Abaruumi
8 N’olwekyo, abo abali obumu ne Kristo Yesu tebaliiko musango. 2 Kubanga etteeka ly’omwoyo oguwa obulamu okuyitira mu Kristo Yesu libafudde ba ddembe+ okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa. 3 Ekyo Amateeka kye gaalemererwa okukola+ olw’okuba gaali manafu+ olw’obutali butuukirivu bw’abantu,* Katonda yakikola ng’atuma Omwana we+ mu kifaananyi eky’omubiri omwonoonyi+ asobole okuggyawo ekibi. Bw’atyo n’asalira omusango ekibi ekiri mu mubiri, 4 ebintu eby’obutuukirivu Amateeka bye geetaagisa bisobole okutuukirizibwa mu ffe+ abatagoberera mubiri wabula omwoyo.+ 5 Abo abagoberera omubiri balowooza bya mubiri,+ naye abo abagoberera omwoyo balowooza bya mwoyo.+ 6 Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa,+ naye okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe;+ 7 kubanga okulowooza eby’omubiri kireetera omuntu okuba omulabe wa Katonda,+ olw’okuba omubiri tegufugibwa mateeka ga Katonda, era mu butuufu teguyinza kubeera wansi waago. 8 N’olwekyo, abo abagoberera omubiri tebasobola kusanyusa Katonda.
9 Kyokka omwoyo gwa Katonda bwe guba nga ddala guli mu mmwe, muba mugoberera mwoyo+ so si mubiri. Naye omuntu yenna bw’ataba na mwoyo gwa Kristo taba wa Kristo. 10 Naye bwe muba nga muli bumu ne Kristo,+ omubiri mufu olw’ekibi, naye omwoyo guwa obulamu olw’obutuukirivu. 11 Bwe kiba nti omwoyo gw’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu guli mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu okuva mu bafu+ era ajja kuwa emibiri gyammwe egifa obulamu+ okuyitira mu mwoyo gwe oguli mu mmwe.
12 N’olwekyo ab’oluganda, tetusaanidde kukkiriza mibiri gyaffe kutufuga ne tukola bye gyagala;+ 13 bwe mugoberera omubiri mujja kufa, naye bwe mufiisa ebikolwa by’omubiri+ okuyitira mu mwoyo mujja kuba balamu.+ 14 Kubanga bonna abakulemberwa omwoyo gwa Katonda baana ba Katonda.+ 15 Kubanga temwaweebwa mwoyo gwa buddu oguleeta okutya nate, naye mwaweebwa omwoyo ogw’okubafuula abaana, era olw’omwoyo ogwo twogerera waggulu nti, “Abba!”*+ 16 Omwoyo gwa Katonda guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe+ nti tuli baana ba Katonda.+ 17 Kale okuva bwe tuli abaana, era tuli basika—tufuna obusika okuva eri Katonda, era tusikira wamu+ ne Kristo—bwe tubonaabonera awamu+ ne Kristo tujja kugulumizibwa wamu naye.+
18 N’olwekyo, ndaba nti okubonaabona okw’omu kiseera kino kutono nnyo bw’okugeraageranya n’ekitiibwa ekigenda okweyolekera mu ffe.+ 19 Kubanga ebitonde byesunga nnyo nga birindirira okubikkulwa kw’abaana ba Katonda.+ 20 Kubanga ebitonde byalekebwa okufugibwa obutaliimu,+ naye si lwa kwagala kwabyo wabula okw’oyo eyabireka okufugibwa obutaliimu, naye mu kiseera kye kimu ne biweebwa essuubi lino, 21 nti bijja kusumululwa+ okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda. 22 Tukimanyi nti n’okutuusa kati ebitonde byonna bisindira wamu era birumwa. 23 Si ekyo kyokka, naye era naffe abalina ebibala ebibereberye, nga guno gwe mwoyo, tusinda munda yaffe,+ nga tulindirira okufuulibwa abaana,+ nga tulindirira okusumululwa mu mibiri gyaffe okuyitira mu kinunulo. 24 Kubanga twalokolebwa nga tulina essuubi lino; naye ekisuubirwa bwe kiba nga kirabwako, kiba tekikyasuubirwa. Kubanga omuntu ayinza atya okusuubira ekintu ky’alabako? 25 Bwe tusuubira+ kye tutalabako,+ tukirindirira n’obugumiikiriza.+
26 Omwoyo nagwo gutuyamba mu bunafu bwaffe;+ ebiseera ebimu tuba tetumanyi kye tulina kusaba, naye mu biseera ng’ebyo, nga tetulina bigambo bye tusobola kukozesa kwogera bituluma, omwoyo gwa Katonda gutuyamba. 27 Oyo akebera emitima+ amanyi omwoyo kye guba gutegeeza, kubanga gwegayirira ku lw’abatukuvu nga Katonda bw’ayagala.
28 Tumanyi nti Katonda akwataganya emirimu gye gyonna ku lw’obulungi bw’abo abamwagala, abo abaayitibwa ng’ekigendererwa kye bwe kiri;+ 29 kubanga abo be yasooka okufaako yabalonda dda basobole okubeera mu kifaananyi ky’Omwana we;+ Omwana we alyoke abeere omubereberye+ mu b’oluganda abangi.+ 30 Ate era, abo be yalonda edda+ beebo be yayita;+ era abo be yayita yabatwala ng’abatuukirivu.+ Ate abo be yatwala ng’abatuukirivu beebo be yagulumiza.+
31 Kati olwo tunaayogera ki ku bintu bino? Katonda bw’aba ku ludda lwaffe, ani ayinza okutulwanyisa?+ 32 Bw’aba nga teyalemwa kuwaayo Mwana we ku lwaffe ffenna,+ taatuwe ebintu ebirala byonna, ng’ali wamu n’omwana we? 33 Ani anaavunaana abalonde ba Katonda omusango?+ Katonda y’abayita abatuukirivu.+ 34 Ani anaabasingisa omusango? Tewali n’omu, kubanga Kristo Yesu yafa n’azuukira mu bafu, ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ era atwegayiririra.+
35 Ani anaatwawukanya ku kwagala kwa Kristo?+ Kubonaabona, kulumwa, kuyigganyizibwa, njala, butaba na kya kwambala, kabi, oba kitala?+ 36 Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ku lulwo tuttibwa okuzibya obudde, tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.”+ 37 Kyokka mu bintu bino byonna tuwangula+ okuyitira mu oyo eyatwagala. 38 Ndi mukakafu nti ka kube kufa, oba bulamu, oba bamalayika, oba bufuzi, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, oba maanyi,+ 39 oba bugulumivu, oba buziba, oba ekitonde ekirala kyonna, tewali kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.