emirungi okumanya Yakuwa n’okumuweereza era n’okukkiririza mu Yesu Kristo basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Bwe tubuulira buli lwe tuba tufunye akakisa, kisanyusa nnyo Yakuwa era akitwala ng’obuweereza obutukuvu.—Beb. 12:28; Kub. 7:9, 10.
EBITUNDU EBIBUULIRWAMU
30 Yakuwa ayagala amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwe mu nsi yonna, mu bibuga ne mu byalo. Eyo ye nsonga lwaki ebibiina era n’ab’oluganda abaweereza mu bitundu ebyesudde, ofiisi y’ettabi ebawa ebitundu eby’okubuuliramu. (1 Kol. 14:40) Kino kituukagana bulungi n’enteekateeka eyaliwo mu kyasa ekyasooka. (2 Kol. 10:13; Bag. 2:9) Olw’okuba omulimu gw’Obwakabaka gukulaakulanira ku sipiidi ya maanyi mu nnaku zino ez’enkomerero, tusobola okugutambuza obulungi bwe wabaawo enteekateeka ennungi ey’okubuulira mu kitundu ekyaweebwa ekibiina kyaffe.
31 Omulabirizi w’obuweereza y’avunaanyizibwa ku kulaba nti enteekateeka eyo etambula bulungi. Omu ku baweereza mu kibiina ayinza okugabira ab’oluganda ebitundu eby’okubuuliramu. Ebitundu ebibuulirwamu bya bika bibiri: ebimu biweebwa bibinja by’obuweereza ate ebirala biweebwa babuulizi kinnoomu. Ekitundu ekibiina mwe kibuulira bwe kiba ekitono, abalabirizi b’ebibinja baweebwa ebitundu ababuulizi abali mu bibinja byabwe mwe basobola okubuulira. Ku luuyi olulala, ekibiina bwe kiba n’ekitundu ekinene, ababuulizi kinnoomu basobola okufuna ebitundu ebyabwe ku bwabwe eby’okubuuliramu.
32 Omubuulizi alina ekitundu ekikye ku bubwe eky’okubuuliramu aba n’aw’okubuulira buli lwe waba nga tewali nteekateeka ya kibiina ey’okubuulira oba lw’aba tasobodde kubuulira na kibinja kye. Ng’ekyokulabirako, ababuulizi abamu bafuna ekitundu okumpi ne we bakolera, mwe basobola okubuulira nga bawummuddemu mu biseera eby’okulya eky’emisana oba nga bannyuse. Ababuulizi abamu bafuna ekitundu okumpi ne we babeera, mwe basobola okubuulira ng’amaka mu biseera by’akawungeezi. Omubuulizi bw’aba n’ekitundu eky’okubuuliramu ekiri mu kifo ekimwanguyira okutuukamu, kimusobozesa okukozesa obulungi akadde konna k’aba afunye okubuulira. Ebitundu ebiba biweereddwa ababuulizi kinnoomu biyinza n’okubuulirwamu ekibinja. Bw’oba nga wandyagadde okufuna ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu, tegeeza omuweereza avunaanyizibwa ku bitundu ebibuulirwamu.
33 Ekitundu ekibuulirwamu ka kibe nga kyakwasibwa mulabirizi wa kibinja oba mubuulizi, oyo eyaweebwa ekitundu ekyo alina okukakasa nti waakiri omuntu omu mu buli nnyumba abuuliddwa. Enteekateeka ez’okubuulira mu kitundu zirina okuba nga tezimenya mateeka agakuuma ebikwata ku bantu kinnoomu. Omulabirizi w’ekibinja oba omubuulizi aba aweereddwa ekitundu eky’okubuuliramu asaanidde okukakasa nti kibuulirwamu kyonna mu bbanga eritasukka myezi ena. Bwe kiba kiweddeko, alina okutegeeza omuweereza avunaanyizibwa ku bitundu ebibuulirwamu. Okusinziira ku mbeera, omulabirizi w’ekibinja oba omubuulizi ayinza okusigaza mmaapu y’ekitundu ekyo asobole okuddamu okukibuuliramu nate oba ayinza okugiddiza omuweereza avunaanyizibwa ku bitundu ebibuulirwamu.
34 Ababuulizi bonna abali mu kibiina bwe bakolera awamu, ekibiina kisobola okubuulira obulungi ekitundu ekyakiweebwa. Ate era tuba tusobola n’okwewala okuba n’ebibinja by’ababuulizi eby’enjawulo ebibuulira mu kitundu kye kimu mu kiseera kye kimu, kubanga ekyo kisobola okunyiiza abantu be tubuulira. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti tufaayo ku baganda baffe era n’abantu abali mu kitundu mwe tubuulira.
OKUBUULIRA ABANTU ABOOGERA ENNIMI EZ’ENJAWULO
35 Buli muntu yeetaaga okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda, Omwana we, n’Obwakabaka bwe. (Kub. 14:6, 7) Twagala okuyamba abantu aboogera ennimi ez’enjawulo okukoowoola erinnya lya Yakuwa basobole okulokolebwa era n’okwambala omuntu omuggya. (Bar. 10:12, 13; Bak. 3:10, 11) Kusoomooza ki ababuulizi kwe bayinza okufuna nga babuulira mu bitundu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo? Bayinza batya okukuvvuunuka okusoomooza okwo ne basobola okuyamba abantu bangi okuwulira amawulire amalungi mu lulimi lwe bategeera obulungi?—Bar. 10:14.
36 Buli kibiina kiweebwa ekitundu eky’okubuuliramu okusinziira ku lulimi olukozesebwa mu kibiina ekyo. Kyokka ebitundu omuli abantu aboogera ennimi ez’enjawulo, bibuulirwamu ababuulizi okuva mu bibiina eby’enjawulo. Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi buli mubuulizi okussa essira ku kubuulira abantu aboogera olulimi olukozesebwa mu kibiina kye. Kino kikwata ne ku kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene. Kyokka ababuulizi bwe baba babuulira mu bifo ebya lukale oba embagirawo, bayinza okwogera n’omuntu yenna era n’okugaba ebitabo ebiri mu lulimi lwonna.
37 Ebibiina ebimu ebikozesa ennimi endala biyinza okuba nga tebyanguyirwa kubuulira bitundu byabyo ebiri ewala. Mu mbeera ng’eyo, abalabirizi b’obuweereza ab’ebibiina ebikwatibwako basaanidde okukolera awamu basobole okuba n’enteekateeka ennungi ey’okubuulira abantu abali mu bitundu ebyo. Bwe bakola bwe batyo, abantu bonna mu bitundu ebyo bafuna akakisa okuwulira obubaka bw’Obwakabaka, era kiyamba ababuulizi obutabuulira mu kitundu ababuulizi abalala mwe baba baakamala okubuulira.—Nge. 15:22.
38 Bwe tuba tubuulira ne tusanga omuntu ayogera olulimi olulala, tusaanidde kukola ki? Tetusaanidde kulowooza nti ababuulizi aboogera olulimi lwe bajja kumutuukako. Ababuulizi abamu bayize ennyanjula mu nnimi endala ezoogerwa abantu be batera okusanga mu kitundu kyabwe. Tusobola n’okulaga omuntu engeri gy’ayinza okusoma oba okuwanula ebitabo eby’olulimi lwe ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, oba tuyinza okumugamba nti tujja kumuleetera ekitabo ekiri mu lulimi lwe.
39 Singa omuntu aba asiimye obubaka bwaffe, twandifubye okumufunira omuntu asobola okumuyigiriza mu lulimi lw’ategeera. Tusobola n’okumubuulira ekibiina ekiri okumpi ekiba n’enkuŋŋaana mu lulimi lwe. Singa aba ayagala omuntu ayogera olulimi lwe amukyalire, tuyinza okumulaga w’ayinza okuwandiika endagiriro ye ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Ofiisi y’ettabi ejja kubaako omubuulizi amuli okumpi gw’etuma okugenda okumuyamba, oba eyinza okusaba ekibinja oba ekibiina ekiri okumpi kimuyambe.
40 Tulina okweyongera okuyamba omuntu eyasiima obubaka bwaffe, okutuusa nga waliwo omubuulizi ayogera olulimi lwe atandise okumuyigiriza. Emirundi egimu ofiisi y’ettabi etegeeza abakadde nti omubuulizi ayogera olulimi lw’omuntu oyo tebannamufuna. Mu mbeera eyo, tusaanidde okweyongera okuyamba omuntu oyo mu by’omwoyo. Bwe kiba kisoboka, osobola okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa akatabo akali mu lulimi lwe. Bw’okozesa obulungi ebifaananyi ebiri mu katabo ako era n’omusaba asome ebyawandiikibwa ebiragiddwa, ajja kubaako by’ayiga. Omu ku b’eŋŋanda ze amanyi obulungi olulimi lwe n’olulimi lw’okozesa okumuyigiriza, ayinza okumuvvuunulira by’oyogera.
41 Okusobola okuyamba omuntu okwegatta ku kibiina kya Katonda, tusaanidde okumukubiriza okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe, wadde ng’ayinza obutategeera byonna ebyogerwa mu nkuŋŋaana. Ebyawandiikibwa bwe biba bisomebwa, tusobola okumuyamba okubikkula we biri, bw’aba ng’alina Bayibuli eri mu lulimi lwe. Okukuŋŋaana awamu n’ab’oluganda kiyinza okumuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo.
42 Ebibinja ebiteetongodde: Ekibinja ekiteetongodde kibaamu ababuulizi ababuulira mu lulimi olulala wadde nga tekirina mukadde oba muweereza asobola kukubiriza nkuŋŋaana mu lulimi olwo. Ofiisi y’ettabi esobola okukkiriza ekibiina okuba n’ekibinja ekiteetongodde singa bino wammanga bibaawo:
(1) Singa abantu abawerako mu kitundu boogera olulimi olulala olutali olwo olukozesebwa ekibiina ky’omu kitundu.
(2) Singa ababuulizi abawerako bamanyi olulimi olwo oba nga beetegefu okuluyiga.
(3) Singa akakiiko k’abakadde keetegefu okukola enteekateeka ez’okubuulira mu lulimi olwo.
Akakiiko k’abakadde bwe kaba kaagala okulabirira ekibinja ekiteetongodde, abakadde balina okwebuuza ku mulabirizi akyalira ebibiina. Omulabirizi ayinza okuba ng’alina ebibiina ebirala by’amanyi ebigezaako okubuulira abantu aboogera olulimi olwo era ayinza okubawa obulagirizi obusobola okubayamba okumanya ekibiina ekisaanidde okuba nga kye kitwala ekibinja ekyo. Ekibiina ekyo bwe kimanyibwa, abakadde abakirimu bawandiikira ofiisi y’ettabi ebbaluwa esaba okubakkiriza mu butongole okuba ng’ekibiina kyabwe kye kitwala ekibinja ekyo.
43 Ebibinja: Ofiisi y’ettabi esobola okukkiriza ekibiina okuba n’ekibinja kye kitwala singa bino wammanga bibaawo:
(1) Singa abantu abawerako aboogera olulimi olumu baba baagala okuyiga amazima era nga waliwo ebiraga nti ekibinja ekyo kijja kukulaakulana.
(2) Singa waliwo ababuulizi abatonotono aboogera olulimi olwo oba abatandise okuluyiga.
(3) Singa waliwo omukadde oba omuweereza asobola okutwala obukulembeze n’okukubiriza waakiri olukuŋŋaana lumu buli wiiki oba ekitundu kimu eky’enkuŋŋaana ezibaawo buli wiiki, gamba ng’emboozi ya bonna oba okusoma Omunaala gw’Omukuumi mu lulimi olwo.
Ebisaanyizo ebyo bwe biba nga bituukirizibwa bulungi, akakiiko k’abakadde kawandiikira ofiisi y’ettabi ebbaluwa eraga kalonda eyeetaagisa ne kasaba ekibiina kyabwe kikkirizibwe okutandikawo ekibinja. Omukadde alina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekibinja ekyo ayitibwa “omulabirizi w’ekibinja,” naye bw’aba omuweereza ayitibwa “omuweereza atwala ekibinja.”
44 Ekibinja bwe kitandikibwawo, akakiiko k’abakadde ak’ekibiina ekikirabirira kasalwo obanga n’ebitundu ebirala eby’enkuŋŋaana bifunibwa mu kibinja ekyo na mirundi emeka mu mwezi ekibinja ekyo lwe kirina okufuna enkuŋŋaana. Ate era abakadde bayinza okukola enteekateeka ekibinja ne kibanga n’enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Bonna ababa mu kibinja bakolera ku bulagirizi bw’akakiiko k’abakadde akalabirira ekibinja ekyo. Abakadde bawa ekibinja ekyo obulagirizi obwetaagisa era bafuba okukola ku byetaago byakyo. Omulabirizi w’ekitundu bw’akolako n’ekibinja ekyo mu wiiki gy’aba akyalidde ekibiina ekikirabirira, awandiikira ofiisi y’ettabi lipoota ekwata ku kukulaakulana kw’ekibinja ekyo era n’abategeeza n’ebyetaago byakyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, ekibinja kisobola okufuuka ekibiina. Kisanyusa nnyo Yakuwa singa bonna abakwatibwako bakolera ku bulagirizi obuweebwa ekibiina kye.—1 Kol. 1:10; 3:5, 6.
OKUBUULIRA N’EKIBIINA
45 Buli Mukristaayo alina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abalala amawulire amalungi. Waliwo engeri nnyingi ez’okukikolamu, naye abasinga obungi ku ffe tunyumirwa nnyo okubuulira n’abalala. (Luk. 10:1) Olw’ensonga eyo, ebibiina biba n’enkuŋŋaana ez’okugenda okubuulira ku wiikendi ne ku nnaku endala. Ennaku enkulu oba ezitali za kukola nazo ziwa ababuulizi akakisa ak’okubuulira n’ekibiina, okuva bwe kiri nti ab’oluganda bangi baba tebagenze ku mirimu. Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza kakola enteekateeka z’enkuŋŋaana ez’okugenda okubuulira. Balonda ebifo n’ebiseera ebyanguyira ab’oluganda.
46 Okubuulira n’ekibiina kisobozesa ababuulizi okukolera awamu n’abalala ne ‘bazziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:12) Ababuulizi abalina obumanyirivu babuulira n’ababuulizi abapya ne babatendeka. Mu bitundu ebimu, kiba kirungi ababuulizi babiri oba n’okusingawo ne bakolera wamu. Ne bw’oba ng’oteekateeka kubuulira wekka, bw’ogenda mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira kizzaamu nnyo amaanyi abalala bonna ababaawo. Okumanya nti waliwo ababuulizi abalala ababuulira mu kitundu ky’obuuliramu, kisobola okukuyamba okuba omuvumu. Bapayoniya oba ababuulizi abalala tebasaanidde kukitwala nti bateekwa buteekwa okubaawo mu nkuŋŋaana zonna ez’okugenda okubuulira ezaateekebwawo ekibiina, nnaddala bwe kiba nti enkuŋŋaana ezo zibaawo buli lunaku. Kyokka, kiba kirungi singa buli wiiki bafuba okubaawo mu zimu ku nkuŋŋaana ezo.
47 Ka ffenna tugobererenga ekyokulabirako Yesu n’abatume be kye baatuteerawo! Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ajja kutuwa emikisa bwe tunaafuba okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Luk. 9:57-62.