Makko
9 Era n’ayongera n’abagamba nti: “Mazima mbagamba nti, waliwo abamu ku bali wano abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda nga buzze n’amaanyi.”+ 2 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga, Yesu yatwala Peetero, Yakobo, ne Yokaana ku lusozi oluwanvu. Tewaaliyo muntu mulala okuggyako bo. Awo n’afuusibwa nga balaba;+ 3 ebyambalo bye eby’okungulu ne bitandika okumasamasa, era ne bifuuka byeru nnyo nga tewali mwozi wa ngoye n’omu ku nsi asobola kubyoza ne bifuuka byeru bwe bityo. 4 Era ne balaba Eriya ne Musa nga banyumya ne Yesu. 5 Amangu ago Peetero n’agamba Yesu nti: “Labbi, kirungi ffe okubeera wano. N’olwekyo, ka tusimbe weema ssatu, ng’emu yiyo, endala nga ya Musa, ate endala nga ya Eriya.” 6 Mu butuufu, yali tamanyi kya kwogera kubanga baali batidde nnyo. 7 Awo ekire ne kijja, ne kibasiikiriza era eddoboozi+ ne liva mu kire nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa.+ Mumuwulire.”+ 8 Kyokka, amangu ago ne batunulatunula ne batalabawo muntu n’omu okuggyako Yesu.
9 Bwe baali bava ku lusozi, n’abakuutira obutabuulirako muntu n’omu bye baali balabye,+ okutuusa Omwana w’omuntu lwe yandimaze okuzuukira mu bafu.+ 10 Ebigambo ebyo ne babikuumira ku mitima gyabwe,* naye ne bakubaganya ebirowoozo ku kuzuukira mu bafu kye kyali kitegeeza. 11 Awo ne bamubuuza nti: “Lwaki abawandiisi bagamba nti Eriya+ y’alina okusooka okujja?”+ 12 N’abagamba nti: “Eriya y’ajja okusooka okujja azzeewo ebintu byonna.+ Naye lwaki kyawandiikibwa nti Omwana w’omuntu alina okubonyaabonyezebwa ennyo+ era anyoomebwe?+ 13 Naye mbagamba nti, Eriya+ yajja era ne bamukola byonna bye baayagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe byamwogerako.”+
14 Bwe baagenda awaali abayigirizwa abalala, ne balaba ng’ekibiina ky’abantu kibeetoolodde era ng’abawandiisi babawakanya.+ 15 Naye abantu olwamulaba, ne beewuunya era ne badduka okugenda gy’ali bamulamuse. 16 N’ababuuza nti: “Kiki kye muwakana nabo?” 17 Omu ku bo n’amuddamu nti: “Omuyigiriza, nnaleese omwana wange gy’oli kubanga aliko omwoyo omubi ogumulemesa okwogera.+ 18 Buli lwe gumukwata gumukuba wansi n’abimba ejjovu, n’aluma amannyo, era n’aggwaamu amaanyi. Nnasabye abayigirizwa bo bagugobe naye ne batasobola.” 19 N’abagamba nti: “Mmwe ab’omulembe guno ogutalina kukkiriza,+ ndibeera nammwe kutuusa ddi? Ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Mumundeetere.”+ 20 Ne bamuleetera omwana, naye omwoyo omubi bwe gwamulaba, ne gumujugumiza, n’agwa wansi ne yeevulungula, era n’abimba ejjovu. 21 Awo Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti: “Amaze bbanga ki ng’ali bw’ati?” N’amuddamu nti: “Okuviira ddala nga muto, 22 era emirundi mingi gwamusuulanga mu muliro ne mu mazzi nga gwagala okumutta. Bw’oba osobola okubaako ky’okolawo, tusaasire otuyambe.” 23 Yesu n’amugamba nti: “Ogambye nti, ‘Bw’oba osobola’? Ebintu byonna bisoboka singa omuntu aba n’okukkiriza.”+ 24 Amangu ago kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu ng’agamba nti: “Nnina okukkiriza! Naye nnyamba okukkiriza kwange kweyongereko!”+
25 Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ky’abantu kidduka okujja gye bali, n’aboggolera omwoyo omubi ng’agamba nti: “Mwoyo ggwe oguziba omuntu omumwa n’amatu, nkulagira nti muveeko era tomuddangako.”+ 26 Era oluvannyuma lw’okuleekaana n’okumujugumiza ne gumuvaako; omwana n’aba ng’afudde, era abantu abasinga obungi ne bagamba nti: “Afudde!” 27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’ayimuka. 28 Bwe yamala okuyingira mu nnyumba abayigirizwa be ne bamubuuza nga bali bokka nti: “Lwaki twalemereddwa okugugoba?”+ 29 N’abagamba nti: “Omwoyo ogw’ekika kino tegusobola kuva ku muntu awatali kusaba.”
30 Bwe baava eyo ne bayitira e Ggaliraaya, naye n’atayagala muntu yenna kukitegeera. 31 Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be ng’abagamba nti: “Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu bamutte,+ naye wadde ng’ajja kuttibwa, ajja kuzuukira oluvannyuma lw’ennaku ssatu.”+ 32 Kyokka bye yali abagamba baali tebabitegeera, ate nga batya okumubuuza.
33 Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe yali mu nnyumba n’ababuuza nti: “Kiki ekibadde kibakaayanya mu kkubo?”+ 34 Ne basirika, kubanga baali bakaayana ani ku bo asinga obukulu. 35 Awo n’atuula, n’ayita Ekkumi n’Ababiri n’abagamba nti: “Ayagala okuba ow’olubereberye y’alina okusembayo mu bonna, era alina okuweereza banne bonna.”+ 36 Awo n’ayita omwana omuto, n’amuteeka wakati waabwe, n’amuwambaatira n’abagamba nti: 37 “Buli asembeza omu ku baana abato ng’ono+ ku lw’erinnya lyange, nange aba ansembezza, era buli ansembeza, tasembeza nze nzekka, wabula aba asembezza n’Oyo eyantuma.”+
38 Yokaana n’amugamba nti: “Omuyigiriza, twalaba omuntu agoba dayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumugaana, kubanga yali tayita naffe.”+ 39 Naye Yesu n’agamba nti: “Temumugaana kubanga tewali n’omu akola kyamagero mu linnya lyange ate amangu ago n’anjogerako bubi. 40 Oyo atatuziyiza aba ku ludda lwaffe.+ 41 Mazima mbagamba nti buli abawa ekikopo ky’amazzi okunywa olw’okuba muli ba Kristo,+ talirema kufuna mpeera ye.+ 42 Naye buli eyeesittaza omu ku bato bano abalina okukkiriza, kyandisinzeeko singa asibibwa mu bulago olubengo olusikibwa endogoyi n’asuulibwa mu nnyanja.+
43 “Era singa omukono gwo gukuleetera okwesittala, gutemeko. Kisingako okufuna obulamu ng’ekitundu kyo ekimu eky’omubiri kitemeddwako, okusinga lw’oba n’emikono ebiri naye n’osuulibwa mu Ggeyeena,* mu muliro ogutayinza kuzikizibwa.+ 44 *— 45 Era singa ekigere kyo kikuleetera okwesittala, kitemeko; kisingako okufuna obulamu ng’olina ekigere kimu, okusinga lw’oba n’ebigere ebibiri naye n’osuulibwa mu Ggeyeena.*+ 46 *— 47 Era singa eriiso lyo likuleetera okwesittala, liggyeemu.+ Kisingako okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda ng’olina eriiso limu, okusinga lw’oba n’amaaso abiri naye n’osuulibwa mu Ggeyeena,*+ 48 awali envunyu ezitafa n’omuliro gye gutazikizibwa.+
49 “Buli omu ateekwa okumansirwako omunnyo ogw’omuliro.+ 50 Omunnyo mulungi, naye singa omunnyo guggwaamu obuka bwagwo, munaakozesa ki okubuzzaamu?+ Mubeereemu omunnyo,+ era mube n’emirembe buli omu ne munne.”+