ESSUULA 24
Tewali Kiyinza “Kutwawukanya na Kwagala kwa Katonda”
1. Nneewulira ki emalamu amaanyi abantu bangi gye balina nga mw’otwalidde n’Abakristaayo abamu ab’amazima?
DDALA Yakuwa Katonda akwagala ng’omuntu kinnoomu? Abamu bakkiriza nti Katonda ayagala abantu bonna, nga Yokaana 3:16 bwe lugamba. Kyokka, bagamba: ‘Katonda tayinza kunjagala nze ng’omuntu kinnoomu.’ N’Abakristaayo ab’amazima emirundi egimu bayinza okubuusabuusa mu ngeri eyo. Omusajja omu eyali aweddemu amaanyi yagamba: “Kinzibuwalira okukkiriza nti Katonda anfaako.” Emirundi egimu naawe obeera n’endowooza ng’eyo?
2, 3. Ani ayagala tulowooze nti tetulina mugaso oba nti Yakuwa tatwagala, era tuyinza tutya okuvvuunuka endowooza eyo?
2 Setaani ayagala tulowooze nti Yakuwa Katonda tatwagala era nti tatutwala nga tuli ba muwendo. Kyo kituufu nti emirundi mingi Setaani asendasenda abantu ng’akozesa obunafu bwabwe, gamba ng’okwerowoozaako n’amalala. (2 Abakkolinso 11:3) Naye era aleetera abantu okulowooza nti tebalina mugaso. (Yokaana 7:47-49; 8:13, 44) Kino bwe kiri, naddala mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’ Bangi leero baakulira mu maka omutali ‘kwagalana.’ Abalala, buli kiseera boolekagana n’abantu abakambwe, abeefaako bokka, era abakakanyavu. (2 Timoseewo 3:1-5) Olw’okuba abamu bamaze ekiseera kiwanvu nga bayisibwa bubi oba nga basosolwa, kiyinza okubaleetera okulowooza nti tebalina mugaso oba nti tewali n’omu ayinza kubaagala.
3 Bw’oba olina enneewulira ng’ezo embi, toggwaamu maanyi. Emirundi egimu bangi ku ffe tuba n’enneewulira ng’eyo. Naye, jjukira nti Ekigambo kya Katonda kisobola ‘okutereeza’ ensonga ‘n’okusiguukulula endowooza ezaasimba edda amakanda.’ (2 Timoseewo 3:16; 2 Abakkolinso 10:4, NW) Baibuli egamba: ‘Tukakasa omutima gwaffe mu maaso ge, mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna.’ (1 Yokaana 3:19, 20) Ka twekenneenye engeri nnya, Ebyawandiikibwa mwe bituyambira ‘okukakasa emitima gyaffe’ nti Yakuwa atwagala.
Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo
4, 5. Ekyokulabirako kya Yesu ekikwata ku nkazaluggya kiraga kitya nti tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda?
4 Okusooka, Baibuli eyigiriza nti Katonda atwala buli muweereza we okuba ow’omuwendo. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba: “Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? [Naye] tewaliba n’emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna. Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29-31) Lowooza ebigambo ebyo kye byategeeza eri abaali bawuliriza Yesu mu kyasa ekyasooka.
5 Tuyinza okwebuuza ensonga lwaki omuntu yenna yandiguze enkazaluggya. Mu kiseera kya Yesu, enkazaluggya ye yali esinga okuba ey’ebbeeyi entono mu binyonyi ebiriibwa ebyatundibwanga. Weetegereze nti eppeesa emu yasobolanga okugula enkazaluggya bbiri. Naye, oluvannyuma Yesu yagamba nti omuntu eyalina eppeesa bbiri, yandisobodde okugula enkazaluggya ttaano so si nnya. Ekinyonyi eky’okutaano kyagattibwako nga gy’obeera tekirina muwendo gwonna. Oboolyawo ebinyonyi ng’ebyo tebyali bya muwendo mu maaso g’abantu, naye ye Omutonzi yabitwala atya? Yesu yagamba: “Naye tewali n’emu ku zo [wadde eyo eyagattibwako] eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.” (Lukka 12:6, 7) Kati tuyinza okutandika okutegeera ensonga Yesu gye yali ayogerako. Bwe kiba nti Yakuwa atwala enkazaluggya emu okuba ey’omuwendo ennyo, omuntu si wa muwendo nnyo n’okusingawo! Nga Yesu bwe yannyonnyola, Yakuwa amanyi byonna ebitukwatako. N’enviiri ez’oku mutwe gwaffe zaabalibwa zonna!
6. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu yali tasavuwaza bwe yagamba nti enviiri zaffe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna?
6 Enviiri zaffe zaabalibwa? Abamu bayinza okulowooza nti wano Yesu yali asavuwaza. Kyokka, lowooza ku ssuubi ly’okuzuukira. Nga Yakuwa ateekwa okuba nga atumanyi bulungi nnyo okusobola okuddamu okututonda! Atutwala nga tuli ba muwendo nnyo ne kiba nti amanyi kalonda yenna atukwatako, nga mw’otwalidde n’ebiwandiiko byaffe eby’ensikirano, era ne byonna bye twali tulowooza n’ebyatutuukako mu bulamu bwaffe bwonna.a N’olwekyo, okubala enviiri zaffe, ng’omutwe ogumu gubaako enviiri nga 100,000, kiba kintu kyangu nnyo ddala.
Kiki eky’Omuwendo Yakuwa ky’Atulabamu?
7, 8. (a) Ngeri ki Yakuwa z’asanyukira okulaba ng’akebera emitima gy’abantu? (b) Bikolwa ki ebimu bye twenyigiramu Yakuwa by’atwala nga bya muwendo?
7 Eky’okubiri, Baibuli etulaga ekyo Yakuwa ky’atwala ng’eky’omuwendo mu baweereza be. Mu ngeri endala, asanyukira engeri zaffe ennungi n’engeri gye tufubamu. Kabaka Dawudi yagamba mutabani we Sulemaani: “Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw’ebirowoozo.” (1 Ebyomumirembe 28:9) Nga Katonda akebera obuwumbi n’obuwumbi bw’emitima gy’abantu mu nsi eno ejjudde ettemu n’obukyayi, ng’ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo bw’alaba omutima ogwagala emirembe, amazima n’obutuukirivu! Kiki ekibaawo Katonda bw’alaba omutima ogumwagala ennyo, ogwagala okuyiga ebimukwatako n’okubibuulira abalala? Yakuwa atugamba nti yeetegereza abo ababuulira abalala ebimukwatako. Era alina “ekitabo eky’okujjukiza” eky’abo bonna “aba[mu]tya ne balowooza erinnya lye.” (Malaki 3:16) Engeri ng’ezo za muwendo gy’ali.
8 Bikolwa ki ebirungi Yakuwa by’atwala nga bya muwendo? Okufuba okukoppa Omwana we, Yesu Kristo, akutwala nga kwa muwendo. (1 Peetero 2:21) Omulimu ogumu omukulu ennyo Katonda gw’atwala ng’ogw’omuwendo, kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Mu Abaruumi 10:15, tusoma: ‘Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira amawulire amalungi!’ Tuyinza obutalowooza ku bigere byaffe okuba ‘ebirungi.’ Naye wano, bikiikirira okufuba kw’abaweereza ba Yakuwa mu kubuulira amawulire amalungi. Okufuba ng’okwo, kulungi era kwa muwendo mu maaso ge.—Matayo 24:14; 28:19, 20.
9, 10. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti obugumiikiriza bwaffe Yakuwa abutwala nga bwa muwendo? (b) Yakuwa talina ndowooza ki ku baweereza be abeesigwa?
9 Era, obugumiikiriza bwaffe Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. (Matayo 24:13) Jjukira nti Setaani ayagala ove ku Yakuwa. Buli lunaku lw’obeera omwesigwa eri Yakuwa, oba oyambye Yakuwa okwanukula eby’obulimba Setaani bye yayogera. (Engero 27:11) Emirundi egimu si kyangu okubeera abagumiikiriza. Obulwadde, ebizibu mu by’enfuna, okulumizibwa mu nneewulira ey’omunda n’ebizibu ebirala biyinza okukugezesa buli lunaku. Essuubi erirwawo okutuukirira nalyo liyinza okukumalamu amaanyi. (Engero 13:12) Okugumiikiriza ng’oyolekaganye n’ebizibu ng’ebyo kwa muwendo nnyo eri Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Kabaka Dawudi yasaba Yakuwa okuteeka amaziga ge mu ‘kasumbi,’ era n’agattako: “Tegaawandiikibwa mu kitabo kyo?” (Zabbuli 56:8) Yee, Yakuwa ajjukira amaziga gaffe n’engeri gye tubonaabonamu nga tugezesebwa era n’abitwala nga bya muwendo.
10 Omutima ogwenyooma guyinza okugaana obujulizi obwo obulaga nti tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda. Guyinza okutugamba: ‘Waliwo abalala bangi abataddewo ekyokulabirako ekisinga ekyange obulungi. Yakuwa ateekwa okuba nga tasanyuka bw’angeraageranya nabo!’ Yakuwa tageraageranya mu ngeri eyo; si mukakanyavu era si mukambwe. (Abaggalatiya 6:4) Akebera bulungi emitima gyaffe, era n’asiima ebirungi ebigirimu, wadde nga bitono bitya.
Yakuwa Atunoonyamu Ebirungi
11. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Yakuwa ku ngeri gye yakwatamu ensonga ya Abiya?
11 Eky’okusatu, Yakuwa bw’aba atukebera, atunoonyamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yawa ekiragiro ky’okuzikiriza olulyo olufuzi olwa Kabaka Yerobowaamu, yalagira nti, Abiya omu ku batabani ba Yerobowaamu aziikibwe bulungi. Lwaki? “Kubanga mu ye mulabise ekigambo ekirungi eri Mukama Katonda wa Isiraeri.” (1 Bassekabaka 14:1, 10-13) Bwe kityo, Yakuwa yakebera omutima gw’omuvubuka oyo era n’alabamu “ekigambo ekirungi.” Ka kibe nti ekirungi ekyo kyali kitono kitya, Yakuwa yalaba nti kisaanira okuteekebwa mu Kigambo kye. Era yasasula Abiya, ng’amulaga obusaasizi mu nnyumba enjeemu.
12, 13. (a) Ekyatuuka ku Kabaka Yekosofaati kiraga kitya nti Yakuwa anoonya birungi mu ffe wadde nga tusobezza? (b) Bwe kituuka ku bikolwa byaffe ebirungi n’engeri zaffe, Yakuwa yeeyisa atya ng’omuzadde ayagala abaana be?
12 Ekyokulabirako kya Kabaka Yekosofaati kisingawo n’obulungi. Kabaka bwe yakola ekintu eky’obusiru, nnabbi wa Yakuwa yamugamba: ‘Mukama akusunguwalidde.’ Ng’ebigambo ebyo byali byeraliikiriza! Naye obubaka bwa Yakuwa tebwakoma awo. Bweyongera: “Naye mu ggwe mulabise ebirungi.” (2 Ebyomumirembe 19:1-3) N’olwekyo, wadde Yakuwa yali asunguwadde, teyeerabira birungi Yekosofaati bye yakola. Ekyo nga kya njawulo nnyo okuva ku bantu abatatuukiridde! Abalala bwe batunyiiza, tuyinza okwerabira engeri ennungi ze balina. Era bwe twonoona, tuyinza okuggwaamu amaanyi, ne tuswala, era ne tulumirizibwa omusango, ekyo ne kituviirako obutalaba engeri ennungi ze tulina. Kyokka, jjukira nti singa twenenya ebibi byaffe, ne tufuba obutabiddamu, Yakuwa atusonyiwa.
13 Yakuwa bw’aba akukebera, asuula eri ebibi ng’ebyo, ng’omuntu anoonya zaabu bw’asuula eri amayinja agatali ga muwendo. Ate kiri kitya eri engeri zo ennungi n’ebikolwa byo ebirungi? Ago ge mayinja ‘ag’omuwendo’ g’asigaza! Wali weetegerezza engeri abazadde abaagala abaana baabwe gye basiimamu ebifaananyi abaana baabwe bye bakubye oba ebyo ebibaweereddwa okukola ku ssomero, emirundi egimu nga wayiseewo n’ekiseera kiwanvu, nga n’abaana baabwe babyerabidde? Yakuwa ye muzadde asingayo okwagala abaana be. Kasita tusigala nga tuli beesigwa gy’ali, tayinza kwerabira ngeri zaffe ennungi n’ebikolwa byaffe ebirungi. Mu butuufu yandikitutte ng’ekikolwa eky’obutali butuukirivu okubyerabira, naye ye mutuukirivu. (Abebbulaniya 6:10) Era atukebera ne mu ngeri endala.
14, 15. (a) Lwaki obutali butuukirivu bwaffe tebwerabiza Yakuwa ngeri nnungi ze tulina? Waayo ekyokulabirako. (b) Yakuwa akola ki bw’atulabamu engeri ennungi, era abantu be abeesigwa abatunuulira atya?
14 Yakuwa tatunuulira butali butuukirivu bwaffe, wabula obusobozi bwaffe obw’okukola ebirungi. Okuwaayo ekyokulabirako: Abantu abaagala ennyo ebifaananyi ebisiige oba ebintu ebirala eby’ekikugu, bakola kyonna ekisoboka okuddaabiriza ebiba byonoonese. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ekiyitibwa National Gallery, ekiri mu Bungereza mu kibuga London, omwolesebwa ebifaananyi ebisiige n’ebintu ebirala eby’ekikugu, omuntu omu yayonoona ekifaananyi kya Leonardo da Vinci ekyali kibalirirwamu obukadde bwa doola 30. Kyokka, tewali n’omu yagamba nti kisuulibwe okuva bwe kyali kyonoonese. Baatandikirawo okuddaabiriza ekifaananyi ekyo ekyali kyakamala emyaka nga 500. Lwaki? Kubanga kyali kya muwendo eri abaagazi b’ebifaananyi ebisiige. Toli wa muwendo nnyo okusinga n’ekifaananyi ng’ekyo? Mazima ddala mu maaso ga Katonda oli wa muwendo nnyo, k’obe ng’oyonooneddwa otya ekibi ekisikire. (Zabbuli 72:12-14) Yakuwa Katonda, Omutonzi w’abantu omukugu, ajja kukola kyonna ekyetaagisa okufuula abantu bonna abamwagala abatuukirivu.—Ebikolwa 3:21; Abaruumi 8:20-22.
15 Yee, Yakuwa atulabamu ebirungi ffe bye tutayinza kulaba. Era, bwe tumuweereza, ajja kutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi ze tulina okutuusa lwe tulifuuka abatuukiridde. Ensi ya Setaani k’ebe ng’etuyisizza etya, Yakuwa atwala abaweereza be abeesigwa nga ba muwendo.—Kaggayi 2:7.
Yakuwa Ayoleka Okwagala Kwe
16. Kiki ekisinga okulaga nti Yakuwa atwagala, era tumanya tutya nti ekirabo kino yakituwa ffe ffenyini?
16 Eky’okuna, Yakuwa alina by’akola okulaga nti atwagala. Mazima ddala, ekinunulo kya ssaddaaka ya Kristo kye kisinga okulaga nti Setaani by’ayogera nti tetulina mugaso oba nti tetuyinza kwagalibwa, bya bulimba. Tetwerabiranga nti obulumi Yesu bwe yayitamu ng’attibwa era n’obulumi obusingawo, Yakuwa bwe yalina ng’alaba Omwana we omwagalwa ng’afa, bikakasa nti batwagala. Eky’ennaku, bangi kibazibuwalira okukkiriza nti ekirabo ekyo kyali kyabwe bo bennyini. Bawulira nga tebasaanira. Kyokka, jjukira nti omutume Pawulo yayigganya nnyo abagoberezi ba Kristo. Kyokka, yawandiika: ‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’—Abaggalatiya 1:13; 2:20.
17. Yakuwa ayitira mu ki okutusembeza gy’ali n’eri Omwana we?
17 Yakuwa alaga nti atwagala ng’atuyamba kinnoomu okuganyulwa mu ssaddaaka ya Kristo. Yesu yagamba: “Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamuwalula [“bw’atamusembeza,” NW].” (Yokaana 6:44) Yee, Yakuwa kennyini atusembeza eri Omwana we n’eri essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Mu ngeri ki? Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira, ogutuganyula kinnoomu, n’okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, gw’akozesa okutuyamba okutegeera n’okussa mu nkola amazima ge tuyiga wadde nga tetutuukiridde. Bwe kityo, Yakuwa ayinza okutwogerako nga bwe yayogera ku Isiraeri: “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo: kyenvudde nkuwalula [“nkusembeza,” NW] n’ekisa.”—Yeremiya 31:3.
18, 19. (a) Ngeri ki Yakuwa mw’asingira okutulaga okwagala, era kiki ekiraga nti atufaako kinnoomu? (b) Ekigambo kya Katonda kitukakasa kitya nti Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe?
18 Oboolyawo tulaba okwagala kwa Yakuwa mu ngeri esingayo, okuyitira mu kusaba. Baibuli ekubiriza buli omu ku ffe ‘okusabanga Katonda obutayosa.’ (1 Abasessalonika 5:17) Atuwuliriza. Era ayitibwa ‘Awulira okusaba.’ (Zabbuli 65:2) Obuvunaanyizibwa bw’okuwuliriza okusaba tabuwadde muntu mulala yenna, wadde Omwana we. Kirowoozeeko: Omutonzi w’obutonde bwonna atukubiriza okumutuukirira mu kusaba, awatali kutya. Muwuliriza wa kika ki? Talaga mukwano, tafaayo? Nedda, tali bw’atyo.
19 Yakuwa alumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala kye ki? Omukristaayo omu omwesigwa omukulu mu myaka yagamba: “Okulumirirwa omuntu bwe bulumi bwe mu mutima gwange.” Mazima ddala, Yakuwa akwatibwako obulumi bwaffe? Tusoma bwe tuti ku kubonaabona kw’abantu be Abaisiraeri: “Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna.” (Isaaya 63:9) Yakuwa teyakoma ku kulaba nnaku yaabwe kyokka naye era yalumirirwa abantu be. Engeri gy’awuliramu eragibwa mu bye yayogera eri abaweereza be: “Abakomako mmwe akoma ku mmunye y’eriiso lyange.”b (Zekkaliya 2:8, NW) Ekyo nga kyandireese obulumi bwa maanyi! Yee, Yakuwa atulumirirwa. Bwe tulumwa naye alumwa.
20. Ndowooza ki etali nnuŋŋamu gye tuteekwa okwewala bwe tuba ab’okugoberera okubuulirira okuli mu Abaruumi 12:3?
20 Tewali Mukristaayo yenna alina ndowooza nnuŋŋamu eyanditutte obujulizi obwo obulaga nti Katonda ayagala abaweereza be era nti abatwala nga ba muwendo ng’ekyekwaso eky’okulowooza nti wa kitalo nnyo. Omutume Pawulo yawandiika: “Njogera, olw’ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.” (Abaruumi 12:3) Enkyusa endala egamba: “Ŋŋamba buli omu ku mmwe obuteerowoozaako ekiyitiridde, naye okwerowoozaako mu ngeri ey’ekigero.” (A Translation in the Language of the People by Charles B. Williams) N’olwekyo, wadde nga twagalibwa Kitaffe ow’omu ggulu, tubeere n’endowooza ennuŋŋamu era tujjukire nti okwagala kwa Katonda tekutusaanira.—Lukka 17:10.
21. Bulimba ki obwa Setaani bwe tuteekwa okwesamba, era mazima ki agandyongedde okukakasa emitima gyaffe?
21 Ka buli omu ku ffe akole kyonna ky’asobola okwesamba obulimba bwa Setaani bwonna, nga mw’otwalidde n’obwo nti tetulina mugaso era nti tetwagalibwa. By’oyiseemu mu bulamu bwe biba bikuleetedde okwerowoozaako ng’atasaanira kwagala kwa Katonda, oba nti ebikolwa byo ebirungi si bikulu ne kiba nti Katonda tabiraba, oba nti ebibi byo bingi nnyo ne kiba nti n’okufa kw’Omwana we ow’omuwendo tekuyinza kukuleetera kusonyiyibwa, olimbiddwa. Weesambe obulimba obwo n’omutima gwo gwonna! Tweyongere okukakasa emitima gyaffe n’ebigambo bya Pawulo ebyaluŋŋamizibwa: “Ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Abaruumi 8:38, 39.
a Enfunda n’enfunda Baibuli ekwataganya essuubi ly’okuzuukira n’ebyo Yakuwa by’ajjukira. Yobu omusajja omwesigwa yagamba Yakuwa: ‘Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira!’ (Yobu 14:13) Yesu yayogera ku kuzuukira ‘kw’abo abali mu ntaana.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa entaana mu Yokaana 5:28, kiri mnemeion era kirina akakwate n’ekigambo ky’Olulatini monumentum, omuggibwa ekigambo ekijjukizo.
b Enkyusa ezimu wano zigamba nti akwata ku bantu ba Katonda, aba takwata ku mmunye y’eriiso lya Katonda, wabula ey’eriiso lye oba erya Isiraeri. Ensobi eno yajjawo abawandiisi abamu bwe baalowooza nti ebigambo ebyo si bituufu era bwe kityo ne babikyusaamu. Endowooza yaabwe enkyamu, teyaggyayo makulu agalaga nti Yakuwa atulumirirwa nnyo.