Okubudaabuda Okwa Nnamaddala Kuyinza Kusangibwa Wa?
“Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo . . . atusanyusa [“atubudaabuda,” “NW”] mu buli kibonoobono kyaffe.”—2 ABAKKOLINSO 1:3, 4.
1. Mbeera ki eziyinza okuleetera abantu okuwulira nti beetaaga okubudaabudibwa?
OBULWADDE obw’amaanyi ennyo buyinza okuleetera omuntu okuwulira nti obulamu bwe bukomye. Musisi, embuyaga ez’amaanyi, n’enjala biyinza okuleka abantu nga beerya nkuta. Entalo ziyinza okuviirako ab’omu maka okufa, okusaanyawo ennyumba z’abantu, oba okubaleetera okudduka ne baleka ebintu byabwe. Obutali bwenkanya buyinza okuleetera abantu okuwulira nti tewali kifo gye bayinza kufuna buweerero. Abali mu mbeera ng’ezo baba beetaaga nnyo okubudaabudibwa. Bayinza kukusanga wa?
2. Lwaki engeri Yakuwa gy’abudaabudamu ya njawulo nnyo?
2 Abantu abamu kinnoomu n’ebibiina ebiwa obuyambi bafuba okubudaabuda abali mu bwetaavu. Ebigambo eby’ekisa bisiimibwa nnyo. Obuyambi obw’ebintu buyamba okukola ku byetaago eby’amangu. Kyokka, Yakuwa Katonda ow’amazima yekka y’asobola okumalawo ebizibu byonna era n’awa obuyambi obwetaagibwa ne kiba nti embeera embi ng’ezo teziddamu kubaawo nate. Baibuli emwogerako bw’eti: “Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna; atubudaabuda mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okubudaabuda abali mu kubonaabona kwonna, n’okubudaabudibwa ffe kwe tubudaabudibwa Katonda.” (2 Abakkolinso 1:3, 4, NW) Yakuwa atubudaabuda atya?
Okutuuka ku Nsibuko y’Ebizibu
3. Engeri Katonda gy’abudaabudamu etuuka etya ku nsibuko y’ebizibu by’abantu?
3 Abantu bonna baasikira obutali butuukirivu olw’ekibi kya Adamu, era ekyo kivaamu ebizibu bingi nnyo mu nkomerero ebireeta okufa. (Abaruumi 5:12) Embeera yeeyongera okuzibuwala n’okusingawo olw’okuba Setaani Omulyolyomi ye ‘mufuzi w’ensi eno.’ (Yokaana 12:31; 1 Yokaana 5:19) Yakuwa teyakoma ku kunakuwala bunakuwazi olw’embeera embi abantu gye baalimu. Yatuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo okutununula, era n’atugamba nti tuyinza okufuna obuweerero okuva mu kibi kya Adamu singa tukkiriza Omwana we. (Yokaana 3:16; 1 Yokaana 4:10) Katonda era yalagula nti Yesu Kristo, eyaweebwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi, yali wa kuzikiriza Setaani n’enteekateeka ye embi.—Matayo 28:18; 1 Yokaana 3:8; Okubikkulirwa 6:2; 20:10.
4. (a) Kiki Yakuwa ky’atuwadde okunyweza obwesige bwaffe mu bisuubizo bye eby’okutuwa obuweerero? (b) Yakuwa atuyamba atya okutegeera ddi obuweerero lwe bulijja?
4 Okusobola okunyweza obwesige bwaffe mu bisuubizo bye, Katonda atuwadde obujulizi bungi obulaga nti buli ky’alagula kituukirira. (Yoswa 23:14) Yawandiisa mu Baibuli engeri gye yanunulamu abaweereza be mu mbeera ezandirabise ng’enzibu ennyo okusinziira ku ndaba y’omuntu. (Okuva 14:4-31; 2 Bassekabaka 18:13–19:37) Era, okuyitira mu Yesu Kristo, Yakuwa yalaga nti ekigendererwa kye kizingiramu okuwonya abantu ‘abalina buli bulwadde,’ nga mw’otwalidde n’okuzuukiza abafu. (Matayo 9:35; 11:3-6) Bino byonna binaabaawo ddi? Mu kuddamu ekibuuzo ekyo, Baibuli eyogera ku nnaku ez’oluvannyuma ez’embeera y’ebintu eno enkadde ezisooka okubaawo oluvannyuma ne waddawo eggulu eriggya n’ensi empya. Ebyo Yesu bye yayogera bituukagana n’ebiseera bye tulimu kati.—Matayo 24:3-14; 2 Timoseewo 3:1-5.
Okubudaabuda Abantu Abali mu Nnaku
5. Bwe yali abudaabuda Isiraeri ey’edda, Yakuwa yabajjukiza ki?
5 Okusinziira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri ey’edda, tulaba engeri gye yababudaabudamu mu biseera eby’ennaku. Yabajjukiza ebikolwa bye. Kino kyanyweza obwesige bwabwe mu bisuubizo bye. Yakuwa yakozesa bannabbi be okulaga enjawulo eyaliwo wakati we nga Katonda ow’amazima era omulamu n’ebifaananyi ebyali bitayinza kweyamba wadde okuyamba ababisinza. (Isaaya 41:10; 46:1; Yeremiya 10:2-15) Bwe yali abuulira Isaaya, ‘Budaabuda, budaabuda abantu bange,’ Yakuwa yakubiriza nnabbi we okukozesa ebyokulabirako ebikwata ku mirimu gye egy’obutonzi okusobola okuggumiza obukulu bwe nga Katonda omu ow’amazima.—Isaaya 40:1-31.
6. Emirundi egimu biki Yakuwa bye yayogera okulaga ekiseera okununulibwa lwe kwandibaddewo?
6 Emirundi egimu, Yakuwa yabudaabuda abantu be ng’abawa ebiseera ebikakafu we yandibanunulidde, ka bibe nga byali bya wala, oba nga bya kumpi. Okununulibwa okuva mu Misiri bwe kwasembera, yagamba Abaisiraeri abaali banyigirizibwa: “Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu.” (Okuva 11:1) Amawanga asatu ag’omukago bwe gaalumba Yuda mu kiseera kya Kabaka Yekosofaati, Yakuwa yabagamba nti yandibalwaniridde ‘enkeera.’ (2 Ebyomumirembe 20:1-4, 14-17) Ku luuyi olulala, okununulibwa kwabwe okuva mu Babulooni, kwalagulwa Isaaya kumpi emyaka 200 ng’ekiseera tekinnaba, era ebirala ebikwata ku kununulibwa okwo byategeezebwa okuyitira mu Yeremiya kumpi emyaka 100, nga tekunnabaawo. Ng’obunnabbi obwo bwazzaamu nnyo amaanyi abaweereza ba Katonda ekiseera ky’okununulibwa bwe kyagenda kisembera!—Isaaya 44:26–45:3; Yeremiya 25:11-14.
7. Ebisuubizo eby’okununulibwa byayogeranga ku ki, era ekyo kyakwata kitya ku bantu abeesigwa mu Isiraeri?
7 Kyetegereze nti ebisuubizo ebyabudaabuda abantu ba Katonda emirundi mingi byayogeranga ku Masiya. (Isaaya 53:1-12) Ebisuubizo ebyo byawa essuubi abantu abeesigwa nga boolekaganye n’ebigezo ebitali bimu. Mu Lukka 2:25, tusoma: “Laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng’alindirira okusanyusibwa [oba okubudaabudibwa; okujja kwa Masiya eri] Isiraeri: era Omwoyo omutukuvu yali ku ye.” Simyoni yali amanyi essuubi eryali mu Byawandiikibwa erikwata ku Masiya, era okutuukirizibwa kwalyo kulina kye kwakola ku bulamu bwe. Yali tamanyi ngeri gye lyandituukiriziddwamu, era ye kennyini teyalaba kulokolebwa okwalagulwa, naye yasanyuka bwe yategeera Oyo Katonda gwe yandikozesezza ‘okulokola abantu.’—Lukka 2:30.
Okubudaabudibwa Okuyitira mu Kristo
8. Obuyambi Yesu bwe yawa bwawukana butya ku ebyo abantu bangi bye baalowooza nti beetaaga?
8 Nga Yesu Kristo atuukiriza obuweereza bwe ku nsi, teyawanga bantu buyambi bo bwe baalowoozanga nti bwe beetaaga. Abamu beesunga Masiya eyandibanunudde okuva mu bufuzi bwa Rooma. Kyokka, Yesu teyasemba bwewaguzi; yabagamba ‘okusasula Kayisaali ebya Kayisaali.’ (Matayo 22:21) Ekigendererwa kya Katonda kyazingiramu ekisingawo ku kununula obununuzi abantu okuva mu bufuzi obumu. Abantu baali baagala okufuula Yesu Kabaka, naye yagamba nti yali agenda kuwaayo ‘obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28; Yokaana 6:15) Ekiseera kyali tekinnatuuka okufuulibwa kabaka, era obuyinza obw’okufuga bwali bwakumuweebwa Yakuwa, so si bantu.
9. (a) Mawulire ki agabudaabuda Yesu ge yalangirira? (b) Yesu yalaga atya nti obubaka bwe yabuulira bwandiyambye abantu mu bizibu bye baali boolekaganye nabyo? (c) Obuweereza bwa Yesu bwassaawo musingi ki?
9 Engeri Yesu gye yabudaabudamu yeeyolekera mu ‘muwulire amalungi ag’Obwakabaka.’ Buno bwe bubaka Yesu bwe yalangirira buli we yagenda. (Lukka 4:43) Yalaga engeri obubaka obwo gye bwandiyambyemu abantu mu bizibu byabwe ng’alaga ekyo ye nga Masiya Omufuzi kye yandikoze. Abantu ababonaabona nga bamuzibe ne bakiggala yabaagazisa okubeera abalamu ng’abazibula amaaso n’amatu (Matayo 12:22; Makko 10:51, 52), yawonya abalema (Makko 2:3-12), yawonya Baisiraeri banne endwadde (Lukka 5:12, 13), era n’abawonya n’endwadde endala ez’amaanyi. (Makko 5:25-29) Yaleetera ab’omu maka abaali bakungubaga okufuna obuweerero ng’azuukiza abaana baabwe. (Lukka 7:11-15; 8:49-56) Yalaga nti yalina obuyinza ku mbuyaga ez’amaanyi era nti asobola okuliisa ebibiina by’abantu emmere. (Makko 4:37-41; 8:2-9) Ate era, Yesu yabayigiriza emisingi egyandibayambye okwaŋŋanga ebizibu ebyaliwo era n’okubawa essuubi ku bufuzi obulungi wansi wa Masiya. Bwe kityo, Yesu bwe yenyigira mu buweereza bwe, teyakoma ku kubudaabuda abo abamukkiriza kyokka, naye era yateekawo omusingi okwandisinziddwa okuzzaamu abantu amaanyi mu myaka enkumi ebbiri egyandiddiridde.
10. Kiki ekisoboka olwa ssaddaaka ya Yesu?
10 Emyaka egisukka mu 60 oluvannyuma lwa Yesu okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka era ng’amaze n’okuzuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu, omutume Yokaana yaluŋŋamizibwa okuwandiika: “Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu. N’oyo gwe mutango olw’ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n’olw’ensi zonna.” (1 Yokaana 2:1, 2) Tubudaabudibwa nnyo olw’emiganyulo gya ssaddaaka ya Yesu. Tumanyi nti tusobola okusonyiyibwa ebibi, okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, enkolagana ennungi ne Katonda, n’essuubi ly’obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 14:6; Abaruumi 6:23; Abaebbulaniya 9:24-28; 1 Peetero 3:21.
Omwoyo Omutukuvu Ogubudaabuda
11. Yesu yasuubiza nteekateeka ki endala ey’okubudaabuda abatume be nga tannattibwa?
11 Ng’ali n’abatume be mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yayogera ku nteekateeka endala Kitaawe ow’omu ggulu gye yali akoze okubabudaabuda. Yagamba: “Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi [alibudaabuda; Oluyonaani pa·raʹkle·tos], abeerenga nnammwe emirembe n’emirembe. Omwoyo ow’amazima.” Yesu yabakakasa: “Omubeezi, omwoyo omutukuvu, . . . alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.” (Yokaana 14:16, 17, 26) Omwoyo omutukuvu gwababudaabuda gutya?
12. Omwoyo omutukuvu okujjukiza abatume ba Yesu ebyaliwo kiyambye kitya okubudaabuda abantu bangi?
12 Yesu yayigiriza abatume be ebintu bingi. Mazima ddala baali tebayinza kwerabira byaliwo. Naye bandijjukidde ebigambo bye yayogera? Bandyerabidde ebikulu bye yabayigiriza olw’okuba baali tebatuukiridde? Yesu yabakakasa nti omwoyo omutukuvu ‘gwandibajjukiza byonna bye yabagamba.’ Bwe kityo, emyaka nga munaana oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Matayo yasobola okuwandiika Enjiri eyasooka, mwe yawandiika Okubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi, ebyokulabirako bye ebingi ebikwata ku Bwakabaka, n’ebikwata ku kabonero k’okubeerawo kwe. Emyaka egisukka mu 50 oluvannyuma, omutume Yokaana yasobola okuwandiika ebintu ebirala bingi ebyesigika ebikwata ku nnaku ezaasembayo ez’obulamu bwa Yesu ku nsi. Ng’obubaka buno obwaluŋŋamizibwa bubadde bubudaabuda nnyo okutuusizza ddala mu kiseera kyaffe!
13. Omwoyo omutukuvu gwayigiriza gutya Abakristaayo abaasooka?
13 Ng’oggyeko okubayamba okubajjukiza ebyo Yesu bye yayogera, omwoyo omutukuvu gwayigiriza abayigirizwa era ne gubawa obulagirizi ne basobola okutegeera ekigendererwa kya Katonda mu ngeri esingawo. Yesu bwe yali n’abayigirizwa be, yabagamba ebintu bingi bye batategeera bulungi. Kyokka, oluvannyuma, nga bayambibwako omwoyo omutukuvu, Yokaana, Peetero, Yakobo, Yuda ne Pawulo bannyonnyola ebintu ebirala ebikwata ku kigendererwa kya Katonda. Bwe kityo, omwoyo omutukuvu gwayigiriza abayigirizwa ne gubawa obukakafu nti baali bakulemberwa Katonda.
14. Omwoyo omutukuvu gwayamba abantu ba Yakuwa mu ngeri ki?
14 Ebirabo eby’omwoyo omutukuvu byayamba okulaga nti Katonda yali asiima ekibiina Ekikristaayo so si Isiraeri ey’omubiri. (Abaebbulaniya 2:4) Ebibala by’omwoyo ogwo bwe byeyoleka mu bulamu bw’abantu kinnoomu nako kaali kabonero kakulu akaawulawo abayigirizwa ba Yesu ab’amazima. (Yokaana 13:35; Abaggalatiya 5:22-24) Era omwoyo omutukuvu gwanyweza ab’omu kibiina ne basobola okuwa obujulirwa awatali kutya.—Ebikolwa 4:31.
Obuyambi ng’Oli mu Kubonaabona okw’Amaanyi
15. (a) Abakristaayo ab’omu kiseera ekyayita era ne kino babonyebonye batya? (b) Lwaki abo abazzaamu abalala amaanyi nabo emirundi egimu beetaaga okuzzibwamu amaanyi?
15 Bonna abeewaddeyo eri Yakuwa era abeesigwa gy’ali bayigganyizibwa mu ngeri emu oba endala. (2 Timoseewo 3:12) Kyokka, Abakristaayo bangi bayigganyiziddwa mu ngeri ey’obukambwe. Mu biseera byaffe, abamu balumbiddwa ebibiina by’abantu ne basuulibwa mu nkambi z’abasibe, mu makomera, era ne bakakibwa okukola emirimu mu mbeera enzibu ennyo. Gavumenti zennyini ziyigganyizza Abakristaayo, oba zirese abantu okwenyigira mu bikolwa by’ettemu kyokka ne batabonerezebwa. Ate era, Abakristaayo abamu boolekaganye n’obulwadde obw’amaanyi oba bafunye ebizibu eby’amaanyi mu maka. N’Omukristaayo akuze mu by’omwoyo ayamba bakkiriza banne bangi okwaŋŋanga embeera enzibu, naye ayinza okutendewererwa. Mu mbeera ng’ezo, oyo azzaamu abalala amaanyi naye ayinza okuba yeetaaga okuzzibwamu amaanyi.
16. Dawudi bwe yali mu kubonaabona okw’amaanyi, yafuna atya obuyambi?
16 Kabaka Sawulo bwe yali anoonya Dawudi okumutta, Dawudi yasaba Katonda okumuyamba. Yeegayirira bw’ati: ‘Ai Katonda, wulira okusaba kwange. Mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo mwenfunira obukuumi.’ (Zabbuli 54:2, 4; 57:1) Dawudi yafuna obuyambi? Yee, yabufuna. Mu kiseera ekyo, Yakuwa yakozesa nnabbi Gaadi ne Abiyasaali kabona okuwa Dawudi obulagirizi, era n’akozesa Yonasaani mutabani wa Sawulo okuzzaamu Dawudi amaanyi. (1 Samwiri 22:1, 5; 23:9-13, 16-18) Yakuwa era yakkiriza Abafirisuuti okulumba eggwanga, bwe kityo n’awugula Sawulo okuva ku kigendererwa kye.—1 Samwiri 23:27, 28.
17. Ng’ali mu kubonaabona okw’amaanyi Yesu yanoonya wa obuyambi?
17 Ne Yesu Kristo yennyini yabonaabona nnyo ng’enkomerero y’obulamu bwe ku nsi egenda esembera. Yali amanyi bulungi nnyo engeri enneeyisa ye gye yandikutte ku linnya lya Kitaawe ow’omu ggulu era n’ebiseera eby’omu maaso eby’abantu bonna. Yasaba mu bwesimbu, ‘mu bulumi obungi.’ Katonda yakakasa nti afuna obuyambi bwe yali yeetaaga mu kiseera ekyo ekizibu.—Lukka 22:41-44.
18. Katonda yabudaabuda atya Abakristaayo abaasooka abaali bayigganyizibwa ennyo?
18 Abakristaayo baayigganyizibwa nnyo oluvannyuma lw’okutandikawo ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka ne kiba nti bonna okuggyako abatume baasaasaana okuva mu Yerusaalemi. Abasajja n’abakazi baasikambulwa era ne bawalulwa okuva mu maka gaabwe. Katonda yababudaabuda atya? Ng’abakakasa okuva mu Kigambo kye nti baalina “ebintu ebisinga obulungi era eby’olubeerera,” kwe kugamba obusika obw’olubeerera mu ggulu ne Kristo. (Abaebbulaniya 10:34; Abaefeso 1:18-20) Bwe beeyongera okubuulira, baalaba obujulizi obulaga nti omwoyo gwa Katonda gwali nabo, era ebyo bye baayitamu byabaleetera essanyu.—Matayo 5:11, 12; Ebikolwa 8:1-40.
19. Wadde Pawulo yayigganyizibwa nnyo, yawulira atya ku ngeri Katonda gy’abudaabudamu?
19 Oluvannyuma lw’ekiseera, Sawulo (Pawulo), eyali abayigganya ennyo, naye yatandika okuyigganyizibwa olw’okuba yali afuuse Omukristaayo. Ku kizinga ky’e Kupulo, waaliwo omulogo eyagezzaako okuziyiza obuweereza bwa Pawulo okuyitira mu bulimba n’okuwaayiriza. Mu Ggalatiya, Pawulo yakubibwa amayinja, n’alekebwa awo nga balowooza nti afudde. (Ebikolwa 13:8-10; 14:19) Mu Makedoni, yakubibwa n’embooko. (Ebikolwa 16:22, 23) Oluvannyuma lw’okulumbibwa ekibinja ky’abantu mu Efeso, yawandiika: ‘Twazitoowererwa nnyo nnyini okusinga amaanyi gaffe. Twabonyaabonyezebwa nnyo ekiyitiridde n’essuubi lyaffe ery’okuba abalamu ne lituggwaamu.’ (2 Abakkolinso 1:8, 9) Naye, mu bbaluwa y’emu eyo, Pawulo yawandiika ebigambo ebibudaabudda ebijjuliziddwa mu katundu 2 mu kitundu kino.—2 Abakkolinso 1:3, 4.
20. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?
20 Osobola otya okubudaabuda abalala mu ngeri eyo? Waliwo bangi mu kiseera kyaffe abeetaaga okubudaabudibwa mu ngeri eyo nga bali mu nnaku, ka kibe olw’akatyabaga akalumya abantu bangi oba olw’ekintu ekibabonyaabonya kinnoomu. Mu kitundu ekiddako tujja kwetegereza engeri gye tuyinza okubudaabudamu abantu abali mu mbeera ezo.
Ojjukira?
• Lwaki engeri Katonda gy’abudaabudamu y’esinga okuba ey’omuganyulo?
• Kubudaabuda ki okuweebwa okuyitira mu Kristo?
• Omwoyo omutukuvu guyambye gutya okubudaabuda abantu?
• Waayo ebyokulabirako ku ngeri Katonda gye yabudaabudamu abaweereza be abaali mu kubonaabona okw’amaanyi.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Baibuli etulaga nti Yakuwa yabudaabuda abantu be ng’abanunula
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Yesu yabudaabuda abantu ng’abayigiriza, abawonya, era ng’azuukiza abafu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Yesu yafuna obuyambi okuva waggulu