ESSUULA 5
Engeri Gye Tuyinza Okusigala nga Tweyawudde ku Nsi
“Temuli ba nsi.”—YOKAANA 15:19.
1. Kiki Yesu kye yassaako ennyo essira mu kiro ekyasembayo alyoke attibwe?
MU KIRO ekyasembayo alyoke attibwe, Yesu yakiraga nti afaayo nnyo ku biseera eby’omu maaso eby’abagoberezi be, era ekyo yakyogerako mu kusaba kwe ng’agamba nti: “Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume olw’omubi. Si ba nsi, nga nange bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:15, 16) Mu ssaala eyo, Yesu yakyoleka bulungi nti ayagala nnyo abagoberezi be era n’alaga n’obukulu bw’ebigambo bye yali agambye abamu ku bo ekiro ekyo nti: “Temuli ba nsi.” (Yokaana 15:19) Mazima ddala, Yesu yali akitwala nga kikulu nnyo abagoberezi be okusigala nga beeyawudde ku nsi!
2. “Ensi” Yesu gye yayogerako kye ki?
2 “Ensi” Yesu gye yayogerako be bantu bonna abeeyawudde ku Katonda, abafugibwa Sitaani, abeerowoozaako era ab’amalala. (Yokaana 14:30; Abeefeso 2:2; 1 Yokaana 5:19) Mu butuufu, “buli ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” (Yakobo 4:4) Kati olwo abo abaagala okusigala mu kwagala kwa Katonda, basobola batya okubeera mu nsi kyokka nga bagyeyawuddeko? Tujja kulaba engeri ttaano ez’okukikolamu: nga tweyongera okuwagira Obwakabaka bwa Katonda ne kabaka waabwo Kristo era nga tetwenyigira mu bya bufuzi bwa nsi, nga tuziyiza omwoyo gw’ensi, nga twambala era nga twekolako mu ngeri esaanira, nga tuba n’eriiso eriraba awamu, era nga twambala eby’okulwanyisa eby’omwoyo.
OKUWAGIRA OBWAKABAKA N’OBUTEENYIGIRA MU BYA BUFUZI
3. (a) Yesu yatwala atya eby’obufuzi eby’omu kiseera kye? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta baweereza ng’ababaka? (Yogera ne ku ebyo ebiri mu bugambo obuli wansi.)
3 Mu kifo ky’okwenyigira mu by’obufuzi eby’omu kiseera kye, Yesu yassa essira ku kubuulira Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti ey’omu ggulu mwe yali asuubira okufuga nga Kabaka. (Danyeri 7:13, 14; Lukka 4:43; 17:20, 21) Eyo ye nsonga lwaki Yesu bwe yali mu maaso ga Gavana Omuruumi Pontiyo Piraato, yagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Abagoberezi be abeesigwa bakoppa ekyokulabirako kye nga bawagira Kristo n’Obwakabaka bwe era nga balangirira Obwakabaka obwo mu nsi. (Matayo 24:14) Omutume Pawulo yagamba nti: “Tuli babaka mu kifo kya Kristo, . . . Ng’ababaka abali mu kifo kya Kristo tubeegayirira nti: ‘Mutabagane ne Katonda.’”a—2 Abakkolinso 5:20.
4. Abakristaayo ab’amazima bonna bakiraze batya nti bawagira Obwakabaka bwa Katonda? (Laba akasanduuko ku lupapula 52.)
4 Olw’okuba ababaka baba bakiikirira nsi ndala, tebeenyigira mu nsonga ez’omunda ez’ensi gye baweerereza era tebabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi byayo. Kyokka, ababaka abo bafuba okuwagira gavumenti z’ensi ze bakiikirira. Bwe kityo bwe kiri eri abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta, abalina ‘obutuuze bwabwe mu ggulu.’ (Abafiripi 3:20) Mu butuufu, olw’okuba babadde banyiikivu mu kubuulira Obwakabaka, bayambye obukadde n’obukadde ‘bw’ab’endiga endala’ eza Kristo ‘okutabagana ne Katonda.’ (Yokaana 10:16; Matayo 25:31-40) Ab’endiga endala abo bawagira baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta. Ebibinja ebyo byombi biri ekisibo kimu, era biwagira Obwakabaka bwa Masiya nga tebiriiko ludda lwe biwagira mu by’obufuzi.—Soma Isaaya 2:2-4.
5. Ekibiina Ekikristaayo kyawukana kitya ku Isirayiri ey’edda, era enjawulo eyo yeeyoleka etya?
5 Okuwagira obufuzi bwa Kristo si ye nsonga yokka ereetera Abakristaayo ab’amazima obuteenyigira mu bya bufuzi. Okwawukana ku Isirayiri ey’edda Katonda gye yawa ekifo eky’okubeeramu, ffe tusangibwa mu nsi yonna. (Matayo 28:19; 1 Peetero 2:9) N’olwekyo, singa twali tuwagira ebibiina by’obufuzi ebiri mu nsi zaffe, kyanditubeeredde kizibu nnyo okubuulira ku Bwakabaka era tetwandibadde bumu. (1 Abakkolinso 1:10) Okugatta ku ekyo, bwe wandibaddewo olutalo twandibadde tulwanagana ne bakkiriza bannaffe, so ng’ate tukubirizibwa okubaagala. (Yokaana 13:34, 35; 1 Yokaana 3:10-12) N’olwekyo, Yesu yali mutuufu okugamba abayigirizwa be obuteenyigira mu ntalo. Ate era yabakubiriza n’okwagala abalabe baabwe.—Matayo 5:44; 26:52; laba akasanduuko “Ddala Seenyigira mu bya Bufuzi?” ku lupapula 55.
6. Okwewaayo kwo eri Katonda kukwata kutya ku nkolagana yo ne Kayisaali?
6 Abakristaayo ab’amazima beewaayo eri Katonda, so si eri omuntu yenna, ekibiina, oba eggwanga. 1 Abakkolinso 6:19, 20 wagamba nti: “Temwerinaako bwannannyini, kubanga mwagulwa omuwendo munene.” N’olwekyo, wadde ng’abagoberezi ba Yesu bawa “Kayisaali” ebibye, gamba ng’ekitiibwa, emisolo, n’okumugondera we kisaanira, bawa ‘Katonda ebya Katonda.’ (Makko 12:17; Abaruumi 13:1-7) Kino kizingiramu okumusinza, okumwagala n’omutima gwabwe gwonna, era n’okumugondera. Bwe kiba kyetaagisa, baba beetegefu okufiirwa obulamu bwabwe olw’okugondera Katonda.—Lukka 4:8; 10:27; soma Ebikolwa 5:29; Abaruumi 14:8.
OKUZIYIZA ‘OMWOYO GW’ENSI’
7, 8. ‘Omwoyo gw’ensi’ kye ki, era omwoyo ogwo ‘gukolera’ gutya mu bantu?
7 Abakristaayo era beeyawula ku nsi nga baziyiza omwoyo gwayo omubi. Pawulo yagamba bw’ati: “Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi wabula twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda.” (1 Abakkolinso 2:12) Ate era yagamba Abeefeso nti: ‘Mmwatambulanga edda nga mutuukana n’ensi eno era nga mutuukana n’ebyo omufuzi w’obuyinza obw’empewo by’ayagala, omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.’—Abeefeso 2:2, 3.
8 ‘Empewo’ y’ensi, oba omwoyo gwayo, ge maanyi agatalabika agaleetera abantu okujeemera Katonda era agatumbula ‘okwegomba kw’omubiri n’okwegomba kw’amaaso.’ (1 Yokaana 2:16; 1 Timoseewo 6:9, 10) Omwoyo guno gulina ‘obuyinza’ mu ngeri nti gutusikiriza, si mwangu gwa kutegeera, gwa bulabe gye tuli, era okufaananako empewo, guli buli wamu. Okugatta ku ekyo, ‘gukolera’ mu bantu abajeemu nga gugenda gubasigamu engeri embi gamba ng’okwefaako bokka, amalala, okwagala ettutumu, omwoyo gwa kyetwala, n’obujeemu.b Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okwoleka engeri z’Omulyolyomi.—Yokaana 8:44; Ebikolwa 13:10; 1 Yokaana 3:8, 10.
9. Omwoyo gw’ensi guyinza gutya okutuyingiramu?
9 Kisoboka omwoyo gw’ensi okusimba amakanda mu birowoozo byo ne mu mutima gwo? Yee, kisoboka singa oguwa omwagaanya ng’olekera awo okuba obulindaala. (Soma Engero 4:23.) Gutandikiriza mpolampola, oboolyawo okuyitira mu abo be tukolagana nabo abayinza okulabika ng’abantu abalungi naye nga mu butuufu, tebaagala Yakuwa. (Engero 13:20; 1 Abakkolinso 15:33) Oyinza okufuna omwoyo gw’ensi okuyitira mu bitabo ebirimu ebintu ebitasaana, ku mikutu gya Intaneeti egiriko ebifaananyi eby’obuseegu oba egyo egya bakyewaggula, okuyitira mu by’okwesanyusaamu ebitasaana, n’okuyitira mu mizannyo egirimu okuvuganya okw’amaanyi—mu butuufu, osobola okugufuna okuva ku muntu yenna oba ekintu kyonna ekitumbula endowooza ya Sitaani oba ey’ensi ye.
10. Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi?
10 Tuyinza tutya okuziyiza omwoyo gw’ensi omubi era ne twekuumira mu kwagala kwa Katonda? Ekyo tuyinza okukikola nga tukozesa enteekateeka zonna ez’eby’omwoyo Yakuwa z’atuteereddewo, era nga tumusaba bulijjo okutuwa omwoyo gwe omutukuvu. Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga Omulyolyomi awamu n’ensi eno embi eri mu buyinza bwe. (1 Yokaana 4:4) N’olwekyo, kikulu nnyo okusemberera Yakuwa okuyitira mu kusaba.
OKWAMBALA N’OKWEKOLAKO MU NGERI ESAANIRA
11. Omwoyo gw’ensi guleetedde abantu kwambala mu ngeri ki?
11 Omwoyo gw’ensi gweyolekera nnyo mu nnyambala, mu ngeri omuntu gye yeekolako, ne mu buyonjo bw’omuntu. Mu nsi nnyingi, emitindo gy’enyambala giserebye nnyo ne kiba nti omusajja omu aweereza programu ku ttivi yatuuka n’okugamba nti mu kiseera ekitali kya wala kijja kuba kizibu okwawulawo malaaya n’oyo atali malaaya. N’abawala abatannatuuka mu myaka gya butiini bambala bubi nnyo. Olupapula olumu olw’amawulire lwagamba nti abawala, “bambala engoye ezitasaana eziraga ebitundu eby’omubiri ebitalina kulagibwa.” Ate abantu abalala bambala mu ngeri ey’ekisaazisaazi eyoleka omwoyo gw’obujeemu awamu n’obutessaamu kitiibwa.
12, 13. Misingi ki egikwata ku nnyambala n’okwekolako gye tusaanidde okugoberera?
12 Ffe ng’abaweereza ba Yakuwa twagala okulabika obulungi, era kino kizingiramu okwambala engoye ennyonjo, ezisaanira, era ezituukana n’embeera gye tubaamu. Buli kiseera endabika yaffe yandibadde ‘esaanira era ng’eraga nti tuli beegendereza.’ Kino kikwata ku buli muntu yenna ‘agamba nti atya Katonda,’ k’abe musajja oba mukazi. Kya lwatu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe si kwe kufaayo ennyo ku ndabika yaffe, wabula okufuba ‘okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.’ (1 Timoseewo 2:9, 10; Yuda 21) Mu butuufu, twagala ekyambalo kyaffe ekisingayo okuba ekirungi kibeere ‘omuntu ow’ekyama ow’omu mutima ow’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.’—1 Peetero 3:3, 4.
13 Ate kijjukire nti emisono gy’engoye ze twambala awamu n’engeri gye twekolako birina kye bikola ku ngeri abalala gye batwalamu okusinza okw’amazima. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti “ebisaana,” bwe kikozesebwa ku by’empisa kiba n’amakulu ag’okufaayo ku ndowooza z’abalala. N’olwekyo, tusaanidde okufaayo ku muntu w’omunda ow’abalala. N’ekisinga byonna, twagala okuweesa Yakuwa n’abantu be ekitiibwa era n’okukiraga nti tuli baweereza ba Katonda ‘abakola byonna olw’ekitiibwa kye.’—1 Abakkolinso 4:9; 10:31; 2 Abakkolinso 6:3, 4; 7:1.
14. Ku bikwata ku buyonjo n’endabika yaffe, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
14 Kikulu nnyo okwambala n’okwekolako mu ngeri esaanira era n’okuba abayonjo nga tuli mu buweereza bw’ennimiro ne mu nkuŋŋaana z’ekibiina. N’olwekyo weebuuze: ‘Endabika yange ereetera abantu okuntunuulira ennyo? Yesittaza abalala? Okwambala n’okwekolako nga bwe njagala kye nfaako okusinga okukola enkyukakyuka nsobole okufuna enkizo mu kibiina?’—Zabbuli 68:6; Abafiripi 4:5; 1 Peetero 5:6.
15. Lwaki Ekigambo kya Katonda tekiwa lukalala lw’amateeka agakwata ku nnyambala, okwekolako, n’okweyonja?
15 Bayibuli tewa Bakristaayo lukalala lw’amateeka agakwata ku nnyambala, okwekolako, n’okweyonja. Yakuwa tayagala kutuggyako ddembe lyaffe ery’okwesalirawo oba kutulemesa kukozesa busobozi bwaffe obw’okulowooza. Wabula, ayagala tufuuke abantu abakulu abasobola okusalawo nga basinziira ku misingi egiri mu Bayibuli era ‘abakozeseza obusobozi bwabwe obw’okutegeera ne baawulawo ekituufu n’ekikyamu.’ (Abebbulaniya 5:14) N’ekisinga obukulu, ayagala tulage Katonda ne baliraanwa baffe okwagala. (Soma Makko 12:30, 31.) Nga tugoberera emisingi egiri mu Bayibuli egikwata ku nnyambala, tusobola okwambala era ne twekolako mu ngeri ez’enjawulo ezisaanira. Kino tukirabira ku ngeri abantu ba Yakuwa gye baba bambaddemu mu nkuŋŋaana zaabwe yonna gye baba mu nsi.
OKUBA N’ERIISO ERITUNULA AWAMU
16. Njawulo ki eriwo wakati w’omwoyo gw’ensi n’ebyo Yesu bye yayigiriza, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
16 Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okwerimbalimba ne balowooza nti ssente n’eby’obugagga bye bisobola okubaleetera essanyu. Kyokka Yesu yagamba nti: “Omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.” (Lukka 12:15) Wadde nga Yesu yali tategeeza nti omuntu asaanidde okwerumya, yayigiriza nti abo ‘abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo’ awamu n’abo abalina eriiso ‘eritunula awamu,’ oba abo abeemalidde ku bintu eby’omwoyo, be basobola okufuna obulamu n’essanyu ebya nnamaddala. (Matayo 5:3; 6:22, obugambo obuli wansi) N’olwekyo weebuuze: ‘Ddala nzikiriza ebyo Yesu bye yayigiriza, oba ngoberera endowooza ya “kitaawe w’obulimba”? (Yokaana 8:44) Bye njogera, ebiruubirirwa byange, awamu n’ebyo bye nkulembeza mu bulamu byoleka ki?’—Lukka 6:45; 21:34-36; 2 Yokaana 6.
17. Nokolayo ebimu ku birungi ebifunibwa abo abalina eriiso eritunula awamu.
17 Yesu yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Matayo 11:19) Lowooza ku gimu ku miganyulo abo abalina eriiso eritunula awamu gye bafuna. Bafuna essanyu mu buweereza bwabwe. (Matayo 11:29, 30) Beewala okweraliikirira ekisukkiridde ekiyinza okubamalako emirembe. (Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.) Olw’okuba bamativu n’ebyo bye balina, baba n’ebiseera ebimala okubeerako n’ab’omu maka gaabwe awamu ne Bakristaayo bannaabwe. Ekyo kiyinza okubaviiramu okwebaka obulungi. (Omubuulizi 5:12) Bafuna essanyu erya nnamaddala eriva mu kugaba. (Ebikolwa 20:35) Ate era ‘beeyongera okuba n’essuubi,’ baba bamativu, era baba n’emirembe mu mutima. (Abaruumi 15:13; Matayo 6:31, 32) Ng’ebyo bintu birungi nnyo!
OKWAMBALA “EBY’OKULWANYISA BYONNA”
18. Bayibuli eyogera etya ku mulabe waffe era n’engeri ‘gye tumeggana naye’?
18 Abo abeekuumira mu kwagala kwa Katonda bakuumibwa mu by’omwoyo, Sitaani n’atabalemesa kufuna ssanyu n’obulamu obutaggwaawo. (1 Peetero 5:8) Pawulo yagamba nti: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, naye tumeggana n’obufuzi, n’obuyinza, n’abafuzi b’ensi ab’ekizikiza kino, n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.” (Abeefeso 6:12) Ekigambo ‘okumeggana’ kitegeeza okwambalagana n’omuntu so si kumulwanyisa ng’omwesudde akabanga. Ate era ebigambo “obufuzi,” “obuyinza,” ne ‘abafuzi b’ensi’ biraga nti obulumbaganyi emyoyo emibi bwe gikola ku bantu butegekeddwa bulungi era bulina ekigendererwa.
19. Nnyonnyola eby’okulwanyisa eby’omwoyo Abakristaayo bye basaanidde okwambala.
19 Wadde nga tetutuukiridde era nga n’obusobozi bwaffe buliko ekkomo, tusobola okutuuka ku buwanguzi. Tutya? Nga ‘twambala eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda.’ (Abeefeso 6:13) Abeefeso essuula 6, olunyiriri 14 okutuuka ku 18 woogera ku by’okulwanyisa ebyo. Wagamba nti: “N’olwekyo, mube banywevu, nga mwesibye mu biwato byammwe olukoba olw’amazima, nga mwambadde eky’omu kifuba eky’obutuukirivu, era nga munaanise engatto mu bigere byammwe nga muli beetegefu okubuulira amawulire amalungi ag’emirembe. Ng’oggyeeko ebyo byonna, mukwate engabo ennene ey’okukkiriza ejja okubasobozesa okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi. Era mukkirize enkofiira ey’obulokozi n’ekitala eky’omwoyo, nga kino kye Kigambo kya Katonda. Mu kiseera kye kimu, mweyongere okusaba buli kiseera mu mwoyo, nga muyitira mu kusaba n’okwegayirira okwa buli ngeri.”
20. Embeera gye tulimu eyawukana etya ku y’abajaasi?
20 Okuva bwe kiri nti Katonda ye yatuwa eby’okulwanyisa bino eby’omwoyo, awatali kubuusabuusa bijja kutukuuma singa tubyambala buli kiseera. Okwawukana ku bajaasi abayinza okumala ekiseera ekiwanvu nga tebalwana, Abakristaayo bo ekiseera kyonna baba mu lutalo lwa maanyi olutajja kukoma okutuusa nga Katonda amaze okuzikiriza ensi ya Setaani era n’okusuula emyoyo emibi mu bunnya obutakoma. (Okubikkulirwa 12:17; 20:1-3) N’olwekyo, bw’oba ng’olina obunafu oba okwegomba okubi kw’olwanyisa, tolekulira kubanga ffenna tulina ‘okwebonereza’ tusobole okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.—1 Abakkolinso 9:27.
21. Tuyinza tutya okutuuka ku buwanguzi mu lutalo olw’eby’omwoyo?
21 Okwongereza ku ekyo, olutalo luno tetuyinza kuluwangula mu maanyi gaffe. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo atujjukiza obukulu bw’okusaba Yakuwa ‘buli kiseera.’ Mu kiseera kye kimu, tusaanidde okuwuliriza Yakuwa nga twesomesa Ekigambo kye era nga tukuŋŋaana wamu obutayosa ne ‘basirikale bannaffe, kubanga olutalo luno tetululwana ffekka. (Firemooni 2; Abebbulaniya 10:24, 25) Abo abakola ebintu ebyo byonna bajja kusobola okutuuka ku buwanguzi n’okulwanirira okukkiriza kwabwe nga boolekaganye n’embeera enzibu.
BEERA MWETEGEFU OKULWANIRIRA OKUKKIRIZA KWO
22, 23. (a) Lwaki tusaanidde okubeera abeetegefu ekiseera kyonna okulwanirira okukkiriza kwaffe, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu ssuula eddako?
22 Yesu yagamba nti: “Naye olw’okuba temuli ba nsi, . . . , ensi ky’eva ebakyawa.” (Yokaana 15:19) N’olwekyo Abakristaayo bateekwa okuba abeetegefu buli kiseera okulwanirira okukkiriza kwabwe, era ekyo basaanidde okukikola n’obukkakkamu era mu ngeri eraga nti bassa ekitiibwa mu balala. (Soma 1 Peetero 3:15.) N’olwekyo weebuuze: ‘Ntegeera ensonga lwaki ebiseera ebimu Abajulirwa ba Yakuwa bakola ebintu mu ngeri eyawukana ku y’abalala? Bwe nnesanga mu mbeera ng’eyo, mba mukakafu nti ekyo Bayibuli ky’egamba era n’omuddu omwesigwa by’ayigiriza bye bituufu? (Matayo 24:45; Yokaana 17:17) Ate bwe kituuka ku kukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa, ndi mwetegefu okuba ow’enjawulo, ate n’emba nga nkyenyumiririzaamu?’—Zabbuli 34:2; Matayo 10:32, 33.
23 Kyokka, emirundi mingi Sitaani akozesa engeri enneekusifu ng’agezaako okutulemesa okuba ab’enjawulo ku nsi. Ng’ekyokulabirako, nga bwe kyayogeddwako waggulu, Omulyolyomi ageezaako okutwaliriza abaweereza ba Yakuwa okubazza mu nsi ng’akozesa eby’okwesanyusaamu. Tuyinza tutya okulondawo eby’okwesanyusaamu ebisaanira ebinaatusobozesa okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo? Kino kijja kwogerwako mu ssuula eddako.
a Okuva ku Pentekooti 33 E.E., Kristo abadde aweereza nga Kabaka, ng’afuga ekibiina ky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta abali ku nsi. (Abakkolosaayi 1:13) Mu 1914, Kristo yaweebwa obuyinza ku “bwakabaka bw’ensi.” Bwe kityo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta nabo baweereza ng’ababaka b’Obwakabaka bwa Masiya.—Okubikkulirwa 11:15.
b Laba akatabo Reasoning From the Scriptures akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, empapula 389-393.
c Laba Ebyongerezeddwako, olupapula 212-215.