Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okufuuka ‘ab’Amagezi Basobole Okufuna Obulokozi’
“Okuva mu buwere wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebisobola okukufuula omugezi n’ofuna obulokozi.”—2 TIM. 3:15.
1, 2. Kiki ekiyinza okweraliikiriza abazadde ng’abaana baabwe baagala okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa?
BULI mwaka, abantu bangi abayiga Bayibuli beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Bangi ku bo baba baana abakulidde mu mazima era ne basalawo okuweereza Yakuwa. (Zab. 1:1-3) Bw’oba oli muzadde Omukristaayo, oteekwa okuba nga weesunga ekiseera muwala wo oba mutabani wo lw’ajja okubatizibwa.—Geraageranya ne 3 Yokaana 4.
2 Kyokka era wayinza okubaawo ebikweraliikiriza. Oyinza okuba ng’olabye abavubuka abamu abaabatizibwa naye oluvannyuma ne batandika okubuusabuusa obanga ddala kya magezi okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Abamu batuuse n’okuva mu mazima. N’olwekyo, oyinza okuba nga weeraliikirira nti n’omwana wo ayinza okubatizibwa naye oluvannyuma okwagala kwe yalina eri Yakuwa ne kuwola. Omwana wo ayinza okuba ng’abo abaali mu kibiina ky’e Efeso mu kyasa ekyasooka Yesu be yagamba nti ‘baaleka okwagala kwe baalina olubereberye.’ (Kub. 2:4) Oyinza otya okwewala embeera eyo okubaawo n’oyamba omwana wo “okukula okutuuka ku bulokozi”? (1 Peet. 2:2) Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe ekyokulabirako kya Timoseewo.
“WAMANYA EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU”
3. (a) Timoseewo yafuuka atya Omukristaayo, era ebyo bye yayiga yabikolerako atya? (b) Bintu ki ebisatu Pawulo bye yayogerako mu bbaluwa gye yawandiikira Timoseewo?
3 Kirabika Timoseewo yasooka okuwulira ebikwata ku Kristo mu mwaka gwa 47 E.E., ku mulundi omutume Pawulo gwe yasooka okukyala mu Lusitula. Wadde nga mu kiseera ekyo Timoseewo ayinza okuba nga yali akyali mutiini, yakolera ku bye yayiga. Nga wayise emyaka ebiri yatandika okutambulanga ne Pawulo. Nga wayise emyaka 16, Pawulo yawandiikira Timoseewo n’amugamba nti: “Weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga era bye wakkiriza nti bituufu, kubanga omanyi abantu abaabikuyigiriza, era okuva mu buwere wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu [Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya] ebisobola okukufuula omugezi n’ofuna obulokozi okuyitira mu kukkiririza mu Kristo Yesu.” (2 Tim. 3:14, 15) Weetegereze nti Pawulo yagamba nti Timoseewo (1) yamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu, (2) yakkiriza nti ebintu bye yayiga bituufu, era (3) yafuuka mugezi okusobola okufuna obulokozi okuyitira mu kukkiririza mu Kristo Yesu.
4. Bintu ki ebikuyambye okuyigiriza abaana bo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)
4 Omuzadde Omukristaayo, naawe oteekwa okuba ng’oyagala omwana wo amanye ebyawandiikibwa ebitukuvu, nga kati bizingiramu Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’eby’Oluyonaani. N’abaana abato basobola okuyiga ebikwata ku bantu n’ebintu ebyaliwo ebyogerwako mu Bayibuli. Ekibiina kya Yakuwa kirina ebintu bingi bye kituwadde ebisobola okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebyawandiikibwa ebitukuvu. Olina ebimu ku bintu ebyo by’omanyi ebiri mu lulimi lwo? Kijjukire nti omwana wo bw’aba ow’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa yeetaaga okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli.
“BYE WAKKIRIZA NTI BITUUFU”
5. (a) Kitegeeza ki ‘okukkiririza nti ekintu kituufu’? (b) Kiki ekiraga nti Timoseewo yakkiriza nti ebyo bye yayiga ebikwata ku Yesu bituufu?
5 Kikulu okumanya ebiri mu byawandiikibwa ebitukuvu. Kyokka okuyamba obuyambi abaana bo okumanya ebikwata ku bantu n’ebintu ebiri mu Bayibuli tekimala. Timoseewo baamuyamba ‘okukkiriza nti ebyo bye yali ayize bituufu.’ Ebigambo by’Oluyonaani Pawulo bye yakozesa bitegeeza “okuba omukakafu nti ekintu kituufu.” Okuva mu buwere Timoseewo yali amanyi ebyo ebyali mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Naye ekiseera kyatuuka n’aba mukakafu nti Yesu ye Masiya. Yali mukakafu nti ebyo bye yali amanyi byali bituufu. Timoseewo yafuna okukkiriza okw’amaanyi n’atuuka n’okubatizibwa n’atandika okukolera awamu ne Pawulo omulimu gw’obuminsani.
6. Oyinza otya okuyamba abaana bo okukkiriza nti ebyo bye bayiga mu Bayibuli bituufu?
6 Oyinza otya okuyamba abaana bo okukkiriza nti ebyo bye bayiga mu Bayibuli bituufu? Ekisookera ddala, olina okuba omugumiikiriza. Omwana wo tajja kukeera bukeezi ku makya n’aba ng’akkiriza nti by’ayiga bituufu, era okuba nti ggwe okkiriza nti bye wayiga bituufu tekitegeeza nti n’omwana wo bw’atyo bw’ajja okuba. Buli mwana alina okukozesa ‘obusobozi bwe obw’okulowooza’ okusobola okuba omukakafu nti by’ayiga mu Bayibuli bituufu. (Soma Abaruumi 12:1.) Omuzadde olina kinene nnyo ky’osobola okukola okuyamba omwana wo okuba omukakafu nti by’ayiga bituufu, naddala singa omwana oyo abaako ebibuuzo by’abuuza. Lowooza ku kyokulabirako kino wammanga.
7, 8. (a) Ow’oluganda omu ayoleka atya obugumiikiriza ng’ayigiriza muwala we? (b) Ddi lw’okirabye nti kikwetaagisa okuba omugumiikiriza ng’oyigiriza omwana wo?
7 Thomas, alina muwala we ow’emyaka 11, agamba nti: “Muwala wange oluusi ambuuza ebibuuzo nga bino, ‛Kyandiba nti Yakuwa yakozesa enkola ey’ebintu okujja nga bifuukafuuka okutonda ebintu ku nsi?’ ‛Lwaki tetwenyigira mu bintu abalala bye beenyigiramu, gamba ng’okulonda?’ Oluusi mba nnina okufuba okwefuga okulaba nti simukakaatikako bukakaatisi ndowooza yange. Nkimanyi nti omuntu okukkiririza mu kintu aba alina okuweebwa obukakafu obutali bumu.”
8 Thomas era akimanyi nti yeetaaga okuba omugumiikiriza ng’ayigiriza muwala we. Mu butuufu, Abakristaayo bonna beetaaga okuba abagumiikiriza. (Bak. 3:12) Thomas akimanyi nti oluusi kiyinza okumutwalira ekiseera ekiwerako okusobola okuyamba muwala we okukkiririza mu bintu ebimu. Afuba okukubaganya naye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebitali bimu okusobola okumuyamba okukkiririza mu ebyo by’ayiga. Thomas agamba nti: “Nze ne mukyala wange tufuba okumanya obanga ddala muwala waffe akkiriza ebyo by’ayiga era obanga akiraba nti bikola amakulu, naddala bwe kiba nti bye tumuyigiriza bikulu nnyo. Kitusanyusa nnyo bw’atubuuza ebibuuzo. Mu butuufu, singa muwala waffe yali akkiriza bukkiriza buli kye tumuyigiriza nga tabuuza bibuuzo, ekyo kyanditweraliikirizza.”
9. Oyinza otya okuyamba abaana bo okukkiririza mu ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda?
9 Abazadde bwe baba abagumiikiriza nga bayigiriza abaana baabwe, mpolampola abaana baabwe batandika okumanya “obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba” bw’amazima. (Bef. 3:18) Bwe tuba tubayigiriza tusaanidde okulowooza ku myaka gyabwe ne ku busobozi bwabwe. Gye bakoma okukkiriza nti bye bayiga bituufu, gye bakoma okwongera okuba abeetegefu okunnyonnyola abalala enzikiriza zaabwe nga mw’otwalidde ne bayizi bannaabwe. (1 Peet. 3:15) Ng’ekyokulabirako, abaana bo basobola okukozesa Bayibuli okunnyonnyola abalala ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde? Ebyo Bayibuli by’eyigiriza babiraba nti bikola amakulu?a Okusobola okuyamba abaana bo okukkiririza mu ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda kyetaagisa obugumiikiriza era kivaamu ebirungi.—Ma. 6:6, 7.
10. Kiki omuzadde ky’alina okukola okusobola okuyigiriza obulungi abaana be?
10 Okusobola okuyamba abaana okuba abakakafu nti bye bayiga bituufu, kikulu omuzadde okussaawo ekyokulabirako ekirungi. Mwannyinaffe Stephanie, alina bawala be abasatu, agamba nti: “Okuviira ddala ng’abaana bange bakyali bato, mbaddenga nneebuuza ebibuuzo nga bino, ‘Mbuulira abaana bange ensonga lwaki ndi mukakafu nti Yakuwa gy’ali, nti atwagala, era nti amakubo ge ge gasingayo obulungi? Abaana bange bakiraba nti ddala njagala Yakuwa?’ Sisuubira baana bange kuba bakakafu nti bye bayiga mu Bayibuli bituufu okuggyako nga nange nkiraga nti nzikiriza nti bituufu.”
‘OKUFUUKA OMUGEZI OKUSOBOLA OKUFUNA OBULOKOZI’
11, 12. Amagezi kye ki, era lwaki amagezi tegasinziira ku myaka muntu gy’alina?
11 Nga bwe tulabye, Timoseewo yali (1) amanyi Ebyawandiikibwa era (2) yali mukakafu nti bye yayiga bituufu. Naye Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba Timoseewo nti ebyawandiikibwa ebitukuvu ‘byandimugeziwazza okusobola okufuna obulokozi’?
12 Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, kigamba nti mu Bayibuli amagezi “bwe busobozi bw’okukozesa obulungi okumanya n’okutegeera okusobola okugonjoola ebizibu, okwewala okugwa mu mitawaana, okutuuka ku biruubirirwa, oba okuyamba abalala okukola ebintu ebyo. Amagezi gaawukana ku busirusiru.” Bayibuli egamba nti: “Obusirusiru buba mu mutima gw’omwana.” (Nge. 22:15) Omuntu bwe yeeyisa mu ngeri ey’amagezi kiba kiraga nti akuze mu by’omwoyo. Omuntu okuba omukulu mu by’omwoyo tekisinziira ku myaka gy’alina. Alina okuba ng’atya Yakuwa era nga mwetegefu okumugondera.—Soma Zabbuli 111:10.
13. Omwana ayinza atya okukiraga nti alina amagezi aganaamusobozesa okufuna obulokozi?
13 Abaana abakuze mu by’omwoyo ‘tebasuukundibwa mayengo ne bazzibwa eno n’eri’ okwegomba okubi okw’emibiri gyabwe oba okupikirizibwa okuva mu bannaabwe. (Bef. 4:14) Naye beeyongera okuyiga okukozesa obulungi “obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Beb. 5:14) Bakiraga nti beeyongera okukula mu by’omwoyo nga basalawo mu ngeri ey’amagezi ne bwe kiba nti bazadde baabwe oba abantu abalala abakulu tebaliiwo. (Baf. 2:12) Bwe beeyisa mu ngeri eyo ey’amagezi kijja kubasobozesa okufuna obulokozi. (Soma Engero 24:14.) Oyinza otya okuyamba abaana bo okuba ab’amagezi? Ekisooka, bayambe okumanya emitindo gy’empisa gy’okkiririzaamu. Balina okukiraba mu by’oyogera ne mu by’okola, nti obulamu bwo obutambuliza ku misingi gya Bayibuli.—Bar. 2:21-23.
14, 15. (a) Bintu ki ebikulu omwana ayagala okubatizibwa by’alina okuyambibwa okulowoozaako? (b) Oyinza otya okuyamba abaana bo okufumiitiriza ku mikisa egiva mu kugondera amateeka ga Katonda?
14 Okugamba obugambi abaana bo ekituufu n’ekikyamu ku bw’akyo tekimala. Kiba kirungi n’obayamba okufumiitiriza ne ku bibuuzo nga bino: ‘Lwaki Bayibuli etugaana okukola ebintu ebimu emibiri gyaffe bye gyegomba? Kiki ekikakasa nti emisingi gya Bayibuli giriwo ku lwa bulungi bwaffe?’—Is. 48:17, 18.
15 Omwana bw’akiraga nti ayagala okubatizibwa kiba kirungi n’ayambibwa okufumiitiriza ku buvunaanyizibwa obuzingirwa mu kuba Omukristaayo. Miganyulo ki egiri mu kuba Omukristaayo? Kusoomooza ki okulimu? Lwaki emiganyulo egirimu gisinga okusoomooza okulimu? (Mak. 10:29, 30) Kikulu omwana okufumiitiriza ku bintu ng’ebyo nga tannabatizibwa. Abaana bwe bayambibwa okulowooza ku mikisa egiva mu kuba abawulize eri Yakuwa n’ebizibu ebiva mu kujeemera Yakuwa, kisobola okubayamba okwongera okukkiririza mu ebyo bye bayiga mu Bayibuli. Beeyongera okukiraba nti emitindo gya Bayibuli giriwo ku lwa bulungi bwabwe.—Ma. 30:19, 20.
OMUVUBUKA OMUBATIZE BW’ATANDIKA OKUBUUSABUUSA
16. Kiki omuzadde ky’asaanidde okukola singa omwana we omubatize atandika okubuusabuusa amazima?
16 Kiki ky’oyinza okukola singa omwana wo eyabatizibwa atandika okubuusabuusa amazima agali mu Bayibuli? Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omubatize ayinza okutandika okwegomba ebintu ebiri mu nsi oba okutandika okubuusabuusa obanga kya magezi okukolera ku misingi gya Bayibuli. (Zab. 73:1-3, 12, 13) Engeri gy’okwatamu embeera eyo eyinza okuleetera omwana wo okwongera okunywerera mu mazima oba okugavaamu. Weewale okuggula olutalo ku mwana wo, k’abe ng’akyali muto oba ng’avubuse. Mu kifo ky’ekyo muyambe okuvvuunuka okubuusabuusa okwo naye ng’okikola mu ngeri ey’okwagala.
17, 18. Omuzadde ayinza atya okuyamba omwana atandise okubuusabuusa amazima agali mu Bayibuli?
17 Kya lwatu nti omwana wo eyabatizibwa aba yeewaayo eri Yakuwa. Yasuubiza Katonda nti ajja kumwagala era nti ajja kukulembeza Katonda by’ayagala. (Soma Makko 12:30.) Obweyamo obwo Yakuwa abutwala nga bukulu nnyo, era n’oyo eyabukola alina okubutwala nga bukulu nnyo. (Mub. 5:4, 5) Mu kiseera ekituufu era mu ngeri ey’ekisa jjukiza omwana wo ensonga eyo. Naye nga tonnayogerako na mwana wo, sooka osome ku bulagirizi Yakuwa bw’awa abazadde obuli mu bitabo ne mu bintu ebirala ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde. Ekyo kisobola okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okuyambamu omwana wo okulaba obukulu bw’okutuukiriza obweyamo bwe yakola nga yeewaayo eri Yakuwa era n’okufumiitiriza ku mikisa egiva mu kuba omuweereza wa Yakuwa omubatize.
18 Ng’ekyokulabirako, waliwo amagezi amalungi agasangibwa mu kitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Abazadde Bye Beebuuza,” ekisangibwa emabega mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1. Ekitundu ekyo kigamba nti: “Toyanguyiriza kulowooza nti omwana wo agaanye amazima. Emirundi mingi wabaawo ensonga endala eba emuleetedde okweyisa bw’atyo.” Ayinza okuba ng’apikirizibwa banne. Oba ayinza okuba ng’alina ekiwuubaalo oba ng’awulira nti abavubuka abalala Abakristaayo bakola bulungi okumusinga. Ekitundu ekyo era kigamba nti: “Ebintu ebyo ku bwabyo tebiraga nti omwana wo aba agaanye amazima. Ayinza okuba ng’alina ekizibu ekirala ky’ayolekagana nakyo.” Ekitundu ekyo era kirimu amagezi omuzadde Omukristaayo g’ayinza okukozesa okuyamba omwana atandise okubuusabuusa amazima.
19. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe ‘okufuuka abagezi basobole okufuna obulokozi’?
19 Omuzadde olina obuvunaanyizibwa obukulu ennyo obw’okukuliza abaana bo “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4) Nga bwe tulabye, tolina kukoma bukomi ku kubayigiriza ekyo Bayibuli ky’egamba, naye era olina okubayamba okukkiririza mu ebyo bye bayiga. Abaana bo beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okubaleetera okwewaayo eri Yakuwa n’okumuweereza n’omutima gwabwe gwonna. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda, omwoyo omutukuvu, n’okufuba kwo ka biyambe abaana bo ‘okufuuka abagezi basobole okufuna obulokozi.’
a Ebibuuzo ebiri wansi w’omutwe “Kiki Ddala Bayibuli ky’Eyigiriza?” bisobola okuyamba abato n’abakulu okutegeera amazima agali mu Bayibuli n’okugannyonnyola. Bisangibwa ku jw.org mu nnimi nnyingi. Genda wansi wa BIBLE TEACHINGS > BIBLE STUDY TOOLS.