Abakkolosaayi
1 Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu nga Katonda bwe yayagala, ne Timoseewo+ muganda waffe, 2 mpandiikira abatukuvu era ab’oluganda abeesigwa mu Kristo abali e Kkolosaayi:
Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeere nammwe.
3 Bulijjo twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira, 4 okuva lwe twawulira ku kukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu n’okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna, 5 olw’essuubi eribaterekeddwa mu ggulu.+ Essuubi lino mwaliwulirako dda okuyitira mu bubaka obw’amazima, nga gano ge mawulire amalungi 6 agazze gye muli. Ng’amawulire amalungi bwe gabala ebibala ne geeyongerayongera mu nsi yonna,+ era bwe gakoze mu mmwe, okuva ku lunaku lwe mwawulira era ne mutegeerera ddala ekisa kya Katonda eky’ensusso mu mazima. 7 Ekyo kye mwayigira ku Epafula+ muddu munnaffe omwagalwa, omuweereza wa Kristo omwesigwa ku lwaffe. 8 Era ye yatutegeeza ku kwagala kwammwe okuli obumu n’omwoyo gwa Katonda.*
9 Eyo ye nsonga lwaki okuva ku lunaku lwe twawulira ebyo, tetulekangayo kubasabira+ n’okwegayirira Katonda ku lwammwe musobole okujjuzibwa okumanya okutuufu+ okw’ebyo by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera eby’omwoyo,+ 10 mulyoke musobole okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa* okusobola okumusanyusiza ddala nga mweyongera okubala ebibala mu buli mulimu omulungi era nga mweyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda;+ 11 era okuyitira mu maanyi ge, ajja kubawa amaanyi gonna ge mwetaaga,+ musobole okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu, 12 nga mwebaza Kitaffe eyabasobozesa okuba n’omugabo mu busika bw’abatukuvu+ abali mu kitangaala.
13 Yatuggya mu buyinza bw’ekizikiza+ n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 mu oyo twasumululwa okuyitira mu kinunulo, ekitegeeza nti ebibi byaffe byasonyiyibwa.+ 15 Oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika,+ omubereberye w’ebitonde byonna;+ 16 era okuyitira mu ye ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika,+ ka zibe ntebe za bwakabaka oba bwami oba bufuzi oba buyinza. Ebintu ebirala byonna byatondebwa okuyitira mu ye+ era ku lulwe. 17 Ate era, ye yasooka ebintu byonna,+ era okuyitira mu ye ebintu ebirala byonna byatondebwa, 18 era ye gwe mutwe gw’omubiri, nga kino kye kibiina.+ Oyo ye mubereberye, era eyasooka okuva mu bafu,+ alyoke afuuke omubereberye mu bintu byonna; 19 kubanga Katonda yalaba nga kirungi okuleka ebintu byonna okubeera mu ye mu bujjuvu,+ 20 era okuyitira mu ye addemu okutabaganya ebintu byonna gy’ali+ ng’aleetawo emirembe okuyitira mu musaayi+ gwe yayiwa ku muti ogw’okubonaabona,* ka bibe bintu eby’oku nsi oba eby’omu ggulu.
21 Mazima ddala, edda mwali mweyawudde era nga muli balabe kubanga ebirowoozo byammwe byali ku bikolwa ebibi, 22 naye kaakano azzeemu okutabagana nammwe okuyitira mu mubiri gw’oyo eyeewaayo n’afa, asobole okubanjulayo nga muli batukuvu, nga temuliiko kamogo wadde eky’okunenyezebwa mu maaso ge+— 23 kasita musigala mu kukkiriza,+ nga munyweredde ku musingi,+ nga temusagaasagana,+ era nga temutwalirizibwa kuva ku ssuubi ery’amawulire amalungi ge mwawulira era agaabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.+ Olw’amawulire gano amalungi, nze Pawulo nnafuuka omuweereza.+
24 Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona ku lwammwe,+ era mpulira nga sinnabonaabona mu bujjuvu mu mubiri gwange ku lw’omubiri gwa Kristo,+ nga kye kibiina.+ 25 Nnafuuka omuweereza w’ekibiina kino ng’obuweereza+ bwe buli Katonda bwe yampa ku lwammwe, okubuulira ekigambo kye mu bujjuvu, 26 ekyama ekitukuvu+ ekyakwekebwa okuva ku nteekateeka z’ebintu* ez’edda+ n’okuva mu mirembe egy’edda. Naye kati kimanyisiddwa eri abatukuvu be,+ 27 abo Katonda b’ayagadde okumanyisa mu mawanga eby’obugagga eby’ekitiibwa eby’ekyama ekitukuvu.+ Ekyama ekyo ye Kristo ali obumu nammwe, ekitegeeza nti musuubira okugulumizibwa awamu naye.+ 28 Oyo gwe tubuulira nga tulabula era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke tuleete eri Katonda buli muntu nga taliiko ky’abulako mu Kristo.+ 29 N’olw’ensonga eyo, nkola nnyo era nfuba olw’amaanyi ge agakolera mu nze.+