Isaaya
1 Okwolesebwa Isaaya*+ mutabani wa Amozi kwe yafuna okukwata ku Yuda ne ku Yerusaalemi mu kiseera kya Uzziya,+ Yosamu,+ Akazi,+ ne Keezeekiya,+ bakabaka ba Yuda:+
2 Wulira ggwe eggulu, naawe ensi ssaayo omwoyo;+
Yakuwa agamba nti:
3 Ente emanya oyo eyagigula,
N’endogoyi emanya mukama waayo w’agiriisiza;
Abantu bange tebeeyisa mu ngeri ya magezi.”
5 Munaakubwa wa awalala, nga mweyongera okujeema?+
Omutwe gwonna mulwadde,
N’omutima gwonna mulwadde.+
6 Okuva ku bigere okutuuka ku mutwe tewali walamu.
Mujjudde ebiwundu, ebinuubule, n’amabwa
—Tebijjanjabiddwa,* tebisibiddwako, wadde okuteekebwako amafuta.+
7 Ensi yammwe esigadde matongo.
Ebibuga byammwe byokeddwa omuliro.
Abagwira balya ensi yammwe nga mulaba.+
Eringa ensi eyayonoonebwa abagwira.+
8 Muwala wa Sayuuni alekeddwawo ng’ekiyumba ekiri mu nnimiro y’emizabbibu,
Ng’akasiisira akali mu musiri gwa ccukamba,
Ng’ekibuga ekizingiziddwa.+
9 Singa Yakuwa ow’eggye teyatulekerawo abatono abaawonawo,
Twandibadde nga Sodomu,
Era twandifaananye nga Ggomola.+
10 Muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe bannaakyemalira* b’e Sodomu.+
Musseeyo omwoyo ku tteeka lya* Katonda waffe, mmwe abantu b’omu Ggomola.+
11 “Ssaddaaka zammwe ennyingi zingasa ki?”+ Yakuwa bw’agamba.
“Nneetamiddwa ebiweebwayo byammwe ebyokebwa eby’endiga+ ennume n’amasavu g’ensolo eziriisiddwa obulungi,+
Sisanyukira musaayi+ gw’ente ento ennume+ n’ogw’endiga ento n’ogw’embuzi.+
13 Mulekere awo okuleeta ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke ebitalina mugaso.+
Obubaani bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Okuboneka kw’omwezi,+ ssabbiiti,+ n’okuyita enkuŋŋaana+
—Sisobola kugumiikiriza bya bulogo byammwe+ n’enkuŋŋaana zammwe ez’enjawulo.
14 Nkyayira ddala embaga zammwe ez’okuboneka kw’omwezi awamu n’embaga zammwe endala.
Bifuuse mugugu gye ndi;
Nkooye okubyetikka.
15 Bwe mwanjuluza engalo zammwe,
Mbakweka amaaso gange,+
Wadde nga musaba essaala nnyingi,+
Siziwuliriza;+
Emikono gyammwe gijjudde omusaayi.+
17 Muyige okukola ebirungi, munoonye obwenkanya,+
Mugolole oyo anyigiriza abalala,
Mulwanirire eddembe ly’omwana atalina kitaawe,*
Muwolereze nnamwandu.”+
18 “Kaakano mujje tutereeze ensonga,” Yakuwa bw’agamba.+
“Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi,
Bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira;+
Ne bwe binaaba bitwakaavu ng’olugoye olumyufu,
Bijja kufuuka byeru ng’ebyoya by’endiga.
19 Bwe munaaba abeetegefu okuwuliriza,
Mujja kulya ebintu ebirungi eby’omu nsi.+
20 Naye bwe munaagaana ne mujeema,
Ekitala kijja kubasaanyaawo,+
Kubanga akamwa ka Yakuwa ke kakyogedde.”
21 Ekibuga ekyali ekyesigwa+ kifuuse nga malaaya!+
23 Abaami bo bawaganyavu, era mikwano gy’ababbi.+
Buli omu ku bo ayagala nguzi era ayagala kuweebwa birabo.+
24 N’olwekyo, Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,
Katonda ow’Amaanyi owa Isirayiri, agamba nti:
“Laba! Nja kweggyako abalabe bange,
Nja kuwoolera eggwanga ku balabe bange.+
25 Nja kukubonereza,
Nja kukusaanuusa nkuggyemu amasengere gonna,
Era nja kukuggyamu obucaafu bwonna.+
26 Nja kuzzaawo abalamuzi bo nga bwe kyali olubereberye,
N’abakuwa amagezi nga bwe kyali mu kusooka.+
Oluvannyuma lw’ekyo ojja kuyitibwa Ekibuga eky’Obutuukirivu, Ekibuga Ekyesigwa.+
27 Sayuuni kijja kununulibwa mu bwenkanya,+
N’abantu baakyo abanaakomawo bajja kununulibwa mu butuukirivu.
31 Omusajja ow’amaanyi ajja kuba ng’akagoogwa;*
N’omulimu gwe gujja kuba ng’akaliro akamansuka,
Byombi bijja kubumbujjira wamu,
Era tewajja kubaawo abizikiza.”